Butya bwenfuna wuzu?
m
Eddoboozi
1
Eddoboozi ly'okwaziina...
2
Abange mmwe abakkiriza! Bwe mubanga muyimiridde okugenda okusaala, munaaze mu maaso gammwe n'emikono gyammwe okutuusa ku nkokola, era musiige ku mitwe gyammwe amazzi n'ebigere byammwe (mubinaaze) okutuusa ku bukongovvule.
[Surat Maa-idah: 6]
3
Teri swalah [ntuufu] awatali kufuna wuzu, era tewali wuzu [ntuufu] awatali kumalirira ,era tewali kumalirira [kutuufu] awatali kukola ku lwa Allah, n'okumalirira kubeera mu mutima, ssi lulimi.
4
BismiLlah
kiragirwa okutandika n'okusoma erinnya lya Allah kuntandikwa y'okufuna wuzu...tutandika n'erinnya lya Allah nga tufuna wuzu yaffe... oluvannyuma tukozesa omuswaki okulongoosa akamwa bwekiba kisobose...
5
Tunaaza ebibatu emirundi esatu,tutandikira okuva ku nnwe z'engalo ppaka ku kisekeseke
6
Tunaaza ebibatu okutuusa ku kisekeseke emirumdi esatu egigoberegana.
7
Tutandikira kukibatu ekya ddyo netukinaaza emirundi esatu, nekigobererwako ekibatu ekya kkono nakyo emirundi esatu.
8
Ng'era bwekikkirizibwa okunaaza ekibatu ekya ddyo nozzaako ekyakkono oluvannyuma ddyo nozzako kkono...[nga otabika] bwotyo.
9
N'okukasa nti amazzi gayingidde wakati w'engalo zaffe...
10
oluvannyuma tuzzaako okunyumunguza mu kamwa n'okufeesafeesa amazzi mu nnyindo...
11
Okunyumunguza mu kamwa kukolebwa na kuteeka mazzi mukamwa, n'okugakyusakyusa munda mwako, oluvannyuma ne gawandulwa.
12
Ate kwo okufeesafeesa amazzi munnyinda kukolebwa nakusika mazzi n'omukka okugenda munnyindo, n'oluvannyuma okugafulumya n'omukono ogwa kkono mu kuganyiza
13
Era kya mu sunna amazzi okugatuusa ewala mu byombi [ okunyumunguza mu kamwa n'okufeesafeesa mu nnyindo] singa tuba tetusiibye oba nga tetutidde kukosebwa.
14
N'okunyumunguza mu kamwa n'okufeesafeesa amazzi mu nnyindo kulina engeri bbiri:
15
Okugatta; era nakwo kubaawo nakukwata lubatu lw'amazzi lumu, ne tunyumunguza [mu kamwa] n'ekitundu kyago oluvannyuma ne tufeesafeesa [mu nyindo] nekitundu ekirala...
Tukyusakyusa amazzi mu kamwa oluvannyuma netugawanda, era netunyiza amazzi getwafeesezza feesezza munnyindo nga tukozesa omukono ogwa kkono...
Ekyo tukikola emirundi esatu, n'embatu ssatu ez'amazzi.
16
Ate okwawula: kubeera kunyumunguza mukamwa n'olubatu lwamazzi olweyawulidde, n'okufeesafeesa munnyindo mulundi gwakwo, tuyoola olubatu lw'amazzi netugateeka mukamwa gonna , oluvannyuma netugakyusakyusa, oluvannyuma netugawanda, oluvannyuma netuyoola olubatu olulala netusika amazzi n'ennyindo, oluvannyuma netuganyiza n'omukono ogwa kkono...
17
Ekiddirira okunyumunguza mukamwa n'okufeesafeesa amazzi munnyindo kuba: kunaaza kyenyi...
18
Ekkomo ly'ekyenyi mu buwanvu, we: wakati w'obumerero bw'enviiri z'omutwe obwaabulijjo, okutuuka ku nkomerero y'akalevu, ate obugazi: kuva ku kutu okutuuka ku kutu okulala
19
era kyatteeka okunaaba buli kooya akali mukyeenyi; nga ekirevu ekitali kisaakaativu, n'amasulubu, n'ebisige, n'obukoowekoowe, n'enviiri ezimera wansi w'omumwa ogwawaansi(anfaqa).
20
okunaaba ekyeenyi kulina engeri bbiri:
21
Esooka: tukwaata amazzi n'emikono jaffe gyombi, oluvannyuma netunaaza nagyo ekyeenyi okuva ku bumerero bw'enviiri z'omutwe obwaabulijjo okutuuka ku nkomerero y'akalevu, n'okuva ku kutu okwa ddyo okutuuka ku kutu okwa kkono, ate ekirevu bwekibeera kisaakativu; kiba kikubirizibwa okukiyisaamu amazzi nga tuva wansi mu bulago netukiyisaamu engalo.
ekyo tukikola emirundi esatu era nga bwebujjuvu, oba ebiri, oba gumu era nga gweegwetteeka.
22
Ey'okubiri: tukwata amazzi n'omukono ogwaddyo gwokka, oluvannyuma netugateeka mu kyenyi, netunaaza ekyenyi nemikono gyombi nga bwakibadde mu ngeri esoose... ekyo tukikola emirundi esatu...
23
Okulinaanisa ebiyungo mu kufuna wuzu kyatteeka, n'okugobereganya wakati wabyo nakyo kyatteeka, okuba nga tetukulembeza kiyuungo mukifo kya kiyungo, era nga tetulwaawo kujjulukuka ku kiyuungo kudda ku kiyungo kikiddirira.
24
Bwetumaliriza okunaaza ekyeenyi, tuzzaako okunaaba emikono.
25
Ekigero ky'emikono ekiteekwa okunaabibwa: kitandikira ku nwe z'engalo okutuuka ku kakokola, n'obukokola bunaazibwa.
26
Tutandika na kunaaba mukono ogwaddyo okutandikira ku nwe z'engalo eziri kukibatu, era netunnyikiza engalo nga tuziyingiza muzinnaazo, oluvannyuma netutuusa amazzi ppaka kubukokola
27
... oluvannyuma tuzzaako omukono ogwa kkono nagwo netugunaaza okutandikira ku ngalo z'ekibatu wamu n'okuzinnyikiza okutuuka ku bukokola...
28
Tuzzaako okusiiga omutwe... tutobya emikono n'amazzi amapya, oluvannyuma netuteeka emikono egitobye ku mpumi(entandikwa y'omutwe) netugitwala mpaka enkoto, oluvannyuma netugikomyaawo mukifo wetutandikidde, era tewali njawulo ku kigero kya mutwe wakati w'alina ekiwalaata n'oyo alina enviiri...
29
Oluvannyuma tusiimuula amatu n'ekyo ekisigalidde ku mazzi getusiimuuzizza omutwe, ekyo tukikola omulundi gumu...
30
era engeri y'okusiiga amatu eri nti tuyingiza olugalo lwa nvamumba (oluddirira kyalakisajja) mu butuli bw'amatu netubusiimuula, era netusiimuula ne zi kyalakisajja kungulu kw'amatu netubeera nga tusiimudde amatu gombi kungulu ne munda...
31
Oluvannyuma tuzzaako okunaaza ebigere, n'ekkomo ly'ebigere eryetteeka okunaabibwa kwe: kutandikira ku bugere okutuusa ku bukongovule, era kyatteeka okunaaba ebisinziiro.
32
Tutandika n'okugulu okwaddyo, era netunnyikiza wakati w'obugere(nga tubuyisaamu engalo). Era netufaayo okunaaza ebisinziiro, ne kungulu kwebigere...
33
Oluvannyuma tunaaza ekigere ekya kkono, nga bwe twanaazizza ekya ddyo, era tetwerabira kunnyikiza bugere bwakyo, n'okukakasa nti ekisinziiro kinaazibbwa kyonna n'okutuuka kw'amazzi ku bukongovule.
34
Ash-hadu allaa ilaaha illa Llah wahdahu laa shariika lahu Wa ash-hadu anna Muhammadan abduhu warasuuluhu
35
Kya mu sunna oluvannyuma lw'okufuna wuzu okutendereza Allah n'okumusaba, era kya mu sunna okwongerako:
36
Allahumma j`alnii mina tawwaabiina wa j`alnii minal mutatwahhiriina
37
Oba:
Subhaanaka Allahumma wa bihamdika, ash-hadu allaa ilaaha illa Anta astaghfiruka wa atuubu ILaika
m
Ekiwandiikiddwa ku lutimbe
1
Butya bwenfuna wuzu?
2
{Abange mmwe abakkiriza! Bwe mubanga muyimiridde okugenda okusaala, munaaze mu maaso gammwe n'emikono gyammwe okutuusa ku nkokola, era musiige ku mitwe gyammwe amazzi n'ebigere byammwe (mubinaaze) okutuusa ku bukongovvule}
[Surat Maa-idah: aaya 6]
3
okunaaba ebibatu byombi
4
okunyumunguza mukamwa n'okufeesafeesa [amazzi] munnyindo
5
Okugatta
6
okwaawula
7
okunaaba ekyenyi
8
Esooka
9
Eyokubiri
10
okumalirira n'okusoma bismillah
11
okunaaba ebibatu
12
okunyumunguza mukamwa
13
okufeesafeesa [amazzi] munnyindo
14
okunaaba ekyenyi
15
okunaaba emikono wamu n'enkokola
16
okusiimuula omutwe n'okusiimuula amatu
17
okunaaba ebigere wamu n'obukongovule
18
okunaaba emikono
19
okusiimuula omutwe
20
Entandikwa y'omutwe = ekyeenyi wekyewunzikira n'entandikwa y'obumerero bw'enviiri obwabulijjo...
21
omutwe gyeguggweerako = enkomerero y'obumerero bw'enviiri okuva enkoto ...
22
okusiimuula amatu
23
okunaaba ebigere
24
Yagamba Nabbi [Muhammad] okusaasira n'emirembe bibeere kuye:
«Okubonabona kuli eri abo abafuna wudhu nebaleka obukongovule nga tebutuuseko mazzi, munnyikize okufuna wuzu».
Yayogerwa Abu dawuud.
25
«Ash-hadu allaa ilaaha illa Llah, wahdahu laa shariika lahu, Wa ash-hadu anna Muhammadan abduhu warasuuluhu».
Yayogerwa Muslim.
26
Allahumma j'alnii mina tawwaabiina wa j'alnii minal mutatwahhiriina
Yayogerwa Tirmidhi.
27
«Subhaanaka Allahumma wa bihamdika, ash-hadu allaa ilaaha illa Anta, astaghfiruka wa atuubu ILaika».
Yayogerwa Nasaa'i mu "Mirimu gy'emisana n'ekiro".
Butya bw'ensaala?
Esswala okuva ku takbirah esooka mpaka salaam
M
Eddoboozi
1
Eddoboozi ly'okukima esswala
2
Eddoboozi ly'okukima esswala lyeyongerayo...
okumalirira ky'ekisooka okukolebwa omusaaze, n'ekifo kyakwo [kubeera mu] mutima
3
Twolekera ekibula, ate bwobeera imaamu oba nga osadde wekka, teeka mumaaso go ekiziyiza.
4
Allahu akbar...
Takibiira ey'emizizo era nga nayo y'etuyingiza mu sswala, era etekeddwa okwatulwa n'olulimi...
5
Mukuleeta takbiira tuwanika emikono gyaffe ekigero ky'ebibegaabega, ne twolekeza ebibatu by'engalo zaffe ekibula...
Oba:
Tugiwanika ekigero ky'amatu mu ngeri yemu...
6
Tuteeka emikono ku kifuba oluvannyuma lw'okuleeta takbiira, oba netugiteeka wansi w'ekifuba –waggulu w'ekkundi, oba wansi w'ekkundi, byonna ebyo bituufu...
Omukono gwaffe ogwa ddyo tuguteeka ku kibatu ky'omukono ogwa kkono
oba tuteeka ekibatu kyaffe ekya ddyo kungulu kw'ekibatu kyaffe ekya kkono...
Oba tukwasa ddyo ku mukono ogwa kkono...
7
«Allahumma baa`id bainii wabaina khatwaayaaya kama baa`dta bainal mashriq wal-maghrib, Allahumma naqqinii min khatwaayaaya kama yunaqqa tthawbul abiyadhu mina ddanasi, Allahumma ghsilnii min khatwaayaaya bitthalji wal maa`i wal barad».
tusaba n'edduwa eggulawo esswala oluvannyuma lwa takbiira ey'emizizo nga tetunnasoma (Suurat Alfaatiha), era edduwa endala zajja (okuva ku nabbi) nga nazo ziggulawo esswala, era nga kya mu ssunna okukyusakyusa muzo (n'osoma eno, olula n'osoma endala)...
8
(a’uudhu biLlahi mina sh-shaytwaani rrajiim)...
Ekigoberera edduwa eggulawo esswala: kusoma isti`aadha, n'oluvannyuma okusoma Alfaatiha...
9
N'obwewombeefu n'obutebenkevu, tusoma Aya, Aya (nga tuziwa amabanga).
10
Aamiin...
Okwogera [aamiin] kya mu ssunna ku asaaza oba gwebasaaza oba asaala yekka, era nga [aamiin] ssi aaya mu [suurat] Alfaatiha, naye dduwa etegeeza nti: ayi Allah yanukula.
11
Oluvannyuma lwa Alfaatiha tusoma ekiba kitwanguyidde mu kkulaani, k'ebeere ssuula nnamba, oba kitundu mu yo, bwetumaliriza okusoma tusirikamu olusirika olutono nga tetunnakutama ku maviivi.
12
Allahu Akbar...
Tuleeta Takbiira etujjulula okuva mu kuyimirira okugenda mu kukutama ku maviivi...
Era nga ekyo ky'ekifo eky'okubiri mu swala Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye kyeyalinga awanikiramu emikono; kale kyamu ssunna okuwanika emikono gyaffe ekigero ky'ebibegaabega oba ekigero ky'amatu...
13
Tuteeka ebibatu ku maviivi, engalo zaffe netuziwa amabanga era netuzinweeza ku maviivi nga tuliinga abagakwata.
Tutebenkera mu kukutama kwaffe ku maviivi, era emikono gyombi tugiteeka wala n'enjuyi zombi [ez'embiriizi], era tetwolesa luba nga twewunzikira ku ludda olumu.
14
Omugongo nga gwegolodde awatali kukikinala, n'omutwe nga guteredde wamu n'omugongo, tetuguwanika wadde okuguwunzika.
15
«Subhaana Rabbiyal- adhwiim»
Tuddiringana tasbiihi emirundi esatu, era nga gy'egisookerwako mu bujjuvu, ne tasbiihi emu eweesa empeera (kikkirizibwa okusoma tasbiihi emu), era tusobola okwongerako ssinga tuba twagadde, era tukyusakyuusa mu tasbiihi ezaggya nga ziva kunnabi.
16
Azkaali ez'ogerwa mu ku kutama ku maviivi nnyingi.
17
Sami`a Allahu liman hamidah...
Tukyogera nga tukutaamulukuka okuva ku maviivi mumbeera nga tusadde kinnoomu oba nga omu kuffe imaam [yye yakyogera]...
18
netuwanika emikono gyaffe okutuuka ku kigero ky'ebibegaabega oba ekigero ky'amatu,era ekyo ky'ekifo ekyokusatu [mu swala] kyetuwanikiramu emikono...
19
Oluvannyuma tuyimirira netutereera netugamba:
«Rabbanaa walakal hamdu».
20
Era tukkirizibwa oluvannyuma lw'okukutaamulukuka okuva ku maviivi okuleebeesa emikono oba okugifunga...
21
Era kya mu ssunna okulwawo nga okutamye ku maviivi, n'okutebenkera ku go.
22
Allahu Akbar...
Oluvannyuma tukkirira wansi ku ttaka nga bwetuleeta takbiira etujjulula okuva mu kuyimirira okugenda mu kuvunnama.
Era tukulembeza emikono ku maviivi, oba ne tusoosa amaviivi ku mikono, kyonna ekiba kitwanguyidde.
23
Era kyatteeka okubeera nga tuvunnamira ku biyunga omusanvu, nga Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye bweyatuyigiriza:
Ekyenyi wamu ne nnyindo, n'ebibatu byombi, n'ebigere byombi, n'amaviivi gombi.
24
Obugere tubwolekeza ekibula, era netusiimba ebigere.
Tuwa amabanga wakati w'ebisambi, era netusitula olubuto okuva ku byo(ebisambi).
emikono tugisitula okuva ku ttaka (tetubwama) nga gili wala n'enzida zaffe(embiriizi n'ebirala), ssinga tubadde tetusaalidde mu kibiinja netutya okunyiiza abatulinaanidde.
era tuteeka ebibatu okutuuka ku kigero ky'ebibegaabega oba ekigero ky'amatu...
25
«Subhaana rabbiyal A`alaa»...
Tuddiriŋŋana tasbiihi emirundi esatu nga era gyegisookerwako mubujjuvu, ne tasbiihi emu eweesa empeera (kikkirizibwa okusoma tasbiihi emu), era tusobola okwongerako bwetuba twagadde, era tukyusakyuusa mu tasbiihi ezenjawulo ezagya nga ziva ku nnabi, oluvanyuma netusaba kyonna kyetuba twagadde mu birungi by'ensi n'enkomerero.
26
Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nti: «omuddu waasingira okubeera okumpi n'omulezi we (keekaseera) nga avunnamye, kale muyitirize nnyo okusabirawo».
27
Allah Akbar...
nga bwetuleeta Takbiira tusitula omutwe okuva mu kuvunnama...
Twanjuluza ekigere ekya kkono netukituulako netukkalira, era netusiimba ekya ddyo, netwoolekeza obugere bwakyo eri ekibula.
Oba...
Tusiimba ebigere byombi, netutuulira ebisiinziiro...
Tugolola emikono gyaffe; (tuteeka) ogwa ddyo ku kisambi ekya ddyo, n'ogwa kkono ku kisambi ekya kkono, kumpi n'amaviivi oba ku maviivi.
28
Rabbi ighfir Lii ...
tusoma edduwa eyo [mu luwalabu lwokka] wakati w'envunnama ebbiri, mu kaseera nga tutudde netukkalira...
30
Allahu Akbar...
Tukka wansi nga bwetuleeta Takbiira okuvunnama ogw'okubiri, era kuba nga okwasoose mu ngeri, n'ebyogerwa...
30
Allahu Akbar...
Tuleeta eraaka ey'okubiri, mungeri yemu gyetwakoze mu laaka eyasoose:
Okufuunga emikono, okusoma Suratul- fatiha, [n'okusoma] Aya [emu] oba okusingawo mu quran...
Oluvannyuma tukutama ku maviivi...
Allahu Akbar...
Era netuyimuka...
[ne tusoma] Sami`Allaahu liman hamidah...
Oluvannyuma netuvunnama.
Allahu Akba...
Tuvunnama envunnama bbiri, oluvannyuma netutuula netusoma Tashahhudu(tahiyyaatu)...
Allah Akbar Allah...
Allah Akbar Allah...
Allah Akbar Allah...
31
Bwetumaliriza eraaka eyookubiri, ekiddako kutuula kusoma Tashahhudu, tutuula mungeri y'okwalirira (kwekwanjuluza ekigere ekya kkono netukituulako netukkalira, era netusiimba ekyaddyo, netwoolekeza obugere bwakyo mu kibula)...
32
okutuula kw'okwanjuluza ekigere ekya kkono netukituulako kubeerawo mumbeera nga tusoma Tashahhudu mu swala ey'eraaka ebbiri; nga mu sswala ya subuhi ne jjuma ne idi ebbiri, nga era bwekibeera ku tashahhudu esooka mu swala ey'eraaka essatu n'eyennya, ne mu kutuula wakati w'envunnama ebbiri...
33
Era tavunaanwa yadde okukakibwa; oyo atasobola kutuula ntuula yaakwanjuluza kigere kya kkono n'okukituulako olw'obunene bw'omubiri gwe, oba nga ayina obulumi mu bigere oba ebifaanana nga ebyo. Akkirizibwa okutuula mumbeera yonna gyaba asobodde...
34
ku tashahhudu tuteeka omukono ogwa ddyo ku kisaambi ekya ddyo wamu n'okufunya engalo zonna okuggyako oluddirira ekisajja, lwo tusoonga nalwo...
35
Oba tufunya ekisajja netukisiba n'olwa wakati, era netusoonga oluddirira ekisajja...
36
Ate omukono ogwa kkono, tuyinza okugugolola [netugussa] ku kisaambi ekya kkono, oba tugukwasa ku Vviivi.
era kikubirizibwa ku tashahhudu amaaso okugatunuuliza olugalo oluddirira ekisajja olw'omukono ogwa ddyo.
37
«Attahiyyaatu Lillaahi wa-sswalawaatu wa’ttWayyibaatu, as-salaamu ‘alayka ayyuha’n-Nabiyyu wa rahmatu-Llaaahi wa barakaatuh. As-salaamu ‘alayna wa ‘alaa ‘ibaadi Llaahi sswaalihiin. ash'hadu allaa ilahaa illa Llaah wa ash'hadu anna muhammadan ‘abduhu wa rasuuluh.»
Tusoma tashahhudu ekitundu ekisooka kyokka esswala bweba ebadde y'alaaka ssatu oba nnya.
Ate bwebeera nga esswala y'alaaka bbiri nga esswala ya subuhi, oba eya jjuma oba idi ebbiri, awo tumalayo tashahhudu nga tusoma okusaalira kwa Ibrahiimiyya...
«Allaahumma swalli alaa Muhammad wa alaa aali Muhammad, kamaa swallayta alaa Ibrahiima wa alaa aali Ibrahiima, innaka hamiidu-mmajiid. Allahumma baarik alaa Muhammad wa alaa aali Muhammad, kamaa baarakta alaa Ibrahiima wa alaa aali Ibrahiima, innaka hamiidu-mmajiid».
38
Assalaamu alaikum warahmatulla...
Assalaamu alaikm warahmatulla...
Ssalaamu eretebwa oluvannyuma lw'okumaliriza Tashahhudu n'okusoma edduwa ezagya okuva ku Nabbi... Naye ekyo kyamu sswala eya raaka ebbiri...
39
tusitulamu ku ddoboozi katono: Allahu Akbar
Wabula ate ssinga esswala ebeera ya laaka ssatu nga esswala ya magharibi, oba nga ya nnya nga dhuhuri ne aswiri ne ishaai.
40
Tuyimuka oluvannyuma lwa tashahhudu esooka netusaalayo eraaka emu ssinga tuba tusaala magharibi, oba bbiri singa tuba tusaala dhuhuri oba aswiri oba ishaa`i, tusomeramu Alfaatiha , netuleeta byonna ebyakulembedde mu kukutama n'okuvunnama n'okuyimirira n'okutuula...
41
Allahu Akbar...
42
Omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yali nga atuula n'ayisiŋŋanya amagulu ku tashahhudu esembayo mu buli sswala erimu tashahhudu ebbiri...
43
okutuula okw'okuyisiŋŋanya amagulu kubeera mu tashahhudu esembayo yokka mu sswala ey'eraaka essatu oba ey'ennya, era kulina engeri ezisukka kw'emu:
44
okwanjuluza ekigere ekya kkono, n'okusimba ekya ddyo, era byombi ne bifulumizibwa ku ludda olwa ddyo, n'obutuuliro ne buteekebwa ku ttaka.
Oba:
Okwanjuluza ebigere byombi, ne bifulumizibwa ku ludda olwa ddyo.
Oba:
Okubeera nga ayanjuluza ekigere ekya ddyo, n'ayingiza ekya kkono wakati w'ekisambi n'entumbwe eya ddyo.
45
Era mu lutuula lwa tashahhudu esembayo, tusoma tashahhudu, oluvannyuma netugoberezaako okusaalira Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye
46
nga tetunnatoola ssalaam, era nga tumalirizza tashahhudu [n'okusaalira nnabi], twekingiriza ne Allah ebintu bina: ebibnonerezo by['omuliro) jahannam, n'ebibonerezo byomuntaana, n'ebikemo ebiri mu bulamu n'okufa, n'obubi bwekikemo kya masiihi ddajjaali...
netusaba kyonna kyetuba twagadde mu birungi eby'ensi n'enkomerero...
47
Assalaamu alaikum warahmatullah
Assalaamu alaikum warahmatullah...
Esswala eba tewedde era teviibwamu okujjako na kuleeta ssalaamu...
48
N'okuleeta ssalaam; bwetutyo tuba tumalirizza eswala,
Astaghfiru Llaah, Astaghfiru Llaah, Astaghfiru Llaah...
49
Era kya mu ssunna ku musaaze bwaba atodde ssalaamu [eggalawo eswala] okusaba Allah okumusonyiwa emirundi esatu, oluvannyuma atendereza Allah eyayawukana era owa waggulu ne azkaari ezaggya okuva ku mubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye...
m
Ekiwandiikiddwa ku sikiriini (screen)
1
k'obeere asaaza(imam) oba asadde yekka
2
Takbiira ey'emizizo
3
Tuwanika emikono negiteebagana n'ebibegaabega
4
oba okuteebagana n'amatu, mungeri yemu
5
Tuteeka emikono ku kifuba
6
oba waggulu w'ekkundi
7
oba wansi w'ekkundi
8
Omukono gwaffe ogwa ddyo tuguteeka ku kibatu ky'omukono ogwa kkono
9
Oba tukwata ne ddyo ku mukono ogwa kkono
10
Edduwa eggulawo [esswala]
11
«Allahumma baa`id baynii wabayna khatwaayaaya kamaa baa`dta bayna-lmashriq wal-maghrib, Allahumma naqqinii min khatwaayaaya kamaa yunaqqa ath'thawbul-abiyadhu mina ddanasi, Allahumma-ghsilnii min khatwaayaaya bith'thalji wal- maa`i wal- baradi» yayogerwa muslim.
12
Era nga kya mu ssunna okukyusakyusa muzo
13
Isti`aadha
14
a’uudhu billaahi mina sh-shaytani rrajiim
15
Alfaatiha
16
(Alhamdu lillaahi rabbil aalamiin Arrahmaani rrahiim Maaliki yawmi ddiin Iyyaaka na-abudu wa-iyyaaka nasta-ein Ihdina sswiraatwal mustaqiim swiraatwa lladhiina an'amta alayhim ghayril maghdhwuubi alayhim wala ddhwaaaaaalliin)
17
Aamiin
18
Dduwa etegeeza: ayi Allah yanukula
19
Tusoma ekiba kitwanguyidde mu quran
20
Okukutama ku maviivi...
21
Allahu Akbar Allah yasinga buli kimu (kyonna).
22
Omugongo nga gwegolodde nga tegukukunadde
23
Subhaana Rabbiyal-âdhwiim
24
ezimu ku azkaari ez'okumaviivi ezaggya okuva ku nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye
25
Subbuuhun qudduusun, rabbul malaaikati wa rruuh...
26
Subhaanaka rabbanaa wabihamdika Allahumma-ghfirlii...
27
Sami`a Allahu liman hamidah
28
Rabbanaa walakal hamdu hamdan kathiiran twayyiban mubaarakan fiihi
29
Tulebeesa emikono gyaffe
30
oba tugifunga
31
Okuvunnama...
32
Ekyeenyi wamu n'ennyindo
33
Ebibatu
34
Amaviivi
35
N'ebigere
36
Subhaana rabbiyal A'alaa...
37
«omuddu waasingira okubeera okumpi n'omulezi we [keekaseera] nga avunnamye, muyitirize nnyo okusabirawo». Yayogerwa Muslim
38
okutuula Kw'okwanjuluza ekigere ekya kkono [nookituulako]...
39
Okutuula okw'okusiimba ebigere byombi [noobituulako]...
40
Rabbi ghfirlii (esatu)
41
Rabbi ghfir lii, warhamnii, wa-jburnii, wa-hdinii, wa-rzuqnii ...
42
Al-subhi
43
Al- jumu`a
44
Al-eedayn
45
Al-dhuhr
46
Al-asr
47
Al-maghrib
48
Al-isha
49
«Attahiyyaatu Lillaahi wa-sswalawaatu wa’t-tayyibaatu, as-salaamu ‘alayka ayyuha’n-Nabiyyu wa rahmatu -Llaaahi wa barakaatuh. As-salaamu ‘alayna wa ‘alaa ‘ibaadi Llaahi sswaalihiin. ash'hadu allaa ilaaha illa Llaah wa ash'hadu anna muhammadan ‘abduhu wa rasuuluh»
50
«Allaahumma swalli alaa Muhammad wa alaa aali Muhammad, kamaa swallayta alaa Ibrahiima wa alaa aali Ibrahiima, innaka hamiidun mmajiid. Allahumma baarik alaa Muhammad wa alaa aali Muhammad, kamaa baarakta alaa Ibrahiima wa alaa aali Ibrahiima, innaka hamiidu mmajiid».
51
Al-dhuhr- Al-asr- Al-maghrib- Al-isha
52
Al-subhi Al -jum`a- Al-eedayn...
53
«Allaahumma swalli alaa Muhammad wa alaa aali Muhammad, kamaa swallayta alaa Ibrahiima wa alaa aali Ibrahiima, innaka hamiidun mmajiid. Allahumma baarik alaa Muhammad wa alaa aali Muhammad, kamaa baarakta alaa Ibrahiima wa alaa aali Ibrahiima, innaka hamiidu mmajiid».
54
Assalaamu alaykum warahmatulla
55
«Era yali nga bwatuula ku tashahhudu esembayo, ayisaamu okugulu kwe okwa kkono, naasiimba okulala, nateeka obutuuliro bwe kuttaka». Yayogerwa Bukhari.
56
Okutuula okwokuyisiŋŋanya amagulu
57
«Allahumma innii a`uudhu bika min adhaabi jahannam, wa min adhaabil qabri, wamin fitnatil mahyaa wal mamaat, wa min sharri fitnatil masiih -ddajjaal» yayogerwa Muslim.
58
«Allahumma inni dhwalamtu nafsii dhwulman kathiiraa, walaa yaghfiru - ddhunuuba illaa anta, faghfirlii maghfiratan min indika warhamnii innaka antal-ghafuuru rrahiim» yayogerwa Bukhari.
59
Astaghfiru Llah (esatu) [amakulu: Neenenyeza Allah]
60
Hadith eva ku Abi Huraira Allah amusiime, yagamba nti : Nawulira Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- nga agamba nti: «Mazima ddala ekigenda okusooka okubalibwa ku muddu ku lunaku lw'enkomerero mu mirimu gye ye sswalaaye; bweeriba nnongoofu aliba yeesiimye era nga ayise, ate bweriba nnyonoonefu aliba afafaaganiddwa era nga asaliddwa». yayogerwa Abu-daau`da, ne Tirmdhiy ne Nasaa`i.