Ku lw'erinnya lya Allah omusaasizi ennyo ow'ekisa ekingi Wali webuuzizzako: Ani yatonda eggulu n'ensi n'ebiri mubyombiriri mu bitonde ebinene? Era ani eyakola enteekateeka eno ennungamu entereevu mu yyo?
Abange ensi yeyetonda? Oba teyina nsibuko? Oba yagya kibwatukira?
Ani yakutonda?
Ani yakola sistimu enteeketeeke mu mubiri gw'omuntu nemumibiri gy'ebitonde byonna ebirina obulamu?
Omuntu yenna ayina amagezi tasobola kukkiriza kumugamba: nti ennyumba esobola okubaawo nga teri agizimbye! oba okumugamba nti: ebbanga lyeryazimba ennyumba eyo! Nabwekityo kijja kitya nti abantu bakkiririza mu bagamba nti: ensi ennene yajjawo awatali yagitonda? Omuntu alina amagezi ayinza atya okukkiriza okumugamba: nti entambula yensi eteredde yonna teriiko agitambuza wabula etambula kibwatukira.
kikakafu, gyali Katonda omugulumivu omutonzi, ateekerateekera ensi n'ebigirimu, naye nga ye Allah nannyini matendo omugulumivu.
N'omulezi nannyini matendo yatutumira ababaka era nabassako ebitabo ( obubaka), nga n'ekyasembayo ye Qur'an eyo gyeyassa ku Muhammad owenkomerero mu babaka ba Allah. Mu bitabo bya Allah n'ababaka be.
Yatubulira ebimukwatako, n'ebitendo bye, n'ebivunaanwa bye kuffe, era natunyonnyola omugabo gwaffe ku Yye.
Era yatulaga nti Yye ye mulezi eyatonda ebitonde byonna, era Yye mulamu tafa. Ebitonde byonna biri mungalo ze,yabilinako obuyinza era biri wansi wabukasi na ku kyuusa kwe .
Era yatutegeeza nti ebimu kubitendo bye kwekumanya. Yetoloola buli kintu kyonna n'okumanya, era Yye awulira nnyo era alaba, teri kyekweeka kuyye mubiri munsi ne muggulu.
Era yatutegeeza nti Yye ye Mulezi atendebwa nebitendo ebijjuvu, Yeyatuwa amagezi n'ebiyungo byetutegeere nabyo ebyewunyisa mukutonda kwe ekyoleka obugulumivu bwe n'obusobozi bwe namaanyi ge, Era yateeka muffe obutonde obulaga nti Yye mujjuvu, ekikasa nti tekisoboka kutendebwa nabitendo bya bunyoomoofu.
Era yatuyigiriza nti Omulezi, Ali waggulu, teyetabika mu bitonde bye wadde ebitonde bye okwetaba wamu naye.
Era yatutegeeza nti kyatteeka kuffe okumugondera,kuba yemutonzi waffe era yemutonzi wensi atambuza ensooga zaayo .
Omutonzi alina ebitendo by'obugulumivu era tekisoboka kutendebwa nabwetaavu oba obukendeevu, Omulezi teyerabira era teyeebaka era talya mmere, era tekisoboka kubeera namukyala oba omwana, era buli mbozi yonna erimu okukakkanya ekitiibwa ky'omutonzi teri mu bubaka obutuufu obwo bweyagya nabwo omubaka wa Allah.
Bw'oba okkiriza Allah omutonzi... wali webuuzizza lumu kunsonga eyakutonza? Era Allah kiki kyatwagalamu, era kigendererwa ki ekiri mu kubeerawo kwaffe?
Kisoboka okuba nga Allah yatutonda natuleka ttayo? Era kisoboka okuba nga Allah yatonda ebitonde ebyo byonna ewatali kigendererwa?
Amazima gali nti Allah omutonzi owekitiibwa yatutegeeza ekigendererwa mu kututonda, nga kwekumusiinza yekka, era kiki kyatwagalamu! natutegeeza nti Yye yasaanidde okusinzibwa mubutuufu, era natutegeza butya bwetumusinza nga ayita mu babaka be? Era butya bwetusembera jyali nga tukola byalagira era nga tuleka byaziyiza? Era butya bwetutuuka kukusiima kwe? Era butya bwetwewala ebibonerezo bye, era natutegeza obuddo bwaffe oluvannyuma lw'okufa?
Era natutegeeza nti obulamu buno obwensi kigezo, era obulamu obwannamaddala obujjuvu bwakubeerawo ku nkomerero oluvanyuma lw'okufa.
Era yatutegeeza nti oyo asinza Allah nga bweyamulagira, n'alekayo byeyamuziyizaako; agya kufuna obulamu obulungi munsi, n'ebyengera ebyolubeerera ku nkomerero, ate oyo amugyemera era namuwakanya wakubonaabona kunsi, nebibonerezo ebyolubeerera kunkomerero.
N'olwokuba nti tukimanyi nti tetusobola kuyita mubulamu buno okuleka nga buli muntu afunye empeera yemirimu gyeyakola, emibi n'emirungi; yye abange kisoboka okuba nga teri kibonerezo kubalyazamaanyi oba okusasula empeera eri abakola emirimu emirungi?
Oyo yenna eyetegerezza abantu byebasinza olwaleero asanga nga Ono asinza Bantu omulara nga asinza masanamu, omulara nga asinza munyeenye n'ebirala, era tekisaanidde kumuntu Alina amagezi kusinza okujjako omulezi webitonde omujjuvu mubitendo bye, ayinza atya okusinz ekitonde ekimwenkana oba kyasingako! Asanidde okusinzibwa tekisoboka kuba nga muntu oba muti oba kisolo!
Amadiini gonna abantu gebasinzaamu olwaleero- nga ojjeeko ey'Obusiraamu- Allah siwakuzikkiriza mazima go gatandikibwaawo Bantu oba nga madiini gaali g'aKatonda oluvannyuma
Ne mubikola by'obusiraamu mulimu okukkiriza ababaka bonna Allah beuatuma nobubonero nebyamagero, era nabatuma okukowoola eri okumusinza yekka awatali kumugattako kirala kyonna,Era asembayo mubabaka ye Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, Allah yamutuma ne ssemateeka ow'abwa Katonda asembayo era nga asangula semateeka w'ababaka eyakulembera, era namuwagira n'obubonero obunene, nga nakasinga obunene ye Qur'an eyekitiibwa, ebigambo bya Allah omulezi w'ebitonde, nga kyekitabo ekikira ebitabo byonna ebyassibwa Ku Bantu, nga kyamagero nga kyo kyennyini, n'ebigambyo byakyo n'ensengeka yako, n'amateeka gakyo, mukkyo Mulimu okulungamizibwa eri amazima agatuusa omuntu kukwesiima kunsi nekunkomerero, era kyakka mulurimi oluwarabu.
Era waliwo obujulizi bungi kuludda olwa magezi NE sayanasi obukakasa awatali kubusabuusa nti mazima Qur'an bigambo bya Allah eyayawukama era omugulumivu era nti tekisoboka kuba nga bigambo bya muntu.
Era mubikolo by'obusiraamu mulimu okukkiriza bamalayika, n'okukkiriza olunaku lw'ekomerero, olwo abantu lwebagenda okuzuukira okuva muntaana zaabwe era n'okusasulwa emirimi gyabwe, yenna akola obulungi nga mukkiriza alifuna ebyengera ebyoluberera mu Jana, ate oyo akafiwala nakola
Eddini y'obusiraamu nkola ebuna eyobulamu, ekwatagana n'obutonde namagezi, era nga ekkirizibwa emyoyo emiramu, katonda owekitiibwa yagiteerawo ebitonde bye,era Ddini ejjudde ebirungi n'essanyu eri abantu bonna munsi ne kunkomerero nga tesosola mumawanga oba langi, abantu bonna muyo benkanankana, okusukkuluma kubaawo mukukola mirimu mirungi.
n'ebimu ku Allah byakakasa mu Qur'an eyekitiibwa mulimu okukkiriza nti Allah yemulezi era asaanidde okusinzibwa, n'obusiraamu ye ddini eyamazima ne Nabbi Muhammad mubaka, era kyatteeka okuyingira obusiraamu era omuntu teyaweebwa mukisa kulonda
Ddini etali eyo era kulunaku lwenkomerero waliyo okubalwa n'okusasulwa nga oyo yenna omukkiriza mumazima wakufuna obuwanguzi n'okwesiima okunene, ate omukafiiri wakufuna okufafaaganirwa okweyolefu
Obusiraamu kwe kwewaayo eri Allah, Omutonzi era Omulabirizi w’ebitonde byonna, n'okumugondera mu kumwagala n'okumussaamu ekitiibwa, era omusingi gw'obusiramu kwe kukkiriza Allah, era nti ye mutonzi; ate buli kitali yye kitonde, era nti yasaanidde okusinzibwa yekka nga tewali kimwegattako, tewali kisinzibwa mu butuufu [bwa kusinzibwa] okuggyako yye, alina amannya amalungi, n'ebitendo ebyawaggulu, era ye mutuukirivu awatali bukendeevu, tazaala era teyazaalibwa, era talina kimwenkana yadde ekimufaanana, era talabikira mu kintu kyonna mu bitonde bye. Era obusiraamu y'eddiini ya Allah owa waggulu,…
Buli kintu kyonna kiraga okubeerawo kw'Omutonzi Ani eyatonda eggulu n'ensi n'ebitonde ebinene ebibirimu byotasobola kumanya n'omalayo? Ani eyakola enteekateeka eno enzijuvu era nga ntukirivu mu ggulu ne ku nsi? Ani eyatonda omuntu era namuwa okuwulira n'okulaba n'amagezi era n'amufuula asobola okufuna okumanya n'okutegeera ensonga? Onnyonnyola otya enkola eno entuufu munkola yomubiri gwo era n'enkola yemibiri gy'ebitonde ebiramu ? Era ani yagitandikawo? Butegekeddwa butya era bunywevu butya obutonde buno obunene n'amateeka gaabwo agabulung'amya ddala okumala emyaka n'emyaka ?