Esangibwa mukitabo kya Bukhaari (1189) ne Muslim (827) Naye eno n'enjogera yiye,
Esangibwa mukitabo kya Bukhaari (1190)ne Muslim (1394).
Esangibwa mukitabo kya Bukhaari (1195) ne Muslim (1390),
Amatendo [amajjuvu] ga Allah omulezi w’ebitonde [byonna], era okusaasira n’emirembe bibeere ku nnabbi waffe Muhammadi, [bibeere] ne ku bantu be ne ba ‘swahaaba’ be bonna,
Bwe kiba kiseera ekitali ekyaziyizibwa okusaaliramu kirungi asaale sunna endala z'aba ayagadde ng'asaala laaka bbiri bbiri; Yagamba omubaka wa Katonda okusaasira n'emirembe bibeere kuyye:(Esswala emu mu muzikiti gwange guno esinga esswala lukumi mu mizikiti emirala gwonna okuggyako Omuzikiti gw'emizizo)
Era kigwana afube okusaalira mu Raudha - nga kino kifo ekiri wakati wa Mimbari y'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuyye n'ekisenge kye- bw'aba asobodde, olwa hadiithi ye okusaasira n'emirembe bibeere kuyye:(Wakati w’ennyumba yange ne Mimbari yange lusuku munsuku ze jjana)
Bw’aba tasobodde kukikola, asaalira mu kifo kyonna eky’omuzikiti, wabula kino kibeerawo kusswala etali ya Jama, naye bw'ebeera jama, alina kwekuumira kulunyiriri olusooka oluli okumpi ne Imaamu; Olw'okubuna kw'obujulizi obuli kw'ekyo.
Bwaba ayagadde okulambula entaana ya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye n'entaana za mikwano gye ebiri (Abubakar ne Omaru):
Ayimirira mumaaso g'entaana ye okusaasira n'emirembe bibeere kuyye n'empisa,n'obukkakamu, n'akakkanya eddoboozi n'amutoolera salaamu (Assalaamu alaika yaa Rasuula Allah warahmatullahi wabarakaatuhu); Bw'agamba nti: (Ashihadu annaka RasuuluAllahi haqqan, wa annaka qadi ballaghita Al-risaalata wa addaital amaanata wa jahadta fi Llahi haqqa jihadih wa naswahtal-ummata,fajazaakAllahu an ummatika af-dhwala maa jazaa Nabiyyan an ummatihi) tekirina buzibu
Olwo n’akyuka katono ku ddyo n’atoolera Abu Bakr Al-Siddiq, Katonda amusiime salaamu.
Era oluvannyuma n'adda ku ddyo katono n'atoolera Omar bun Al-Khatwabi salaamu, Era yali mutabanyi wa Umaru Katonda amusiime nga bw'atoolera omubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuyye salaamu ne ba swahaaba be ababiri salaamu tayongera ko ku bigambo bye ebigamba nti: (Assalaamu alaika yaa Rasuula Allah, Assalaamu alaika yaa Abaa Bakri, Assalaamu alaika yaa Abataah) oluvannyuma n'agenda.
Tekigwana kuyitiriza kuyimirira oba okusaba ng'oli kuntaana y'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuyye n'entaana za baswahaaba be ababiri,kuba Imaamu Maaliki yakitamwa n'agamba: Ekyo kizuule (mu ddiini) Abalongoofu tebaakikola, era teri kisobola kutereeza kibiina kino okuggyako eky'atereeza ekyasooka
N'ekyo kyebakola abalambuzi abamu n'abalala okusabira ku ntaana ye nga bagyolekedde era nga basitudde emikono gya bwe, ebyo byonna byawukana n'ekyo kyebaaliko Abalongoofu mu ba swahaaba ba Nabbi n'abagoberezi baabwe, ate nga kyo kiri mu bizuule.
N'ekyo kyebakola abalambuzi abamu nga bamutoolera salaamu, eky'okuteeka emikono gyabwe egya ddyo ku gyakkono kubifuba oba wansi wa kyo nga omusaaze bwabeera, tekikkirizibwa nga otoolera omubaka Salaamu olwokubanga yo mbeera ya kwetowaaza nakusinza ebitagwana okuggyako Katonda yekka, era nga bwe yakyogera Al-haafidhu Ibun Hajari mukitabo «Al-fatih anil-olamaa».
Era tekikkirizibwa muntu yenna kusembera eri Katonda na kusiimuula ku kisenge oba okukyetooloola, n'okusaba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuyye okumumalira ekyetaago, oba okuwonya omulwadde we kubanga ebyo byonna tebisabibwa okuggyako Katonda yekka.
Kirungi eri oyo alambula ekibuga Madiina nga akyali yo ( mu Madiina) okulambula masjidi qubaa n'okugusaaliramu; kubanga Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye yali ajja gyeguli nga yebagadde oba nga atambula n'agusaaliramu eraaka bbiri, Sahal mutabanyi wa Hunaif yagamba nti: Yagamba omubaka wa Katonda okusaasira n'emirembe bibeere kuyye:(Oyo yenna eyetukuza nga akyali waka we najja eri masjidi qubaa n'agusaaliramu esswala afuna empeera ng'akoze umrah).
Era kiri sunna eri abasajja okulambula limbo y'eMadiina, n'entaana z'abajulizi, n'entaana ya Hamzah Katonda amusiime ; Kubanga Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye yali abalambula n'abasabira, n'olwa hadiithi ye okusaasira n'emirembe bibeere kuyye:(Nali mbagaanye okulambula entaana, kale muzirambule, kubanga zibajjukiza enkomerero.)
Era bw'abalambula agamba nga bw'agamba nga alambudde entaana endala: (Assalaamu alaikum ahla ddiyaari minal mu'minuuna wal-muslimiina wa-innaa insha Allahu bikum laahiquuna wa yarham Allahu al-mustaqdimiina wal-musta'khiriina , nas-alu Allaha lanaa walakumul-aafiya).
Tewali kubuusabuusa nti ekigendererwa ky’okulambula entaana kwe kujjukira obulamu bw’oluvannyuma lw’okufa, n'okulongoosa eri abafu nga tubasabira, n’okugoberera Sunnah ya Nabbi, okusaasira n'emirembe bibeere kuyye, era kuno kwe kulambula okutuufu.
Wabula okubalambula olw'ekigendererwa ky'okusabira ku ntaana zaabwe, oba okusaba Allah nga oyitira mu bbo, n'ebirala ebili ng'ebyo, okwo kuba kulambula okuzuule era kubi Katonda teyakulaarika yadde omubaka we okusaasira n'emirembe bibeere kuyye, yadde Abalongoofu abakulembera tebaakikola, ate okubasaba okumala ebyetaago, oba okuwonya abalwadde, n'ebiri nga ebyo bili mukugatta ku Katonda okunene.
Era nkwewaza owange ggwe omusomi hadiithi enjigirire mu mulyango guno ozitegeere oleme kweyibaala nazo:
Esooka: (Oyo yenna akola Hijja n'atannambula aba ansuuliridde).
Ey'okubiri: (Oyo yenna annambula oluvannyuma lw'okufa kwange aba nga annambudde mu bulamu bwange).
Ey'okusatu:(Oyo yenna annambula, n'alambula kitange Ibrahiim mu mwaka ogumu alina galanti ewa Allah y'okuyingira ejjana).
Ey'okuna:(Oyo yenna alambula entaana yange okuwolereza kwange kuba kukakafu gy'ali).
Hadiithi zino n'ezizifaanana tezaawulirwa ku Mubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuyye, Al-haafidhu Al-Uqailiyy yagamba nti: Mu mulyango guno temuliimu hadiithi ntuufu yonna. N'agamba Al-haafidhu Ibun Hajari mukitabo “Attalkhiis”-oluvannyuma lw'okwogera enjogera za hadiithi zino ezisinga - Amakubo ga hadiithi zino zonna manafu.Tekiri mu sunna za Hijja oba Umrah oba okubijjuuliriza (Hijja oba Umrah) Okulambula entaana ya Nabbi (okusaasira n'emirembe bibeere ku yye) nga tonnakola hajji oba umrah oba oluvanyuma lw'okukola by'ombiriri; kubanga okulambuula omuzikiti gwa Nabbi kikubirizibwa, naye Haaji oba oyo ali mu Umrah bwa tagulambula tafuna musango, era okugulambula tekirina kakwate na Hijja oba Umrah wabula zo Ibaada (kusinza) zanjawulo. Era oyo yenna ali mumikolo gya Hijja oba egya umrah tekimukakatako kulambula Muzikiti gwa Nnabbi , N'oyo alambula omuzikiti gwa Nnabbi tekimukakatako kukola Hijja oba Umrah, naye bw'aba agasse Hijja, Umrah n'okulambula omuzikiti gwa Nnabbi mu lugendo lumu ekyo tekirina buzibu.
Okukwata ku bisenge ne kubyuma nga we weesiimuula mu kulambula entaana y'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuyye, n'okusiba obuwuzi mumadinisa ng'onoonya mikisa.
Ate nga emikisa gibeera mw'ebyo Katonda n'omubaka we okusaasira n'emirembe bibeere kuyye bye baalagira so simubizuule.
Okugenda mumpuku z'olusozi uhudu nga gaari hiraa ne gaari thauri ey'eMakkah n'okusibilayo obugoyegoye n'okusabilayo edduwa Katonda z'atakkiriza n'okugumira obukaluubirivu obukirimu.
Ebyo byonna bizuule tebirina nsibuko mu mateeka amatukuvu.
Okulambula ebifo ebirala bye balowooza nti bili mu buwufu bwa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye nga “Mabraku nnaaqah", ne "bi'rul-khatim" ne "bi'ru uthman " n'okujja ettaka mu bifo ebyo ng'onoonya mikisa.
Okusaba abafu mukulambula limbo y'eMadiina n'entaana z'abajulizi be uhudi n'okuzikasukako esente olw'okusembera n'okufuna emikisa ku bannyini zo.
Era zino z'ezimu ku nsobi ennene, ate ziri mu kugatta ku Katonda okunene nga abamanyi bwe ba kyogera nga bajja obujulizi mu kitabo kya Katonda ne hadiithi z'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuyye; kubanga okusinza kwa Katonda yekka tekikkirizibwa kunsinza kitali yye gamba ng'okusaba, okusala okweyama n'ebirala olw'ekigambo kye:(Tebaalagirwa wabula kunsinza Katonda nga bamutukuza eddiini kululwe)[Al-bayyina:5].
Ne Katonda y'asinga okumanya, n'okusaasira n'emirembe bibeere ku Nnabbi waffe Muhammadi ne kubantu be ne ku baswahaaba be bonna.
يهدف الكتاب إلى تعليم المسلمين أساسيات دينهم بطريقة مبسطة وشاملة. يتناول مجموعة من الدروس المهمة مثل قراءة الفاتحة وقصار السور، وأركان الإسلام والإيمان، وأقسام التوحيد والشرك، وشروط وأركان وواجبات الصلاة، بالإضافة إلى مبطلاتها، مع بيان مختصر لشروط الوضوء وفروضه ونواقضه. كما يسلط الضوء على التحلي بالأخلاق الإسلامية والآداب الشرعية، ويقدم إرشادات لطيفة حول تجهيز الميت والصلاة عليه ودفنه.
Ku lw'erinnya lya Allah omusaasizi ennyo ow'ekisa ekingi Wali webuuzizzako: Ani yatonda eggulu n'ensi n'ebiri mubyombiriri mu bitonde ebinene? Era ani eyakola enteekateeka eno ennungamu entereevu mu yyo?
Okulaga mu bikolwa mu bumpiimpi engeri y'okusaala, tusinze Allah n'obutegeevu, era esswala yaffe etuukirize empagi n'obulombolombo bwayo. Engeri y'okusaalamu Bwe twagala okusaala kitukakatako okwetukuza okuva mu ekizuusi ekitono n'ekizuusi e kinene. Era ne tusaalira mu ngoye entukuvu nga zibisse obwereere bwaffe. N'omubiri gwaffe n'ekifo mwetusaalira nga bitukuvu mu okuva eri obucaafu. Twolekera e kibula Era kikubirizibwa okusaala nga twolekedde ekiziyiza