الإسلام - نبذة موجزة عن الإسلام (مشتملة على الأدلة)
Obusiraamu Kitabo kifunze ekikwatagana ku busiraamu nga bwebwajja mu Kkulaani ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi (okusaasira n’emirembe bibeere ku yye) Kitabo kikulu kirimu okunnyonyola okufunze ku busiraamu, kiraga ebikolo byabwo ebikulu n’ensomesa zabwo n’ebirungi byabwo, nga bigyibwa mu nsibuko zabwo ez’ekikolo, era nga nazo ye Kkulaani ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi, era ekitabo kino kyabantu bonna abakulu mu basiraamu n’abatali basiraamu mu nnimi zaabwe mu kiseera kyonna era mu buli kifo kyonna mu buli ngeri n’embeera ez’enjawulo. (Kkopi erimu obujulizi okuva mu Kkulaani ey'ekitiibwa…
These files are generated automatically from the book's text; their layout may differ from the printed edition.
Obusiraamu
Kitabo kifunze ekikwatagana ku busiraamu nga bwebwajja mu Kkulaani ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi (okusaasira n’emirembe bibeere ku yye)
Kitabo kikulu kirimu okunnyonyola okufunze ku busiraamu, kiraga ebikolo byabwo ebikulu n’ensomesa zabwo n’ebirungi byabwo, nga bigyibwa mu nsibuko zabwo ez’ekikolo, era nga nazo ye Kkulaani ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi, era ekitabo kino kyabantu bonna abakulu mu basiraamu n’abatali basiraamu mu nnimi zaabwe mu kiseera kyonna era mu buli kifo kyonna mu buli ngeri n’embeera ez’enjawulo.
(Kkopi erimu obujulizi okuva mu Kkulaani ey'ekitiibwa n'Enjigiriza za Nnabbi)
1- Obusiraamu bweebubaka bwa Allah eri abantu bonna, era bwe bubaka bw'obwakatonda obwolubeerera obufundikira obubaka obuva ewa Allah:
Obusiraamu bweebubaka bwa Allah eri abantu bonna, Yagamba Allah: {Era tetwakutuma okugyako nga oli (mubaka) awa amawulire ag'essanyu (eri abakkiriza) era omutiisa (eri abatakkiriza) naye abantu abasinga obungi tebamanyi.} [Surat Saba'a: 28]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Gamba (Ggwe Muhammadi) nti: Abange mmwe abantu! Mazima nze ndi mubaka wa Katonda ntumiddwa gye muli mwenna} [Suratul A'araaf: 158]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abantu,Mazima abajjidde Omubaka n'Amazima okuva eri Omulezi wammwe, kale mukkirize, kye kirungi gyemuli, naye bwe munaaba nga muwakanyizza, mazima ddala ebiri mu ggulu ne mu nsi bya Allah, bulijjo Allah mumanyi nnyo agoba nsonga.} [Surat Nisaa:170].
Obusiraamu bwe bubaka bw'obwa-Katonda obwolubeerera era bwebufundikira obubaka bwonna obw'obwa-Katonda, Allah owa waggulu yagamba: {Muhammad tabangako kitaawe w'omu ku basajja mu mmwe wabula (yye) Mubaka wa Allah, era ye w'enkomerero mu bannabbi. Era bulijjo Allah amanyidde ddala ebifa ku buli kintu.} [Suratul Ahzaab:40].
2- Era Obusiramu ssi ddiini eyeyawulidde ekikula oba ekibinja ky'Abantu, wabula yyo ddiini ya Allah ey’abantu bonna:
Era Obusiraamu ssi ddiini eyeyawulidde ekikula oba ekibinja, wabula yyo ddiini ya Allah ey’abantu bonna. Era ekiragiro ekisooka mu Kkulaani ey’ekitiibwa kye kigambo kya [Allah] owa waggulu: {Abange (mmwe) abantu musinze omulezi wammwe eyabatonda n'atonda n'abo abaabakulembera mulyoke mumutye mu ngeri eyannamaddala.} [Suratul Baqara: 21] Era Allah owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abantu! Mutye Mukama wammwe Oyo eyabatonda ng'abaggya mu Mwoyo ogumu (Jjajjammwe Adamu) N'atonda nga Aggya mu ye Mukyala we (Haawa) N'asaasaanya nga Aggya mu bombiriri abasajja nga banji n'abakazi.} [Surat Nisaa:1]. Hadith nga eggyibwa ku mutabani wa Umar Allah asiime ku bombiriri, nti mazima omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yabuulirira abantu ku lunaku lw'okununula Makka n'agamba: «Abange mwe abantu mazima Allah yabaggyako okwekuluntaza kw'ekiseera ky'obutamanya n'okwenyumya olwa bataata [amakulu: ebika] mu kiseera ekyo, nabwekityo abantu baamirundi ebiri: omulungi atya Allah ow'ekitiibwa mu maaso ga Allah, n'omwononefu omunyomoofu mu maaso ga Allah, era abantu baana ba Adamu ate Adamu yava mu ttaka, Allah yagamba: {Abange mmwe abantu! Ddala Ffe Twabatonda nga Tubaggya mu musajja omu (oyo yekka Adamu) n'omukazi (era bw'atyo Haawa), ne tubafuula okuba amawanga n'ebika mulyoke mumanyagane musobole okuyambagana (sso ssi okunyoomagana n'okuneneŋŋana). Mazima abasinga ekitiibwa mu maaso ga Allah y'abasinga okutya Allah (ng'alongoosa ebikolwa bye).Mazima Allah Amanyi, Alaba (ebyama tewali kimwekweka).} [Surat al-Hujraat: 13] Yayogerwa Tirimith (3270). Era tojja kusanga mu biragiro bya Kkulaani ey'ekitiibwa oba ebiragiro by'omubaka ow'ekitiibwa okusaasira n'emirembe bibeere ku yye tteeka nga lyeyawulidde ekibinja kyabantu olw'omusaayi gwaabwe oba egwanga lyaabwe oba ekikula kyabwe.
3- Obusiraamu bweebubaka obw'obwa-Katonda obwajja okujjuuliriza obubaka bwaabannabbi n’ababaka abaasooka okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo, eri ebibinja byabwe.
Obusiraamu bweebubaka obw'obwa-Katonda obwajja okujjuuliriza obubaka bwaabannabbi n’ababaka abaasooka okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo, eri ebibinja by’abantu baabwe, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima ffe twakuwa ggwe (Nabbi Muhammad) obubaka nga bwetwawa Nuhu obubaka, ne banabbi bangi oluvanyumalwe, era twawa Ibrahim obubaka ne Ismail ne Ishaka ne Yakubu ne bazzukulu ba Yakubu, ne Isa ne Ayub ne Yunus ne Haruna ne Sulaiman, ne Dauda netumuwa Zaburi.} [Surat Nisaa: 163]. Era eddiini eyo Allah gye yassa ku mubaka Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, ye ddiini Allah gyeyateerwo ba nnabbi abaakulembera era n'agibalaamira, Allah owa waggulu yagamba: {Yabalaalikako mu ddiini ebyo bye yalaamira Nuuhu n'ebyo bye twassa ku ggwe n'ebyo byetwalamira Ibrahim ne Musa ne Isa ebigamba nti muyimirizeewo eddiini temujawukanangamu kizitoye kubagatta ku Katonda ebintu ebirala ekyo kye mubakoowoola okujja gye kiri, Allah alondobamu oyo gwaba ayagadde nadda gyali, era aluŋŋamya okudda gyali oyo eyeemenya.} [Surat Al-shuura: 13] Era ekyo Allah kyeyassa ku mubaka Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, kye kikakasa ebyo ebyakikulembera mu bitabo byobwa-Katonda nga Tawraati ne Injil nga tebinnakyusibwa, Allah owa waggulu yagamba: {N'obubaka obwo bwe twakutumira mu kitabo (Kur’ani) go ge mazima nga gakakasa ebyo ebyagakulembera. Mazima Katonda amanyidde ddala eby'omunda era mulabi nnyo.} [Surat Faatwir: 31].
4- Ba nnabbi emirembe gibeere ku bbo, eddiini yaabwe eri emu wabula Ssemateeka waabwe wanjawulo:
Eddiini yaaba nnabbi emirembe gibeere ku bbo eri emu, naye Ssemateeka waabwe wa njawulo, Allah owa waggulu yagamba: {Era twassa gyoli (Ggwe Muhammad) ekitabo, mu bulambulukufu nga kikakasa e bitabo byonna e byakikulembera era nga kye kibisukkulumye. Kale lamula wakati waabwe nga okozesa ebyo Katonda byeyassa togezaako okugoberera okwagala kwaabwe obe nga oleka amazima agakujjidde, buli bamu mu mmwe twabawa amateeka n'enkola singa Allah yayagala yaalibafudde ekibiina kimu naye yayagala okubakema olwebyo byeyabawa, kale nno muvuganye mu kukola ebirungi, anti eri Katonda yeeri obuddo bwa mmwe mwenna, gyalibategeereza ebyo byemwayawukanamu.} [Al-Maa'ida: 48]. Yagamba Omubaka we [Allah] okusaasira n'emirembe bibeere kuyye: «Nze asinga okuba ow'okumpi eri [nnabbi] Isa mutabani wa Mariam ku nsi ne ku nkomerero, era ba nnabbi baaluganda bava mu taata omu, ba maama baabwe ba njawulo[amakulu nti ssemateeka waabwe wanjawulo] naye nga eddiini yaabwe yeemu» Yayogerwa Bukhari (3443).
5- Obusiraamu bukoowoola – nga ba nnabbi bonna bwebaakoowoola: Nuuhu ne Ibrahim ne Musa ne Sulayimani ne Dawuda ne Isa emirembe gibeere ku bbo-, eri okukkiriza nti omulezi ye Allah omutonzi, omugabirizi, awa obulamu, aggyako obulamu, nnyini bwaakabaka, era yye y'atambuza ensonga, era y'owekisa omusaasizi.
Obusiraamu bukoowoola–nga ba nnabbi bonna bwebaakoowoola: Nuuhu ne Ibrahim ne Musa ne Sulayimani ne Dawuda ne Isa emirembe gibeere ku bbo-, eri okukkiriza nti omulezi ye Allah omutonzi, omugabirizi, awa obulamu, aggyako obulamu, nnyini bwaakabaka, era yye y'atambuza ensonga, era y'owekisa omusaasizi, Allah owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abantu mujjukire ekyengera kya Allah kye yabawa, abaffe waliyo omutonzi atali Allah abagabirira okuva waggulu ne mu nsi, tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, olwo nno ate muwugulwa mutya!.} [Surat Faatwir:3] Era Allah owa waggulu yagamba: {Bagambe (Ggwe Muhammad) nti ani abagabirira okuva mu ggulu ne mu nsi oba ani afuga okuwulira n'okulaba era ani aggya ekiramu mu kifu era n'aggya ekifu mu kiramu era ani atambuza buli kintu? Ddala bajja kukugamba nti Allah, bagambe nti abaffe temutya!.} [Surat Yuunus: 31]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Abaffe ani oyo atandikawo e bitonde ate nga agenda kubizzaawo (oluvanyuma lw'okufa kwabyo) era ani abagabirira (mmwe) okuva waggulu ne ku nsi (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! bagambe nti muleete obujulizi bwa mmwe bwe muba nga muli ba mazima.} [Surat Al-Naml: 64].
Era ba nnabbi bonna n’ababaka emirembe gibeere ku bbo, baatumwa kukoowola kudda eri kusinza Allah yekka. Allah owa waggulu yagamba: {Mazima buli bantu twabatumira omubaka (nga agamba) nti musinze Allah mwewale ebisinzibwa ebirala byonna, mu bo mulimu Allah be yaluŋŋamya, nga era mu bo mulimu abo abaakakatibwako okubula, kale mutambule mu nsi, mulabe enkomerero y'abalimbisa nga bwe yali.} [Surat al-Nahli: 36] Era Allah owa waggulu yagamba: {Era tetwatuma oluberyeberyelwo Mubaka yenna okugyako nga tumutumira obubaka nti tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze (Allah) kale munsinze.} [Surat al-Anbiyaa: 25]. Bwatyo Allah yategeeza ku nnabbi Nuuh emirembe gibeere ku yye, nti mazima yye yagamba: {Abange bantu bange musinze Allah yekka, tewali kirala kyonna kisaana kusinzibwa mazima nze mbatiisa e bibonerezo by'olunaku oluzito.} [Surat al-A'araaf: 59]. era ow'omukwano [gwa Allah] Ibrahim emirembe gibeere ku yye -nga Allah bweyategeeza ku yye- ddala yagamba: {Era (babuulire ekyafaayo kya) Ibrahim bwe yagamba abantu be nti musinze Katonda era mumutye ekyo kye kirungi gye muli bwe muba nga mumanyi.} [Surat al-Ankabuut: 16]. Era ne [nnabbi] Swaleh emirembe gibeere ku yye -nga Allah bweyategeeza ku yye: {Era aba Thamudu twabatumira muganda waabwe Swaleh naagamba nti abange bantu bange musinze Allah yekka temurinaayo kirala kyemulina kusinza ekitali yye, obujulizi bubajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe (eno) ŋamiya ya Katonda, nga kya magero gye muli, kale nno mugireke erye mu nsi ya Katonda wonna weeyagala, temugituusaako akabi nemutuukwaako e bibonerezo e biruma ennyo.} [Surat al-A'araaf: 73]. Era ne [nnabbi] Shuaibu emirembe gibeere ku yye yagamba -nga Allah bweyategeeza ku yye-: {Ate abe Madiyana twabatumira muganda waabwe Shuaibu, naagamba nti abange bantu bange musinze Allah, ng’oggyeko yye tewali kirala kyemusaanidde kusinza, obunnyonnyofu okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe bubajjidde, kale nno mutuukirize ebirengwa n’ebipimwa, temugaananga okutuukiririza abantu ebintu byaabwe, era temwonoonanga mu nsi oluvanyuma lwokugikola nga nungi, ekyo nno mmwe kye kirungi gye muli bwe muba nga muli bakkiriza.} [Surat al-A'araaf: 85].
Ne Allah lwe yasooka okwogera ne [nnabbi] Musa emirembe gibeere ku yye, yamugamba oyo eyayawukana: {Era mazima nze nkulonze okubeera (omubaka) wange, kale nno wuliriza obubaka obukussibwako. (13) {Mazima nze, nze Allah, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako nze, kale nno nsinza, oyimirizeewo e sswala obeere nga onjogerako mu yo. (14) } [Surat Twaha: 13-14]. Era Allah n'agamba nga ategeeza ku [nnabbi] Musa emirembe gibeere ku yye, nti mazima yye (yekingiriza nga era) yeewogoma eri Allah n'agamba: { (Musa naagamba nti) mazima nze nsaba Mukama omulabirizi wange era omulabirizi wamwe amponye (obubi) bwa buli mwekuza atakkiriza lunaku lwa kubalibwa.} [Surat ghaafir: 27]. Era Allah n'agamba nga ku Masiya [nnabbi Isa] emirembe gibeere ku yye nti mazima yagamba: {Mazima Allah ye Mukama wange era Mukama wa mmwe kale mumusinze. Okukola ekyo lyekkubo eggolokofu.} Surat Al-Imraan 51 Era Allah ow'ekitiibwa ow'amaanyi yagamba nga ategeeza - nate- ku Masiya [nnabbi Isa] emirembe gibeere ku yye nti mazima yagamba: {Abange Abaana ba Israeli! Musinze Allah, Mukama wange era Mukama wammwe. Mazima omuntu yenna agatta Allah n'ekintu ekirala, ddala mazima yaziyiza Allah ku yye okuyingira Ejjana. N'obuddo bwe, muliro, Era tebalina abalyazaamaanyi mutaasa.} [Surat al-Maa'ida: 72].
Sso ate ne mu Tawraati ne Injil mwajjiramu okukakasa okusinza Allah yekka, nabwekityo mu Ekyamateeka Olwokubiri(6:4) mwajjiramu ekigambo kya [nnabbi] Musa emirembe gibeere ku yye nti: (Wulira, ggwe Isiraeri; Mukama Katonda waffe ali omu) Era okukakasa okwawula Allah ne kujja mu Makko(12:29), [nnabbi] Isa emirembe gibeere ku yye bwe yagamba: ( [Etteeka] ery'olubereberye lye lino nti, ‘Wulira Isiraeri; Mukama Katonda waffe, Mukama ye omu)
Era Allah ow'amaanyi era ow'ekitiibwa yannyonnyola nti mazima ba nnabbi bonna baatumwa n'ekigendererwa kino ekikulu, era nga nakyo kwe kukoowoola okudda eri okwawula Allah, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima buli bantu twabatumira omubaka (nga agamba) nti musinze Allah mwewale ebisinzibwa ebirala byonna, mu bo mulimu Allah be yaluŋŋamya, nga era mu bo mulimu abo abaakakatibwako okubula, kale mutambule mu nsi, mulabe enkomerero y'abalimbisa nga bwe yali.} [Surat al-Nahli: 36] Era Allah n'agamba {Bagambe nti mulaba ebyo bye musaba nemuleka Allah, kale mundage biki bye baatonda ku nsi oba balina omugabo (gw'okutonda) ebyo ebiri mu ggulu omusanvu (bwe kiba bwe kityo) kale mundeetere ekitabo ekyaliwo oluberyeberye lwa kino (Kur’ani), oba ebisigala bya yirimu yonna bwe muba nga mwogera mazima!.} [Surat al-ahqaaf: 4] Sheikh Al-si'idi Allah amusaasire yagamba: (Kati nekimanyibwa nti mazima okukaayana kw'abagatta ku Allah mu kugatta kwabwe ku Allah tebeesigama mukyo ku bukakafu yadde obujulizi, wabula beesigama ku ndowooza ez'obulimba, n'endaba ennafu, n'entegeera enkyamu; era ekikutegeeza obukyamu bwazo Kwekulondoola embeera zaabwe n'okugoberera enjigiriza zaabwe n'emirimu gyabwe, n'okutunula mu mbeera y'abo abamaze obuwangaazi bwabwe mu kubisinza, birina (ebyo byebasinza ebitali Allah) kyebibagasizza mu nsi oba ku nkomerero?) Taysiir al-Kariim al-Mannaan: 779.
6- Allah eyayawukana era owa waggulu yemutonzi era y’agwaana okusinzibwa yekka, era ne watabaawo kisinzibwa naye kirala kyonna.
Allah y’agwaana okusinzibwa yekka, era ne watabaawo kisinzibwa naye kirala kyonna, Allah owa waggulu yagamba: {Abange (mmwe) abantu musinze omulezi wa mmwe eyabatonda n'atonda n'abo abaabakulembera mulyoke mumutye mu ngeri eyannamaddala. (21) {(Allah) y'oyo eyabakolera e nsi nga kyaliiro n'abakolera e ggulu nga kasolya, era n'assa amazzi (e nkuba) okuva waggulu, n'ameza nago e bibala bibeere eby'okulya bya mmwe. Kale nno Katonda temumuteekangako e bintu e birala, ate nga mumanyi (nti ye yekka y'ateekwa okusinzibwa) (22)} [Surat Al-Baqara: 21-22]. Kale oyo eyatutonda era n'atonda emirembe egyatukulembera era n'atufuulira ensi ekyaliriro, era n'atussiza okuva mu ggulu amazzi, bwatyo n'atuggyira nayo okuva mu bibala ekitulabirira; yye yasaana okusinzibwa yekka era [Allah] owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abantu mujjukire ekyengera kya Allah kye yabawa, abaffe waliyo omutonzi atali Allah abagabirira okuva waggulu ne mu nsi, tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu bwakusinzibwa okugyako yye, olwo nno ate muwugulwa mutya!.} [Surat Faatwir:3] Kale oyo atonda n'agabirira y'asaana okusinzibwa yekka era Allah owa waggulu yagamba: {Oyo nno ye Allah omulabirizi wa mmwe, tewali kintu kyonna kisinzibwa mu butuufu okugyako yye yekka, omutonzi wa buli kintu, kale nno gwe muba musinza, era bulijjo y’alina obuyinza ku buli kintu.} [Surat al-An'aam:102].
Era buli ekisinzibwa ekitali Allah tekisaana kusinzibwa, kubanga tekirina buyinza yadde ku kantu akatono enyo mu magulu yadde mu nsi, era tekirina mukago na Allah mu kintu kyonna yadde okumuyambako yadde okumukwatizaako, kati kibeera kitya nga kisinzibwa wamu ne Allah oba kimugattibwako kitya! Allah owa waggulu yagamba: {Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) musabe abo bemugamba nemuva ku Allah, (wabula mukimanye nti) tebafuga kantu kenkana kanyinkuuli mu ggulu omusanvu wadde mu nsi, era tebalina mugabo mu byombi era (Allah) talina muyambi yenna ava mu bbo wadde ava mu balala.} [Surat Saba'a:22].
Era Allah eyayawukana era owa waggulu ye yatonda ebitonde bino n'abitandikawo oluvannyuma lw'okuba nga tebyaliwo, era okubaawo kwabyo kwekutegeeza okubeerawo kwe [Allah] n'obulezi bwe n'okusinzibwa kwe, Allah owa waggulu yagamba: {Era mu bubonero bwe (obulaga obuyinza bwe), kwe kuba nti yabatonda nga abaggya mu ttaka oluvanyuma mmwe mwabeera abantu abasaasaanira e nsi.(20) Era mu bubonerobwe kwe kuba nti yabatondera be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe, mube nga musobola okubeera nabo, era yassa wakati wa mmwe omukwano n'okusaasira , mazima ebyo mulimu obubonero eri abantu abafumiitiriza.(21) Era mu bubonerobwe : okutonda eggulu omusanvu n'ensi n'okwawukana kw'ennimi zammwe n'amabala (langi) gammwe mazima ebyo mulimu obubonero eri abamanyi.(22) Era mu bubonerobwe : okwebaka kwa mmwe ekiro n'emisana n'okunoonya kwa mmwe ebigabwabye mazima ebyo birimu obubonero eri abantu abawulira.(23) Era mu bubonerobwe : kwe kuba nti abalaga olumamaya ku lw'okutya (okkubwa laddu) n'okululunkanira (okutonnya kw'enkuba) era assa okuva waggulu amazzi (g'enkuba) n'alamusa nago ensi oluvanyuma lw'okufa kwayo. Mazima ebyo mulimu mw'ekyo obubonero (obulaga obuyinza bwa katonda) eri ekibiina ekitegeera.(24) Era mu bubonerobwe : okuyimirirawo kw'eggulu n'ensi ku lw'ekiragiro kye, oluvanyuma bwalibakoowoola olukoowoola nti (muve) mu ttaka (ntaaana zammwe), oligenda okulaba nga mufulumayo(25) Era bibye byonna ebiri mu magulu (omusanvu) ne mu nsi byonna bigondera yye (yekka).(26) Era Ye (Allah) Y'oyo atandikawo (okutonda) ebitonde, bw'alimala n'abizzaawo (ku Kuzuukira oluvannyuma lw'okubiggyawo); n'ekyo (eky'okubizzaawo) kyangu ku Ye.} [Surat al-Rruum: 20-27].
Era Namruud yawakanya okubaawo kw'omulezi we, [nnabbi] Ibrahim emirembe gibeere ku yye n'amugamba nga Allah bweyategeeza kuye: {Tolaba oyo eyawakana ne Ibrahiimu mu Bw'omu bwa Mukama we, olw'okubanga Allah Yamuwa Obufuzi? Mu kiseera Ibrahiimu bwe yagamba nti: Omulezi wange Y'oyo Awa obulamu era N'atta. (Kabaka) n'agamba nti: Nze mpa obulamu era nze nzita. Ibrahiimu n'agamba nti: Mazima Allah Aggya enjuba e Buvanjuba: Kale ggwe giggye e Bugwanjuba (bw'obanga oli Katonda nga bwe weeyita). N'abuguyala oyo eyawakanya okubaawo kwa Allah (nga yeesukkulumya). Ne Allah Talunnngamya kibiina kya balyazaamaanyi (abawakanya amazima).} [Surat Al-Baqara: 258]. Era nabwekityo [nnabbi] Ibrahim emirembe gibeere ku yye yajuliza eri abantu be nti mazima Allah yye y'amuluŋŋamiza n'amuliisa n'amunywesa era bwalwala amuwonya, era yye y'amutta era y'amuwa obulamu, era n'agamba nga Allah bweyategeeza kuye: {Oyo eyantonda, yye y'annuŋŋamya.(78) Era yye yooyo andiisa nannyweesa.(79) Era bwe ndwala yye y'amponya.(80) Era y'oyo anzita ate nampa obulamu.(81)} [Surat al-Shu'araa: 78-81] Era Allah n'agamba nga ategeeza ku [nnabbi] Musa emirembe gibeere ku yye nti mazima yye yajuliza ffalaawo ng'amugamba nti: mazima omulezi we: {(Musa) n'agamba nti: Mukama waffe Y'oyo eyawa buli kintu obutonde bwakyo, bwe yamala n'akirunŋŋamya (eri ebyo ebikigasa).} [Surat Twaha: 50]
Era Allah yagondeza omuntu byonna ebiri mu magulu n'ensi era n'amwetoolooza ebyengera; abeere nga asinza Allah era aleme kumuwakanya, Allah owa waggulu yagamba: {Abaffe temulaba nti mazima Allah yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era n'abawa mu bungi ebyengerabye eby'okungulu n'ebyomunda, naye mu bantu mulimu abawalaaza empaka ku bikwata ku Katonda awatali kusinziira ku kumanya kwonna wadde obuluŋŋamu wadde e kitabo ekibamulisiza e kkubo.} [Surat Luqman: 20]. Era nga Allah bwe yagondeza omuntu buli ekiri mu magulu n'ensi, era bw'atyo yamutonda n'amuteekateeka na buli kye yeetaaga nga okuwulira n'okulaba n'omutima, abeere nga ayiga okumanya okumugasa era okumulagirira eri Mukamaawe era omutonzi we, Allah owa waggulu yagamba: {Era Katonda yabagya mu mbuto za bannyamwe nga temulina kyemumanyi, naabawa amatu, n'amaaso, n'emitima mube nga mwebaza.} [Surat al-Nahli: 78].
Kale Allah eyayawukana era owa waggulu yatonda ebitonde bino byonna era n'atonda omuntu era n'amuteekateeka na buli kye yeetaaga mu biyungo n'amaanyi oluvannyuma n'amwongera buli kimuyamba okuyimirizaawo okusinza Allah n'okuzimba ensi, oluvannyuma n'amugondeza buli kiri mu magulu n'ensi.
Era Allah yajuliza n'okutonda kwe ebitonde ebyo eby'amaanyi obulezi bwe, obuteekwa obuteesi okutegeeza okusinzibwa kwe, n'agamba eyayawukana era owa waggulu: {Bagambe (Ggwe Muhammad) nti ani abagabirira okuva mu ggulu ne mu nsi oba ani afuga okuwulira n'okulaba era ani aggya ekiramu mu kifu era n'aggya ekifu mu kiramu era ani atambuza buli kintu? Ddala bajja kugamba nti Katonda, bagambe nti abaffe temutya!.} [Surat Yuunus: 31]. Era n'agamba Ow'amazima eyayawukana: {Bagambe nti mulaba ebyo bye musaba nemuleka Katonda, kale mundage biki bye baatonda ku nsi oba balina omugabo (gw'okutonda) ebyo ebiri mu ggulu omusanvu (bwe kiba bwe kityo) kale mundeetere ekitabo ekyaliwo oluberyeberye lwa kino (Kur’ani), oba ebisigala bya yirimu yonna bwe muba nga mwogera mazima!.} [Surat al-Ahqaaf: 4]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Yatonda eggulu awatali mpagi ze mulaba (ziriwaniridde), n'ateeka mu nsi ensozi ennywevu, (ensi) ereme okuyuuga nammwe; n'asaasaanya mu yo buli kiramu ekitambula. Ne tussa nga tuggya waggulu amazzi (enkuba) ne tumeza mu yo (ensi) emitindo ebiri ebiri mu buli ngeri (y'ebimera) eby'omugaso omuyitirivu. Okwo kwe kutonda kwa Allah. Kale mundage bye biriwa bye batonda abo abatali Ye (mw'abo be muyita bakatonda): Wabula abalyazaamaanyi (abatakkiriza Allah nga bw'Ali Omu) bali mu kubula okwenkukunala.} [Surat Luqman: 10-11]. Era n'agamba Ow'amazima eyayawukana: {Oba baatondwa awatali kintu (nti tewali Katonda yabatonda!) oba bo be batonda (ebitonde byonna nga nabo mwebali).(35) Oba be baatonda eggulu omusanvu ne nsi, nedda wabula bo tebakkiriza.(36) Oba be balina amawanika ga Mukama omulabirizi wo, oba bo be balina obuyinza (ku buli kintu).(37)} [Surat al-Twuur: 35-37]. Sheikh al-Sa'adiy yagamba: (era kino kubawaako bujulizi (bubakoona) ku nsonga gyebatalinaako kyakkola okujjako okwewaayo eri amazima oba okwawukana ku kitegeeza amagezi n'eddiini) Tafsiir Ibn Sa'adiy: 816.
7- Allah ye mutonzi wa buli kiriwo mu byetulaba ne byetutalaba, era buli ekitali yye kitonde mu bitonde bye, era Allah yatonda amagulu n’ensi mu nnaku mukaaga.
Allah eyayawukana ye mutonzi wa buli kiriwo mu byetulaba ne byetutalaba, era buli ekitali yye kitonde mu bitonde bye, yagamba Allah owa waggulu: {Gamba (Ggwe Muhammad) nti ani Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi bagambe nti: Allah ate bagambe nti ate olwo mweteerawo mutya abakuumi, yye ne mumuleka, so nga ekirungi n'ekibi ebibatuukako tebiri mu mikono gya bwe, bagambe nti abaffe muzibe n'omuntu alaba benkana oba ebizikiza n'ekitangaala byenkana oba Allah baamussaako ababeezi nga baatonda nga okutondakwe nekiba nti okutonda (okw'emirundi ebiri) kwe kwabatabula, bagambe nti Katonda ye Mutonzi wa buli kintu, era yye y'oyo ali omu (obwannamunigina) nnantalemwa.} [Surat al-Ra'ad: 16]. Era Allah owa waggulu yagamba: {era atonda ebyo bye mutamanyi} [Surat al-Nahli: 8]
Era Allah Yatonda amagulu n'ensi mu nnaku mukaaga, Allah owa waggulu yagamba: {Yye yooyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi mu nnaku omukaaga, oluvanyuma yatebenkera ku Arush, amanyi ebikka ku nsi nebigifuluma n'ebyo ebikka okuva mu ggulu nebiryambukamu, era yye aba wamu na mmwe wonna wemuba, era Katonda alabira ddala ebyo bye mukola.} [Surat al-Hadiid: 4]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Era mazima twatonda eggulu omusanvu ne nsi neebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga era tetwatukwako kukoowa kwonna.} [Surat Qaaf: 38].
8- Era Allah eyayawukana era owa waggulu talina kimwegattako mu bufuzi bwe oba okutonda kwe oba okutambuza kwe ensonga oba okusinzibwa kwe.
Era Allah eyayawukana era owa waggulu ye nnyini bufuzi talina kimwegattako mu kutonda kwe oba mu bufuzi bwe oba mu kutambuzaakwe ensonga, Allah owa waggulu yagamba: {Bagambe nti mulaba ebyo bye musaba nemuleka Allah, kale mundage biki bye baatonda ku nsi oba balina omugabo (gw'okutonda) ebyo ebiri mu ggulu omusanvu (bwe kiba bwe kityo) kale mundeetere ekitabo ekyaliwo oluberyeberye lwa kino (Kur’ani), oba ebisigala bya yirimu yonna bwe muba nga mwogera mazima!.} [Surat al-Ahqaaf: 4]. Sheikh Al-sa'ady Allah amusaasire yagamba: (amakulu: {Gamba} abo abaagatta ku Allah ebibumbe n'ebimufaanaanyirizibwa ebitalina busobozi ku migaso oba obulabe yadde okufa oba obulamu oba okuzuukira, bagambe -mukunnyonnyola okulemererwa kw'ebibumbe byabwe, era nti tebigwana kusinzibwa yadde: {Mundage ebyo bye byatonda mu nsi, oba birina omugabo (gwonna gwe beegatta ne Katonda) mu ggulu?} Balina emunyeenye z'amagulu n'ensi zebaatonda zonna? Balina ensozi zebaatonda? Balina emigga gyebaakulukusa? Balina ebisolo byebaatekawo? Balina emiti gyebaameza? Balina okuyamba kwonna kwe baakola mu kutonda ekintu kyonna kw'ebyo? Tewali nakimu kw'ebyo, nga beewaako obujulizi bennyini nga tonnayogera nakubalala, kale buno bujulizi obw'amagezi obw'esimba nti mazima buli ekitali Allah okusinzibwa kwakyo kukyamu.
Oluvannyuma n'ayogera obutabaawo bw'obujulizi obuwandiike n'agamba: {Mundeetere Ekitabo ekyakka oluberyeberye lwa kino} ekitabo nga kikoowoola okudda eri okugatta ku Allah {oba ebyasigalawo byonna mu kumanya kw'abaasooka bye mukyalina} ebyasikirwa okuva ku babaka nga bilagira ekyo. Kimanyiddwa nti mazima tebasobola kuleeta bujulizi ku mubaka n'omu nga bujulira ku nsonga eyo, wabula tuli banywevu era bakakafu nti mazima ababaka bonna baakoowoola kudda eri kwawula mulezi waabwe, era nebaziyiza okumugattako, era kyekisinga obukulu ekibaggyibwako mu kumanya) Tafsiir ibn Sa'adiy: 779.
Era Allah eyayawukana era owa waggulu yennyini bufuzi talina kimwegattako mu bufuzi bwe, Allah owa waggulu yagamba: {(Nabbi Muhammad) gamba nti; Ayi Allah, omufuzi w'obufuzi bwonna, owa obufuzi oyo gw’oba oyagadde era n’obugya kw’oyo gw’oba oyagadde, ositula oyo gw’oba oyagadde n’okakkanya oyo gwoba oyagadde. Obulungi bwonna buli mu mukono gwo mazima ggwe oli muyinza ku buli kintu kyonna.} Surat Al-Imraan 26 Era Allah owa waggulu yagamba ng'annyonnyola nti mazima obufuzi obujjuvu bubwe ku lunaku lw’enkomerero: {Olunaku bo (abantu) bonna lwe balyeyoleka (mu maaso ga Allah) tewali kintu kyonna kyava mu bo kiryekweka Allah, (balibuuzibwa nti) obufuzi bwani olwaleero? (olwo nno nebategezebwa nti) bwa Allah omu yekka Omukasi.} [Surat Ghaafir: 16].
Era Allah eyayawukana era owa waggulu talina kimwegattako mu bufuzi bwe oba okutonda kwe oba okutambuza kwe ensonga oba okusinzibwa kwe, Yagamba Allah owa waggulu: {Era gamba nti ebitendo byonna bya Allah oyo ateeteerawo mwana, era n'atabeera n'amwegattako mu bufuzi bwe, era n'atabeera na mutaasa mu buteesobola (amuwonye okuswala olw'ebyandi mulemye), era mugulumize olugulumiza.} [Surat al-Israa: 111]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Oyo (Allah) bubwe yekka obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi era ateeteerawo mwana era tabeerangakko nga alina amwegattako mu bufuzi bwe era eyatonda buli kintu n'akigera olugera ne kituukirira.} [Surat al-Furqaan: 2]. Kale yye yemufuzi era ebitali yye bifugibwa yye eyayawukana, era yye yemutonzi era ebitali yye bitonde bye era yye y'atambuza ensonga, era abeera bwatyo kiba kya tteeka okumusinza era nga okusinza ekitali yye bukendeevu mu magezi na kumugattako okwonoona ensi n'enkomerero, Allah owa waggulu yagamba: {Era (abayudaaya) baagamba nti; mufuuke bayudaaya oba bakurisitaayo lwemunaaluηηama. Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti; nedda tujja kugoberera ddiini ya Ibrahim (e ddiini entukuvu; eragira okusinza Katonda omu yekka), era (Ibrahim) tabangako mubagatta kintu kirala ku Katonda} [Surat Al-Baqara: 135]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Ani munnaddiini okusinga oyo awaayo ekyenyi kye eri (okusinza) Allah, era nga mulongoosa(mu mirimu gye), era n'agoberera eddiini ya Ibrahim omukkiriza owa nnamaddala?, era mazzima Allah yafuula Ibrahim mukwano gwe owenjawulo.} [Surat al-Nisaa: 125] Era n'annyonnyola Ow'amazima eyayawukana nti mazima yenna agoberera enkola (eddiini) etali ya Ibrahim mukwano gwa Allah emirembe gibeere ku yye, abeera yeebuzizza amagezi, Allah owa waggulu yagamba: {Ani yaalyegombye okuva ku ddiini ya Ibrahim okugyako oyo eyeesiriwaza yekka. Ate nga (Ibrahim) twamuwamwawula mu nsi era mazima ddala ye ku lunaku lw'enkomerero wakubeera mu balongoofu.} [Surat Al-Baqara: 130].
9- Era Allah eyayawukana teyazaala era teyazaalibwa era talina kimwenkana yadde ekimufaanana.
Era Allah eyayawukana teyazaala era teyazaalibwa era talina kimwenkana yadde ekimufaanana. Yagamba ow'amazima eyayawukana era owa waggulu: {Bagambe nti: Allah ali omu yekka bwaggereggere (Talina amufanaana mubwennyini bwe, oba ebitendo bye wadde ebikolwa bye) (1) Allah eyeesigamirwa! (2) Teyazaala era Teyazaalibwa (kubanga buli kyonna ekyazalibwa kya kufa era buli kyonna ekifa kizikirira, Allah si wakufa n’olwekyo si wakuzikirira) (3) Era talina yenkana naye n’omu (4)} [Surat al-Ikhlaasw: 1-4]. Era Allah owa waggulu yagamba: {(Allah) ye (mulabirizi era o) mufuzi w'eggulu omusanvu n'ensi, n'ebyo ebiri wakati wa byombiriri, kale nno musinze ogumiikirize ku kumusinza (bwotokola ekyo) abaffe omanyiiyo omulala amufaanana?.} [Surat Maryam: 65]. Era yagamba Ow'amazima Ow'ekitiibwa: {Omugunji eyagunjaawo eggulu n'ensi, agya mu mmwe bemufumbiriganwa nabo, era yabateerawo mu bisolo ebirundibwa bibiri bibiri (ekisajja n'ekikazi) nga abaaza mu ngeri eyo (olw'okwegatta ekikyala n'ekisajja) tewali kintu (nakimu) kiringa yye, era yye ye muwulizi ennyo omulabi ennyo.} [Surat al-Shuura: 11].
10. Era Allah eyayawukana era owa waggulu teyeeyolekera mu kintu kyonna, era tayambala mubiri gwa kintu kyonna mu bitonde bye.
Era Allah eyayawukana era owa waggulu tabeera mu kintu kyonna era tabeera mu mubiri gwa kintu kyonna mu bitonde bye, era teyeegatta wamu na kintu kyonna; ekyo nno kubanga mazima Allah yye yemutonzi era ekitali yye kitonde era yye yew'okusigalawo era ekitali yye enkomerero yaakyo kuggwawo, era buli kimu kikye era y'akifuga, era nabwekityo Allah tabeera mu kintu kyonna mu bitonde bye, era tewali kyonna mu bitonde bye kibeera mu yye eyayawukana. Era Allah eyayawukana era owa waggulu munene okusinga buli kimu era wamaanyi okusinga buli kimu, Allah owa waggulu yagamba ng'awakanya abaawubwa nti mazima Allah ali mu [yesu] Masiya: {Mazima baakaafuwala abaagamba nti ddala Masiya mutabani wa Mariam ye Allah, gamba (Ggwe Muhammad) ani ayinza okukolawo ekintu kyonna singa Allah aba asazeewo okuzikiriza Masiya mutabani wa Mariam ne maamawe, n’abantu bonna abali ku nsi, obufuzi bweggulu omusanvu ne nsi nabyonna ebiri wakati wa byombi, bwa Allah, atonda kyaba ayagadde, era Allah muyinza wa buli kintu.} [Surat al-Maa'ida: 17]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Obuvanjuba n'obugwanjuba bya Allah, kale yonna gyemuba mwolekedde (nga musaala) eyo yeewaba Allah, mazima Allah mugazi mu ngeri zonna era mumanyi wa buli kimu. (115) Bagamba nti Allah omutonzi yeeteerawo omwana, yayawulwa mu bwa kabaka bwe, nedda Wabula ebyo byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bitonde bye era byonna bigondera yye. (116) Yeyatandikawo eggulu n'ensi. Bw'aba asazeewo ensonga yonna agamba bugambi nti ba ne kiba. (117) } [Surat Al-Baqara: 115-117]. Era Allah owa waggulu yagamba: { (Abatakkiriza) ne bagamba nti: Omusaasizi (Allah) yeeteerawo omwana (88) Mazima (mu kwogera ekyo) muleese ekintu ekibi ennyo. (89) Eggulu omusanvu kumpi (gasemberera) okweyuza olw'ekyo (ekigambo), n'ensi ebula okwatikayatikamu, n'ensozi kumpi kugwa nga zimenyesemenyeseemu (ebitundutundu). (90) Ku lw'ensonga y'okugamba nti Allah Omusaasizi alina omwana; (91) Ate nga tekigwana ku Allah omusaasizi kweteerawo mwana. (92) Tewali kitonde kiri mu ggulu musanvu n'ensi okugyako nga kigenda kujja ew'Omusaasizi(Allah) nga kiri mu ngeri ya buddu. (93) Mazima yabakomekkereza, era naababala olubala. (94) Era bonna bagenda kumujjira olunaku lw'enkomerero kinnoomu. (95) } [Surat Maryam: 88-95]. Era Allah nagamba {Allah yekka, ateekwa okusinzibwa, yooyo omulamu obulamu obwolubeerera nga yeyimirizaawo (era ayimiriddewo ku kubaawo kw'ebitonde), takwatibwa kusumagira wadde otulo, nannyini wa byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, tewali agenda kwetantala kuwolereza (munne) ewa Allah okugyako nga amukkirizza, Allah amanyi ebyo ebiri mumaaso gaabwe n'emabega wabwe ate bo tebasobola kumanya mubujjuvu kintu kyonna mwebyo byamanyi okugyako kyaba ayagadde, entebe ye ngazi okumalayo eggulu ne nsi, so nga ate eggulu ne nsi okubikuuma byombi tekimukaluubirira. Era ye yaasinga okuba owa waggulu, ow'ekitiibwa e kisuffu.} [Surat al-Baqara: 255]. Ow'embeera bwetyo, nga neeyo y'embeera y'ebitonde bye, ayinza atya okubeera mu kimu ku byo? Oba ne yeeteerawo omwana? Oba n'amufuula Katonda munne?
11. Allah eyayawukana era owa waggulu mukwata mpola, omusaasizi eri abaddu be, y’ensonga lwaki yatuma ababaka n’assa n’ebitabo.
Era Allah eyayawukana era owa waggulu yemusaasizi ow'ekisa eri abaddu be, era mu kisaa kye eri abaddu be, kwekuba nti yabatumira ababaka era n'abassiza ebitabo; bibaggye mu bizikiza by'obutakkiriza n'okugatta ku Allah, okudda eri ekitangaala ky’okwawula Allah n'obuluŋŋamu, Allah owa waggulu yagamba: {Ye y'oyo assa ku mudduwe (Muhammad) ebigambo ebinnyonnyofu, alyoke abaggye mu bizikiza (by'obubuze) okubazza eri ekitangaala (ky'obulungamu), era mazima Allah mukwata mpola ku mmwe, musaasizi nnyo.} [Surat al-Hadiid: 9].
Era Allah owa waggulu yagamba: {Tetwakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) okugyako nga oli kya kusaabira eri ebitonde (byonna).} [Surat al-Anbiyaa: 107]. Era Allah n'alagira nnabbi we ategeeze abaddu be nti mazima yye yemusonyiyi ow'ekisa, n'agamba Allah owa waggulu: {Tegeeza (gwe Muhammad) abaddu bange nti nze musonyiyi ennyo omusaasizi.} [Surat al-Hijr: 49]. Era mu biraga ekisa kye n'okusaasira kwe, aggyawo obuzibu n'assa obulungi eri abaddu be, Allah owa waggulu yagamba: {Bwaba nga Allah akutuusizzaako akabi tewali akaggyawo okujjako Yye. Era bwaba nga akwagalizza obulungi, tewali azzaayo birunji bye. Abifunisa oyo gwaba ayagala mu baddu be. Era ye musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.} [Surat Yuunus: 107].
12- Allah ye mulezi omusaasizi, yye yekka yajja okubala ebitonde ku lunaku lw’enkomerero mukiseera waanaabazuukiza bonna okuva mu ntaana zaabwe, era asasule buli muntu bye yakola mu birungi oba ebibi. Era yenna eyakola ebirungi nga mukkiriza waakufuna ebyengera eby’olubeerera, na buli yenna eyawakanya era n’akola ebibi waakufuna ebibonerezo ebyamaanyi ku lunaku lwe nkomerero.
Allah ye mulezi omusaasizi, yye yekka yajja okubala ebitonde ku lunaku lw’enkomerero mukiseera waanaabazuukiza bonna okuva mu ntaana zaabwe, era asasule buli muntu bye yakola mu birungi oba ebibi. Era yenna eyakola ebirungi nga mukkiriza waakufuna ebyengera eby’olubeerera, na buli yenna eyawakanya era n’akola ebibi waakufuna ebibonerezo ebyamaanyi ku lunaku lwe nkomerero. Era mu biraga obujjuvu bw'obwenkanya bwa Allah eyayawukana era owa waggulu n'amagezi ge n'ekisaakye eri ebitonde bye, kwekuba nga yafuula ensi eno ekifo ky'okukola, ate era n'ateekawo ekifo ekyokubiri ekyokubeeramu okusasulwa n'okubalwa n'empeera; omulongoosa asobole okufuna empeera y'okulongoosa kwe, era n'omwononyi n'omulyazaamaanya n'omulumbaganyi afune ekibonerezo ky'obulumbaganyi bwe n'obulyazaamanya bwe; kubanga era mazima ensonga eno emyoyo egisinga obungi giyinza okugiraba nga eri ewala [etasoboka], bwatyo Allah yateekawo obujulizi bungi obukakasa nti mazima okuzuukira kwa mazima tekuliimu kubuusabuusa, Allah owa waggulu yagamba: {Era mu bubonero bwe (obulaga obuyinza bwe kwe kuba nti) mazima ggwe olaba ensi nga ekaze naye bwetuba tugitonnyesaako amazzi (enkuba) yenyeenya (nefuuka yakiragala) era neyongera okumeza ebimera. Mazima oyo agizzaamu obulamu (neeba ngimu) ddala y'alizuukiza abafu, mazima yye (katonda) muyinza ku buli kimu.} [Surat Fusswilat: 39]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Abange mwe abantu! Bwe muba nga muli mukubuusabuusa ku (kubaayo) kw'okuzuukira, kale (mufuumiitirize entonda yammwe nga bwe yali): Ffe Twabatonda mu ttaka (Jjajjammwe Adamu), oluvannyuma ne (Tubeera nga) Tubatonda mu mazzi agazaala, nate oluvannyuma ne Tubaggya mu kisaayisaayi, n'oluvannyuma ne Tukifuula ekinyamanyama ekitondeddwa mu bujjuvu n'ekitannatondebwa mu bujjuvu. olwo Tulyoke Tubannyonnyole (Obuyinza Bwaffe). Tutebenkeza mu nnabaana ekyo kye Twagala (oba mwana mulenzi oba muwala) okutuusa eri ebbanga eggere (ery'okuggwaako olubuto), oluvannyuma ne Tubafulumya nga muli bawere (ne muzaalibwa), n'oluvannyuma (ne Tubakuza) mulyoke mutuuse obukulu bwammwe. Era mulimu mu mmwe oyo afa (amangu nga tannavubuka). Era mulimu mu mmwe oyo azzibwa eri obuwangaazi obwa wansi (n'akaddiwa n'awutta), n'alemwa okumanya ekintu kyonna oluvannyuma lw'okumanya (kw'abadde nakwo nga tannazeeyuka). Era olaba ensi nga ekaze, naye bwe Tuba nga Tugitonnyesezzaako amazzi (enkuba) enyeenya n'esibuka (buto) n'emera mu buli mutindo gw'ebimera ebirungi.} [Surat al-Hajj: 5]. Bwatyo Ow'amazima (Allah) n'ayogera mu aaya eno obujulizi obw'amagezi (endowooza entuufu) busatu obukakasa okuzuukira, era nabwo:
1- Mazima omuntu Allah yamutonda omulundi ogusooka mu ttaka, ate gweyatonda okuva mu ttaka aba asobola okumuzza mu bulamu nebwaba amaze okufuuka ettaka.
2- Mazima eyatonda omuntu okuva mu ttondo asobola okuzza omuntu mu bulamu oluvannyuma lw'okufa kwe.
3- Mazima oyo azza ettaka engulu n'enkuba oluvannyuma lw'okufa kwalyo, asobola okuwa abantu obulamu oluvannyuma lw'okufa kwabwe. Era mu aaya eno mulimu obujulizi obw'amaanyi ku bwamagero bwa Kkulaani, gw'ate butya aaya eno bwekuŋŋaanyizza obujulizi obw'amagezi bwa mirundi esatu obuwuniikiriza ku nsonga ey'amaanyi - ng'ate (aaya) ssi mpanvu-.
Era Allah owa waggulu yagamba: {Olunaku lwe tulizingako eggulu nga okuzingibwa kw'ekitabo mu biwandiiko. (kati nno) Mu ngeri y'emu nga bwe twatandika ebitonde oluberyeberye (era) tulibizzaawo, eno ndagaano nkakafu ku ffe,mazima ffe tuli ba kukikola.} [Surat al-Anbiyaa: 104]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Naatukubira ekifaananyi (ng'awakanya okuzuukira) ate neyeerabira obutonde bwe, n'agamba nti: ani alizuukiza amagumba nga nago gamaze okuba amamulungufu. (78) Gamba nti agenda kugazuukiza oyo eyagatandika omulundi omuberyeberye, era nga mumanyi ku buli kitonde.} [Surat yaasiin: 78]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Abaffe, mmwe bwe mweraba mwe musinga obuzibu okutonda okusinga e ggulu? Yalitonda nno! (27) (Awamu n'obugevvu bw'omubiri gwalyo) yaliwanika n'alyenkanyankanya. (28) N'akwasa enzikiza ekiro kyalyo, n’aggyayo ekitangaala kyalyo (omusana). (29) N'ensi oluvannyuma lw'ekyo yagyalirira (30) Muyo mwennyini mweyafulumya amazzi gaayo namalundiro gaayo. (31) N'ensozi yazisimba n'azinyweza (32) } [Surat al-Naazi'aat: 27-32]. Ow'amazima n'annyonnyola nti mazima okutonda omuntu ssi kikalubu kusinga kutonda ggulu n'ansi n'ebibirimu byombiriri, kale oyo asobola okutonda amagulu n'ensi tasobola kulemererwa kuzzaawo muntu mulundi gwakubiri.
13- Allah eyayawukana era owa waggulu yatonda Adam okuva mu ttaka, era naayinjiwaza abaana be oluvannyuma lwe, nabwekityo abantu bonna okuviira ddala ku nsibuko yaabwe benkana, era tewali kikula kikira ku kirala, yadde ekibinja ekikira ku kirala okujjako na kutya Allah.
Allah eyayawukana era owa waggulu yatonda Adam okuva mu ttaka, era naayinjiwaza abaana be oluvannyuma lwe, nabwekityo abantu bonna mu nsibuko yaabwe beenkana, era tewali kikula kikira ku kirala, yadde ekibinja ekikira ku kirala okujjako na kutya Allah, Yagamba Allah owa waggulu: {Abange mwe abantu, mazima ffe twabatonda nga tubajja mu musajja (Adam) n’omukazi (Haawa) ne tubafuula amawanga n’ebika mube nga mumanyagana. Mazima abasinga ekitiibwa ewa Katonda y’oyo abasinga okutya Katonda. Mazima Katonda ye Mumanyi Kakensa.} [Surat al-Hujraat: 13] Era Allah owa waggulu yagamba: {Era Katonda yabatonda nga abajja mu ttaka oluvanyuma n'abajja mu mazzi agazaala oluvannyuma yabatonda nga muli bibiri bibiri (ekisajja n’ekikazi). Tewali kikazi kifuna lubuto wadde ekizaala okuggyako nga amanyi, tewali kiwangaazibwa mu biwangaazibwa era tewali kikendezebwa ku buwangaazi bwakyo okugyako nga kiri mu kitabo (nga Katonda yakisalawo dda) mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda.} [Surat Faatwir: 11]. Era Allah owa waggulu yagamba: {(Anti) ye y'oyo eyabatonda nga abaggya mu ttaka (omulundi ogwasooka nga atonda Adam), oluvanyuma (abatonda nga) abajja mu mazzzi agazaala, oluvanyuma abafuula ekisaayisaayi, oluvanyuma abafulumya nga muli baana, oluvanyuma (abalekawo) nemutuuka okubeera abajjuvu (mu mibiri ne mu kutegeera), oluvanyuma (abalekawo) nemutuuka okubeera abakadde, ne mu mmwe mulimu abafa nga bakyali (naatamalaayo emitendera esatu egyogeddwa, (bwe kitaba ekyo abalekawo) mube nga mutuuka ekiseera ekigere (ekya buli omu) mube nga mutegeera (ebyo byonna ebibannyonnyoddwa).} [Surat Ghaafir: 67]. Era Allah owa waggulu yagamba ng'annyonnyola nti mazima yatonda Masiya [nnabbi Isa] na kiragiro kye (nti abeere) kuba, nga era bweyatonda Adam okuva mu ttaka n'ekiragiro ky'okuba (era n'abeera), Allah owa waggulu yagamba: {Mazima ekifaananyi (ky'okutondebwa) kwa issa mumaaso ga katonda kiringa ekifaananyi (ky'okutondebwa) kwa Adam, yamutonda nga amugya mu ttaka oluvanyuma n'amugamba nti beera n’aba (omuntu).} [Surat Al-Imraan:59]. Ate emabega nayogedde mu katundu nnamba (2) nti mazima nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yannyonnyola nti mazima abantu beenkana era tewali nkizo ya muntu kusukkuluma ku mulala okujjako na kutya [Allah].
14- Era buli muzaale (mwana) azaalibwa ali ku bubumbwa.
Era buli muzaale (mwana) azaalibwa ali ku bubumbwa, Allah owa waggulu yagamba: {Kale nno yolekeza ekyenyikyo (nga onywerera) ku ddiini entukuvu, nga okwo kwekutonda kwa katonda okwo kweyatonderako abantu, tewali kukyusa mu ntonda ya Katonda, eyo ye ddiini (y'obusiraamu, eddini) engokofu, naye abantu abasinga obungi tebamanyi.} [Surat al-Rruum: 30]. Era Okwawula Allah y'eddiini ya Ibrahim emirembe gibeere ku yye mukwano gwa Allah, Allah owa waggulu yagamba: {Oluvanyuma twakutumira (Ggwe Muhamad) nti goberera eddiini ya Ibrahim nga oli mwesimbu, era (Ibrahim) tabeerangako mu bagatta bintu birala ku Katonda.} [Surat al-Nahli: 123]. Era yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuyye: Tewali [mwana] muzaale okujjako nga azaalibwa ali ku bubumbwa, olwo bazadde be bebamufuula omuyudaaya oba omukulisitaayo oba omumajuusi, nga ekisolo bwekizaala omwana gwakyo nga mulamu bulungi, abaffe mugulabako akamogo konna? Oluvannyuma Abu Hurairah -Allah amusiime (mu kunnyonyola hadiith eyo n'asomerako aya nga)- agamba: {okwo kwekutonda kwa katonda okwo kweyatonderako abantu, tewali kukyusa mu ntonda ya Katonda, eyo ye ddiini (y'obusiraamu, eddini) engokofu, naye abantu abasinga obungi tebamanyi.} [Surat al-Rruum: 30] Swahiih al-Bukhariy 4775, Era omubaka wa Allah yagamba: «Abange mazima omulezi wange andagidde okubayigiriza byemutamanyi mw'ebyo by'anjigirizza olwaleero: buli kyabugagga kyempadde omuddu kikkirizibwa [tekiziyizibwa], era mazima nze [Allah] natonda abaddu bange bonna nga bali ku bubumbwa [amakulu: nga basiraamu], wabula mazima bbo bajjirwa sitaani nezibabuzaabuza okuva ku ddiini yaabwe era nezibaziyizaako ebyo byennabakkiriza, era nezibalagira okungattako nze [Allah] ebyo bye ssissaangako bujulizi » Yayogerwa Muslim 2865.
15- Era tewali n’omu mu bantu azaalibwa nga mwonoonyi oba nga asikidde ekyonoono ky’omulala:
Tewali n'omu mu bantu azaalibwa nga mwonoonyi oba nga asikidde ekyonoono ky’omulala, era Allah yatutegeeza nti mazima [nnabbi] Adamu emirembe gibeere ku yye bweyayawukana ku kiragiro ky'obwa-Katonda n'alya yye ne mukyalawe Haawa ku muti, nti mazima yamala ne yejjusa era neyeenenya n'asaba Allah okusonyiyibwa, Allah n'amuwa endowooza eyogera ebigambo (ebyenjawula) ebirungi, n'abyogera, bwatyo Allah n'abasonyiwa bombi, Allah owa waggulu yagamba: {Netugamba nti ggwe Adamu ne mukyalawo mubeere mu Jjanna, mulye mwegazaanye wonna wemwagalira. Naye temusembereranga omuti guno ne mubeera mu balyazamaanyi. (35) Sitaani n'abaseereza okubaggya mu jjana era n'abaggya mu (birungi) bye baalimu. Netubagamba nti mukke wansi nga muli balabe na balabe, era ku nsi gye mujja okubeeranga n'okweyagalira e bbanga eggere. (36) Oluvanyuma Adamu yayiga ebigambo (by'obulangamu) okuva eri Omulezi we (nga yeenenya), era Katonda nakkiriza okwenenya kwe. Mazima yye (Katonda) y'akkiriza okwenenya, omusaasizi owookusaasira okwenjawulo. (37) Ne tugamba nti, kale mwenna mukke okuva mu yo (e jjana). Buli lwonna obuluŋŋamu lwe bun'abajjiranga okuva gyendi, abo abaligoberera okuluŋŋamya kwange tebaliba na kutya era tebagenda kunakuwala. (38)} [Surat Al-Baqara: 35-38]. Nga bwekiri nti Allah yasonyiwa [nnabbi] Adamu emirembe gibeere ku yye, teyasigala na kyonoono, era nabwekityo n'abaana be tebasikira kyonoono kyavaawo na kwenenya, era ekikolo kiri nti mazima omuntu teyeetikka kyonoono kya mulala, Allah owa waggulu yagamba: {Era tegukola buli mwoyo gwonna wabula (ekyo kye guba gukoze) kiba ku gwo, (wadde) tegugenda kw'etikka omwoyo ogwayonoona kibi kya mulala. Oluvannyuma eri Omulezi wammwe y'eri obuddo bwammwe N'alyoka abategeeza ebyo bye mwali mwawukanamu.} [Surat al-An'aam:164].
Era Allah owa waggulu yagamba: {Oyo yenna aluŋŋama mazima aba aluŋŋama ku lwa (bulungi bwa) mwoyo gwe, ate abula omwoyogwe gw'aba aleetedde obuzibu bw'okubula, era teri mwoyo gugenda kkibi (kya mwoyo) mulala, era tetwali ba kubonereza (bantu) okutuuka lwetwabatumira nga omubaka.} [Surat al-Israa: 15]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Omwoyo ogwayonoona tegugenda kwetikka kibi kya (mwoyo) mulala, era oguliba guzitoowereddwa bwe gulisaba okugwetikkirako tebaligwetikkirako kintu kyonna, nebwaliba wa luganda olw'okumpi, mazima olabula abo abatya Mukama (Katonda) omulabirizi waabwe, awamu n'obutamulabako era nebayimirizaawo n'esswala. N'oyo yenna eyeetukuza mazima yeetukuza ku lulwe, era eri Allah yeeri obuddo.} [Surat Faatwir: 18].
16- Era ekigendererwa mu kutonda abantu; kwe kusinza Allah yekka.
Era ekigendererwa mu kutonda abantu kyekyo: kusinza Allah yekka, Allah owa waggulu yagamba: {Era ssaatonda majinni na bantu wabula lwakuba nti bansinze} [Surat al-Dhaariyaat: 56].
17- Obusiraamu bwagulumiza omuntu –abasajja n’abakyala- ne bumukuumira byonna byalina okufuna, era ne bumufuula nga avunaanyizibwa ku kusalawo kwe, n’emirimu gye, n’ebikolwa bye. Era ne bumutikka okuvunaanibwa ku mulimu gwonna ogukosa omwoyo gwe, oba ogukosa abalala.
Obusiraamu bwagulumiza omuntu - abasajja n’abakyala-, bwatyo Allah owa waggulu yatonda omuntu abeere omusigire mu nsi, Allah owa waggulu yagamba: {Era jjukira Allah wo we Yagambira Bamalayika nti: Mazima Nze Nja Kussa mu nsi omusigire,} [Surat Al-Baqara: 30].
Era okugulumiza okwo kubuna buli mwana wa Adamu, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima twawa abaana ba Adam ekitiibwa, netubawa eby'okusaabalirako ku lukalu ne kunyanja, netubagabirira mu birungi, era netubasukkulumya olusukkulumya ku bingi mu ebyo bye twatonda.} [Surat al-Israa: 70]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Mazima twakola omuntu mu kifaananyi e kisinga okuba ekirungi.} [Surat al-Ttiin: 4}
Era Allah yaziyiza omuntu okufuula omwoyo gwe ogwa wansi nga gugoberera ekisinzibwa oba ekigobererwa oba ekigonderwa ekitali Allah, Allah owa waggulu yagamba: {Naye mu bantu mulimu abaleka Allah, nebeeteerawo ebintu ebirala nebasinza ebyo, ne babyagala nga bwe baaliyagadde Allah. So nga bo abakkiriza baagala nnyo Allah waabwe (omu) (nga okwagala kwabwe kuli ku ye yekka). Singa abagatta ebintu ebirala ku Allah baali basobola okulaba ebibonerezo lwebirituuka, baalibadde bamanya nti Allah wa maanyi nnyo era nga bwe baalibadde bamanya nti ddala Allah muyitirivu wakubonereza.} [Surat Al-Baqara: 165-166]. Era Allah owa waggulu yagamba ng'annyonnyola embeera y'abagoberezi n'abagobererwa mu bukyamu ku lunaku lw’enkomerero: Abo abaatwalibwanga okuba aba waggulu baligamba abo abaatwalibwanga okuba aba wansi nti: abaffe, ffe twabalemesa obuluŋŋamu bwe bwali nga bubajjidde (si bwe guli?) wabula mwali bantu aboonoonyi. N'abo abaatwalibwanga okuba aba wansi baligamba(nga baanukula) abo abeetwalanga okuba aba waggulu nti (si bwe kiri), wabula ezo zaali nkwe ze mwasalanga ekiro n’emisana bwe mwatulagiranga tujeemere Allah netumussaako ba katonda abalala, olwo nno balikweka munda okwejjusa kebaliraba ebibonerezo era tugenda kussa enjegere mu nsingo zaabo abaakaafuwala, ye ate balisasulwa okugyako ebyo bye baakola. (33) } [Surat Saba'i: 32-33].
Era mu bujjuvu bw'obwenkanya bwa Allah eyayawukana era owa waggulu ku lunaku lw’enkomerero, kwekutikka abakoowooze n'abakulembeze ababuza, ebyonoono byabwe n'ebyonoono by'abo bebaabuza (nga baabakoowoolera) ku butamanya, Allah owa waggulu yagamba: {Olwo nno balyoke beetikke ebibi bya bwe mu bujjuvu ku lunaku lw'enkomerero, era beetikke ne ku bibi bya abo be baabuza awatali kuggya kumanya, abange kibi kye beetikka.} [Surat al-Nahli: 25].
Era Obusiraamu bweyimirira emigabo gy'omuntu mu bujjuvu ku nsi ne ku nkomerero, era omugabo ogusinga okuba ogw'amaanyi Obusiraamu gwe bweyimirira era nebugunnyonnyola abantu: omugabo gwa Allah gw'abanja abantu n'omugabo gw'abantu gwebalna ewa Allah Hadith eggyibwa ku Muadh Allah amusiime yagamba: nali emabega wa nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye n'agamba: «owange Muadh» neŋŋamba: wampa ssebo kyonna kye weetaga, oluvannyuma naddamu ebigambo byebimu emirundi esatu: «omanyi omugabo Allah gw'abanja abaddu?» Neŋŋamba nedda, n'agamba: «omugabo Allah gw'abanja abaddu kwe kumusinza nga tebamugasseeko kintu kyonna» oluvannyuma newayitawo akaseera n'agamba: «owange Muadh» neŋŋamba: wampa ssebo, kyonna kye weetaga, n'agamba: "omanyi omugabo gw'abantu gwe balina ewa Allah bwebaba bakoz'ekyo: bwe butababonereza» Swahiih al-Bukhariy (6840).
Era Obusiraamu bweyimirira Eddiini y'omuntu entuufu n'ezzadde lye n'emmaali ye n'ekitiibwa kye Yagamba okusaasira n’emirembe bibeere kuye: «Katinno mazima ddala Allah abaziyizzaako emisaayi gyammwe n'emmaali yammwe n'ebitiibwa byammwe, nga bweyafuula olunaku lwammwe luno olwemizizo mu mwezi gwammwe guno mu ggwanga lyammwe lino» Swahiih al-Bukhariy 6501, Era omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yalangirira endagaano eno ey'amaanyi mu Kulamaga (hijja) okusiibula okwalimu ba swahaaba (mikwano gye) abasukka emitwalo ekkumi, era n'addiŋŋana amakulu g'ebigambo ebyo era n'abiggumiza ku lunaku lw'okusala ebisolo mu Kulamaga (kwekumu) okusiibula.
Era Obusiraamu bwafuula omuntu nga avunaanyizibwa ku kusalawo kwe okusigadde n’emirimu gye na buli ky’akola, Allah owa waggulu yagamba: {Era buli muntu Twamuteekako emirimu gye (egimuvaamu) mu nsingo ye, era ku lunaku lw'enkomerero tugenda kumuggyirayo ekitabo kyalisanga nga kibikkule.} [Surat al-Israa: 13]. Amakulu: ky'akola mu birungi n'ebibi, Allah asigala akitadde ku yye tekimuvaako kugenda ku mulala, nabwekityo tavunaanwa mulimu gwa mulala era tavunaana mulala ku mulimu gwe, Allah owa waggulu yagamba: {Owange ggwe omuntu! Otakabana olutakabana (okukola e mirimu) ng'odda eri Omuleziwo. Era oli wakumusisinkana.} [Surat al-Inshiqaaq: 6]. Era Allah n'agamba {Oyo akola omulimu omulongoofu akolera mwoyo gwe, ate oyo ayonoona; akabi kakyo kadda ku gwo, ate nga Mukama omulabirizi wo si mulyazamanyi wa baddu (be).} [Surat Fusswilat: 46]
Era Obusiraamu butikka omuntu ekkatala lya buli kikolwa ekikosa yye kennyini oba ekikosa abalala, Allah owa waggulu yagamba: {Omuntu akola ekibi akikolera mwoyo gwe, bulijjo Katonda mumanyi nnyo agoba nsonga.} [Surat al-Nisaa: 111]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Ne ku lw'esonga eyo Twawandiika ne Tukakasa ku Baana ba Israeli nti: Omuntu atta omwoyo (omuntu) awatali (oyo atiddwa) kumala kutta mwoyo mulala oba okwonoona mu nsi, aba ng'asse abantu bonna, n'omuntu agulamusa (omwoyo), aba ng'alamusizza abantu bonna.} [Surat al-Maa'ida: 32] N’omubaka wa Allah n'agamba: «Tewali muntu attibwa mu bulyazaamanyi okujjako nga omwana wa [nnabbi] Adamu eyasooka (okutta) afuna omusango ku musaayi ogwo; kubanga yeeyasooka okuteekawo enkola y'okutta» Swahiih Muslim (5150).
18- Obusiraamu bwafuula omusajja n’omukyala nga beenkana mu bikwatagana n'emirimu n'obuvunaanyizibwa n'okusasulwa n'empeera.
Obusiraamu bwafuula omusajja n’omukyala nga beenkana mu bikwatagana n'emirimu n'obuvunaanyizibwa n'okusasulwa n'empeera, Allah owa waggulu yagamba: {N’omuntu akola emirimu emirongoofu kaabe musajja oba mukazi nga mukkiriza, abo nno baakuyingira e jjana, era tebagenda kuyisibwa bubi wadde mu kantu akatono.} [Surat al-Nisaa: 124]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Oyo yenna akola omulimu omulingi, kaabe musajja oba mukazi, nga naye mukkiriza, tugenda kumuwangaliza ddala mu bulamu obulungi era tugenda kubasasula empeera yaabwe (ku lunaku lw'enkomerero) nga baweebwa ekisinga obulungi ku lw'ebyo bye baakolanga.} [Surat al-Nahli: 97]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Oyo yenna akola omulimu omubi tasasulwa okugyako ekigwenkana, ate oyo akola omulimu omulongoofu kaabe musajja oba mukazi (naagukola) nga mukkiriza, abo nno baliyingira e jjana baligabirirwa mu yo awatali kubalirira.} [Surat Ghaafir: 40]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Mazima ddala abasajja abasiraamu n’abakazi abasiraamu, n’abasajja abakkiriza n’abakazi abakkiriza, n’abasajja abasinza Allah n’abakazi abasinza Allah, n’abasajja aboogera amazima n’abakazi aboogera amazima, n’abasajja abagumiikiriza n’abakazi abagumiikiriza, n’abasajja abagondera Allah n’abakazi abagondera Allah, n’abasajja abasaddaaka n’abakazi abasaddaaka, n’abasajja abasiiba n’abakazi abasiiba, n’abasajja abakuuma obwereere bwa bwe n’abakazi ababukuuma, n’abasajja aboogera ennyo ku Allah n’abakazi bwe batyo (abamwogerako ennyo), (abo bonna) Allah yabategekera okusonyiyibwa n'empeera ensuffu.} [Surat al-Ahzaab: 35].
19- Obusiraamu bwagulumiza omukyala, era ne butwala abakyala nti bali nga abasajja, era ne bukakasa ku musajja okumulabirira bwaba asobola, nabwekityo taata akakatibwako okulabirira muwala we, n’omwana omulenzi akakatibwako okulabirira maama we bwaba nga mukulu era nga alina obusobozi, era omwami akakatibwako okulabirira mukyala we.
Era Obusiraamu bwatwala abakyala nti bali nga abasajja Yagamba Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuyye- nti: «Mazima abakyala bali nga abasajja» Yayogerwa Tirimith 113.
Era mu kugulumiza kw'obusiraamu omukyala kwe kubeera nti bwakifuula kya tteeka maama okulabirirwa mutabani we bwaba (mutabani we) alina obusobozi Yagamba Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuyye- nti: «Omukono gw'agaba gwe gwa waggulu [tandikira ku b'ovunaanyizibwako] maama wo ne taata wo ne mwannyoko ne muganda wo, oluvannyuma ababaddirira n'ababaddirira» Yayogerwa Imaam Ahmada Era okunnyonnyola kw'obukulu bw'abazadde ababiri kujja kujja mu katundu namba (29) Allah bwanaaba akkirizza.
Era mu kugulumiza kw'obusiraamu omukyala kwekuba nti bwakifuula kya buwaze ku musajja okulabirira mukyala we bwaba alina obusobozi, Allah owa waggulu yagamba: {Omusajja alina okulabirira omukyala okusinziira ku busobozibwe, nooyo Allah gwe yawa ebyenfuna ebinafu naye alabirira omukyala okusinziira nga Allah bwe yamuwa, Allah tawaliriza muntu yenna okusukka kwe byo bye yamuwa. Allah ajja kuteekawo obwangu oluvanyuma lw'obuzito.} [Surat al-Ttwalaaq: 7]. Era omusajja yabuuza nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye: omukyala alina mugabo ki gw'abanja bba? N'agamba: «muliise bwoba olidde era omwambaze bwoba oyambadde, era tokuba mu kyenyi era tobijjiwaza [tomuvuma]» Yayogerwa Imaam Ahmada, Era omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba ng'annyonnyola egimu ku migabo abakyala gye babanja ba bbaabwe: «Era mu byabwe [abakyala] bye bababanja [mwe abasajja], okubaliisa n'okubambaza okusinziira ku kimanyiddwa» Swahiih al-muslim. Era nagamba okusaasira n’emirembe bibeere kuyye nagamba: «Kimala bumazi omuntu okufuna omusango, okulekayo okulabirira abo abamuvunanyizibwako» Yayogerwa Imaam Ahmada Al-Khattwaabi yagamba: (Ekigambo kye: "abo abamuvunanyizibwako" ategeeza oyo amukakatako okuliisa, amakulu alinga eyagamba asaddaaka: tosaddaaka kitaweza kisussa mu kyolina kulabiriza bantu bo nga oyagala okufuna empeera; ne kifuuka omusango bwoba obasuuliridde).
Era mu kugulumiza kw'obusiraamu eri omukyala kwekukifuula eky'obuwaze ku taata okulabirira muwala we, Allah owa waggulu yagamba: {N'abazadde abakyala bayonse abaana baabwe (ebbanga) lya myaka ebiri emijjuvu; (ekyo kiri) eri oyo ayagala okujjuza (ebbanga ly') okuyonsa. era kikakata ku (musajja) gwe bazaalidde (omwana) okubaliisa n'okubambaza (omwana ne nnyina) mu ngeri ennungi okusinziira ku kimanyiddwa} [Surat Al-Baqara: 233]. Allah n'annyonnyola nti kikakata ku taata oyo gwebazaalira omwana okumuliisa n'okumwambaza mu ngeri ennungi okusinziira ku kimanyiddwa, Allah owa waggulu yagamba: {bwe baba babayonserezza (abaana bammwe), mubawenga empeera yaabwe (ey’okuyonsa)} [Surat al-Ttwalaaq: 6]. Bwatyo Allah n'akifuula kya buwaze ku taata okusasulira okuyonsa kw'omwana; nekibaamu obujulizi nti mazima okulabirira kw'omwana eri omuzadde n'omwana (kigambo) kibuna omulenzi n'omuwala, era mu hadith eno wammanga mulimu obujulizi obukakasa okulabirirwa kw'omukyala n'abaana be ku taata. Hadith nga eva ku Aa'isha Allah amusiime: Mazima Hindu yagamba nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: Mazima Taata Sufiyaani musajja wa mululu, kale neetaaga okukwata ku ssente ze, n'agamba: «kwatako ezo ezikumala n'omwana wo okusinziira ku kimanyiddwa (ekisaanidde)» Yayogerwa Bukhar Era nnabbi ow'ekitiibwa yannyonnyola obulungi bw'okulabirira abaana abawala ne bannyina, bwatyo n'agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «yenna alabirira abaana abawala babiri oba abawala basatu oba bannyina babiri oba bannyina basatu okutuusa lwabafumbiza oba naafa, nja kubeera nze naye nga zino ebbiri: n'alaza engalo ze bbiri kayombiyombi (akaddirira ekisajja) ne kasingazonna (olwawakati)» Assilsila Asswahiiha 296.
20- Era okufa ssi kwekuggwawo okw'olubeerera, wabula kkwo kujjulukuka okuva mu nyumba y'okukola okudda mu nyumba y'okusasulwa, era okufa kutuuka ku mubiri n'omwoyo, era okufa kw'omwoyo kwekwawukana kwagwo ku mubiri, oluvannyuma [omwoyo] guguddemu [omubiri] oluvannyuma lw'okuzuukizibwa ku lunaku lw’enkomerero, era omwoyo tegugenda mu mubiri mulala oluvannyuma lw'okufa, era tegwambala mubiri mulala.
Okufa ssi kwekuggwawo okw'olubeerera, Allah owa waggulu yagamba: {Bagambe nti Malayika walumbe oyo eyaweebwa obuyinza ku mmwe agenda kubatta, oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa mmwe gye mulizzibwa.} [Surat al-Ssajda: 11]. Era okufa kutwaliramu omubiri n'omwoyo, era okufa kw'omwoyo kwekwawukana kwagwo ku mubiri, oluvannyuma neguguddamu oluvannyuma lw'okuzuukizibwa ku lunaku lw’enkomerero, Allah owa waggulu yagamba: {Allah yaatuusa entuuko z'emyoyo bwe gituuka okuva mu mibiri gyagyo, n'ogwo oguba tegufiiridde mu tulo twagwo (guba mu mikono gye) olwo nno gwaba asazeewo nti agwetaaga gufe naagutwala, ate omulala naaguleka okumala ebbanga eggere mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri abo abafumiitiriza.} [Surat al-Zzumar: 42] N’omubaka wa Allah n'agamba: «Mazima omwoyo bwegutwalibwa amaaso gagugoberera» Yayogerwa Muslim 920, Era oluvannyuma lw'okufa omuntu ajjulukuka okuva mu nyumba y'okukola okudda mu nyumba y'okusasulwa, Allah owa waggulu yagamba: {Gyali y'eri obuddo bwa mmwe mwenna eyo nga ndagaano e nkakafu eyabassibwako Allah, anti mazima yye, y’atandika e bitonde ate oluvanyuma y'agenda okubizzaawo, abe nga asasula mu bwenkanya abo abakkiriza nebakola e mirimu e mirongoofu ate abo abakaafuwala (abaawakanya amateeka ge) bagenda kuweebwa e byokunywa nga by'amazzi ag'olweje, era bassibweko e bibonerezo e biruma olw'ebyo bye baawakanyanga.} [Surat Yuunus: 4]
Era omwoyo tegujjulukuka oluvannyuma lw'okufa kudda mu mubiri mulala era tegwambala mubiri mulala, era ekigambibwa nti gwambala omubiri omulala tekijja mu magezi yadde mu bimanyiddwa, era tewali mu biwandiike kijulira nzikiriza eyo okuva ku ba nnabbi emirembe gibeere ku bbo.
21- Obusiraamu bukoowoola okudda eri okukkiririza okuviira ddala ku bikolo by’obukkiriza ebinene, era nga nabyo: kwe kukkiririza mu Allah ne malayika ze, n’okukkiririza mu bitabo byobwa-Katonda nga Tawraati ne Injil ne Zabbuur -nga tebinnakyusibwa- ne Kkulaani, n’okukkiririza mu ba nnabbi bonna n’ababaka -emirembe gibeere ku bbo- n'okukkiririza mu wenkomerero mu bbo (eyasembayo) era nga ye Muhammad, omubaka wa Allah nabbi era omubaka eyasembayo, n’okukkiririza mu lunaku lw’enkomerero, era tukimanyi nti obulamu bw’ensi ssinga ye yali enkomerero; obulamu n’obuwangazi gwandibadde muzannyo gwennyini omutali makulu, era n’okukkiririza mu kusalawo n’okugera [kwa Allah].
Obusiraamu bukoowoola okudda eri okukkiririza mu bikolo by’obukkiriza ebinene ebyo ba nnabbi bonna n’ababaka emirembe gibeere ku bbo bye baakoowoola okudda gyebiri, era nga nabyo:
Ekisooka: okukkiririza mu Allah nti ye mulezi era omutonzi era omugabirizi era atambuza ensonga z'abuli kiriwo, era mazima yye yekka y'agwana okusinzibwa, era nti mazima okusinzibwa kwa buli kitali yye kukyamu, era mazima ddala buli ekisinzibwa ekitali yye kikyamu, nabwekityo okusinza tekugwana okuggyako ku yye (yekka y'asinzibwa) era okusinza tekuba kutuufu okugyako nga kukolebwa ku yye. Era obujulizi bw'ensoga eno bwannyonnyoddwaako emabega mu katundu nnamba (8).
Era Allah eyayawukana era owa waggulu yayogera ebikolo bino ebinene mu aaya nnyingi ez'enjawulo mu Kkulaani ey’ekitiibwa, muzo ky'ekigambo kya Allah: {Omubaka yakkiriza naakakasa ebyo ebyassibwa ku ye nga biva ewa mukama omulabirizi we Katonda we n'abakkiriza bwebatyo nebakakasa era nebakkiriza (kyekimu), buli omu ku bo yakkiriza Allah ne ba Malayika be n'ebitabo bye n'ababakabe era nebagamba nti tetwawula wakati wa babakabe, era nebagamba nti tuwulidde netugonda, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba ekisonyiwo era gyoli yeeri obuddo.} [Surat Al-Baqara:285]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Obulungi n'obugonvu obubalibwa eri Katonda, tebwemalidde mu kwolekera kwa mmwe ebuvanjuba oba ebugwanjuba, wabula obulungi ye muntu okukkiriza Allah n'olunaku lw’enkomerero, ne ba malayika n'ekitabo (Kur’ani) ne bannabi, n'omuntu okuwaayo eby'obugaggabwe (mu kkubo lya Allah) awamu n'okuba nga naye abadde aky'abyagala, nga abiwa ab'oluganda olw'okumpi ne bamulekwa n'abanaku n'abatambuze abalemereddwa mu ŋŋendo zaabwe, n'abasabirizi n'abaagala okwenunula okuva mu buwambe. Era n'ayimirizaawo e sswala, n'atoola ne zzaka mu by'obugaggabwe. N'abo abatuukiriza endagaano zaabwe bwebaba nga balagaanyisizza, n'abagumiikiriza mu buzibu, obubenje ne mu biseera by'entalo. Abo nno be bakkiriza okukkiriza okwannamaddala, era abo bo be batya Allah.} [Surat Al-Baqara: 177]. Era Allah owa waggulu yakoowoola okudda eri okukkiririza mu bikolo bino, era n'annyonnyola nti mazima yenna anaabiwakanya ajja kuba abuze olubula olwe wala, Allah owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abakkiriza mukkirize Allah n’omubaka we, n’ekitabo kyeyassa ku mubaka we, era n’ekitabo kyeyassa oluberyeberye, oyo yenna atakkiririza mu Allah ne ba Malayika be n'ebitabo bye n’ababaka be n’olunaku lw’enkomerero aba abuze olubula olw'ewala.} [Surat al-Nisaa: 136] Era mu Hadith eva ku Umar bin khattwab Allah amusiime yagamba: (Twaali tutudde awali Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere ku yye-olunaku lumu,omusajja neyeyoleka gyetuli nga engoye ze njeru nnyo n’enviiri ze nga nzirugavu nnyo nga talabikako kabonero ka lugendo era nga tewali n’omu muffe amumanyi okutuusa bweyatuula awali Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere ku yye-, nasisinkanya amaviivi ge n'amaviivi ga Nabbi, nassa ebibatu bye ku bisambi bye n’agamba nti; owange Muhammadi Mbuulira (kubikwaata) kubusiraamu? N'agamba Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- nti: Obusiraamu kwekujulira n’okukakasa nti tewali kisinzibwa mubutuufu okujjako Allah era mazima ddala Muhammadi Mubaka wa Allah, n'okuyimirizaawo esswalla ettaano buli lunaku, n'okutoola zakkah mu mmaali yo, n'okusiiba omwezi gwa Ramadhan, n'okulambula enyumba ya Allah ey'emizizo (Kaaba, okukola hijja) kw'oyo alina obusobozi obumutuusa gyeri, Namugamba nti: oyogedde mazima. Nagamba (Umar, era ye munyumya wa hadiith eno) nti: Fenna netumwewuunya kubanga amubuuza ate n'amukakasa (nti azzeemu bituufu)! N'amugamba nti: Mbuulira ku bukkiriza (Imaan). (n'amuddamu) N'amugamba nti: Obukkiriza, kwekukkiririza mu Allah,ne ba Malayika be, n’ebitabo bye, n’Ababaka be, n’olunaku lw’enkomerero, era n’okukkiriza okugera kwe obulungi bwakwo n’obubi bwakwo byonna biva eri Allah, n'agamba nti oyogedde mazima. Nagamba (omusajja) nti: Mbuulira kukulongoosa. (Nabbi) n'agamba nti: Kwekusinza Allah nga olinga amulabako, nga newankubadde gwe tomulaba (n'okakasa nti) mazima yye (Allah) akulaba.» Swahiih Muslim 8. Kale mu hadith eno Jibriil -emirembe gibeere ku yye- yajja eri omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye n’amubuuza ku mitendera gy'eddiini, era nga nagyo gyegino: Obusiraamu n'obukkiriza n'okulongoosa, omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye n'amuddamu. oluvannyuma omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye n'ategeeza ba swahaaba be Allah abasiime, nti mazima oyo Jibriil azze gyebali abayigirize eddiini yaabwe. Kale obwo bwe busiraamu, bubaka bwa-bwaKatonda, Jibriil emirembe gibeere ku yye yabuleeta, omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye n'abutuusa eri abantu, era ba swahaaba be nebabukuuma nebabutuusa eri abantu oluvannyuma lwe.
Ekyokubiri: okukkiriza ba malayika, era nga nabo bitonde ebitalabwa, Allah yabatonda n'abateeka mu kifaananyi ekyeyawulidde era n'abawa emirimu egy'amaanyi, era nga mu mirimu gyabwe egisinga kwekutuusa obubaka bw'obwa-Katonda obwenjawulo eri ababaka ne ba nnabbi (be) emirembe gibeere ku bbo, era malayika esinga zonna ye Jibriil emirembe gibeere ku yye, era mu bijulira okukka kwa Jibriil emirembe gibeere ku yye n'obubaka (nga obuleeta) eri ababaka okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo, ky'ekigambo kya Allah: {Assa ba Malayika nga baleeta obubaka ku lw'ekiragiro kye ba butuuse kw'oyo gw'aba ayagadde mu baddu be (ba nnabbi), (nga bugamba nti:) mutiise (abantu nga mubategeeza nti), mazima tewali katonda asinzibwa (mu butuufu) okuggyako nze, kale nno muntye.} [Surat al-Nahli: 2] Era Allah owa waggulu yagamba: {Era mazima yyo (Kur’ani) yassibwa Mukama (era ) omulabirizi w'ebitonde byonna. (192) Yakka nayo mwoyo omwesigwa (Jiburilu). (193) (Naagissa) ku mutima gwo olyoke obe mu batiisa (abantu okukola ebibi). (194) (Nga eri) mu lulimi oluwarabu olutegeerekeka. (195) Era mazima yo (kkulaani) eyogerwako mu bitabo eby'edda ebyasooka. (196) } [Surat al-Shu'araa: 192-196].
Ekyokusatu: okukkiririza mu bitabo byobwa-Katonda nga Tawraati ne Injil ne Zabbuur - nga tebinnakyusibwa- ne Kkulaani, Allah owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abakkiriza mukkirize Allah n’omubaka we, n’ekitabo kyeyassa ku mubaka we, era n’ekitabo kyeyassa oluberyeberye, oyo yenna atakkiririza mu Allah ne ba Malayika be n'ebitabo bye n’ababaka be n’olunaku lw’enkomerero aba abuze olubula oluyitirivu.} [Surat al-Nisaa: 136] Era Allah owa waggulu yagamba: {Yassa gy'oli ggwe (Nabbi Muhammad) ekitabo (Kur’ani) nga kijulira amazima g'ebyo e byakikulembera era ye yassa Taurat ne enjili. (3) Oluberyeberye lwa Kur’ani nga kyakulungamya eri abantu, era yassa ebyawula wakati wa mazima n'obulimba (kur'an), mazima abo abawakanya ebigambo bya Allah byeyassa balina ebibonerezo ebikakali, Allah ye nnantakubwa ku mukono, nannyini kwesasuza. (4) } [Surat aali-Imraan: 3-4]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Omubaka yakkiriza n'akakasa ebyo ebyassibwa ku yye nga biva ewa mukama (era) omulabirizi we (Katonda) n'abakkiriza bwebatyo nebakakasa era nebakkiriza, buli omu ku bo yakkiririza mu Allah ne ba Malayika be ne'bitabo bye n'ababaka be, era nebagamba nti tetwawula wakati wa babaka be era nebagamba nti tuwulidde netugonda, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba ekisonyiwo era gyoli yeeri obuddo.} [Surat Al-Baqara:285]. Era Allah n'agamba {Gamba nti tukkiriza Allah netukkiriza n'ebyo ebyassibwa gyetuli n'ebyo ebyassibwa ku Ibrahim ne Ismail, ne Ishak ne Yakub ne ku bazzukulu be, n'ebyo ebyaweebwa Musa ne Isa n'ebyo byonna ebyassibwa ku ba Nabbi okuva ewa Katonda waabwe, tetulina Nabbi yenna gwetutakkiriza naffe twewaddeyo (mu Busiramu) eri Katonda waffe.} [Surat Al-Imraan: 84]
Ekyokuna: okukkiririza mu ba nnabbi bonna n’ababaka -emirembe gibeere ku bbo-, kale kya tteeka okukkiriza ba nnabbi bonna n’ababaka emirembe gibeere ku bbo, n'okukakasa nti mazima bbo bonna babaka okuva eri Allah, batuusa eri [abantu b'] ebibiina byabwe obubaka bwa Allah n'eddiini ye ne Ssemateeka we, Allah owa waggulu yagamba: {(Mwe abasiraamu) mugambe nti; tukkiriza Allah, n'ebyassibwa gyetuli, n'ebyassibwa ku Ibrahim, ne Ismail, ne Ishaak, ne Yakuubu n'eri bazzukulu baabwe. N'ebyo ebyaweebwa Musa ne Issa na byonna ebyaweebwa bannabbi abalala nga biva eri mukama Katonda omulezi waabwe era tetubaawulayawulamu era nga naffe twewaddeyo gyali.} [Surat al-Baqara: 136]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Omubaka yakkiriza naakakasa ebyo ebyassibwa ku ye nga biva ewa mukama omulabirizi we Katonda we n'abakkiriza bwebatyo nebakakasa era nebakkiriza (kyekimu), buli omu ku bo yakkiriza Allah ne ba Malayika be n'ebitabo bye n'ababakabe era nebagamba nti tetwawula wakati wa babakabe, era nebagamba nti tuwulidde netugonda, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba ekisonyiwo era gyoli yeeri obuddo.} [Surat Al-Baqara:285]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Gamba nti tukkiriza Allah netukkiriza n'ebyo ebyassibwa gyetuli n'ebyo ebyassibwa ku Ibrahim ne Ismail, ne Ishak ne Yakub ne ku bazzukulu be, n'ebyo ebyaweebwa Musa ne Isa n'ebyo byonna ebyassibwa ku ba Nabbi okuva ewa Katonda waabwe, tetulina Nabbi yenna gwetutakkiriza naffe twewaddeyo (mu Busiramu) eri Katonda waffe.} [Surat Al-Imraan: 84].
Era n'okukkiririza mu yabafundikira [Ba nabbi] era nga ye Muhammad; omubaka wa Allah eyafundikira ba nnabbi n'ababaka okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo, yagamba [Allah] owa waggulu: {Jjukira mu kiseera Katonda bwe Yaggya endagaano ku Bannabbi, (N'abagamba): Mbawadde Ekitabo n'Amateeka. Oluvannyuma bw'abajjira Omubaka akakasa amazima g'ebyo bye mulina mmwe, ddala mumukkirize era mumutaase. N'agamba nti: Mukkirizza ne mutwala mmwe kw'ekyo Endagaano yange enkakafu? Ne bagamba nti: Tukkirizza. N'abagamba nti: Mujulire Nange Ndi wamu nammwe mu bajulizi.} [Surat Al-Imraan: 81]
Kale Obusiraamu bukifuula kya buwaze okukkiririza mu ba nnabbi bonna n’ababaka okutwaliza awamu, era bukifuula kya buwaze okukkiririza mu yabafundikira, era nga y'omubaka Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, Allah owa waggulu yagamba: {Gamba (Ggwe Muhammadi) nti: Abange Bannannyini Kitabo temuli ku kintu (kya buluŋŋamu) kyonna kwe mwesigamye okutuusa lwe munaayimirizaawo Tauraati n'Enjiri n'ebyo ebyassibwa gye muli nga biva eri Mukama wammwe.} [Surat al-Maa'ida: 68]. Era Allah owa waggulu yagamba: {(Ggwe Nabbi Muhammad) gamba nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo mujje twegatte ku kigambo ekigatta wakati waffe nammwe, nakyo kwekuba nga tetusinza okugyako Allah, era tuleme ku mugattako kintu kyonna, era tube nga tetufuula abamu muffe ebyokusinza netuleka Allah. Ekyo bwebakivaako, mmwe mubagambe nti (mmwe) mujulire nti mazima ffe tuli basiramu tukkiririza mu bw'omu bwa Allah.} Surat Al-Imraan 64
Era yenna awakanya nnabbi omu abeera awakanyizza ba nnabbi bonna n’ababaka emirembe gibeere ku bbo, era kyekyo lwaki Allah yagamba ng'ategeeza ku kulamula kwe ku bantu ba [nnabbi] Nuuh emirembe gibeere ku yye: {Abantu ba Nuhu baalimbisa ababaka.} [Surat al-Shu'araa: 105]. ate nga kimanyiddwa nti Nuuh emirembe gibeere ku yye talina mubaka yamukulembera, awamu n'ekyo, abantu be bwe baamulimbisa, okumulimbisa kwabwe okwo kwali kulimbisa ba nnabbi bonna n’ababaka; kubanga okukoowoola kwabwe kwekumu n'ekigendererwa kyabwe kyekimu.
Ekyokutaano: okukkiririza mu lunaku lw'enkomerero era nga lwe lunaku lw'okuyimirira [yawmul qiyaama]. Ku nkomerero y'obulamu buno obw'ensi, Allah waakulagira malayika Israafiil emirembe gibeere ku yyo efuuwe [eŋŋoombe] olufuuwa lw'okuzirika, bizirike era bife byonna Allah by'anaaba ayagadde, Allah owa waggulu yagamba: {eŋŋoombe n'efuuyibwa ne baggwaamu omwoyo (ne bafa) abali mu ggulu n'abo abali mu nsi, okuggyako ekyo (ekitonde) Katonda ky'aliyagala (obutafiirawo). Ate n'efuuyibwa omulundi omulala okwejjuukiriza nga bo bayimiridde balindirira (ekinaabakolebwa)?.} [Surat al-Zzumar: 68]. Era bwebiriba biweddewo byonna ebiri mu ggulu zonna (omusanvu) na byonna ebiri mu nsi okuggyako ebyo Allah by'aliba ayagadde (obutafiirawo), mazima Allah waakuzingako amagulu n'ensi nga bwekiri mu kigambo kye owa waggulu: {Olunaku lwe tulizingako eggulu nga okuzingibwa kw'ekitabo (mu ngeri y'emu), nga bwe twatandika ebitonde (oluberyeberye) era tulibizzaawo.(Kikakafu ku ffe nti mazima ddala ekyo tuli ba kukikolera ddala.} [Surat al-Anbiyaa: 104]. Era Allah owa waggulu yagamba: {(Abagatta ku Allah ebintu ebirala) Allah tebamussa mu kifo kimusaanira, so nga ensi yonna eriba mu kibatu kye ku lunaku lw'enkomerero, nga eggulu omusanvu gazingiddwa mu mukono gwe ogwa ddyo, musukkulumu era wa waggulu ku ebyo bye bamugattako.} [Surat al-Zzumar: 67]. N’omubaka wa Allah n'agamba: «Allah ow'amaanyi era ow'ekitiibwa ajja kuzingako amagulu ku lunaku lw’enkomerero oluvannyuma agakwate n'omukono gwe ogwa ddyo oluvannyuma agambe: nze Kabaka, baliwa abeekuluntaza? Baliwa abeekuza? Oluvannyuma azingeko ensi[zonna] n'omukono gwe ogwa kkono oluvannyuma agambe: nze Kabaka, baliwa abeekuluntaza? Baliwa abeekuza?» Yayogerwa Muslim
Oluvannyuma Allah alagire malayika ajifuuwemu [eŋŋombe] omulundi omulala, okwejjuukiriza nga bonna bayimiridde batunula [balindiridde ekinaabakolebwa], Allah owa waggulu yagamba: {Ate [eŋŋombe] n'efuuyibwa omulundi omulala okwejjuukiriza nga bo bayimiridde balindirira (ekinaabakolebwa)?} [Surat al-Zzumar: 68]. Kale Allah bwanaazuukiza ebitonde ajja kubikuŋŋanya okubalibwa, Allah owa waggulu yagamba: {Ku lunaku ettaka lweriyatika neribavaako (nga bazuukira) nebajja misinde (gye tuli), okwo kwe kukuŋŋaanya era kuliba kwangu ku ffe.} [Surat Qaaf: 44]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Olunaku bo (abantu) bonna lwe balyeyoleka (mu maaso ga Allah) tewali kintu kyonna kyava mu bo kiryekweka Allah, (balibuuzibwa nti) obufuzi bwani olwaleero? (olwo nno nebategezebwa nti) bwa Allah ali omu nantalemwa.} [Surat Ghaafir: 16]. Era mu lunaku luno Allah waakubala / waakubuuza abantu bonna, era buli yalyazaamanyizibwa awoolere eri eyamulyazaamanya, era asasule [Allah] buli muntu kw'ekyo kyeyakola, Allah owa waggulu yagamba: {Olwaleero buli mwoyo gugenda kusasulwa olwebyo bye gwakola tewali kulyazamanya olwaleero, mazima Allah mwangu wa kubala.} [Surat Ghaafir: 17] Era Allah owa waggulu yagamba: {Mazima Allah talyazaamaanya wadde akantu akatono ennyo, bwekiba kirungi akibazaamu anti bulijjo awa okuva gyali empeera ensukkulumu (obunene).} [Surat al-Nisaa: 40]. Era Allah owa waggulu yagamba: {N’omuntu eyakola obulungi nga bwenkana obuzito bw’akanyikuuli agenda kubulaba (7) N'omuntu eyakola omulimu omubi gwonna kagube mutono gutya agenda kugulaba. (8)} [Surat al-Zzalzala: 7-8]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Tugenda kussaawo minzane entuufu ezirikozesebwa ku lunaku lw'enkomerero, olwo nno tewali muntu aliryazaamaanyizibwa kintu kyonna, ne bwe kiriba kyenkana obuzito bwe mpeke ya khardali tugenda kukireeta. Kimala bumazi okuba nti ffe tuliba ababazi.} [Surat al-Anbiyaa: 47].
Era oluvannyuma lw'okuzuukizibwa n'okubalibwa wajja kubaawo okusasulwa, yenna eyakola obulungi afune ebyengera eby’olubeerera ebyo ebitaggwawo, era yenna eyakola ebibi n'obutakkiriza afune ebibonerezo, Allah owa waggulu yagamba: {Obufuzi ku lunaku olwo buliba bwa Allah yekka. Agenda kulamula wakati waabwe, bo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu bagenda kubeera mu jjana ezijjudde ebyengera. (56) Ate abo abaakaafuwala (abaajeema) ne balimbisa ebigambo byaffe abo bagenda kussibwako ebibonerezo ebiweebuula. (57) } [Surat al-Hajj: 56-57]. Era tukimanyi nti mazima ssinga obulamu bw'ensi bwebwali obwenkomerero; obulamu (bwennyini) n’okubaawo (ku nsi) gwandibadde muzannyo gwennyini, Allah owa waggulu yagamba: {Abaffe mwalowooza nti mazima twabatonda nga tewali kigendererwa, era nti mazima mmwe temugenda kuzzibwa gye tuli.} [Surat al-Mu'uminuun: 115].
Ekyomukaaga: okukkiriza okusalawo n'okugera, era nga nakyo kwekuba nti mazima kya tteeka okukkiriza nti mazima Allah yamanya buli kyabaawo na buli ekibaawo na buli ekiribaawo mu byonna ebiriwo, era nti mazima Allah yawandiika ebyo byonna nga tannaba kutonda magulu na nsi, Allah owa waggulu yagamba: {Era yye y'alina e bisumuluzo by'ebyekusifu tewali abimanyi okugyako yye, era amanyi ebiri ku lukalu ne mu nyanja, era tewali kikoola kigwa okugyako nga akimanya, era tewali mpeke eri mu bizikiza bye ttaka wadde (ekintu kyonna) e kibisi oba e kikalu okugyako nga kiwandiike mu kitabo e kitottola buli kintu.} [Surat al-An'aam: 59]. Era mazima okumanya kwa Allah kwetooloola buli kimu, Allah owa waggulu yagamba: {Allah yooyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi naazitonda omuwendo gwe gumu, obubaka bwa Allah bukka wakati we ggulu n'ensi mulyoke mumanye nti, mazima Allah musobozi ku buli kintu, era mazima Allah mumanyi wa buli kintu.} [Surat al-Ttwalaaq: 12]. Era mazima mu byonna ebiriwo (mu nsi n'eggulu) tewali nsonga ebaawo okuggyako nga Allah yagyagadde ebeere era n'agikkiriza era n'agitonda era n'ayanguya ebigibeezaawo, Allah owa waggulu yagamba: {Oyo (Allah) bubwe yekka obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi era teyeeteerawo mwana era talina amwegattako mu bufuzi era yatonda buli kintu n'akikola olukola olukisaanira.} [Surat al-Furqaan: 2]. Era alina mwekyo okutegeera okwomunda abantu kwebatasobola kwetoolola kwonna [nebakumanya], Allah owa waggulu yagamba: {(Kur’ani eno) ejjudde amagezi etuukira ddala wala omuntu, (ekyekitalo) okutiisa kwokka tekumala (kwetagisaako okuluŋŋamya kwa Katonda).} [Surat al-Qamar: 5]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Era yye yooyo atandikawo ebitonde era nga y'alibizzaawo (oluvanyuma lw'okufa kwabyo) nakyo (eky'okubizzaawo) ky'ekisinga obwangu ku ye, era kikye yekka ekifo ekisukkulumu mu ggulu omusanvu n'ensi era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.} [Surat al-Rruum: 27]. Era Allah yeetenda n'okutegeera era neyeeyita Omutegeevu ennyo, Allah owa waggulu yagamba: {Allah yakakasa nti ddala tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye ne ba malayika ne bannyini kumanya nabo bakakasa ekyo, era nga bulijjo Katonda aliwo kutuukiriza bwenkanya, tewali kisinzibwa okugyako yye nantakubwa ku mukono mugobansonga.} Surat Al-Imraan 18 Era Allah owa waggulu yagamba ng'ategeeza ku [nnabbi] Isa emirembe gibeere ku yye nti mazima yye ajja kwogera ne Allah ku lunaku lw’enkomerero nga agamba: {Bw'oba wa kubabonereza, mazima bo baddu bo, naye bw'obasonyiwa, mazima ddala ggwe nantakubwa ku mukono mugoba nsonga}. [Surat al-Maa'ida: 118]. Era Allah owa waggulu yagamba [nnabbi] Musa emirembe gibeere ku yye bweyamukoowoola ng'ali emabbali w'olusozi: {Owange Musa mazima nze Allah nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.} [Surat al-Namli: 9].
Era Allah n'atenda Kkulaani ey’ekitiibwa n'amagezi, bwatyo n'agamba Allah owa waggulu: {Alif Laam Raa, ekitabo kino e bigambo by'akyo byasengekebwa oluvanyuma nebinnyonnyolwa mu bujjuvu okuva ewa Katonda akola buli kintu ng’asinziira ku nsonga ng’ate amanyi mu bujjuvu buli kintu.} [Surat Huud: 1]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Ebyo bye bimu ku ebyo Mukama omulabiriziwo byassa gyoli mu bigambo eby'amagezi, era toteekanga ku Allah ba katonda abalala, n'okakatibwako okukasukibwa mu muliro Jahannama, ng'ovumirirwa era nga ogobeddwa mu kusaasira kwa Allah.} [Surat al-Israa: 39].
22- Era ba nnabbi emirembe gibeere ku bbo, bakuumibwa mwebyo byebatuusa okuva eri Allah, era bakuumibwa okuva eri buli ekyawukana n’amagezi oba nga obutonde obulamu bukigaana. Era ba nnabbi bebavunaanyizibwa ku kutuusa ebiragiro bya Allah eri abaddu be, era ba nnabbi tebalina kyonna kikwatagana (ku byeyawulidde) ku kutonda (n'obulabirizi) oba kusinzibwa; wabula bbo bantu nga abantu abalala, Allah abassaako obubaka bwe.
Era ba nnabbi emirembe gibeere ku bbo, bakuumibwa mwebyo byebatuusa okuva eri Allah; kubanga Allah asukkulumya abasinga obulungi mu bitonde bye, okubeera nga batuusa obubaka bwe, Allah owa waggulu yagamba: {Allah alonda mu ba Malayika ababaka, bwatyo ne mu bantu, mazima Allah muwulizi alaba nnyo.} [Surat al-Hajj: 75]. Era Allah nagamba {Mazima Allah yawa Adam ne Nuhu n’abo mu nyumba ya Ibrahim n’abo mu nyumba ya Imran enkizo ku bantu abalala.} Surat Al-Imraan 33 Era Allah nagamba {(Allah) n'agamba nti, owange Musa mazima nze nkuwadde enkizo ku bantu, olw’obubaka bwange, n’okwogera kwange naawe, kale twala byenkuwadde, era obeere mu beebaza.} [Surat al-A'araaf: 144]. Era ababaka okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo, bamanyi nti mazima ekibakkako bwe bubaka obw'obwa-Katonda, era balaba zi malayika nga zikka n'obubaka, Allah owa waggulu yagamba: {Ye yekka, Allah yaamanyi ebitalabwako (ebitamanyiddwa bantu) ng'ate talina yenna gwabikkulira byama bye. (26) Okuggyako oyo gw'aba alonze okubeera omubaka (kale nno oyo amubikkulira ebimu ku byama bye) era amuteerawo obukuumi bwa Malayika nga bamwetolodde, Sitani obutasobola kumutuukako. (27) Nabbi alyoke amanye nti mazima ba Nabbi baatuukiriza obubaka bwa Katonda waabwe (nga naye bwa butuukiriza) era bamanye nti Katonda amanyi ebyo byonna bye bakola nga era bw'amanyi buli kintu kyonna (n'emiwendo gy'abyo). (28)} [Surat al-Jinn: 26-28] Era Allah yabalagira okutuusa obubaka bwe, Allah owa waggulu yagamba: {Owange Ggwe omubaka tuusa gyebali ebyo e byassibwa gyoli okuva ewa Katondawo, bwotaakikole ojja kuba totuukirizza bubakabwe (totya) Allah ajja kkukuuma ku Bantu, mazima Allah taluŋŋamya kibiina kya bakaafiiri.} [Surat al-Maa'ida: 67]. Era Allah n'agamba {Ababaka abo bonna bajjanga nga bawa amawulire agasanyusa, nga n'abandi bawa amawulire agalabula, abantu baleme kuba na byekwaso ku Allah kasita yamala okubatumira ababaka, bulijjo Allah nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.} [Surat al-Nisaa: 165].
Era ababaka okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo, batya Allah olutya olw'amaanyi, era bamwekeka, kale tebongera mu bubaka bwe era tebabukendeezaamu, Allah owa waggulu yagamba: {Singa yeetantala natwogeza ebigambo byetutaamutuma. (44) Twalimukutteko n'amanyi. (45) Olwo nno netumukutula omusuwa gw'obulamu. (46) Era tewali mu mwe ayinza kutulemesa kutuukiriza ekyo kuye. (47)} [Surat al-Haaqqa: 44-47]. Ibn Kathir Allah amusaasire yagamba: (Agamba [Allah] owa waggulu: {Era abeera kutugunjaako} amakulu: Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye ssinga yali nga bwe balowooza nti atutemerera n'ayongera mu bubaka oba n'abukendeezaamu oba n'agamba kyonna ekiva gyali n'akituteekako -naye ssi bwekiri- twandi mubonererezzaawo, era kyava yagamba: {Ddala twandimukutte n'omukono ogwa ddyo (n'amaanyi)} kigambibwa: amakulu gaakyo: twandiwooledde gyali n'omukono ogwa ddyo; kubanga gwe gusinga amaanyi mu kubonereza n'okunyigiriza, ate era kigambibwa (abalala nti amakulu): twandimukutteko n'omukono gwe ogwa ddyo. Era Allah n'agamba Jjukira ekiseera Allah bw'aligamba nti: Owange Issa, mutabani wa Mariyamu! Ggwe wagamba abantu nti munfuule nze ne nnyabo bakatonda ababiri atali Allah? (Issa) Aligamba nti: wayawukana Ggwe! Tekiba kyange okuba nga njogera ekyo ekitali mazima. Mba kuba nga nali nkyogedde, ddala Wandikitegedde. Omanyi ekyo ekiri mu mwoyo gwange era nze simanyi ebyo ebiri mu Ggwe. Mazima Ggwe, Gwe Mumanyi w'Ebitalabikako. Ssaayogera gyebali okujjako ekyo kye Wandagira, nti: Musinze Allah, Mukama wange era Mukama wammwe. Era nali mujulizi ku bo, eryo ebbanga lye nnamala mu bo, bwe Wamala okunzigyawo (n'ontwala mu ggulu) Ggwe wali Omulondoozi ku bo! era Naawe Oli Mujulizi ku buli kintu} [Surat al-Maa'ida: 116-117].
Era mu bulungi bwa Allah eri ba nnabbi be n'ababaka be -okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo, nti mazima Allah abanyweza mu kutuusa kwabwe obubaka bwe, Allah owa waggulu yagamba: {N'agamba nti: Mazima nze njulira Allah, era mujulire (nammwe) nti: Mazima nze njawukanye kw'ebyo bye mugatta ku Allah. (54) Ebyo ebitali Ye. (Kale mugezeeko) munsalire enkwe mwenna, oluvannyuma temunnindiriza. (55) {Mazima nze neekwasizza Allah omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe, tewali kitambula ku nsi okuggyako yye y'akutte akawompo kakyo, mazima Mukama katonda omulabirizi wange ali ku kkubo ggolokofu.} [Surat Huud: 54-56]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Newankubadde nga baabula kata bakubuze okuva ku bubaka obwo bwe twakutumira ggwe (Nabbi Muhammad) obe nga ogunja ku ffe ekintu ekirala ekitali bwo, era singa okola ekyo balikufudde ffa nfe waabwe. (73) Era singa tetwakunyweza, mazima kata okyamemu katono nga odda gye bali. (74) Olwo nno (singa obagondera) twandi kukombesezza ku bibonerezo byo ku nsi, nga bikubisiddwamu era netukukombesa ne ku bibonerezo byokufa, nga nabyo bikubisiddwamu era tewandifunye akututasaako. (75)} [Surat al-Israa: 73-75]. Era aaya zino n'ezo ezijikulembera, zijulira era bukakafu nti mazima Kkulaani yakka kuva wa mulezi w'ebitonde (byonna); kubanga mazima ssinga yali eva ku mubaka Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, teyandibaddemu bigambo nga bino ebimugambibwa.
Era Allah eyayawukana era owa waggulu akuuma ababaka be okuva eri [obulabe bw'] abantu, Allah owa waggulu yagamba: {Owange Ggwe omubaka tuusa gyebali ebyo e byassibwa gyoli okuva ewa Katondawo, bwotaakikole ojja kuba totuukirizza bubakabwe (totya) Allah ajja kkukuuma ku Bantu, mazima Allah taluŋŋamya kibiina kya bakaafiiri.} [Surat al-Maa'ida: 67]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Banyumize ebyafa ku Nuhu bwe yagamba abantube nti abange bantu bange, okubeera kwange mu mmwe n'okubajjukiza e bigambo bya Allah bwe bibeera nga bibazitooweredde, nze nneekwasizza Allah, kale mmwe mwekobaane ne bannammwe ate kyemusazeewo kireme kuba kya kyama olwo nno musalewo kye mwagala okukola era temunnindiriza.} [Surat Yuunus: 71] Era Allah owa waggulu yagamba ng'ategeeza ku kigambo kya [nnabbi] Musa emirembe gibeere ku yye: {(Musa ne Haruuna) ne bagamba nti: Mukama waffe! Mazima ffe tutya (ye Fir'auna) okutwanguyiza ekibonerezo oba (okw'eyongera) okubula. - (Allah) n'agamba nti: Temutya. Mazima Nze Ndi wamu nammwe, Mpulira era Ndaba (buli kintu).} [Surat Twaaha: 45-46] Bwatyo n'annyonnyola Allah owa waggulu nti mazima akuuma ababaka be emirembe gibeere ku bbo okuva eri abalabe baabwe nebatabatuusaako buzibu, era n'ategeeza Ow'amazima eyayawukana era owa waggulu nti mazima akuuma obubaka bwe, bwebutyo nebutayongerwamu era nebutakendeezebwamu, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima Ffe twassa (Qura'an) era ddala mazima Ffe tujja okugikuuma} [Surat al-Hijr: 9].
Era ba nnabbi emirembe gibeere ku bbo bakuumibwa okuva eri buli ekyawukana n’amagezi oba empisa; yagamba [Allah] owa waggulu ng'atukuza / ng'atenda nnabbi we Muhammad: {Era mazima ddala Ggwe oli wampisa nungi nnyo.} [Surat al-Qalam: 4] Era n'amwogerako n'agamba: {Era munnammwe (Nabbi Muhammad) si mulalu.} [Surat al-Ttakwiir: 22]; Ekyo kiri bwekityo basobole okukola eky'okutuusa obubaka mu nkola esinga obulungi, era ba nnabbi emirembe gibeere ku bbo beebavunaanyizibwa okutuusa ebiragiro bya Allah eri abaddu be, tebalina kyanjawulo kyonna mu byeyawulidde (Allah nga) obulezi oba obwa-Katonda, wabula bbo bantu nga abantu abalala, Allah abassaako bubaka bwe, Allah owa waggulu yagamba: {Ababaka baabwe nebabagamba nti (ye wewaawo) tetuli kirala kyonna wabula tuli bantu nga mmwe, naye mazima Allah ddala agabira oyo gw'aba ayagadde mu baddu be (ebyengera) era tetusobola kubaleetera bujulizi okugyako, nga Allah akkirizza. Allah yekka, abakkiriza gwe bateekwa okwekwasa.} [Surat Ibrahim: 11]. Era Allah owa waggulu yagamba n'alagira omubaka we Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye agambe abantu be: {Bagambe nti mazima nze ndi muntu nga mmwe, (wabula) nfuna obubaka nga bugamba nti mazima Katonda wa mmwe ali omu, kale nno, buli yenna asuubira okusisinkana Mukama katonda omulabirizi we ateekwa okukola emirimu emirungi era mu kusinza n’atagatta kintu kyonna ku Mukama katonta Omulabiriziwe.} [Surat al-kahf: 110].
23- Era Obusiramu bukoowoola okudda eri okusinza Allah yekka ne n’ebikolo by’ensinza ebikulu, era nga nabyo ze: Esswala, era nga nayo kwe ku yimirira n’okukutama n’okuvunnama n’okujjukira Allah n’okumutendereza n’okusaba, omuntu agisaala emirundi etaano buli lunaku, era muyo ebyawula byonna bivaawo, kuba omugagga n’omwavu, n’omufuzi n’afugibwa baba mu lunyiriri lumu mu sswala. Ne Zzaka, era nga nayo kigero kitono okuva mu by’obugagga -okusinziira ku bukwakkulizo n’ebigero Allah byeyagera- , ekakata mu mmaali y’abagagga, eweebwa abaavu n’abalala, omulundi gumu mu mwaka. N’okusiiba, era nga nakwo: kweziyizaako bisiibulula emisana mu mwezi gwa lamanzaani, kuteeka mu mwoyo okwagala n’obugumiikiriza. N’okulamaga(Hijja): era nga nakwo: kwolekera nyumba ya Allah mu Makka ey’ekitiibwa omulundi gumu mu buwangaazi ku yenna asobola, era mu kulamaga kuno abantu bonna baba kyenkanyi mu kwolekeza obwenyi bwabwe eri Omutonzi eyayawukana, era ebyawula n'ebyeyinuza (omuntu) bivaawo (bonna nebafaanana era nga benkanankana).
Obusiraamu bukoowoola okudda eri okusinza Allah n'ensinza enkulu n'ensinza endala, era ensinza zino enkulu Allah yazikakasa ku bannabbi bonna n'ababaka okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo, era ensinza enkulu zeezino:
Esooka: Okusaala, Allah yakufuula kwa tteeka ku basiraamu nga bweyakufuula okw'etteeka ku bannabbi abasigadde n'ababaka okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo, era Allah yalagira nnabbi we ow'omukwano Ibrahim -emirembe gibeere ku yye- ennyumba ye agitukulize abagyetoolola n'abasaaze abakutama abavunnama, Allah owa waggulu yagamba: {Era jjukira ekiseera lwetwafuula e nyumba (Kaaba) okuba nga bwe buddo bw'abantu era ekifo eky'emirembe, era netubalagira nti; ekifo kya Ibrahim mu kifuule awasaalirwa. Era twalagira Ibrahim ne Ismail nti mube nga mutukuza e nyumba yange ku lw'abo abagyetooloola n'abagituulamu, n'abo abakutama ne bavunnama (nga basaala).} [Surat al-Baqara: 125]. Era Allah yakufuula kwa tteeka ku [nnabbi] Musa mu lukoowoola lweyasookera ddala okukoowoola Musa emirembe gibeere ku yye, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima nze, nze Mukama katonda omulabiriziwo kale ggyamu engattozo, anti mazima ggwe oli mu lusenyi olutukuvu oluyitibwa Tuwa. (12) Era mazima nze nkulonze okubeera (omubaka) wange, kale nno wuliriza obubaka obukussibwako. (13) {Mazima nze, nze Allah nga tewali kisinzibwa mu butuufu okuggyako nze, kale nno nsinza, oyimirizeewo e sswala obeere nga onjogerako mu yo. (14) } [Surat Twaha: 12-14]. Era [nnabbi] Isa masiya emirembe gibeere ku yye yategeeza nti mazima Allah yamulagira okusaala n'okutoola zzaka, n'agamba nga Allah owa waggulu bweyategeeza: {Era nanfuula ow'omukisa wonna wennabanga, era ankuutidde okusaala, n'okutoola Zakka, ebbanga lye nnaamala nga ndi mulamu.} [Surat Maryam: 31]. Era okusaala mu busiraamu kuyimirira na kukutama na kuvunnama na kujjukira Allah na kumutendereza nakusaba, omuntu agyisaala emirundi etaano buli lunaku, Allah owa waggulu yagamba: {Munyiikirire nnyo esswala zonna ettaano, naddala esswala y'omumakkati; muyimirire mu maaso ga Allah nga muli bakkakkamu.} [Surat al-Baqara: 238]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Yimirizaawo esswala enjuba nga ekyuse okutuusa ku nzikiza y'ekiro nabwekityo Kur’ani y'okumakya (Sswala ya Subuhi) mazima Kur’ani y'okumakya ba Malayika bagibaako (nga bajiwuliriza).} [Surat al-Israa: 78]. Era n'agamba (Nnabbi) okusaasira n’emirembe bibeere kuye: (kwo mu kukutama mugulumiririzeemu (nnyo) Omulezi (wammwe) ow'ekitiibwa omusukkulumu, sso ate mu kuvunnama mufube nyo kusabiramu, kubanga kisuubirwa nyo nti mujja kwanukulwa) Swahiih al-muslim.
Eyookubiri: [okutoola] zzaka, Allah yagifuula ya tteeka ku basiraamu nga bweyagifuula ey'etteeka ku ba nnabbi n'ababaka abasooka okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo, era nga nayo kigero kitono okuva mu mmaali -wakati mu kutuukiriza obukwakkulizo n'ebigero Allah byeyagera- ekakata mu mmaali y'abagagga, eweebwa abeetaavu n'abalala omulundi gumu mu mwaka, Allah owa waggulu yagamba: {(Abo abeetonda mu bo) gya mu mmaali yaabwe Saddaaka obatukuze era obalongoose nayo. Era basabire (Allah abasonyiwe) anti mazima okusaba kw'obasabira mirembe gye bali, Allah awulira nnyo mumanyi nnyo.} [Surat al-Ttawba: 103]. Era nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye bwe yatuma Mu'adh Allah amusiime e yamani yamugamba: «Mazima gwe ogenda mu bantu bannyini kitabo, kale bakoowoole okudda eri okukkiriza n'okukasa nti tewali kisinzibwa (mu butuufu) okuggyako Allah era mazima nze ndi mubaka wa Allah, bwebaba bakugondedde kw'ekyo, bamanyise nti mazima Allah ow'ekitiibwa era omusukkulumu Yabalaalikako esswala ttaano mu buli misana n'ekiro, bwebaba ekyo bakigondedde bategeeze nti mazima Allah Yabalaalikako Saddaaka (zzaka) mu mmaali yaabwe, eggyibwa mu bagagga mubo n'eddizibwa mu beetaavu mubo, bwebaba bakugondedde kwekyo, kale nkwekesa emmaali yaabwe esinga obulungi, era tya okusaba kw'alyazaamanyiziddwa, kubanga mazima kwo tekulina wakati wakwo na Allah jjiji» Yayogerwa Tirimith 625.
Eyookusatu: okusiiba, Allah owa waggulu yakufuula kwa buwaze ku basiraamu nga bweyakufuula Allah owa waggulu okw'obuwaze ku ba nnabbi n'ababaka abasooka okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo, Allah owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abakkiriza mulaalikiddwa okusiiba nga bwe kwalaalikibwa kw'abo abaabakulembera mulyoke mutye Allah.} [Surat al-Baqara: 183]. Era nakwo: kwekweziyizaako ebisiibulula emisana mu mwezi gwa lamanzaani, era okusiiba kusiga mu muntu okwagala n'obugumiikiriza Yagamba okusaasira n’emirembe bibeere kuye: «Allah ow'ekitiibwa era omusukkulu agamba: Okusiiba kwange era nze akusasula, [omuntu] aleka ebyobwagazi bye n'emmere ye n'ebyokunywa bye ku lwange, era okusiiba ngabo, era omusiibi alina essanyu lya mirundi ebiri: essanyu nga asiibulukuka n'essanyu mu kiseera ng'asisinkanye omulezi we» Swahiih al-Bukhariy 7492.
Eyookuna: Okulamaga (Hijja), Allah yakukakasa ku basiraamu nga bweyakukakasa ku ba nnabbi n'ababaka abasooka okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo, era Allah yalagira nnabbi we Ibrahim ow'omukwano emirembe gibeere ku yye akoowoole abajja okulamaga, Allah owa waggulu yagamba: {Era koowoola abantu baggye okukola Hijja, bagenda kkujjira abatambuza ebigere, n'abalijjira ku nsolo enkovvu nga bava mu buli kkubo eryewala.} [Surat al-Hajj: 27]. Era Allah yamulagira atukulize abalamazi ennyumba enkadde [kaaba], Allah owa waggulu yagamba: {Era jjukira ekiseera bwe twalaga Ibrahimu ekifo ky'enyumba (Kaaba), era nemmugamba nti tongattangako ekintu kyonna era tukuza e nyumba yange eri abagyetooloola n'abayimiriramu n'abakutama abavunnama (nga basaala).} [Surat Hajji: 26].
Era Okulamaga kwe: kuluubirira ennyumba ya Allah mu Makka ey’ekitiibwa kulw'emirimu egyimanyiddwa omulundi gumu mu buwangazi kw'oyo ayinza, [era] asobola, Allah owa waggulu yagamba: {Era Allah Akakasa ku bantu bonna okulambula ennyumba eyo, (nga kino kikakafu) ku muntu aba asobola ekkubo erituuka gy'eri. N'omuntu awakanya (obukakafu bwa Hijja) amanye nti mazima Allah Mugagga obuteetaaga (kintu kyonna okuva) eri bitonde Bye.} [Surat Al-Imraan: 97]. Era mu kulamaga bakuŋŋaana abalamazi abasiraamu mu kifo kimu, nga baawulidde okusinza kwabwe (kwonna) omutonzi eyayawukana, era abalamazi bonna batuukiriza emikolo gy'okulamaga mu ngeri efaanagana, [era] muyo, enjawulo z'awawangalirwa n'obuwangwa n'eddaala ly'empangala bivaawo.
24- Era mu bikulu ebyawula ensinza mu busiramu, kwekuba nti mazima engeri yaazo, n’ebiseera byazo, n’obukwakkulizo bwazo, Allah eyayawukana era owa waggulu yeeyabiteekawo, n’abissa eri omubaka we okusaasira n’emirembe bibeere ku yye, era abantu tebeenyigira mu nsinza ezo mu ngeri y’okwongeramu oba okukendeezaamu ppaka Olwaleero, era ensinza zino zonna enkulu ba nnabbi bonna emirembe gibeere ku bbo baakoowoola okudda gyeziri.
Era mu bikulu ebyawula ensinza mu busiramu, kwekuba nti mazima engeri yaazo, n’ebiseera byazo, n’obukwakkulizo bwazo, Allah eyayawukana era owa waggulu yeeyabiteekawo, n’abissa eri omubaka we okusaasira n’emirembe bibeere ku yye, era abantu tebeenyigira mu nsinza ezo mu ngeri y’okwongeramu oba okukendeezaamu ppaka Olwaleero, Yagamba Allah owa waggulu: {Olwa leero Mbajjulizza Eddiini yammwe era ne Mbajjuliza n'ekyengera Kyange, ne Mbasiimira mmwe Obusiraamu okuba Eddiini.} [Surat Maa-idah: 3]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Kale wekwate kwekyo ekikuweebwa (Kur’ani) anti mazima ggwe oli ku kkubo eggolokofu.} [Surat al-Zzukhruf: 43]. Era Allah owa waggulu yagamba ku kusaala: {Bwemumala e sswala, mutendereze Allah mu kuyimirira ne mu kutuula ne mu kugalamira, ate bwe muba mu mirembe musaale esswala mu ngeri eyaabulijjo (enzijuvu). Mazima esswala yalaalikibwa ku Bakkiriza nga esaalibwa mu biseera ebigere.} [Surat al-Nisaa: 103]. Era owa waggulu yagamba ku baweebwa zzaka: {Mazima ddala saddaaka (zzaka) eweebwa abaavu, n’abanaku, n’abagikolako, naabo emitima gyabwe egisikirizibwa, (abaakasiramuka), ne mu kununula abaddu, n’abo amabanja begatuuse mu bulago, ne mu kulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Allah, n’omutambuze, ebyo byonna nga y'engereka ya Allah, era bulijjo Allah amanyi nnyo, mugoba nsonga.} [Surat al-Ttawba: 60]. Era Allah yagamba ku kusiiba: {Omwezi gwa Ramadhan gwegwo omwassirwa Qur’an nga bwe buluŋŋamu n’okulaga enjawulo. Oyo yenna mummwe aba atuuse kumwezi ogwo ateekwa kugusiiba. Ate oyo abeera omulwadde oba nga ali mulugendo (namala alya olw’obuzibu bweyalisanze nga asiibye), ezo ennaku ateekwa kuziriwa nga ekisiibo kiweddeko. Allah abaagaliza bwangu sso tabaagaliza buzito. Kale (musiibe) mujjuze ennaku ezigubeeramu, era mutendereze Allah olw’engeri gye yabaluŋŋamya olwo kibasobozese okumusiima.} [Surat al-Baqara: 185]. Era Allah yagamba ku kulamaga[hijja]: {Hijja erina emyezi egimanyiddwa, kale nno omuntu eyeekakasangako nti mu myezi egyo ajja kukoleramu Hijja, tasaana kukola bya bufumbo, eby'obwonoonyi, wadde okuwakana (/ okukaayana n'abalala) ng'ali mu mikolo gya Hijja. Buli kirungi kyonna kyemukola Allah akimanyi. Era muteekeddwa okwesibirira entanda. Nentanda esinga obulungi kwe kutya Allah. Kale nno muntye mmwe abalina amagezi agasengejja.} [Surat al-Baqara: 197]. Era ensinza ezo zonna enkulu ba nnabbi bonna emirembe gibeere ku bbo baakoowoola okudda gyeziri.
25- Omubaka w’obusiraamu ye Muhammad mutabani wa Abdallah okuva mu lunyiriri lwa Ismail mutabani wa Ibrahim emirembe gibeere ku bbo, yazaalibwa mu Makka omwaka 571, era yatumwa muyyo (makka), n’asenguka okudda e Madina, era teyeetaba na bantu be mu bintu bya busamize, naye yali yeetaba nabo mu mirimu egy’ekitiibwa, era yali wa mpisa nnungi nnyo nga tannaba kutumibwa, era abantu be baamuyita nga omwesigwa, era Allah yamutuma bweyaweza emyaka amakumi ana, era Allah n’amuwagira n’obubonero(Eby’amegero) obw’amaanyi, era nga n’akasinga obukulu ye Kkulaani ey'ekitiibwa, era kekabonero akasinga obubonero bwa bannabbi, era kekabonero ak’olubeerera mu bubonero bwa bannabbi okutuusa Olwaleero, era Allah bweyamujjuliza eddiini, n’omubaka okusaasira n’emirembe bibeere ku yye n’ajituusa mu bwennyini bw’okujituusa, yafa nga wa myaka nkaaga mw’esatu, era n’aziikibwa mu Madina okusaasira n’emirembe bibeere ku yye, era omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye, ye ow'enkomerero mu ba nnabbi n’ababaka, Allah y'amutuma n’obuluŋŋamu n’eddiini eya mazima, aggye abantu mu bizikiza by’obusamize n'obuwakanyi [obukaafiiri] n’obutamanya, [abazze] eri ekitangaala ky’okwawula Allah n’obukkiriza, era Allah yamujulirako nti mazima yye yamutuma nga amuwadde olukusa okuba omukoowooze okudda gyali.
Omubaka w'obusiraamu ye Muhammad mutabani wa Abdallah okuva mu lunyiriri lwa Ismail mutabani wa Ibrahim emirembe gibeere ku yye, yazaalibwa mu Makka omwaka 571 era n'atumwa muyo, era n'asenguka okudda e Madina ey'obwanabbi, era abantu be baamuyita nga omwesigwa, era teyeetaba na bantu be mu nsonga zaabusamize, naye mazima yye yali yeetaba nabo mu mirimu egy’ekitiibwa, era yalina empisa za ttendo nyo nga tannatumwa, omuleziwe yamutenda n'empisa ennungi ennyo, bwatyo n'agamba Allah owa waggulu kuye: {Era mazima ddala Ggwe oli wampisa nungi nnyo.} [Surat al-Qalam: 4] Era Allah yamutuma bweyaweza emyaka amakumi ana, era Allah n'amuwagira n'obubonero (obw'amagero) obw'amaanyi, era nga akabusinga amaanyi ye Kkulaani ey’ekitiibwa Yagamba Omubaka we [Allah] okusaasira n'emirembe bibeere kuyye: «Tewali nnabbi n'omu mu bannabbi okujjako nga yaweebwa ekyo abantu kye basobola okumukkiririzaako, era mazima nze ekyampebwa bubaka Allah bweyanzisaako, kale nsuubira okuba nti nze ajja okubasinga abagoberezi ku lunaku lw'okuyimirira [olw'enkomerero] » Swahiih al-Bukhar. Era Kkulaani ey’ekitiibwa bweebubaka bwa Allah eri omubaka we okusaasira n’emirembe bibeere ku yye, Allah yagamba kuye: {Ekitabo ekyo (Kur'ani) tekiriimu kubuusabuusa, (kyassibwa ku Nabbi Muhammad) nga bulungamu eri abatya Katonda.} [Surat al-Baqara: 2]. Era Allah owa waggulu yagamba kukyo: {Abaffe, tebeekenneenya Kur’ani, singa yali teyava wa Allah bandi jisanzeemu okukontana kungi.} [Surat al-Nisaa: 82]. Era Allah yasoomoza amajinni n'abantu baleeteyo ekigifaanana, Allah owa waggulu yagamba: {Gamba nti singa abantu n'amajinni beegatta babe nga baleeta ekitabo ekifaanana Kur’ani eno, tebayinza kuleeta kigifaanana newaakubadde nga abamu babeera bayambi ku bannaabwe.} [Surat al-Israa: 88]. Era Allah n'abasoomooza baleeteyo essuula kkumi ezifaanana eziri muyo[Kkulaani], Allah owa waggulu yagamba: {Oba bagamba nti (Kur’ani eno Muhammad) yagigunjawo, bagambe nti kale muleeteeyo essuula kkumi enjiiye ezifaanana (Kur’ani) era ng'oggyeko Allah, muyite yenna gwe musobodde (abayambeko) bwe muba nga mwogera mazima.} [Surat Huud: 13]. Allah yatuuka n'okubasoomooza okuleetayo essuula emu efaanana eri muyo [Kkulaani], Allah owa waggulu yagamba: {Naye bwe muba mubuusabuusa mu bye twassa ku muddu waffe (Nabbi Muhammad), kale muleeteeyo Essuula emu efaananako nga Kur'ani, muyite abajulizi ba mmwe (bemulowooza nti bayinza okubayamba) nga ssi Allah, bwe muba nga muli b'amazima.} [Surat al-Baqara: 23].
Era Kkulaani ey’ekitiibwa keekabonero kokka akaasigalawo mu bubonero bwa ba nnabbi okutuuka olwaleero, era Allah bweyajjuliza omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yye eddiini, era naye n'agituusa mu bwennyini bw'okugituusa, omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yafa ku myaka nkaaga mw’esatu era n'aziikibwa mu Madina ey'obwanabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye.
Era omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye y'afundikira ba nnabbi n'ababaka, Allah owa waggulu yagamba: {Muhammad tabangako kitaawe w'omu ku basajja mu mmwe wabula (yye) Mubaka wa Allah, era ow'enkomerero wa ba Nabbi. Era bulijjo Allah amanyidde ddala ebifa ku buli kintu.} [Suratul Ahzaab:40]. (Hadiith) Eva ku Abi Hurairah -Allah yasiima kuye- Nti mazima omubaka wa Allah okusaasira n’emimbe bibeere kuyye yagamba nti: «Mazima ekifaananyi kyange n'ekifaananyi kya ba nnabbi abankulembera kifaanagana nga omusajja eyazimba ennyumba n'agirongoosa era n'agirungiya okujjako akafo kamu mu kasonda awagenda ettoffaali, abantu nebabeera nga bagyetoolola nga beewunya, nga bagamba ssinga ettoffaali eryo lyateekebwawo? N'agamba: kale nze ttoffaali era nze afundikira ba nnabbi» Swahiih al-Bukhar, Era mu Injil [Nnabbi Isa] Masiya emirembe gibeere ku yye yagamba nga awa amawulire ag'essanyu ag'[okujja kw'] omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye: (Yesu n'abagamba nti: “Temusomangako mu byawandiikibwa nti: Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lyafuuka omutwe gw'ensonda, kino kyava eri Mukama, era kya kitalo mu maaso gaffe?”). Era mu “Kyamateeka Olwokubiri” ekiriwo olwaleero mulimu ekigambo kya Allah ng'agamba [nnabbi] Musa emirembe gibeere ku yye: (Ndibayimusiza nnabbi okuva mu baganda baabwe, afaanana nga ggwe; era nditeeka ebigambo byange mu kamwa ke, era alibabuulira byonna bye ndimulagira).
Era omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye Allah yamutuma n'obuluŋŋamu n'eddiini ey'amazima, era Allah n'amuwaako obujulizi nti mazima yye ali ku mazima era mazima yye [Allah] yamutuma nga amuwadde olukusa okuba omukoowooze okudda gyali, Allah owa waggulu yagamba: {(Ekyo kimala abantu okuba nga naawe bakukkiriza naye abayudaaya n’ababafaanana bwebaba nga tebakukkirizza) kasita Allah akakasa nti (ekitabo) ekyassibwa ku ggwe kyassibwa ku kumanya kwa Allah (yali akimanyi) n’okusalawokwe ne ba Malayika ekyo kyennyini kyebakakasa, naye nga bulijjo Allah yeemalirira okuwa obujulizi n’okukakasa ekintu kyonna.} [Surat al-Nisaa: 166]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Allah yye, yooyo eyatuma omubaka we naleeta obuluŋŋamu n'eddiini ey'amazima abe ng'alaga ekifo kyaayo ekya waggulu ku madiini gonna, kimala okuba nti Allah yemujulizi (kw'ekyo).} [Surat al-Fat'hi: 28]. Allah yamutuma n'obuluŋŋamu aggye abantu mu bizikiza by’obusamize n’obukaafiri n’obutamanya, okudda eri ekitangaala ky’okwawula Allah n’obukkiriza, Allah owa waggulu yagamba: {Allah aluŋŋamya nakyo omuntu agoberera okusiima kwe eri amakubo ag'emirembe, N'abaggya mu bizikiza okubalaza eri ekitangaala olw'okwagala kwe, n'abaluŋŋamya eri ekkubo eggolokofu} [Surat al-Maa'ida: 16]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Alif Laam Raa, kino kitabo twakissa gyoli obe nga oggya abantu mu bizikiza obazze mu kitangaala, ku lw'okukkiriza kwa Mukama omulabirizi waabwe (obaluŋŋamye) ku kkubo lya nnantakubwa ku mukono atenderezebwa.} [Surat Ibrahim: 1].
26- Era Ssemateeka w’obusiraamu omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye gwe yajja naye yeyakomekkereza obubaka bw'obwa-Katonda ne zi Ssemateeka ez’obwa-Katonda, era yye Ssemateeka ow’obujjuvu, era mu yye mwe muli okulongooka kw'ediini y’abantu n’ensi yaabwe, era eri ku ddaala erisooka mu kukuuma: eddiini z’abantu n’omusaayi gwabwe n’emmaali yaabwe n’amagezi gaabwe n’ezzadde lyabwe, era y’asangulawo zi Ssemateeka ezaasooka, nga era zi Ssemateeka ezasooka bwezajja zisangulaganawo.
Ssemateeka w'obusiraamu oyo omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye gwe yajja naye, yeyakomekkereza obubaka obw'obwa-Katonda ne zi Ssemateeka ez’obwa-Katonda, era Allah yajjuza eddiini n'obubaka buno, era ekyengera nekijjulia n'okutumwa kw'omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye, Allah owa waggulu yagamba: {"Olwaleero mbajjulizza eddiini yammwe era nembajjuliza n'ekyengera kyange nembasiimira mmwe obusiraamu okuba eddiini"} [Surat Maa-idah: 3].
Era Ssemateeka w'obusiraamu ye Ssemateeka omujjuvu, era muye mulimu okulongooka kw'eddiini y'abantu n'ensi yaabwe; kubanga yye [Ssemateeka] yakunŋŋaanya byonna ebyali mu zi Ssemateeka ezaasooka n'ezimalayo n'ezijjuuliriza, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima Kur’ani eno eruŋŋamya eri ekkubo erisinga obugolokofu, era ewa abakkiriza abo abakola emirimu emirongoofu amawulire ag'essanyu nti: mazima bo baakufuna empeera ensukkulumu.} [Surat al-Israa: 9]. Era Ssemateeka w'obusiraamu neewewula ku bantu obuzito obwalinga mu bibinja ebyasooka, Allah owa waggulu yagamba: {Abo abagoberera omubaka, Nabbi, atasoma biwandiiko, oyo gwe basanga nga muwandiike ewaabwe mu Taurat ne enjili, nga abalagira e mpisa e nnungi, era n’abagaana e mpisa e mbi, era nga abakkiriza e birungi (mu biriibwa n’ebinywebwa), era naabaziyiza e bibi, era naabaggyako obuzito n’amakoligo, ebyo e byabaliko, kale nno abo abamukkiriza, nebamuwagira, ne bamutaasa, era ne bagoberera e kitangaala ekyo e kyamuweebwa, abo nno bo, be balituuka ku buwanguzi.} [Surat al-A'araaf: 157].
Era Ssemateeka w'obusiraamu yasangulawo buli Ssemateeka eyasooka, Allah owa waggulu yagamba: {Era twassa gyoli (Ggwe Muhammad) ekitabo, mu bulambulukufu nga kikakasa e bitabo byonna e byakikulembera era nga kye kibisukkulumyeko. Kale lamula wakati waabwe nga okozesa ebyo Allah byeyassa togezaako okugoberera okwagala kwabwe obe nga oleka amazima agakujjidde, buli bamu mu mmwe twabawa amateeka n'enkola singa Allah yayagala yaalibafudde ekibiina kimu naye yayagala okubakema olwebyo byeyabawa, kale nno muvuganye mu kukola ebirungi, anti eri Allah yeeri obuddo bwa mmwe mwenna, gyalibategeereza ebyo byemwayawukanamu.} [Al-Maa'ida: 48]. Nabwekityo Kkulaani ey’ekitiibwa eyo erimu Ssemateeka, yajja nga ekakasa obutuufu bw'ebyajisooka mu bitabo by'obwa-Katonda era nga ebiramula era nga ebisangulawo.
27- Era Allah eyayawukana era owa waggulu takkiriza ddiini etali busiraamu obwo omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye bwe yajja nabwo, era yenna anaayingira eddiini etali busiraamu tajja kufuna kukkirizibwa.
Era Allah eyayawukana era owa waggulu takkiriza oluvannyuma lw'okutuma Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere kuyye ddiini etali busiraamu obwo omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye bwe yajja nabwo, era yenna anaayingira eddiini etali busiraamu tajja kufuna kukkirizibwa. Allah owekitiibwa yagamba: {N'omuntu yenna eyeegwanyiza (era n'anoonya) eddiini etali busiraamu, Allah tagenda kujikkiriza era ku nkomerero agenda kuba mw'abo abafaafaaganiddwa} [Surat Al-Imraan: 85]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Mazima obusiraamu ye ddiini entuufu ewa Allah era abaaweebwa e kitabo (Taurat ne njili) tebayawukana okugyako luvannyuma lwakufuna okumanyisibwa okuva eri Allah kulwokwekolera ensalwa bokka nabokka n'omuntu yenna (awakanya era) eyewaggula ku (mateeka) bigambo bya Allah mazima Allah takaluubirirwa kubala.} [Surat Al-Imraan: 19]. Era Obusiraamu buno, y'eddiini ya [nnabbi] Ibrahim emirembe gibeere ku yye mukwano gwa Allah, Allah owa waggulu yagamba: {Ani yaalyegombye okuva ku ddiini ya Ibrahim okugyako oyo eyeesiriwaza yekka. Ate nga (Ibrahim) twamuwa ekifo eky'enkizo mu nsi era mazima ddala ye ku lunaku lw'enkomerero wakubeera mu bakozi b'obulungi.} [Surat Al-Baqara: 130]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Ani ali mu ddiini e nnungi okusinga oyo aba yeewaddeyo ewa Allah, era nga mukozi wa birungi, era n'agoberera enkola ya Ibrahim ey'obutakkiririza mu bisinzibwa byonna ebitali Allah omu, era nga Allah yafuula Ibrahim mukwano gwe owenjawulo.} [Surat al-Nisaa: 125] Era Allah yalagira omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye agambe: {Gamba mazima nze Mukama katonda omulabirizi wange yannuŋŋamya ku kkubo e ggolokofu, nga ddiini ennambulukufu, nga y'eddiini ya Ibrahim, eyali omwesimbu munzikiriza, era tabangako wa mubagatta ku Allah kintu kirala.} [Surat al-An'aam: 161].
28. Kkulaani ey’ekitiibwa ky'ekitabo Allah kyeyassa ku mubaka Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, era nga bigambo bya Mulezi w'ebitonde byonna (Allah). Allah yasoomoza abantu n'amajinni okuleetayo ekikifaanana oba essuula efaanana emu ku ssuula zaakyo, era okusoomooza kukyaliwo okutuusa Olwaleero. Era Kkulaani ey'ekitiibwa eddamu ebibuuzo bingi ebikulu ebitawaanya obukadde n'obukadde bwa'abantu, era Kkulaani ey'ekitiibwa nkuume okutuusa olwaleero mu lulimi oluwalabu mweyakkira, era temwetoolangamu yadde ennukuta, era yakubibwa n'esasaanyizibwa, era kitabo ky'amaanyi eky'amagero ekisaanye okusomebwa oba okusoma okuvvunula kw'amakulu gaakyo, ng'era n'Enkola z'omubaka Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, n'ensomesa ze, n'ebyafaayo bye bwebiri ebikuume era binyumizibwa nga biyita mu lujegere lw'aboogezi abeesigika, era nabyo byakubibwa mu lulimi oluwalabu omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yye lweyayogera nga, era byavvuunulwa mu nnimi nyinji. Era Kkulaani ey’ekitiibwa n’Enkola y'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, byombi y'ensibuko yokka ey'ennamula z'obusiraamu n'amateeka gaabwo. Nabwekityo Obusiraamu tebuggyibwa ku bikolwa bya bassekinnoomu ababulimu; wabula buggyibwa mu bubaka bwa Allah: Kkulaani ey'amaanyi n'Enkola ey'obwannabbi.
Kkulaani ey'ekitiibwa ky'ekitabo ekyo Allah kyeyassa ku mubaka omuwalabu Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye, mu lulimi oluwalabu era nga nabyo bigambo bya Mulezi wa bitonde (byonna), Allah owa waggulu yagamba: {Era mazima yyo (Kur’ani) yassibwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna. (192) Yakka nayo mwoyo omwesigwa (Jiburilu). (193) (Naagissa) ku mutima gwo olyoke obe mu batiisa (abantu okukola ebibi). (194) Nga eri mu lulimi oluwarabu olutegeerekeka. (195)} [Surat al-Shu'araa: 192-195] Era Allah owa waggulu yagamba: {Era mazima ggwe (Muhammad) oweebwa Kur’ani ng'eva (ewa Katonda) mugoba nsonga amanyi ennyo.} [Surat al-Namli: 6]. Era Kkulaani eno yakka kuva wa Allah era ekakasa obutuufu bw'ebyajisooka mu bitabo by'obwa-Katonda, Allah owa waggulu yagamba: {Kyali tekisoboka kuba nti Kur’ani eno yagunjibwawo nga teyava wa Allah, wabula yye Allah yagissa nga ekakasa ebyo ebitabo ebyagikulembera era nga ennyonnyola ebiri mu bitabo ebyo byonna, teriimu kubuusabuusa yava wa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.} [Surat Yuunus: 37]. Era Kkulaani ey’ekitiibwa ennyonnyola ensonga ezisinga obungi ezayawukanibwamu abayudaaya n'abakulisitaayo mu madiini gaabwe, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima Kur’ani eno etegeeza abaana ba Israil ebisinga obungi ebyo bye baawukanamu.} [Surat al-Namli: 76]. Era Kkulaani ey’ekitiibwa erimu obujulizi n'obukakafu ebimala okuggyawo ebyekwaso ku bantu bonna, mu kumanya ebituufu ebyannamaddala ebikwatagana ku Allah eyayawukana era owa waggulu, n'eddiini ye, n'empeera ye, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima tukubidde abantu mu Kur’ani eno buli kifaananyi babe nga beebuulirira.} [Surat al-Zzumar: 27]. Era Allah n'agamba {Era Tussa ku ggwe ekitabo (Kuraane) ku lw'okunnyonnyola buli kintu, era eky'okuluŋŋamya n'okusaasira era nga kibuulira nga kiwa abasiraamu amawulire ag'essanyu.} [Surat Nahali: 89].
Era Kkulaani ey’ekitiibwa eddamu ebibuuzo bingi ebikulu ebitawaanya obukadde n'obukadde mu bantu, era Kkulaani ey’ekitiibwa ennyonnyola butya Allah bwe yatonda amagulu n'ensi, Allah owa waggulu yagamba: {Abo abaakaafuwala tebakiraba nti mazima eggulu omusanvu n'ensi byali kitole netubyabuluzaamu era netuggya mu mazzi buli kintu ekiramu abaffe tebakkiriza!.} [Surat al-Anbiyaa: 30]. Era butya Allah bwe yatonda omuntu, [Allah] owa waggulu yagamba: {Abange mwe abantu! Bwe muba nga muli mukubuusabuusa ku (kubaayo) kw'okuzuukira, kale (mufuumiitirize entonda yammwe nga bwe yali): Ffe Twabatonda mu ttaka (Jjajjammwe Adamu), oluvannyuma ne (Tubeera nga) Tubatonda mu mazzi agazaala, nate oluvannyuma ne Tubaggya mu kisaayisaayi, n'oluvannyuma ne Tukifuula ekinyamanyama ekitondeddwa mu bujjuvu n'ekitannatondebwa mu bujjuvu. olwo Tulyoke Tubannyonnyole (Obuyinza Bwaffe). Tutebenkeza mu nnabaana ekyo kye Twagala (oba mwana mulenzi oba muwala) okutuusa eri ebbanga eggere (ery'okuggwaako olubuto), oluvannyuma ne Tubafulumya nga muli bawere (ne muzaalibwa), n'oluvannyuma (ne Tubakuza) mulyoke mutuuse obukulu bwammwe. Era mulimu mu mmwe oyo afa (amangu nga tannavubuka). Era mulimu mu mmwe oyo azzibwa eri obuwangaazi obwa wansi (n'akaddiwa n'awutta), n'alemwa okumanya ekintu kyonna oluvannyuma lw'okumanya (kw'abadde nakwo nga tannazeeyuka). Era olaba ensi nga ekaze, naye bwe Tuba nga Tugitonnyesezzaako amazzi (enkuba) enyeenya n'esibuka (buto) n'emera mu buli mutindo gw'ebimera ebirungi.} [Surat al-Hajj: 5]. era obuddo bwe buliwa, era empeera y'omulongoosa n'omwononyi yeeriwa oluvannyuma lw'obulamu buno? Era obujulizi ku nsonga eno bwayogera mu katundu nnamba (20), era nti bino ebiriwo byajja mu butali bugenderevu oba byateekebwawo olw'ekigendererwa eky'ekitiibwa? Allah owekitiibwa yagamba: {Abaffe tebaatunulako mu bufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi! na buli kyonna Allah kyeyatonda! n’okuba nti kirabika nti e nkomerero yaabwe mazima yali etuuse! kaakano oluvanyuma lwa kino bigambo ki bye bayinza okukkiriza!.} [Surat al-A'araaf: 185]. Era Allah n'agamba {Abaffe mwalowooza nti mazima twabatonda nga tewali kigendererwa, era nti mazima mmwe temugenda kuzzibwa gye tuli.} [Surat al-Mu'uminuun: 115].
Era Kkulaani ey’ekitiibwa nkuume okutuusa olwaleero mu lulimi mweyakkira, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima Ffe twassa (Qura'an) era ddala mazima Ffe tujja okugikuuma} [Surat al-Hijr: 9]. tekendeera ngamu yadde ennukuta ate nga tekisoboka kubeeramu kukontana oba bukendevu oba kukyusibwa, Allah owa waggulu yagamba: {Abaffe, tebekkenneenya Kur’ani (nakujifumintirizaako), singa teyava wa Allah bandi gisanzeemu okukontana kungi.} [Surat al-Nisaa: 82]. Era yakubibwa n'esaasaanyizibwa, era kitabo ky'amaanyi eky'amagero ekisaanye okusomebwa oba okuwulirizibwa oba okusoma kw'amakulu gaakyo amavvuunula (mu nnimi ez'enjawulo), ng'era n'Enkola z'omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye, n'ensomesa ze n'ebyafaayo bye bwebiri ebikuume era binyumizibwa nga biyita mu lujegere lw'aboogezi abesigika, era nabyo byakubibwa mu lulimi oluwalabu omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yye lweyayogera nga, era byavvuunulwa mu nnimi nyinji, era Kkulaani ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye, byombi y'ensibuko yokka ey'ennamula z'obusiraamu n'amateeka gaabwo, nabwekityo Obusiraamu tebuggyibwa ku bikolwa bya ba ssekinnoomu ababulimu; wabula buggyibwa mu bubaka bwa Allah obukuume: Kkulaani ey'amaanyi n'Enkola ey'obwannabbi, [Allah] owa waggulu yagamba ku nsonga ya Kkulaani: {Mazima abo abawakanya Kuraane Ey'ekitiibwa ng'emaze okubajjira (tubalaba era bagenda kubonyabonyezebwa). Mazima Yo Kitabo kya kitiibwa. - Tebugenda kugituukako obukyamu bwonna (okugikyusa) okuva mu maaso gaayo oba wadde okuva emabega waayo: (Mazima yo) yakka nga eva eri Omukakasa w'ebitonde, Atenderezebwa.} [Surat Fusswilat: 41-42]. Era Allah yagamba ku nsonga y'Enkola y'obwannabbi era nti mazima yyo bubaka okuva ewa Allah: {N’ekyo kyonna omubaka (ky'abaleetera oba ky'abawa), mukitwalenga, n'ekyo ky’abagaananga, mukirekengayo (mukyewalenga). Mutyenga Allah, mazima Allah alina ebibonerezo ebiyitirivu (okuluma).} [Surat Hashri: 7].
29- Era Obusiraamu bulagira okulongoosa eri abazadde, nebwebaba nga ssi basiraamu, n'okulaamira abaana.
Obusiraamu bulagira okulongoosa eri abazadde, Allah owa waggulu yagamba: {Mukama katonda omulabiriziwo yasalawo era n'alagira nti temusinza (kintu kyonna) okugyako yye, yekka. Era yasalawo ate n'alagira abazadde ababiri okuyisibwa obulungi, singa omu ku bo, oba bombi akaddiwa nga wooli, tobagambanga ekigambo eky'okubeenyinyala era tobaboggoleranga yogera nabo ebigambo eby'ensa.} [Surat al-Israa: 23]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Era twakalaatira omuntu okuyisa obulungi bakaddebe bombi, nnyina amusitula mu lubuto nga bunafu obweyongera ku bunafu, era nga okumuggya ku mabeere (kubaawo) mu banga lya myaka ebiri, (era ne tumulagira) nti nneebaza era weebaze bakaddebo. Gyendi yokka yeeri obuddo.} [Surat Luqmaan: 14]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Kale twalaamira omuntu okuyisa abazadde obulungi, maama we yamuwanirira mu buwaze (bulumi) era yamuzaala mubuwaze, ate nga okuwanirira kwe n’okujjibwa kwe ku mabeere ly’ebbanga ery’emyezi (amakumi) asatu. Bwatuuka okubeera omuntu omukulu nga awezezza emyaka (amakumi) ana, asaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange mbagulizaako ebinsobozesa okusiima ebyengera byo bye wangemulira n’ebyo bye wagemulira bazadde bange era mbe nga nkola ebirungi by’osiima, era onyweze kulwange embera y’obulongofu mu bazzukulu bange. Mazima nze nneenenyezza gyoli era mazima nze ndi mwabo (abasiraamu) abewaayo mu mateeka ga Allah.} [Surat al-Ahqaaf: 15]. Era Hadith nga eva ku Abi Huraira Allah amusiime yagamba: omusajja yajja eri omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye n'agamba: owange omubaka wa Allah ani mu bantu asinga okusaana okuba mukwano gwange? N'agamba: «Maama wo» n'agamba: oluvannyuma ani? N'agamba: «oluvannyuma maama wo» n'agamba: oluvannyuma ani? N'agamba: «oluvannyuma maama wo» n'agamba oluvannyuma ani? N'agamba: «oluvannyuma taata wo» Swahiih al-muslim.
Era ekiragiro ekyo ekiraamira abazadde ababiri, ssi nsonga bombi basiraamu oba ssi basiraamu Hadith nga eva ku Asmaa muwala wa Abubakar yagamba:(maama wange yajja nga ssi musiraamu ng'ali ne mutabani we ku mulembe gw'abakurayishi n'ekiseera kyabwe, mu kiseera webattira omukago ne nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye, nenneebuuza ku nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye neŋŋamba: Mazima mmange azze ng'alina kyanneetaagako, nkolagane naye? N'agamba: «iyye kolagana ne maama wo» Swahiih al-Bukhar, Naye ate abazadde bombi bwe bagezezzaako ne bafuba ku ky'okubeera nti omwana akyuka okuva mu busiraamu okudda mu bukaafiri, awo wo Obusiraamu bumulagira -ng'embeera eri bwetyo- aleme kubagondera asigale nga mukkiriza mu Allah [ate] era alongoose gyebali era abeere nabo [mu bulungi] okusinziira ku mbeera ya bulijjo, Allah owa waggulu yagamba: {Bwe baba bakuwalirizza obe nga ongattako ekyo ky'otolinaako kumanya kwonna tobagonderanga, naye kolagana nabo mu nsi mu ngeri nnungi, era ogoberere ekkubo ly'oyo eyeemenya nadda gyendi. Ate oluvanyuma gyendi yeeri obuddo bwa mmwe (mwenna) olwo nno nembategeeza ebyo bye mwakolanga.} [Surat Luqmaan: 15].
Era Obusiraamu tebuziyiza musiraamu kulongoosa eri baŋŋanda ze batali basiraamu oba abatali baŋŋanda ze, bwebaba nga tebalwanyisa busiraamu, Allah owa waggulu yagamba: {Allah tabagaana ku kolagana naabo ababa tebabalwanyisizza olw'eddiini, era abatabagobaganya mu nsi yammwe mutuuke okuba nga temubayisa bulungi n'okubakolera obwenkanya, anti mazima ddala Allah ayagala abwenkanya.} [Surat al-Mumtahina: 8].
Era Obusiraamu bulagira okulaamira abaana, era kyebusinga okulagira taata okkola kwe kuyigiriza abaana ebivunaanwa bya Allah ku bbo (by'ababanja), nga nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye bweyagamba mutabani wa taata we omuto Abdallah bin Abbaas Allah abasiime bombi: «Owange muvubuka (gwe) oba owange kavubuka, nkuyigirizeeyo ebigambo Allah akugase nabyo? N'eŋŋamba nti: iyye. N'agamba: "Weekuume Allah ajja kkukuuma, weekuume Allah ajja kubeera naawe, mumanye [odde gyali] mu biseera eby'eddembe aggya kkumanya [akutaase] mu biseera ebizibu, era bwoba nga osaba saba Allah, era bwoba nga osaba okuyambibwa, obuyambi busabe Allah » Yayogerwa Ahmad, 4/287.
Era Allah yalagira abazadde bombi okusomesa abaana baabwe ebibagasa mu nsonga z'eddiini yaabwe n'ensi yaabwe, [Allah] owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abakkiriza mwewonye muwonye n'abantu bammwe omuliro, nga gukumibwa bantu na mayinja (ng'enku zaagwo), gukuumibwa ba Malayika abakambwe abaamanyi ennyo, tebajeemera Allah mu kyonna ky'aba abalagidde, wabula bakola ekyo kyonna kye baba balagiddwa.} [Surat al-Tahriim: 6] Era Hadith nga eva ku Ali -Allah amusiime- (nga ayogera) ku kigambo kya [Allah] owa waggulu (ekigamba): {Mukingirize emyoyo gyammwe n’abantu bammwe omuliro} agamba: "mubagunjule mubasomese". Era nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye yalagira omuzadde okuyigiriza omwana we okusaala; agyikulireko (esswala), bwatyo nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye n'agamba: (mulagire abaana bammwe okusaala nga ba myaka musanvu) Yayogerwa Abu-daawuuda, Era n'agamba okusaasira n’emirembe bibeere kuye: «mwenna muli balabirizi era buli omu kummwe waakubuuzibwa kw'abo [oba ebyo] byalabirira, kale omusajja mulabirizi w'abeewuwe era waakubuuzibwa ku baalabirira, era n'omukyala mulabirizi mu nyumba ya bbaawe era waakubuuzibwa kw'abo [oba ebyo] byalabirira, era n'omukozi mulabirizi mu mmaali ya mukamaawe era waakubuuzibwa kw'ebyo byalabirira, era buli omu mummwe mulabirizi era waakubuuzibwa kw'abo [oba ebyo] by'alabirira» Swahiih ibn Hibbaan, 4490.
Era Obusiraamu bwalagira taata okulabirira abaana be n'abomunju ye, era waliwo ebyayogeddwako emabega mu katundu nnamba (18), era nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye n'annyonnyola obulungi bw'okulabirira abaana n'agamba: «Diinaar [essente] esinga obulungi omusajja gy'awaayo: ye diinaar [ssente] gy'atoola (n'awaayo) eri [okulabirira] abaana be, ne diinaar [essente] omusajja gy'awaayo eri [okulabirira] ensolo ye mu kkubo lya Allah, ne diinaar [essente] gy'awaayo eri banne mu kkubo lya Allah». Abu Qilaaba yagamba: era yatandika na baana, oluvannyuma Abu Qilaaba n'agamba: musajja ki asinga empeera okusinga omusajja awaayo eri [okulabirira] abaana abato n'akuuma ensa zaabwe oba Allah n'abaganyula naye era n'abamalira" Swahiih Muslim 994.
30- Obusiraamu bulagira obwenkanya mu bigambo n'ebikolwa, yadde eri abalabe.
Allah eyayawukana era owa waggulu atendebwa n'obwenkanya n'okugabanya obulungi mu bikolwa bye n'okutambuzakwe ensonga mu baddu be, era yye ali ku kkubo ggolokofu mw'ebyo byeyalagira ne byeyaziyiza ne mwebyo byeyatonda ne byeyagereka, Allah owa waggulu yagamba: {Allah yakakasa nti ddala tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye neba malayika ne bannyini kumanya nabo bakakasa ekyo, era nga bulijjo Allah aliwo kutuukiriza bwenkanya, tewali kisinzibwa okugyako yye nantakubwa ku mukono mugobansonga.} [Surat Al-Imraan: 18]. Era Allah alagira obwenkanya, Allah owa waggulu yagamba: {Gamba nti: Mukama wange Yalagira obwenkanya.} [Surat al-A'araaf: 29]. Era ababaka bonna ne bannabbi emirembe gibeere ku bbo bajja na bwenkanya, Allah owa waggulu yagamba: {Kikakafu ddala mazima twatuma Ababaka Baffe n’ebyamagero eby’enkukunala (ebiraga amazima gaabwe), ne tussa awamu nabo Ebitabo n’Ebipimo eby’Obwenkanya. Abantu balyoke bayimirire ku bwenkanya} [Surat al-Hadiid: 25]. Era ekipimo bwe bwenkanya mu bigambo n'ebikolwa.
Era Obusiraamu bulagira obwenkanya mu bigambo ne mu bikolwa yadde nga tuli na abalabe (baffe), Allah owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abakkiriza mubeere abalwanirira obwenkanya, abajulira ku lwa Allah, ensonga nebweba ekwata ku mmwe bennyini, oba abazadde (bammwe) bombi, n'aboluganda olwokumpi (aweebwako obujulizi) k'abe mugagga oba mwavu bombi bantu ba Allah okusinga okuba nti ba mmwe, kale nno temugoberera okwagala kwammwe nemutakola bwenkanya. bwemunaakyusa amazima oba nemugaana okuwa obujulizi (obutuufu), mazima ddala Allah bulijjo amanyidde ddala byemukola.} [Surat al-Nisaa: 135]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Era tekubawalirizanga okusunguwalira (kwammwe) ekibiina olw'okubanga baabaziyiza (olumu okugenda) ku Muzikiti Ogw'emizizo okulema okwenkanya (nga mukolaganye nabo, wabula) muyambaganenga mu bulungi n'okutya Katonda. Naye temuyambagananga ku kwonoona n'obulabe, mutye Allah: Mazima Allah Muyitirivu wa bibonerezo.} [Surat al-Maa'ida: 2]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abakkiriza mubeere beesimbu ku lwa Allah, nga muwa obujulizi mubwenkanya, abantu okuba abalabe ba mmwe, tekibawugulanga nemutakola mazima, bulijjo mukole obwenkanya, kyo kyekiri okumpi n'okutya Allah, era mutye Katonda, mazima Katonda amanyidde ddala byemukola.} [Surat al-Maa'ida: 8]. Abaffe olina wosanga mu mateeka g'abantu olwaleero oba mu madiini g'abantu ensonga eringa eno: okujulira amazima n'okwogera amazima yadde nga galumiriza gwe kennyini n'abazadde bo ababiri n'abeŋŋanda, n'okulagira obwenkanya eri omulabe ne munywanyi.
Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye yalagira obwenkanya wakati w'abaana Hadith nga eva ku Aamir yagamba: nawulira Nu'umaan mutabani wa Bashiir Allah abasiime bombi, nga ali ku kituuti ng'agamba: Taata wange alina kyeyali ampadde. Amratu muwala wa Rawaaha n'agamba: sijja kuweera n'akusiima okutuusa nga ojulizza omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, n'agenda eri omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye n'agamba: mazima nnina kyempadde omwana wange owa Amra muwala wa Rawaaha, [Amra] n'andagira nkujulize owange gwe omubaka wa Allah, (nnabbi) nagamba : «abaana bo abalala obawadde ng'ekyo?» n'agamba: nedda, n'agamba: « kale mutye Allah era mwenkanye wakati w'abaana bammwe» n'agamba: n'addayo n'amuggyako kyeyali amuwadde) Swahiih al-Bukhariy 2587.
Era kiri bwekityo kubanga ensonga z'abantu n'amawanga teziyimirirawo okuggyako na bwenkanya, era abantu tebaba na mirembe ku ddiini zaabwe n'emisaayi gyabwe n'abaana baabwe n'ebitiibwa byabwe n'emmaali yaabwe n'amawanga gaabwe okujjako na bwenkanya; y'ensonga lwaki tusanga nga mazima nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye, abakaafiri b'emakka bwebaanyigiriza abasiraamu e Makka, nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye yabalagira basenguke okudda e Habasha; naawa ensonga kw'ekyo nti: eriyo Kabaka omwenkanya tewali alyazamanyizibwa waali.
31- Era Obusiraamu bulagira okulongoosa eri ebitonde byonna, era bukoowoola okudda eri empisa ennungi n'emirimu emirungi.
Obusiraamu bulagira okulongoosa eri ebitonde byonna, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima Allah alagira obwenkanya n'okulongoosa, n'okuwa ab'oluganda (obuyambi)} [Surat al-Nahli: 90]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Abo (abakkiriza abannamaddala) be bawaayo mu kkubo lya Allah, mu biseera eby'essanyu ne by'obuzibu, era ababikka ku busungu, abasonyiwa abantu. bulijjo Allah ayagala abakozi b'ebirungi.} [Surat Al-Imraan: 134]. Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuyye: «Mazima Allah yalaalika / yalagira okuyisa obulungi (okulongoosa) eri buli kintu, kati bwemuba mutta ekintu kyonna mukitte mungeri esinga obulungi, era bwe muba musala ensolo mugisalenga mungeri esinga okuba ennungi, era muwagale nga ebiso bibeere byogi era kyosala okiwe emirembe (obutakibonya bonya nga okisala)» Swahiih Muslim 1955.
Era Obusiraamu bukoowoola okudda eri empisa ennungi n'emirimu emirungi, Allah owa waggulu yagamba ng'atenda omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye mu bitabo ebyasooka: {Abo abagoberera omubaka, Nabbi, atasoma biwandiiko, oyo gwe basanga nga muwandiike ewaabwe mu Taurat ne enjili, nga abalagira e mpisa e nnungi, era n’abagaana e mpisa e mbi, era nga abakkiriza e birungi (mu biriibwa n’ebinywebwa), era naabaziyiza e bibi, era naabaggyako obuzito n’amakoligo, ebyo e byabaliko, kale nno abo abamukkiriza, nebamuwagira, ne bamutaasa, era ne bagoberera e kitangaala ekyo e kyamuweebwa, abo nno bo, be balituuka ku buwanguzi.} [Surat al-A'araaf: 157]. N’omubaka wa Allah n'agamba: «owange Aa'isha mazima Allah waakisa ayagala ekisa era agaba olw'ekisa, ky'atawa lwa kkabyo ne ku ky'atawa ku kitali ekyo» Swahiih Muslim 2593. N’omubaka wa Allah n'agamba: «Mazima Allah yabaziyizaako: okujeemera ba maama, n'okuziika abawala [abalamu], n'okugaanira ebyo ebibakakatako okuwaayo, n'okusaba ebitali byammwe, era n'atamwa gyemuli okwogera kalebule, n'okuyitiriza ebibuuzo n'okwonoona emmaali» Swahiih al-Bukhariy 2408. Era omubaka wa Allah yagamba: «Temujja kuyingira jjana okutuusa nga mufuuse abakkiriza, ate temujja kufuuka bakkiriza okutuusa nga mwagalanye, abaffe mbalagirireyo ekintu, nga ssinga muba mukikoze mujja kwagalana? Musaasaanye ssalaam wakati wammwe» Swahiih Muslim 54.
32- Era Obusiraamu bulagira empisa ez'ettendo nga amazima, n'okutuukiriza obwesigwa, n'ensa, n' ensonyi, n'obuvumu, n'okuwa, n'okugaba, n'okuyamba omwetaavu, n'okudduukirira abawankawanka, n'okuliisa abayala, n'okulongosa omuliraano, n'okuyunga eŋŋanda, n'obukwatampola eri ebisolo.
Era Obusiraamu bulagira empisa ez'ettendo, yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: (Mazima natumibwa kujjuuliriza mpisa nnungi) Swahiih Aadaab al-Mufrad 207, Omubaka wa Allah yagamba: (Mazima asinga okwagalibwa mummwe gyendi, era ajja okusinga okuntuula okumpi ku lunaku lw’enkomerero; y'abasinga empisa ennungi, era mazima asinga okunyigirwa mummwe gyendi, era ajja okusinga okuntuula ewala ku lunaku lw’enkomerero; Aboogerayogera ebigambo ebingi [al-tharthaaruun] , n'abalumbagana abantu n'ebigambo n'okubawemula [al-mutashaddiquun], ne ba [al-mutafayhiquun], baagamba nti: ba Tharthaaruuna ne ba Mutashaddiquuna tubamanyi, naye ate ba Mutafayhiquuna beebalIwa? N'agamba: abeekuluntaza) Assilsila Asswahiiha 791. Era Hadith nga eva ku Abdullah mutabani wa Amru Allah abasiime bombi yagamba: "nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye teyali muwemu mu bigambo yadde ebikolwa, era teyali muwemu mu butonde bwe yadde okugenderera oba okwekaka okuba omuwemu" era yagamba nga: (Mazima abasinga obulungi y'abasinga empisa) Swahiih al-Bukhariy 3559, n'ebirala ng'ebyo mu aaya ne Hadith eziraga nti mazima Obusiraamu bukubiriza empisa ez'ettendo n'emirimu emirungi okutwaliza awamu.
Era mw'ebyo Obusiraamu byebulagira: Amazima, omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: (Mbalaamira amazima kubanga amazima galuŋŋamya eri obulungi, ate mazima obulungi buluŋŋamya eri ejjana, era omuntu talekaayo kuba wa mazima era nga afaayo nyo okuba ku mazima, okutuusa lw'awandiikibwa eri Allah nti waamazima) Swahiih Muslim 2607.
Era mw'ebyo Obusiraamu bye bulagira: Okutuukiriza obwesigwa, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima Allah Abalagira okuwaayo obwesigwa eri bannannyini bwo} [Surat al-Nisaa: 58].
Era mw'ebyo Obusiraamu bye bulagira: ensa, omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «[Abantu] basatu kikakafu ku Allah okubayamba: n'ayogera mu bo: n'omuntu awasa ng'ayagala kukuuma nsa» Sunan al-Ttirmidhiy 1655. Era mu kusaba (edduwa) ze okusaasira n’emirembe bibeere ku yye kwekuba nti mazima yye yagamba nga: «ayi Allah mazima nze nkusaba obuluŋŋamu n'okutya [Allah] n'ensa n'obugagga» Swahiih Muslim 2721.
Era mw'ebyo Obusiraamu bye bulagira z'ensonyi, yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Ensonyi tezirina kyezireeta okujjako ebirungi» Swahiih al-Bukhariy 6117, Era yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuyye: «Buli ddiini erina empisa, era empisa y'Obusiraamu nsonyi» Yayogerwa al-Bayhaqiy mu Shu'ab al-Iimaan 6/2619
Era mw'ebyo Obusiraamu bye bulagira bweebuzira, Hadith nga eva ku Anas Allah amusiime yagamba: «nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye ye yali asinga abantu obulungi era nga y'asinga abantu obuzira era nga y'asinga abantu okugaba, mazima ddala lumu abantu boomu Madina beekanga (nebatya nnyo), nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye n'abeera nga yabasooka ku mbalaasi» Swahiih al-Bukhariy 2820. Era omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yali nga yeewogoma eri Allah okuva eri obutiitiizi, era yalinga agamba: «Ayi Allah mazima nze newogoma gyoli (nekingiriza naawe) akabi k’amaginni amasajja n’amakazi» Swahiih al-Bukhariy 6374.
Era mw'ebyo Obusiraamu bye bulagira kwekuwaayo n'okugaba, Allah owa waggulu yagamba: {Abo, abawaayo ebimu ku bintu byabwe mu kubo lya Allah, bafaananako omuntu asiga empeke emu n'emera n'eweeka ebirimba musanvu nga buli kirimba kiriko empeke kikumi, bulijjo Allah ayongeza ebigabwabye (n'abikubisaamu) eri oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo Allah mugazi mu mbeera ze zonna ate nga muyitirivu wa kumanya.} [Surat al-Baqara: 261]. Era empisa z'omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye zaali nga bugabi, era nga Hadith eva ku ibn Abbaas Allah abasiime bombi yagamba: «Nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye yeeyali asinga abantu okugaba, ate yayitirizanga nyo okugaba mu lamanzaani Jibriil bweyamusisinkana nga, era Jibriil emirembe gibeere ku yye yali nga amusisinkana buli kiro mu lamanzaani okutuusa lw'eggwako nga nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye amusomera Kkulaani, Jibriil emirembe gibeere ku yye bweyamusisinkana nga, yali nga ayitiriza okugaba n'okusinga empewo ekunta» Swahiih al-Bukhariy 1902.
Era Obusiraamu mu bye bulagira kwekuyamba omwetaavu, n'okudduukirira ayaggayagga, n'okuliisa omuyala, n'okuba omuliraano omulungi, n'okuyunga oluganda, n'okusaasira ebisolo. Era Hadith nga eva ku Abdullah mutabani wa Amru Allah abasiime bombi, mazima omusajja yabuuza nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye: [mirimu gya] busiraamu ki emirungi? N'agamba: «okuliisa emmere n'okutoolera ssalaam gwomanyi ne gwotamanyi» Swahiih al-Bukhariy 12. Era yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuyye: «Omuntu omu yali atambula mu kkubo ennyonta neemuyitirirako, n'asanga oluzzi n'akkamu n'anywa oluvannyuma n'avaayo, aba alyawo ng'embwa ewankawanka nga bwerya ettaka olw'ennyonta, omuntu oyo n'agamba: ennyonta etuuse embw'eyo nga weebadde entuuse, nakka mu luzzi n'ajjuza engatto ye amazzi oluvannyuma n'ajisituza omumwa gwe, bwatyo n'anywesa embwa, ne Allah bwatyo n'amwebaza n'amusonyiwa» ne bagamba: owange omubaka wa Allah, era ne mu bisolo tufunamu empeera? N'agamba: iyye, ku buli ekirina ekibumba ekibisi (amakulu buli kiramu) kiriko empeera (buli lw'olongoosa gyekiri)» Swahiih Ibn Hibbaan 544. Omubaka wa Allah era yagamba: «Adduukirira (nga alabirira) ba nnamwandu n'abateesobola aba nga alwana mu kkubo lya Allah oba nga asaala ekiro asiiba emisana» Swahiih al-Bukhariy 5353.
Era Obusiraamu bukkaatiriza ebivunaanwa by'aboluganda era nebukifuula tteeka okuyungagana n'aboluganda, Allah owa waggulu yagamba: {Nabbi abakkiriza gwe basaanira okuwa e kitiibwa okusinga bo bennyini, era bakyalabe baba ba Maama baabwe, bo ab'oluganda abamu ku bo be basinga okusaanira bannaabwe (mu by'obusika) ekyo bwe kityo bwe kiri mu kitabo kya Allah, okusinga bwe bandibadde eri abakkiriza n'abaasenguka, okugyako nga mukoledde ba nnammwe eky'obuntu bulamu, ebyo nno byawandiikibwa mu Kitabo.} [Surat al-Ahzaab: 6]. Era neyeekesa okukutula oluganda era n'akulinaanya n'okwonoona mu nsi, Allah owa waggulu yagamba: {Abaffe musuubira nti singa mukulembera (ne muba abafuzi) nti munayonoona mu nsi ne mukutula enganda zammwe. (22) (Abakola ebyo) abo beebo Allah beyakolimira n'abaggala amatu era naaziba amaaso gaabwe. (23) } [Surat Muhammad: 22-23]. Era omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «akutula oluganda tajja kuyingira jjana» Swahiih Muslim 2556. Era ab'eŋŋanda abateekeddwa okuyungagana nabo be; abazadde ababiri n'ebaganda(bo) ne bannyina ne ba taata abato ne ba ssenga ne ba kojja ne ba maama abato.
Era Obusiraamu bukkaatiriza ebivunaanwa bya muliraanwa ne bwaba mukaafiri nga (ssi musiraamu), [Allah] owa waggulu yagamba: {Era musinze Allah awatali ku mugattako kintu kyonna, n’abazadde ababiri mubayise bulungi, bwekityo n’aboluganda, ne bamulekwa n’abanaku ne muliraanwa ow’okumpi, nemuliraanwa ow'ewala, ne munno ow'okumpi n'omutambuze ali mu bwetaavu, n’abo emikono gyammwe begyafuna ng’eminyago, mazima Allah tayagala muntu yeekuluntaza omwewulize.} [Surat al-Nisaa: 36]. N’omubaka wa Allah n'agamba: ([malayika] Jibriil teyalekeraawo kunnaamira muliraanwa okutuusa lwennalowooza nti mazima ajja kumufuula omu ku bansikira) Swahiih Abi Dawud 5152.
33- Obusiraamu bwakkiriza ebirungi mu byokulya n'ebyokunywa, era ne bulagira okulongosa omutima n'omubiri n'ewaka, era kyekyo lwaki bwakkiriza obufumbo, nga bwebwabulagira ba nnabbi emirembe gibeere ku bbo, era [kuba] bbo balagira buli kirungi.
Era Obusiraamu bwakkiriza ebirungi mu byokulya n'ebyokunywa, yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Abange mwe abantu Mazima Allah mulungi takkiriza okujjako ekirungi, era mazima Allah yalagira abakkiriza ebyo byeyalagira ababaka, n'agamba (Allah) owa waggulu: “Abange mmwe ababaka mulye mubirungi (ebya halaal) era mukole n’emirimu emirungi” Era (Allah) Owa waggulu n'agamba: Abange mmwe abakkiriza mulye ebirungi (ebya halaal) mwebyo byetwabagabirira, Oluvannyuma nayogera ku musajja atindigga eggendo nga enviiri zimusunsumadde era nga agubaasidde, n'awanika emikono gye nga agamba nti: Owanga omulezi wange...!!, naye nga eby’okulya bye bya haraamu, neby’okunywa bye bya haraamu, nebyambalo bye bya haraamu, era nga awangaalidde ku haraamu, Kale oyo butya Allah bwayinza okumwanukula?!» Swahiih Muslim 1015. Era Allah owa waggulu yagamba: {Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti ani yaziyiza eby’okwewunda bya Allah ebyo bye yawa abaddu be ne Riziki ennungi, gamba nti byo n'abasiraamu bakkirizibwa okubikozesa mu bulamu obwensi, naye bigenda kubeera byabwe bokka ku lunaku lwe nkomerero, bwe tutyo nno bwe tutottola e bigambo eri abantu abamanyi.} [Surat al-A'araaf: 32].
Era Obusiraamu bwalagira okulongoosa omutima n'omubiri n'ewaka; era y'ensonga lwaki bwakkiriza obufumbo nga bwe bwabulagira ba nnabbi n’ababaka emirembe gibeere ku bbo, era bbo balagirwa buli kirungi, era Allah owa waggulu yagamba: {Era Allah yabateerawo be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe era n'abateerawo nga aggya mu bemufumbiriganwa nabo abaana n'abazzukulu, era n'abagabira nga aggya mu birungi, abaffe ebitali bituufu bye bakkiriza ate ebyengera bya Allah bo bye bawakanya!.} [Surat al-Nahli: 72]. Era Allah owa waggulu yagamba: { N'engoye zo zitukuze! (4) N’ebibi bisenguke (5) } [Surat al-Muddathir: 4-5]. N’omubaka wa Allah n'agamba: (Tajja kuyingira jjana, yenna ali beera nga mu mutima gwe mulimu akanyinkuuli k'okwekuluntaza. Omusajja n'agamba: Mazima omuntu ayagala engoye ze okuba nga nnungi n'engatto ze nga nnungi?, [nnabbi] n'agamba: mazima Allah mulungi ayagala ebirungi, okwekuluntaza kuwakanya mazima na kunyoma bantu) Swahiih Muslim 91.
34- Era Obusiraamu bwaziyiza ebikolo by'ebitakkirizibwa nga okugatta ku Allah n'obukaafiri, n'okusinza amasanamu, n'okwogera ku Allah byotalinaako kumanya, n'okutta abaana, n'okutta omwoyo ogw'ekitiibwa (ogutakkirizibwa kuttibwa), n'okwonoona mu nsi, n'eddogo, n'ebyobukaba ebyeyolefu n'ebyekwese n'obwenzi n'ebisiyaga, era nebuziyiza enfissi (riba), era nebuziyiza okulya ebifudde, n'ebyo ebisalirwa amasanamu n'ebibumbe, era nebuziyiza ennyama y'embizzi, na byonna ebikyafu n'ebyenyinyalwa, era nebuziyiza okulya emmaali ya bamulekwa, n'okukendeeza ebipimo ne minzaani, era nebuziyiza okukutula eŋŋanda. Era ba nnabbi emirembe gibeere ku bbo, bassa kimu kukuziyizibwa kw'ebyagaanibwa ebyo.
Obusiraamu bwaziyiza ebikolo by'ebitakkirizibwa, nga okugatta ku Allah, n'obukaafiri, n'okusinza amasanamu, n'okwogera ku Allah byotalinaako kumanya, n'okutta abaana, Allah owa waggulu yagamba: {Gamba nti mujje mbasomere ebyo Omulezi wamwe bye yafuula haramu (ebitakkirizibwa) ku mmwe, temugattangako e kintu ekirala kyonna, ate bbo abazadde ababiri bateekeddwa okuyisibwa obulungi, temuttanga abaana ba mmwe olw’obwaavu, ffe tubagabirira mmwe ate era nabo bennyini, era temusembereranga eby'obuwemu eby'olwatu mu byo n’ebyekwese, temuttanga omuntu oyo Allah gwe yaziza, okugyako nga waliwo e nsonga. Ebyo nno (Allah) yabibakalaatira kibayambe mube abategeera. Era temusembereranga e mmaali ya ba mulekwa okugyako mu ngeri esinga okuba e nnungi okutuusa omwana oyo nga akuze mu birowoozo, era mutuukirize e bipimo n'ebigero mu bwesimbu, omuntu tetumulaalikako okugyako ekyo kyasobola, era bwe muba nga mwogera mulage amazima nebwaba wa luganda aweebwako obujulizi (obutuufu), era mu ngeri eyenjawulo mutuukirize obweyamu bwammwe bwemwawa Allah. Ebyo nno Allah yabibakalaatira kibayambe okujjukira (mwekube mu kifuba).} [Surat al-An'aam: 151-152]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Gamba ggwe Muhammad nti Mukama katonda omulabirizi wange yaziyiza e by'obuwemu eby'olwaatu n’ebyekwese era yaziyiza obwonoonyi n’okulumbagana abantu awatali nsonga ntuufu, era naaziyiza okuba nga mugatta ku Allah e bintu e birala e kintu kyatassaako bujulizi era naaziza okuba nga mwogera ku Allah bye mutamanyi.} [Surat al-A'araaf: 33].
Era Obusiraamu ne buziyiza okutta omwoyo ogugulumizibwa, Allah owa waggulu yagamba: {Era temuttanga omuntu oyo Allah gwe yaziyiza okutta okugyako nga waliwo ensonga, oyo yenna attibwa nga alangibwa bwemage (bwereere awatali nsonga) mazima twawa nannyiniye obuyinza (okutta eyatta omuntu we) wabula mu kutta tosaanye kusukka kikomo anti mazima yye (attiddwa) ataasibwa (n'etteeka).} [Surat al-Israa: 33]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Era (abakkiriza abannamaddala) beebo abatasinza kintu kirala awamu ne Allah, era abatatta muntu oyo Allah gwe yaziyiza, okugyako nga waliwo ensonga, era abatayenda, omuntu akola ekimu ku ebyo agenda kusisinkana (e bibonerezo) by'ebibi (bye).} [Surat al-Furqaan: 68].
Era Obusiraamu bwaziyiza okwonoona mu nsi, Allah owa waggulu yagamba: {Era Temwonoonanga mu nsi oluvannyuma lw'okulongooka kwayo} [Surat al-A'araaf: 56]. Era Allah owa waggulu yagamba ng'ategeeza ku nnabbi shuaib emirembe gibeere ku yye bweyagamba abantu be: {Ate abe Madiyana twabatumira muganda waabwe Swaibu, n'agamba nti abange bantu bange musinze Allah, ng’oggyeko yye tewali kirala kyemusaanidde kusinza, obunnyonnyofu okuva ewa Mukama omulabirizi wammwe bubajjidde, kale nno mutuukirize ebirengwa n’ebipimwa, temugaananga okutuukiririza abantu ebintu byaabwe, era temwonoonanga mu nsi oluvanyuma lwokugikola nga nungi, ekyo nno mmwe kye kirungi gye muli bwe muba nga muli bakkiriza.} [Surat al-A'araaf: 85].
Era Obusiraamu bwaziyiza eddogo, yagamba ow'amazima eyayawukana era owa waggulu: {Era suula ekyo ekiri mu mukono gwo ogwa ddyo (nga gwe muggo), gujja kumira ebyo bye bakoze. Anti mazima ddala bye bakoze nkwe za mulogo ate nga omulogo buli waaba tawangula.} [Surat Twaha: 69]. N’omubaka wa Allah n'agamba: «Mwewale [amazambi] omusanvu agazikiriza, baagamba: owange omubaka wa Allah, ate geegaliwa? n'agamba: okugatta ku Allah n'eddogo, n'okutta omwoyo Allah gweyaziyiza okuggyako olw'amazima, n'okulya enfissi (ribaa), n'okulya emmaali ya bamulekwa, n'okudduka mu lutalo, n'okutemerera abakyala ab'ensa abakkiriza abagayaavu ne kukulowooza obulowooza ku bikolwa by'obwenzi» Swahiih al-Bukhariy 6857.
Era Obusiraamu bwaziyiza eby'obukaba eby'olwatu n'ebikusike, n'obwenzi n'ebisiyaga, era emabegako ku ntandikwa y'akatundu kano aaya ezijulira ku kino zaaleteddwa. Era Obusiraamu bwaziyiza enfissi (ribaa), Allah owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abakkiriza mutye Allah era musazeemu enkolagana ya Ribba gyemubadde mukyalimu bwe muba nga ddala muli bakkiriza. (278) Bwemutaakikole mumanye nti Allah n'omubakawe babalangiriddeko olutalo wabula ate bwe muba mwenenyezza, sente zammwe (Capital) zemwassaamu muzigyeeyo, mukino mube nga temufiiriza wadde okufiirizibwa. (279)} [Surat al-Baqara: 278-279]. Sso ate Allah teyalagaanyisa nakibonerezo kyalutalo ku akoze kyonoono nga bweyakiragaanyisa abeera yettanidde enfissi (ribaa); kubanga mu nfissi mulimu okudobonkana kw'eddiini, n'amawanga, n'emmaali n'emyoyo.
Era Obusiraamu bwaziyiza okulya ekifudde kyokka, n'ebisalibwa kulwa amasanamu n'ebibumbe (ebyawongo), era nebuziyiza ennyama y'embizzi, Allah owa waggulu yagamba: {Kuzira ku mmwe okulya ennyamanfu n'omusaayi (kafekye) n'ennyama y'embizzi, n'ekyo ekyogereddwako erinnya eddala eritali Lya Allah (mu kusalibwa), n'ekyo ekituge, oba ekikubiddwa ne kifa, n'ekifudde olw'okugwa, n'ekifumitiddwa (ejjembe) ne kifa, n'ekyo ekiba kiriiriddwako ensolo enkambwe, okuggyako ekyo kye muba musaze (obutuufu nga tekinnafa), (era temulya) n'ekyo ekiba kisaliddwa ku lw'okuwongera ba lubaale. (Era mugaaniddwa) n'okwelaguza n'obusaale. Ekyo mmwe kya bwonoonyi!} [Surat Maa-idah: 3].
Era Obusiraamu bwaziyiza okunywa omwenge n'ebikyafu n'ebyenyinyalwa ebirala, Allah owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abakkiriza mazima ddala omwenge ne zzaala, namasanamu n’okweraguza, n’obusaale bibi bya mu bikolwa bya Sitane, muteekwa okubyewala kibayambe okuba mu balituuka ku buwanguzi (ku lunaku lw’enkomerero). (90) Mazima ddala Sitane ayagala okussa wakati wammwe obulabe n’obukyayi olw’omwenge ne zzaala, era ebawugule ku kutendereza Allah n’okusaala, abaffe ebikolwa ebyo munaabireka. (91)} [Surat al-Maa'ida: 90-91] Era emabegako mu katundu nnamba (31), mwabaddemu okwogera kwa Allah nti mazima mu bitendo by'omubaka okusaasira n’emirembe bibeere ku yye mu Tawraati, nti mazima yye abaziyiza ebyenyinyalwa, Allah owa waggulu yagamba: {Abo abagoberera omubaka, Nabbi, atasoma biwandiiko, oyo gwe basanga nga muwandiike ewaabwe mu Taurat ne enjili, nga abalagira e mpisa e nnungi, era n’abagaana e mpisa e mbi, era nga abakkiriza e birungi (mu biriibwa n’ebinywebwa), era naabaziyiza e bibi, era naabaggyako obuzito n’amakoligo, ebyo e byabaliko, kale nno abo abamukkiriza, nebamuwagira, ne bamutaasa, era ne bagoberera e kitangaala ekyo e kyamuweebwa, abo nno bo, be balituuka ku buwanguzi.} [Surat al-A'araaf: 157].
Era Obusiraamu bwaziyiza okulya emmaali ya bamulekwa, Allah owa waggulu yagamba: {(Bwe mukitegeera nti abataddeko eriiso gyogi kale) ne bamulekwa mubawe emmaali yaabwe, ennungi temugiwaanyisangamu embi, era emmaali yaabwe temugiryanga nga mugigatta mu yammwe, mazima ddala okukola ekyo kibi kinene.} [Surat al-Nisaa: 2]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Mazima abo abalya emmaali y’abamulekwa mu ngeri enkyamu, mazima mu mbuto zaabwe balya muliro mwereere, era bagenda kuyingira omuliro oguyitibwa Saiir.} [Surat al-Nisaa: 10].
Era Obusiraamu bwaziyiza okukendeeza ebipimo ne minzaani, Allah owa waggulu yagamba: {Okubonaabona kuli kw’abo abakendeeza ebipimo – (abakumpanya): (1) Abo (nga) bwe baba nga beebapimirwa, basaba ebipimo byabwe bijjuzibwe. (2) So nga bwe baba nga be balengera abalala, oba be bapima, bakendeeza (ebipimo). (3) Abaffe tebakakasa nti mazima ddala baakuzuukizibwa. (4)} [Surat al-Mutwaffifiin: 1-4].
Era Obusiraamu bwaziyiza okukutula oluganda, era emabega mu katundu nnamba (31) mwayogeddwamu aaya ne Hadith ezijulira kw'ekyo, ne bannabbi n'ababaka bonna beegatta ku kuziyiza ebyagaanibwa bino.
35- Obusiraamu buziyiza empisa ezivumirirwa ng'okulimba, n'okubuzaabuza, n'obutali bwesimbu, n'okukumpanya, n'obulyake, n'ensaalwa, n'enkwe embi, n'obubbi, n'obulumbaganyi, n'obulyazaamanyi, era buziyiza buli mpisa mbi.
Obusiraamu buziyiza empisa ezivumirirwa okutwaliza awamu, [Allah] owa waggulu yagamba: {Tokyusizanga ettamalyo abantu olw'okwekuza (ng'obalengezza) era totambulanga mu nsi nga weewulira, mazima Allah tayagala buli yenna eyeekuluntaza omwewulize.} [Surat Luqman: 18] Yagamba Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nti: (Mazima be nsinga okwagala mummwe, era nga be bajja okusinga okuntuula okumpi ku lunaku lw’enkomerero; be babasinga empisa ennungi, era mazima be nsinga okunyiigira mummwe, era nga be bajja okusinga okuntuula ewala ku lunaku lw’enkomerero (be); Aboogerayogera ebigambo ebingi [al-tharthaaruun] , n'abalumbagana abantu n'ebigambo n'okubawemula [al-mutashaddiquun], ne ba [al-mutafayhiquun], (ba swahaba) baagamba nti: ba Tharthaaruuna ne ba Mutashaddiquuna tubamanyi, naye ate ba Mutafayhiquuna beebaliwa? (nabbi) N'agamba: abeekuluntaza) Assilsila Asswahiiha 791.
Obusiraamu buziyiza okulimba, [Allah] owa waggulu yagamba: {Mazima Allah Taluŋŋamya oyo asukka ebikomo, omulimba lukulwe} [Surat al-Ghaafir: 28] N’omubaka wa Allah n'agamba: «era mbeekesa obulimba kubanga obulimba butwaliriza eri obwonoonefu, ate mazima obwonoonefu butwaliriza eri okutuuka mu muliro, era omuntu talekaayo kulimba era nga afaayo nyo okwettanira obulimba, okutuusa lw'awandiikibwa eri Allah nti mulimba [lukulwe]» Swahiih Muslim 2607. Era omubaka wa Allah yagamba: «obubonero bw'omunnanfusi buli busatu: bw'anyumya alimba, era bw'alaganyisa ayawukana [ku ndagaano], era bweyeesigwa akumpanya» Swahiih al-Bukhariy 6095.
Obusiraamu buziyiza okubuzaabuza Era kyajja mu hadith nti mazima omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yayita ku ntuumu y'emmere,naagiyingizaamu omukono gwe, engalo ze nezifuna okutotobala n'agamba: «kino kiki owange gwe nyini mmere?» n'agamba yakubiddwa enkuba owange omubaka wa Allah, n'agamba: kale singa wagitadde kungulu abantu basobole okugiraba (nti yatobye), yenna abuzaabuza tali nange (ku bulunŋŋamu)» Swahiih Muslim 102.
Era obusiraamu buziyiza obutali bwesimbu, n'obukumpanya n'obulyake, Allah owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abakkiriza, temukumpanyanga Allah n’omubaka, nemukumpanya obuvunaanyizibwa bwa mmwe, ng’ate ddala mumanyi.} [Surat al-Anfaal: 27]. Era Allah yagamba {Bebo abatuukiriza endagaano za Allah era nga tebalina ngeri yonna gye bamenya ndagaano.} [Surat al-Rra'ad: 20]. Era omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yali nga agamba amaje ge bwegaafuluma nga [okutabaala]: «Mugende mu lutalo naye temukumpanya, temuba balyake, era temutemaatema emirambo gy'abafudde era temutta abaana abato» Swahiih Muslim 1731. Era omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuyye yagamba: «Ebintu bina, (yenna) abeera nabyo abeera munnanfunsi ddala, ate abeera alinamu ekimu ku bbyo, abeera alimu ku bitendo by'obunnanfunsi okutuusa lwabireka: bweyeesigwa akumpanya, era bw'anyumya alimba, era bwalagaanyisa tatuukiriza, era bwakaayana n'omuntu ayonoona» Swahiih al-Bukhariy 34.
Obusiraamu buziyiza ensaalwa, Allah owa waggulu yagamba: {Oba bakwatibwa ensalwa olwebyo Allah byeyawa abantu (Nabbi Muhammad n’abamukkiriza) so nga ate twawa aboolulyo lwa Nabbi Ibrahim ekitabo n’ebigambo ebyamagezi era netubawa obufuzi obugazi.} [Surat al-Nisaa: 54]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Bangi mu bantu abaaweebwa ekitabo baagala babakyuse oluvanyuma lwo bukkiriza bwammwe babafuule abatakkiriza olw'ensaalwa eri mu mitima gyabwe oluvanyuma lw'amazima okubeeyoleka. Kale (mmwe abasiraamu) musonyiwe era mulekere (abo abaaweebwa ekitabo) okutuusa Allah lw'anaaleeta ekiragiro kye, mazima Allah muyinza ku buli kintu.} [Surat al-Baqara: 109]. N’omubaka wa Allah n'agamba: «Bwesolesezza mummwe obulwadde bw'ebibiina eby'abakulembera: ensaalwa n'obukyayi, bweebumwa (amakulu bwebusanyawo), ssigamba nti bumwa enviiri, naye busaanyawo eddiini, ndayira oyo alina omwoyo gwange mu mukono gwe, temujja kuyingira jjana okutuusa nga mufuuse abakkiriza, ate temujja kufuuka bakkiriza okutuusa nga mwagalanye, abaffe mbabuulireyo ekinaabanywerez'ekyo? Musaasanye ssalaam wakati wammwe» Sunan al-Ttirmidhiy 2510.
Obusiraamu buziyiza enkwe embi, Allah owa waggulu yagamba: {Na bwekityo twassa mu buli kitundu abakulira abagyemu baamu, babe nga bakolerera okusaasaanya obukyamu mu kyo, bye bakola tebituusa kabi okugyako ku bo bennyini naye tebamanyi.} [Surat al-An'aam: 123]. Era Allah owa waggulu yategeeza nti mazima abayudaaya baagezaako okutta [nnabbi Isa] masiya emirembe gibeere ku yye, ne bakola olukwe, naye Allah yabakolera olukwe, era Allah n'annyonnyola nti enkwe embi teziddira okuggyako bannyini zo, Allah owa waggulu yagamba: {Naye Isa bweyamala okulaba obukaafiiri bwabwe naagamba nti; baani abanannyamba ku mulimu gwa Allah, Abayigirizwa nebagamba nti ffe bataasa ba Allah, tukkiriza Allah. Naawe julira nti mazima ffe twewaddeyo ewa Allah. (52) Ayi Mukama Katonda waffe tukkiriza ebyo byewassa era netugoberera omubaka, kale tuwandiike mu bajulizi. (53) (Abayudaaya) baasala enkwe (z'okutta nabbi Isa) ne Allah n’asala enkwe (ezibalemesa) era Allah ye mulungi okusinga bonna abasala enkwe. (54) {Jjukira ekiseera Allah weyagamba nti; Owange ggwe Isa nze ngenda kukufiisa (nga entuuko yo etuuse) era ngenda kusitula nkuleete gyendi era nkutukuze (okkujja) mw'abo abatakkiriza (abaakafuwala), abo abakugoberera ngenda kubassa waggulu w'abo abakafuwala okutuusa ku lunaku lw’enkomerero oluvanyuma gyendi mwenna gyemugenda okudda, olwo ndyoke mbalamule mwebyo byemwayawukanangamu. (55) } [Surat aali-Imraan: 52-55]. Era Allah owa waggulu n'ategeeza nti abantu ba nnabbi Swaleh emirembe gibeere ku yye baayagala okumutta mu lukwe, ne bakola olukwe ne Allah n'abakolera olukwe (olubalemesa) n'abasanyawo n'abantu baabwe bonna, Allah owa waggulu yagamba: {(Abasajja abo) Nebagamba (bannaabwe nti) mulayire Allah nti tujja kumuteega ekiro tumutte n'abantube. (bwe tunaamala okumutta) tujja kugambira ddala eri oyo yenna amulinako obuvunaanyizibwa nti: tetwabaddewo nga omuntu waabwe attibwa era mazima twogera mazima.(49) Ne basala enkwe (ez'okutta Swaleh n'abantube) naffe ne tusala enkwe ez'okumuwonya naye nga nabo tebamanyi. (50) Kale laba enkomerero eyava mu nkwe zaabwe, mazima ffe twabazikiriza n'abantu baabwe bonna. (51) } [Surat al-Namli: 49-51].
Obusiraamu buziyiza obubbi, yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Omwenzi tayenda mukiseera waayendera nga mukkiriza, era omubbi tabba mukiseera wabbira nga mukkiriza, era tanywa [kitamiiza] mukiseera waakinywera, nga mukkiriza, ate okwenenya weekuli oluvannyuma» Swahiih al-Bukhariy 6810.
Obusiraamu buziyiza okulumbagana, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima Allah alagira bwenkanya, na kuyisa bulungi n'okuwa ab'oluganda olw'okumpi. Era aziyiza eby'obuwemu n'empisa embi n'okwewaggula ababuUlirira mube nga mujjukira.} [Surat al-Nahli: 90]. Era omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuyye yagamba: «Mazima Allah yanzisizzaako (obubakayey) nti mubeere beetowaza; omu mummwe aleme kulumbagana mulala, era omu mummwe aleme kwewaanira ku mulala» Swahiih Abi Dawud 4895.
Obusiraamu buziyiza obulyazaamanyi, [Allah] owa waggulu yagamba: {Era (mazima) Allah tayagala balyazaamaanyi} [Surat Al-Imraan: 57]. Era Allah n'agamba: {Mazima abalyazaamaanyi tebagenda kuwangula (kuba mu kwesiima)} [Surat al-An'aam: 21]. Era Allah nagamba {n'abalyazaamanyi yabategekera ebibonyobonyo ebiruma} [Surat al-Insaan: 31]. N’omubaka wa Allah yagamba: « [Abantu] basatu okusaba kwabwe tekuddizibwayo: omukulembeze omwenkanya, n'omusiibi okutuusa lw'asiibulukuka, n'okusaba kw'alyazaamanyiziddwa kusitulwa ku bire nekuggulibwa emiryango gy'egulu, Omulezi ow'amaanyi era ow'ekitiibwa n'agamba: ndayira ekitiibwa kyange nja kukutaasa nebwewanaayita ebbanga» Yayogerwa Muslim (2749) mubufunze n'enkyukakyuka ntono, [n'eyogerwa] ne Tirmidhi (2526) n'enkyukakyuka ntono, [n'eyogerwa] ne Ahmad (8043) era enjogera yiye. Era omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye bwe yatuma Mu'adh e Yamani, mu bimu ku byeyamugamba: «era tya nnyo okusaba kw'alyazaamanyiziddwa, kubanga mazima kkwo tekulina wakati wakwo na Allah jjiji» Swahiih al-Bukhariy 1496. Era omubaka wa Allah yagamba: «Kale yenna alyazaamanya omuntu atali musiraamu ng'alina endagaano n'abasiraamu (okuwangaalira mu nsi yaabwe), oba n'amutyoboola, oba naamubigika ekisukka obusobozi bwe, oba n'amuggyako ekintu nga teyeesiimidde, nze ajja okuwoza ku lulwe okuwa obujulizi ku lunaku lw’enkomerero» Sunan Abu dawuuda 3052. Nabwekityo Obusiraamu nga bw'olabye, buziyiza buli mpisa mbi oba enkolagana eryazaamanya oba ekwabula.
36- Obusiraamu buziyiza enkolagana z'ebyensimbi ezirimu enfissi (riba) oba okukosa, oba obutali bulambulukufu, oba obulyazaamanyi, oba okubuzaabuza, oba kyonna ekireeta ebizibu n'obulabe obubuna ebitundu n'abantu neba ssekinnoomu.
Obusiraamu buziyiza enkolagana z'ebyensimbi ezirimu enfissi (riba) oba okukosa, oba obutali bulambulukufu, oba obulyazaamanyi, oba okubuzaabuza, oba kyonna ekireeta ebizibu n'obulabe obubuna ebitundu n'abantu neba ssekinnoomu. Era emabegako ku ntandikwa y'akatundu kano aaya ne hadith zaaleteddwa, eziziyiza enfissi (ribaa) oba obulyazaamanyi oba okubuzaabuza oba okwonoona mu nsi, Allah owa waggulu yagamba: {Ate abo abanyiiza abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi awatali kintu kye bakoze, mazima baba beetisse okutemerera n'ekibi eky'olwatu.} [Surat al-Ahzaab: 58]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Oyo akola omulimu omulongoofu akolera mwoyo gwe, ate oyo ayonoona akabi kakyo kadda ku ggwo, ate nga Mukama katonda omulabirizi wo si mulyazamanyi wa baddu (be).} [Surat Fusswilat: 46]. Era kyajja mu nkola ya nnabi (hadith): «Nti mazima omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yalamula nti tewali kukosa yadde okukosaŋŋana» Sunan Abi dawuuda, Era omubaka wa Allah yagamba: «(Omuntu yenna akkiriza Allah n’olunaku lw'enkomerero tanyiiza muliraanwa we, era omuntu akkiriza Allah n'olunaku lw'enkomerero agulumize omugenyi we, era omuntu akkiriza Allah n’olunaku lw’enkomerero ayogere birungi byereere oba asirike”)» ne mu njogera endala: alongoose eri muliraanwa we» Swahiih Muslim 47, N’omubaka wa Allah era yagamba: «Omukyala yabonerezebwa olwa kkapa, yagisiba okutuusa lweyafa; n'ayingira ku lwayo omuliro; teyagiriisa yadde okuginywesa bweyagisiba, ate era teyagireka kubeera nga erya ku by'ensi» Swahiih al-Bukhariy 3482, Ekyo (nno kiri) ku yakosa kkapa, olwo kiri kitya kw'oyo atuusa obulabe ku bantu?! Hadith nga eva ku mutabani wa Umar yagamba: omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yalinnya ku kituuti n'akoowoola mu ddoboozi erya waggulu n'agamba: (owange gwe eyasiramuka n'olulimi lwe nga obukkiriza tebunnatuuka ku mutima gwe, temunakuwaza basiraamu, era temwasanguza bumogo bwabwe, era temubalondoola kunoonya nsobi zaabwe, kubanga mazima alondoola muganda we omusiraamu okunoonya ensobi ze, Allah aggya kumulondoola ku nsobi ze, ate yenna Allah gw'alondoola ensobi ze, amuswaza ne bwaba mu nnyumba ye. Yagamba: era lumu mutabani wa Umar yatunula ku 'nnyumba' oba ku Kaaba n'agamba: « [Kaaba gwe] nga wayitirira era emizizo gyo gyasukka! Naye omukkiriza waamizizo nnyo mu maaso ga Allah okukusinga) Yayogerwa Tirmidhi (2032), ne Ibn Hibbaan (5763). N’omubaka wa Allah yagamba: (Omuntu yenna akkiriza Allah n’olunaku lwenkomerero tanyiiza mulirwana we, era omuntu akkiriza Allah n'olunaku lwenkomerero agulumize omugenyi we, era omuntu akkiriza Allah n’olunaku lw’enkomerero ayogere birungi byereere oba asirike”)» Swahiih al-Bukhariy 6018, Era Hadith eggyibwa ku Abu Huraira okuva ku nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye yagamba: mumanyi ani mwavu lunkupe? B'agamba: omwavu lunkupe muffe owange omubaka wa Allah, y'oyo atalina ssente yadde ekyeyagaza. (Nabbi) N'agamba: "Mazima omwavu lunkupe mu kibiina kyange y'oyo agenda okujja ku lunaku lw’enkomerero n'okusiiba n'okusaala n'okutoola zzaka, naye ajje nga yavuma ekitiibwa ky'ono, n'atemerera ono, n'alya emmaali y'ono, atuuzibwe, ono atoole ku birungi bye n'ono ku birungi bye, ebirungi bye bwebinaggwawo nga ebimubaanjibwa mu byonoono tebinnaggwawo, ebibi by'abamubanja bijja kutoolwako bimukasukirwe oluvannyuma akasukibwe mu muliro) Yayogerwa Muslim (2581), ne Tirmidhi (2418), ne Ahmad (8029) era enjogera yiye.
Era Yagamba Omubaka wa Allah -: (Mu kkubo mwalimu ettabi ly'omuti nga linakuwaza abantu, omusajja naaliggyawo n'ayingizibwa ejjana) Yayogerwa al-Bukhariy (652) mu makulu gaayo, ne Muslim (1914) mu ngeri bw'etyo, ne Ibn Maajah (3682), ne Ahmad (10432) era enjogera yaabwe bombi, kale okuggya ekinakuwaza mu kkubo kiyingiza e jjana, olwo kiri kitya kw'oyo akosa abantu n'aboononera obulamu bwabwe.
37- Obusiraamu bwajja n’okukuuma amagezi n’okuziyiza kyonna ekigoonoona nga okunywa omwenge, era Obusiraamu bwagulumiza ensonga y’amagezi era ne bugafuula nga gegasinziirwako okuweebwa obuvunaanyizibwa, era ne bugawa eddembe okuva mu nkoligo z’obulimba n’obusamize. Era mu busiraamu temuli byama oba nnamula zeeyawulidde ddaala lya bantu ku ddala, era buli nnamula zaabwo n’amateeka gaabwo gakwatagana n’amagezi amatuufu, era gali mu buufu bwa bwenkanya na butegeevu.
Era obusiraamu bwajja n'okukuuma amagezi n'okugagulumiza, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima okuwulira n'okulaba n'omutima - Buli kimu kw'ekyo kya kubuuzibwako.} [Surat al-Israa: 36]. Nabwekityo kikakata ku muntu okukuuma amagezi ge; era y'ensonga lwaki Obusiraamu bwaziyiza omwenge n'ebitamiiza, okuziyizibwa kw'omwenge kwayogeddwa mu katundu nnamba (34) ne aaya nyinji okuva mu Kkulaani ey'ekitiibwa, zifundikira n'ekigambo kye [Allah] owa waggulu: {oba olyawo ne mutegeera} [Surat al-Baqara: 242]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Obulamu bwe nsi tebuli, okugyako muzannyo na kusanyuka, naye mazima ddala e nyumba e yenkomerero y'esinga obulungi eri abo abatya Allah, abaffe temutegeera.} [Surat al-An'aam: 32]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Mazima ffe twakissa (ekitabo) nga kyakusoma nga kiri mu luwarabu mube nga mutegeera.} [Surat Yuusuf: 2]. Era Allah owa waggulu yannyonnyola nti obuluŋŋamu n'ebyamagezi tebiganyulwamu okuggyako ab'amagezi era nga beebannyini kutegeera, Allah owa waggulu yagamba: {Allah awa okutegeera ensonga, oyo gw'aba ayagadde era oyo aba aweereddwa okutegeera ensonga aba aweereddwa ebirungi ebiyitirivu. Tewali bayinza kwegasa nakino okugyako abalina amagezi agakola ennyo.} [Surat al-Baqara: 269].
Era y'ensonga lwaki Obusiraamu bwafuula amagezi nga ge geetooloolerwako okuvunaanibwa, omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «ekkalaamu yasitulwa ku [bantu] basatu: eyeebase okutuusa lw'azuukuka, ne ku muto okutuusa lwe yeeroterera (lwaakula), ne ku mulalu okutuusa lwafuna amagezi» Yayogerwa al-Bukhariy nga agikakasa nga taleese lujegere lw'abo beyagiggyako emabega wa hadith (5269) mu ngeri bwetyo, era Abu Dawud yagyogera n'olujegere lw'abogezi baayo (4402) era enjogera yiye, ne al-Tirmidhi (1423), ne al-Nasaa'i mu ((Assunan al-Kubraa)) (7346), ne Ahmad (956) n'okwawukanamu kutono, ne Ibn Maajah (2042) mubufunze. Era ne bugawa eddembe okuva mu nkoligo z’obulimba n’obusamize, Allah owa waggulu yagamba nga atutegeeza ku mbeera y'ebibiina mu kwekwata kwabyo ku bulimba bwabyo n'okugaana amazima ago agaabajjira okuva eri Allah: {Nabwekityo tetwatuma luberyeberyelwo mu kitundu kyonna mutiisa okugyako nga babinojjo baamu baagambanga nti mazima ffe twasanga bakadde baffe nga bali ku nkola, era mazima ffe tuli ku buufu bwabwe (bwe) tugoberera.} [Surat al-Zzukhruf: 23]. Era Allah owa waggulu yagamba ng'ategeeza ku [nnabbi] Ibrahim ow'omukwano emirembe gibeere ku yye nti mazima yagamba abantu be: {Biki bino ebifaananyi mwe bye mwemaliddeko nga mubisinza? (52) Nebagamba nti twasanga bakadde baffe nga byebasinza. (53) } [Surat al-Anbiyaa: 52-53]. Bwebutyo Obusiraamu ne bujja ne bulagira abantu okulekayo okusinza ebibumbe (oba amasanamu) n'okuva ku by'obulimba ebyasikirwa okuva ku ba taata ne ba jjajja, era bagoberere ekkubo ly'ababaka okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo.
Era mu busiraamu temuli byama oba nnamula zeeyawulidde ddaala lya bantu ku ddala Ali ibn abi Twalib Allah amusiime yabuuzibwa, era nga mutabani wa taata omuto ow'omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, era nga bba wa muwala we: Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye alina kyeyabaawula nakyo? [Ali] n'agamba: «omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye talina kyanjawulo kyeyatwawula nakyo nga teyakibunyisa mu bantu bonna, okujjako ekyali mu kiraato ky'ekitala kyange kino, n'agamba: n'aggyayo ekiwandiiko nga kiwandiikiddwako: Allah yakolimira asalira ekitali Allah, era Allah yakolimira abba (oba akyusa) ebiraga ensalosalo z'ettaka, era Allah yakolimira akolimira muzadde we, era Allah yakolimira abudamya omuzuuzi [mu ddiini] » Swahiih Muslim 1978. Era amateeka g'obusiraamu gonna gakwatagana n’amagezi amatuufu, era gali mu buufu bwa bwenkanya na butegeevu.
38- Era eddiini enfu, abazigoberera bwebaba tebategedde kukontana kuzirimu n’ebintu amagezi gebitakkiriza, bannaddiini bawabya abagoberezi nti mazima eddiini eri waggulu w’amagezi, era nti mazima amagezi tegalina ngeri gyegasobola kutegeera ddiini nakugifumiitirizaako. Sso nga bwo Obusiraamu bwatwala eddiini nga kitangala ekimulisiza amagezi ekkubo lyago; nabwekityo bannyini madiini amafu baagala omuntu alekewo amagezi ge abagoberere, ate Obusiraamu bwagala omuntu azuukuse amagezi ge; amanye obutuufu bw’ensonga nga bweziri.
Era eddiini enfu, abazigoberera bwebaba tebategedde kukontana kuzirimu n’ebintu amagezi gebitakkiriza, bannaddiini bawabya abagoberezi nti mazima eddiini eri waggulu w’amagezi, era nti mazima amagezi tegalina ngeri gyegasobola kutegeera ddiini nakugifumiitirizaako. Sso nga bwo Obusiraamu bwatwala eddiini nga kitangala ekimulisiza amagezi ekkubo lyago; nabwekityo bannyini madiini amafu baagala omuntu alekewo amagezi ge abagoberere, ate Obusiraamu bwagala omuntu azuukuse amagezi ge; amanye obutuufu bw’ensonga nga bweziri, Yagamba Allah owa waggulu: {Nabwekityo twakutumira (ggwe Nabbi Muhammad) omwoyo (Kur’ani eyitibwa mwoyo wano olwokuba yeewa emyooyo gy’abantu obulamu) nga ekyo kisinziira ku kiragiro kyaffe. Wali tomanyi nti ekitabo (Kur’ani) kye ki, wadde (okumanya) obukkiriza naye twagifuula ekitangaala nga tuluŋŋamya nayo oyo gwetuba twagadde mu baddu baffe, era mazima ggwe ddala oluŋŋamya eri ekkubo eggolokofu.} [Surat Al-shuuraa: 52]. Kale obubaka obw'obwa-Katonda bulina mu bikakasa n'obujulizi ebyo ebiruŋŋamya amagezi amalamu eri eby'amazima ebyo gebirulunkanira okubimanya n'okubikkiriza, Allah owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abantu mazima bwabajjira obubonero obwenkukunala, era nga twassa gyemuli ekitangaala ekyeyolefu (Kur’ani).} [Surat al-Nisaa: 174]. Kale yye Allah eyayawukana era owa waggulu ayagaliza omuntu okuwangaalira mu kitangaala ky'obuluŋŋamu n'okumanya n'amazima, sso ate ssitaani n'ebisinzibwa ebitali Allah byagaliza omuntu okusigala mu bizikiza by'obukaafiiri n'obutamanya n'obubuze, Allah owa waggulu yagamba: {Allah yemweyimirize wa bakkiriza, abaggya mu bizikiza naabazza eri ekitangaala, bo abakafiiri, ebintu bya Sitane ye mweyimirize waabwe, bibaggya mu kitangaala nebibazza mu nzikiza} [Surat al-Baqara: 257].
39- Obusiraamu bugulumiza okumanya okutuufu, era bukubiriza okunoonyereza kw’okumanya okutaliimu kwagala kwa mwoyo. Era bukoowoola okudda eri okutunula n’okufumiitiriza ku ffe ffenyini ne kubitwetolodde mu bitonde, era ebituufu ebiva mu kunoonyereza kw’okumanya tebikontana na busiraamu.
Obusiraamu bugulumiza okumanya okutuufu, Allah owa waggulu yagamba: {Allah asitula abo abakkiriza mu mmwe (abawe amadaala agabasaana n’ekitiibwa) n’abo abaweebwa Okumanya balina amadaala (agasingako). Ne Allah Amanyi ebyama by’ebyo bye mukola.} [Surat mujaadalah:11]. Era Allah yalinaanisa okujulira kw'abamanyi n'okujulira kwe n'okujulira kwa ba Malayika be ku kijulirwako ekisinga obukulu, Allah owa waggulu yagamba: {Allah yakakasa nti ddala tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye neba malayika ne bannyini kumanya nabo bakakasa ekyo, era nga bulijjo Allah aliwo kutuukiriza bwenkanya, tewali kisinzibwa okuggyako yye nantakubwa ku mukono mugobansonga.} [Surat Al-Imraan: 18]. Era kino kye kinnyonnyola ekifo ky'abamanyi mu busiraamu, era Allah teyalagira nnabbi we Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye kusaba nyongeza mu kintu kyonna okuggyako okumanya, Allah owa waggulu yagamba: {era ogambenga (nga osaba) nti: Mukama wange nnyongera okumanya.} [Surat Twaha: 114]. N’omubaka wa Allah n'agamba: «Yenna akwata ekkubo ng'anonyamu kufuna kumanya, Allah amwanguyiza ekkubo erimutwala mu jjana, era mazima Malayika zikkakkanya ebiwawaatiro byazo olw'okusiima anoonya okumanya, era mazima anoonya okumanya asabirwa okusonyiyibwa ebiri mu ggulu n'ensi; okutuusiza ddala n'ekyennyanja ekiri mu mazzi, era mazima enkizo y'omumanyi ku muntu asinza [obusinza], eri nga enkizo y'omwezi gyerina ku mmunyenye ezisigadde, mazima abamanyi basika ba bannabbi, mazima ba nnabbi tebasikirwa diinaar oba dirham (amakulu ssente n'ebyobugagga), wabula mazima bbo basikirwako kumanya, nabwekityo yenna aba akufunye, aba afunye omugabo omunene » Yayogerwa Abu Dawud (3641), ne Tirmidhi (2682), ne Ibn Maajah (223) era enjogera yiye, ne Ahmad (21715).
Era Obusiraamu bukubiriza okunoonyereza kw’okumanya okutaliimu kwagala kwa mwoyo, era bukoowoola eri okutunula n’okufumiitiriza ku ffe ffenyini ne kubitwetolodde, Allah owa waggulu yagamba: {Tujja kubalaga obubonero bwaffe mu bwengula ne mu bo bennyini okutuusiza ddala amazima lweganabeeyoleka nti ddala yyo (Kur'ani) ya mazima, abaffe tekimala okuba nga Mukama Katonda omulabirizi wo nga ddala yye abaawo (nga kikolebwa).} [Surat Fusswilat: 53]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Abaffe tebaatunulako mu bufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi! na buli kyonna Allah kyeyatonda! n’okuba nti kirabika nti e nkomerero yaabwe mazima yali etuuse!, kati oluvanyuma lwa kino, bigambo ki bye bayinza okukkiriza!.} [Surat al-A'araaf: 185]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Abaffe tebatambulangako mu nsi nebalaba yali etya enkomerero y'abo abaabakulembera! (ate) nga baali babasinga amaanyi era baayiikuula ensi era ne bagizimba okusinga nga bano bwe baagizimba era ababaka baabwe baabaleetera obunnyonnyofu, n'olwekyo Allah teyali wa kubayisa bubi wabula bo bennyini be beeyisa obubi.} [Surat al-Rruum: 9].
Era ebiva mu kunoonyereza kw’okumanya ebituufu tebikontana na busiraamu, era tugenda kuwaayo ekyokulabirako kimu nga Kkulaani yayogera ebikikwatako ebyomunda emyaka egisukka mu lukumi mu bina emabega, okumanya kw'ensangi zino ne kukizuula luvannyuma; era ebyava mu kunoonyereza kw'okumanya ne bijja nga bikkiriziganya n'ebiri mu Kkulaani ey’ekitiibwa, era nga nakyo: kwekutondebwa kw'omwana mu lubuto lwa maama we, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima twatonda omuntu nga tumuggya mu nsibuko ya ttaka (12) Oluvanyuma tumufuula amazzi agazaala ge tukuumira mu kifo ekinywevu (nnabaana). (13) Oluvanyuma netutonda mu mazzi ago ekisaayisaayi ate ekisaayisaayi ne tukitondamu ekinyama ate ekinyama ne tukitonderamu amagumba olwo nno amagumba ne tugambaza ennyama, ate oluvanyuma ne tumutonda nga kitonde kirala (naafuuka omuntu nga afuuyiddwamu omwoyo) n'olwekyo Allah musukkulumu oyo asinga abakozi be bintu bonna. (14)} [Surat al-Mu'uminuun: 12-14].
40- Era Allah takkiriza mulimu, yadde okuguweerako empeera ku nkomerero, okuggyako okuva mu muntu eyakkiriza Allah era n’amugondera era n’akakasa [obw’amazima bw’] ababaka be okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo. Era Allah takkiriza nsinza okujjako ezo zeyalagira, kati butya omuntu bwawakanya Allah ate n'asubira okumusasula ? Era Allah takkiriza kukkiririza kwa muntu yenna, okujjako nga akkiririzza mu ba nnabbi emirembe gibeere ku bbo bonna, era n’akkiriza obubaka bwa Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye.
Era Allah owa waggulu takkiriza mulimu, era taguweerako mpeera ku nkomerero, okuggyako okuva mw'oyo eyakkiriza Allah n'amugondera n'akakasa ababaka be okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo, Allah owa waggulu yagamba: {Oyo ayagala eby'amangu (ensi) tumwanguyiza muyo ekyo kye tuba twagadde si buli omu wabula oyo gwe tuba tusazeewo, oluvanyuma netumuteerawo omuliro Jahannama agenda kugwesogga nga avumirirwa nga agobeddwa (mu kusaasira kwa Allah). (18) {Ate omuntu ayagala enkomerero era n'akola ebyetaagisa ku yo, era nga mukkiriza, abo nno bye bakola byebazibwa. (19) } [Surat al-Israa: 18-19]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Oyo akola omulimu omulungi gwonna nga mukkiriza tayinza butasasulwa olw'okutakabanakwe era mazima tumuwandiikira (emirimugye).} [Surat al-Anbiyaa: 94]. Era Allah owa waggulu takkiriza kusinza kwonna okuggyako okwo kweyateekawo, Allah owa waggulu yagamba: {N'omuntu (yenna) asuubira okusisinkana Mukama we, ateekwa akole emirimu emirongoofu, era tagattanga mu kusinza Mukama Katonda we ekintu kyonna.} [Surat al-kahf: 110]. Bwatyo n'annyonnyola nti mazima omulimu teguba mulungi okuggyako nga guli mwegyo Allah gye yateekawo, era nga nnyini gwo mwesimbu eri Allah mu mulimu gwe, era nga mukkiriza akkiririza mu ba nnabbi be n'ababaka be emirembe gibeere ku bbo, wabula oyo omulimu gwe ogutali bwegutyo; Allah owa waggulu yagamba: {Awo nno tulidda ku buli mulimu gwe baakola ne tugufuula olufufugge olufuumuddwa.} [Surat al-Furqaan: 23]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Olunaku olwo amaaso agamu galiba makkakkamu (maswavu). (2) Agaakolanga gategana (kuno ku nsi, ebyo ebitali bya Ddiini ya Allah), (3) Bwe balyesogga Omuliro ogwengeredde, (4) } [Surat al-Ghaashiya: 2-4]. Kale ebyenyi bino biswavu bitegana olw'okukola; naye ate olwokuba byali bikolera ku butali buluŋŋamu bwa Allah; Allah yafuula obuddo bwabyo nga muliro; kubanga tebyakolera kw'ebyo Allah bye yateekawo, wabula byasinza n'ensinza enkyamu, nebigoberera abakulira okubuza abo abaabagunjirawo amadiini amafu. Nabwekityo omulimu omutuufu ogukkirizibwa ewa Allah, gwegukwatagana n'ebyo omubaka okusaasira n’emirembe bibeere ku yye bye yajja nabyo, kati butya omuntu bwawakanya Allah ate naasubira okumusasula??
Era Allah takkiriza bukkiriza bwa muntu n'omu okuggyako nga akkiririzza mu ba nnabbi bonna emirembe gibeere ku bbo era n'akkiririza ne mu bubaka bwa Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye - emabegako twaleese obumu ku bujulizi kwekyo mu katundu nnamba (20), era Allah owa waggulu yagamba: {Omubaka yakkiriza n'akakasa ebyo ebyassibwa ku yye nga biva ewa mukama (era) omulabirizi we (Katonda) n'abakkiriza bwebatyo nebakakasa era nebakkiriza, buli omu ku bo yakkiririza mu Allah ne ba Malayika be ne'bitabo bye n'ababaka be, era nebagamba nti tetwawula wakati wa babaka be era nebagamba nti tuwulidde netugonda, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba ekisonyiwo era gyoli yeeri obuddo.} [Surat Al-Baqara:285]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Abange mmwe abakkiriza mukkirize Allah n’omubakawe, n’ekitabo kyeyassa ku mubakawe, era n’ekitabo kyeyassa oluberyeberye, oyo yenna atakkiririza mu Allah ne ba Malayika be n'ebitabo bye n’ababaka be n’olunaku lw’enkomerero aba abuze olubula oluyitirivu.} [Surat al-Nisaa: 136] Era Allah owa waggulu yagamba: {Jjukira Allah bweyakozesa ba Nabbi endagaano nti, lwonna lwembawanga ekitabo n’okumanya ensonga, oluvanyuma omubaka (Nabbi Muhammad (r) naabajjira nga ava gyendi) ng’akakasa ebyo byemulina, nti ddala mugenda kumukkiriza, era mugenda kumutaasa. Allah naagamba nti mukkirizza, era mututte endagaano eno nti ekakase nebagamba (ba Nabbi) nti tukkirizza. Katonda naagamba nti mujulire era nange ndi wamu nammwe mu bajulizi.} [Surat Al-Imraan: 81].
41- Mazima ekigendererwa ky’obubaka bwonna obw'obwa-Katonda kyekyokuba nti: eddiini entuufu esuumuusa omuntu n'abeera muddu omwesimbu eri Allah omulezi w’ebitonde, era bumuwa eddembe okuva mu buddu eri omuntu oba ekintu oba obulimba, nabwekityo Obusiraamu – nga bwolaba- tebusuusuuta bantu nakubasitula kusukka ddaala lyabwe, era tebubafuula balezi, yadde ba katonda.
Mazima ekigendererwa ky'obubaka bwonna obw'obwa-Katonda kyekyokuba nti: eddiini entuufu esuumuusa omuntu nabeera muddu mwesimbu eri Allah omulezi w’ebitonde, era Obusiraamu buwa omuntu eddembe okuva mu buddu eri ebintu oba obulimba, omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Azikirire omuddu wa diinaar ne dirham ne qatwifa ne khamiiswa (amakulu alulunkanira ennyo ssente n'ebyambalo ebyebbeeyi), bwaweebwa asiima ate bwataweebwa akukkuluma» Swahiih al-Bukhariy 6435. Nabwekityo omuntu omulamu obulungi teyekkakkanya okuggyako ku lwa Allah, kale emmaali n'ekitiibwa n'ekifo n'ekika tebimufuula muddu, era mu kyafaayo kino mulimu ekiraga omusomi abantu byebaaliko ng'obubaka tebunnajja, era butya bwebaafuuka oluvannyuma lwabwo?
Abasiraamu abaasooka bwebaasengukira e Habasha(Ethiopia), kabaka we Habasha ow'ekiseera ekyo - al-Najjaashiy- n'abagamba: Ddiini ki eyo gyemwawukaniddeko abantu bammwe, nemutayingira mu ddiini yange yadde emu ku ddiini z'ebibinja bino? Ja'afar ibn abi Twaalib n'amugamba: Owange Kabaka, ffe twali bantu abali mu butamanya, nga tusinza amasanamu era nga tulya ebifudde byokka era nga twettanira ebyobukaba era nga tukutula eŋŋanda era nga tuyisa bubi omuliraano, owaamanyi nga y'alya eby'omunafu, netubeera bwetutyo okutuusa Allah bweyatuma gyetuli omubaka okuva muffe, nga tumanyi ekika kye n'amazima ge n'obwesigwa bwe n'ensaa ze, n'atukoowoola okudda eri Allah tumwawule era tumusinze era tuve ku byetubadde tusinza ne bakitaffe ebitali yye mu mayinja n'ebibumbe, n'atulagira okwogera amazima n'okutuukiriza obwesigwa n'okuyunga oluganda n'okulongoosa eri omuliraano n'okwewala ebyaziyizibwa n'[okuyiwa] emisaayi, era n'atuziyiza eby'obukaba n'okuwa obujulizi obw’obulimba n'okulya emmaali ya bamulekwa n'okutemerera omukyala ow'ensa, era n'atulagira okusinza Allah yekka nga tetumugattako kirala kyonna, era n'atulagira okusaala n'okuwa zzaka n'okusiiba, "yagamba: n'amuttottolera ensonga z'obusiraamu, netumukakasa netumukkiriza netumugoberera kw'ebyo byeyajja nabyo, netusinza Allah yekka era netutamugattako kintu kyonna, netweziyizaako ebyo byeyatuziyizaako, era netukola ebyo byeyatukkiriza..." Yayogerwa Ahmad (1740) n'okwawukanamu kutono, ne Abu Nuaim mu ((Hilat al-Awliyaa)) (17115) mubufunze. Kale Obusiraamu nga bwolaba, tebusuusuuta bantu nakubasitula kusukka ddaala lyabwe, era tebubafuula balezi na bakatonda. Allah owekitiibwa yagamba: {(Ggwe Nabbi Muhammad) gamba nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo mujje twegatte ku kigambo ekigatta wakati waffe nammwe, nakyo kwekuba nga tetusinza okugyako Allah, era tuleme ku mugattako kintu kyonna, era tube nga tetufuula abamu muffe ebyokusinza netuleka Allah. Ekyo bwebakivaako, mmwe mubagambe nti (mmwe) mujulire nti mazima ffe tuli basiramu tukkiririza mu bwomu bwa Allah.} [Surat Al-Imraan: 64]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Era tabalagira kufuula ba Malayika ne ba Nabbi ba Katonda, (okiraba nti kijja) nti okuba nti abalagira ebyobukafiiri oluvanyuma lwokuba Abasiramu.} Surat Al-Imraan 80 N’omubaka wa Allah agamba: «Temunsukkulumya nga abakulisitaayo bwebaasukkulumya [nnabbi Isa] mutabani wa Mariam, kubanga mazima nze ndi muddu we; n'olwekyo mugambe: muddu wa Allah era mubaka we» Swahiih al-Bukhariy 3445.
42- Allah yateekawo okwenenya mu busiraamu, era nga nakwo: kudda kwa muntu eri omulezi we n’okuva ku kyonoono, era okusiramuka kuggyawo ebyonoono ebiba byasooka, era okwenenya kuggyawo ebyonoono ebibeera emabega waakwo, nabwekityo tewali bwetaavu bwa kweyabiza mu maaso ga muntu, byonoono bya muntu,
Allah yateekawo okwenenya mu busiraamu era nga nakwo: kudda kwa muntu eri omulezi we n’okuva ku kyonoono, Allah owa waggulu yagamba: {Era mwenenye eri Allah mwenna, Abange mmwe abakkiriza oba olyawo ne mwesiima} [Surat Nuur:31]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Tebamanyi nti mazima Allah yye, yakkiriza okwenenya kwa ba ddube era nti yakkiriza Saddaaka era nti mazima Allah yye yakkiriza okwenenya era omusaasizi ennyo.} [Surat al-Tawba: 104]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Era yye () yooyo akkiriza okwenenya kwa baddu be era naasonyiwa ebibi, era amanyi ebyo bye mukola.} [Surat Al-shuuraa: 25] Era yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuyye: «Ddala Allah y'asinga okusanyukira okwenenya kw'omuddu we omukkiriza okusinga omuntu ali mu kyererezi ekitaliimu kimera nga asobola okuzikirirawo, nga alina ensolo ye eriko emmereye n'ebyokunywa bye, ne yeebaka n'azuukuka nga ensolo egenze, n'ajinoonya okutuusa lw'afuna ennyonta, oluvannyuma n'agamba: kanzireyo mu kifo kyange wennabadde neebake ppaka lwenfa, bwatyo n'ateeka omutwe gwe ku mukono gwe aafe, n'azuukuka nga ensolo ye emuli awo ng'eriko entandaye n'emmereye n'ebyokunywabye, Kale Allah y'asinga okuba omusanyufu olw'okwenenya kw'omuddu omukkiriza okusinga ono olw'ensolo ye n'entanda ye» Swahiih Muslim 2744.
Era Obusiraamu buggyawo ebyabukulembera mu byonoono era okwenenya kuggyawo ebyonoono ebibeera emabega waakwo, Allah owa waggulu yagamba: {Gamba abo abaakaafuwala, nti bwe baneekomako, baggya kusonyiyibwa ebyakulembera, naye bwe banaddamu, ekyatuuka ku baasooka kimanyiddwa.} [Surat al-Anfaal: 38]. Era Allah yakoowoola abakulisitaayo eri okwenenya, bwatyo n'agamba ow'ekitiibwa: {Abaffe, tebayinza kwenenyeza Allah nebamusaba ekisonyiwo. Ate nga bulijjo Allah musonyiyi waakisa.} [Surat al-Maa'ida: 74]. Era Allah yayagazisa abasobya n'aboonoonyi bonna okwenenya, n'agamba owa waggulu: {Bagambe nti: abange baddu bange abo abayitirizza okwonoona ku myoyo gyabwe temuggwangamu ssuubi mu kusaasira kwa Allah, mazima Allah asonyiwa ebyonoono byonna, mazima yye ye musonyiyi ennyo omusaasizi ennyo.} [Surat al-Zzumar: 53]. Era Amru mutabani wa al-Aaswi bweyamalirira okusiramuka, yatya nti ebyonoono bye byeyakola nga tannasiramuka biyinza obutasonyiyibwa, Amru yagamba nga anyumya embeera eno: (Allah ow'amaanyi era ow'ekitiibwa bweyamala okussa Obusiraamu mu mutima gwange, yagamba: nagenda eri nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye abeere nga ampa obweyamu, n'ayanjuluza omukono gwe gyendi, neŋŋamba: owange omubaka wa Allah ssikuwa bweyamu okutuusa nga onsonyiye ebyakulembera mu byonoono byange, n'agamba: omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye naŋŋamba: owange Amru, tokimanyi nti okusenguka kuggyawo ebyo ebyakukulembera mu byonoono, owange Amru, tokimanyi nti Obusiraamu buggyawo ebyo ebyali emabega waabwo mu byonoono) Yayogerwa Muslim (121) mu buwanvu mu ngeri bw'etyo, ne Ahmad (17827) era enjogera yiye.
43- Era nabwekityo mu busiraamu, enkolagana wakati w’omuntu ne Allah eba ya butereevu, era teweetaaga muntu yenna kubeera kayungirizi wakati wo ne Allah, era Obusiraamu buziyiza, ffe okufuula abantu abasinzibwa oba abagattibwa ku Allah mu bulezi bwe oba okusinzibwa kwe.
Mu busiraamu tewali bwetaavu bwa kwanja byonoono bya muntu eri muntu mulala, era mu busiraamu enkolagana ebaya butereevu wakati w’omuntu ne Allah, kale teweetaaga muntu yenna kubeera kayungirizi wakati wo ne Allah, era nga bwekyalambikiddwa mu katundu nnamba (36) nti mazima Allah owa waggulu yakoowoola abantu bonna eri okwenenya n'okudda gyali, era bwatyo yagaana abantu okufuula ba nnabbi oba ba malayika bakayungirizi wakati we n'abaddu be, n'agamba Allah owa waggulu: {Era tabalagira kufuula ba Malayika ne ba Nabbi ba Katonda, (okiraba nti kijja) nti okuba nti abalagira ebyobukafiiri oluvanyuma lwokuba Abasiramu.} [Surat Al-Imraan: 80]. Kale Obusiraamu -nga bwolaba- butugaana okufuula abantu abasinzibwa oba abagattibwa ku Allah mu bulezi bwe oba okusinzibwa kwe, era Allah owa waggulu yagamba ku bakulisitaayo: {Baafuula ba kabona baabwe n’abasosodooti okuba abasinzibwa, nebaleka Allah. Mu ngeri y’emu ne Masiya mutabani wa Mariam baamufuula bwe batyo, so ng’ate tebaalagirwanga okugyako okusinza Katonda omu. Tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye, musukkulumu nnyo kw'ebyo bye bamugattako.} [Surat al-Tawba: 31]. Era Allah yanenya abatali basiraamu ku kuteekawo kwabwe bakayungirizi wakati waabwe naye, bwatyo n'agamba Allah owa waggulu: {Abange eddiini ensengejje entukuvu ya Allah yekka bo abamuvaako ne beeteerawo abakuumi (baakiyambi) abalala (nga bagamba nti:) tetubasinza okuggyako lwa kutusembeza kumpi ne Allah, mazima Allah agenda kulamula wakati w'abwe mwebyo bo bye baawukanamu, mazima Allah taluŋŋamya muntu oyo omulimba awalaaza empaka.} [Surat al-Zzumar: 3]. Era Allah yannyonnyola nti mazima abasinza ebibumbe -abaali mu butamanya- baali nga bateekawo ba kayungirizi wakati waabwe ne Allah, era nga bagamba nti: mazima bbyo [bikayungirizi] bibasembeza eri Allah.
Kati Allah bwagaana abantu okuteekawo ba nnabbi ne ba malayika nga bakayungirizi wakati we n'abaddu be; kale abasigadde baba tebasaanirako yadde! Kiri kitya, nga bannabbi n'ababaka emirembe gibeere ku bbo banguyiriza okusembera eri Allah! Allah owa waggulu yagamba ng'ategeeza ku mbeera yaaba nnabbi n'ababaka emirembe gibeere ku bbo: {Mazima bo baalinga banguyira mu kukola ebirungi, nga batusaba mu kwagala ne mu kutya, era baalinga batugondera.} [Surat al-Anbiyaa: 90]. Era Allah owa waggulu yagamba: {Abo bebasaba nabo banoonya ekkubo eribatuusa ewa Mukama omulabirizi waabwe, (kaakati) ku bonna ani ow'okumpi? Era baagala okusaasirakwe era batya ebibonerezobye mazima ebibonerezo bya Mukama omulabiriziwo biteekwa okwewalibwa.} [Surat al-Israa: 57]. Amakulu nti mazima ebyo bye musaba ebitali Allah -mu ba nnabbi n'abalongoofu- bbo bafuba kusembera eri Allah era basuubira kusaasira kwe era batya ebibonerezo bye; kale bayinza batya okusabibwa mu kifo kya Allah.
44- Ku nkomerero y’akatabo kano tujjukira nti mazima abantu mu kwawukana kw’emirembe gyabwe, n’amawanga gaabwe n’ensi zaabwe, ssinakindi buli ayitibwa omuntu, ayawukana mu ndowooza ze n’ebigendererwa bye, wa njawulo gyawaangalira n’emirimu gye, nabwekityo mwetaavu nnyo eri omuluŋŋamya okumulambika, n’enteekateeka emukuŋŋanya, n’omulamuzi amukuuma, era ababaka ab’ebitiibwa – okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo- beebakola kw’ekyo nga bafunye obubaka okuva er Allah -eyayawukana-, baluŋŋamya abantu eri ekkubo ly’obulungi n’obutegeevu, era nebabakuŋŋanyiza ku Ssemateeka wa Allah, era nebalamula wakati waabwe n’amazima, era ensonga zaabwe nezitereera okusinziira ku kwanukula kwabwe eri ababaka abo, n’okusinziira ku bw’okumpi bw’omulembe gwabwe eri obubaka obwobwa-Katonda, era Allah yafundikira obubaka bwonna n’obubaka bw’omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye, era n’abuwandiikako okusigalawo, era n’abufuula nga buluŋŋamu eri abantu, era nga kisa, era nga kitangala, era nga kiragirira eri ekkubo erituusa gyali eyayawukana.
Ku nkomerero y’akatabo kano tujjukira nti mazima abantu mu kwawukana kw’emirembe gyabwe, n’amawanga gaabwe n’ensi zaabwe, ssinakindi buli ayitibwa omuntu, ayawukana mu ndowooza ze n’ebigendererwa bye, wa njawulo gyawaangalira n’emirimu gye, nabwekityo mwetaavu nnyo eri omuluŋŋamya okumulambika, n’enteekateeka emukuŋŋanya, n’omulamuzi amukuuma, era ababaka ab’ebitiibwa – okusaasira n’emirembe bibeere ku bbo- beebakola kw’ekyo nga bafunye obubaka okuva er Allah -eyayawukana-, baluŋŋamya abantu eri ekkubo ly’obulungi n’obutegeevu, era nebabakuŋŋanyiza ku Ssemateeka wa Allah, era nebalamula wakati waabwe n’amazima, era ensonga zaabwe nezitereera okusinziira ku kwanukula kwabwe eri ababaka abo, n’okusinziira ku bw’okumpi bw’omulembe gwabwe eri obubaka obwobwa-Katonda, era obubuze bwebwayitirira n'obutamanya nebubuna n'ebibumbe nebisinzibwa; Allah yatuma omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye, n'obuluŋŋamu n'eddiini ey'amazima aggye abantu mu bizikiza by'obutakkiriza n'obutamanya n'obusamize, okudda eri obukkiriza n'obuluŋŋamu.
45- N’olwensonga eyo nkukoowoola owange gwe omuntu oyimirire oluyimirira olw’amazima ku lwa Allah, olutaliimu bugoberezi [obw’obuzibe] yadde ennono, era omanye nti oluvannyuma lw’okufa kwo oli wa kudda eri omulezi wo, era weetunulemu gwe kennyini ne mu mpuuyi z’ensi ezikwetolodde, nabwekityo siramuka weesiime ku nsi yo ne kunkomerero yo, era bwoba oyagadde okuyingira mu busiraamu, tewali kikwetaagisa okuggyako ggwe okukakasa nti tewali kisinzibwa okugyako Allah, era mazima Muhammad mubaka wa Allah, era weesambe buli kyonna ekisinzibwa ekitali Allah, era okkirize nti Allah waakuzuukiza ebiri mu ntaana, era mazima okubalwa n’empeera byamazima, era bwoba okakasizza okukakasa okwo obeera ofuuse omusiraamu. Ekikukakatako oluvannyuma lw’ekyo kubeera nga osinza Allah n’ebyo byeyalagira, nga okusaala n’okutoola ezzaka n’okusiiba n’okulamaga [ku kaaba e Makka] bwoba nga okifunyeko obusobozi.
N’olwensonga eyo nkukoowoola owange gwe omuntu oyimirire oluyimirira olw’amazima ku lwa Allah, olutaliimu bugoberezi [obw’obuzibe] yadde ennono, nga Allah owa waggulu bwe yakukoowoola mu kigambo kye: {Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti mbabuulirira n’ekintu kimu kyokka nakyo kwe kuba nga muyimirira ku lwa Allah babiri babiri oba kinnoomu oluvanyuma mulowoolereze (mujja kutegeera) nti munnammwe (Muhammad) ssi mulalu tali yye okugyako okuba nti mutiisa gye muli (nga abatiisa) ebibonerezo eby'amaanyi bye mwolekedde.} [Surat Saba'i: 46]. Era omanye nti oluvannyuma lw'okufa kwo oli wa kudda eri omulezi wo, Allah owa waggulu yagamba: {Era nti omuntu tagenda kufuna okugyako ekyo kye yakolerera. (39) Era nti mazima (ebibala) by’okukola kwe (omuntu) kya ddaaki kulitunuulirwa (ku Lunaku Lw’enkomerero) (40) Oluvannyuma ne kumusasulwa (okukola okwo) empeera entuukirivu; (41) Era nti ddala mazima eri Mukama wo y’eri Enkomerero (ya buli kintu) (42) } [Surat al-Najm: 39-42]. era weetunulemu gwe kennyini ne mu mpuuyi z’ensi ezikwetolodde, Allah owa waggulu yagamba: {Abaffe tebaatunulako mu bufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi! na buli kyonna Allah kyeyatonda! n’okuba nti kirabika nti enkomerero yaabwe mazima yali etuuse! kaakano oluvanyuma lwa kino bigambo ki bye bayinza okukkiriza!.} [Surat al-A'araaf: 185].
nabwekityo siramuka weesiime ku nsi yo ne kunkomerero yo, era bwoba oyagadde okuyingira mu busiraamu, tewali kikwetaagisa okuggyako ggwe okukakasa nti tewali kisinzibwa okugyako Allah, era mazima Muhammad mubaka wa Allah. Era omubaka Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye bwe yatuma Mu'adh e Yamani ng'omukoowooze eri Obusiraamu, yamugamba: «Mazima gwe ogenda mu bantu banannyini kitabo, kale bakoowoole okudda eri okukkiriza nti tewali kisinzibwa okuggyako Allah era mazima nze ndi mubaka wa Allah, bwebaba bakugondedde kw'ekyo, bamanyise nti mazima Allah ow'ekitiibwa era omusukkulumu Yabalaalikako esswala ttaano mu buli misana n'ekiro, bwebaba ekyo bakigondedde bategeeze nti mazima Allah Yabalaalikako Saddaaka(zzaka) mu mmaali yaabwe, eggyibwa mu bagagga mubo n'eddizibwa mu beetaavu mubo, bwebaba bakugondedde kwekyo, kale nkwekesa emmaali yaabwe esinga obulungi» Swahiih Muslim 19. era weesambe buli kyonna ekisinzibwa ekitali Allah, era okwesamba byonna ebisinzibwa ebitali Allah, kwekwawula Allah; enkola ya [nnabbi] Ibrahim emirembe gibeere ku yye, Allah owa waggulu yagamba: {Mazima mwalina eky’okugoberera ekirungi (ddala) mu (Nabbi) Ibrahiimu n’abo abaali awamu naye, mu kiseera bwe baagamba ekibiina kyabwe nti: Mazima ffe tubaawukanyeeko (era twesambye) ne kw’ebyo bye musinza ebitali Allah: Tubawakanyizza, era bumaze okweyoleka obulabe n’obukyaayi wakati waffe nammwe obw’olubeerera okutuusa lwe munakkiriza Allah (ali Omu Oyo) yekka } [Surat al-Mumtahna: 4]. era okkirize nti mazima Allah waakuzuukiza ebiri mu ntaana, Allah owa waggulu yagamba: {Ekyo nno lwakuba nti mazima Allah yye ye w'amazima era mazima yye agenda kulamusa abafu. Era nti mazima yye muyinza ku buli kintu. (6) Era nti mazima essaawa ey'enkomerero ejja, teriimu kubuusabuusa era nti mazima ddala Allah agenda kuzuukiza abali mu kabbuli. (7) } [Surat al-Hajj: 6-7]. era nti mazima okubalwa n’empeera byamazima, Allah owa waggulu yagamba: {Era Allah yakola eggulu ne nsi mu butuufu era buli mwoyo gulyoke gube nga gusasulwa olwebyo, bye gwakola era bo si bakulyazamanyizibwa.} [Surat al-Jaathiya: 22].
era bwoba okakasizza okukakasa okwo obeera ofuuse omusiraamu, ekikukakatako oluvannyuma lw’ekyo kubeera nga osinza Allah n’ebyo byeyalagira, nga okusaala n’okutoola ezzaka n’okusiiba n’okulamaga [ku kaaba e Makka] bwoba nga okifunyeko obusobozi, n'ebirala.
kkopi ya nga: 19-11-1441 [ez'obusiraamu]
Kyawandiikibwa Prof. Dr. Muhammad bin Abdallah Assuhaim
Eyali omusomesa w'Enzikiriza mu kitongole ky'emisomo gy'obusiraamu (gyebuvuddeko)
Essomesezo lya Tarbiya, SSettendekero wa king saud
Riyadh, Saudi Arabia
Related books
All books
Katabo akafunze akakwatagana ku busiraamu nga bwebwajja mu Qur'an ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi (okusaasira n’emirembe bibeere ku yye)59 languagesKatabo akafunze akakwatagana ku busiraamu nga bwebwajja mu Qur'an ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi (okusaasira n’emirembe bibeere ku yye)
Kulw'erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow'ekisa ekingi OBUSIRAAMU (Kkopi nga temuli bujulizi)[1] [1] Waliwo Kkopi y’akatabo kano eteereddwamu obujulizi okuva mu Qur'an ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi ku buli nsonga erimu, okukafuna genda ku ‘linki’: https://islamhouse.com/lg/books/2830071 Katabo kakulu kalimu okunnyonyola okufunze ku busiraamu, kalaga ebikolo byabwo ebikulu n’ensomesa zabwo n’ebirungi byabwo, nga biggyibwa mu nsibuko zabwo ez’ekikolo, era nga nazo ye Qur'an ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi, era akatabo kano k'abantu bonna abakulu mu basiraamu n’abatali basiraamu mu nnimi…
OBUSIRAAMU DDIINI Y'ABABAKA BA ALLAH.85 languagesOBUSIRAAMU DDIINI Y'ABABAKA BA ALLAH.
Obusiraamu kwe kwewaayo eri Allah, Omutonzi era Omulabirizi w’ebitonde byonna, n'okumugondera mu kumwagala n'okumussaamu ekitiibwa, era omusingi gw'obusiramu kwe kukkiriza Allah, era nti ye mutonzi; ate buli kitali yye kitonde, era nti yasaanidde okusinzibwa yekka nga tewali kimwegattako, tewali kisinzibwa mu butuufu [bwa kusinzibwa] okuggyako yye, alina amannya amalungi, n'ebitendo ebyawaggulu, era ye mutuukirivu awatali bukendeevu, tazaala era teyazaalibwa, era talina kimwenkana yadde ekimufaanana, era talabikira mu kintu kyonna mu bitonde bye. Era obusiraamu y'eddiini ya Allah owa waggulu,…
Obw'etteeka bw'okukolera ku nkola y'omubaka okusaasira n'emirembe bibeera ku yye, n'okukaafuwala kw'oyo akiwakanya.23 languagesObw'etteeka bw'okukolera ku nkola y'omubaka okusaasira n'emirembe bibeera ku yye, n'okukaafuwala kw'oyo akiwakanya.
kyawandiikibwa: Abdul-Aziizi Ibun Abdullah Ibun Baazi Allah amusaasire Nsoose n'erinnya lya Allah omusaasizi ennyo ow'ekisa ekingi Ennyanjula Amatendo amajjuvu ga Allah omulezi w'ebitonde byonna, n'obuddiro obulungi bw'abo abatya Allah, okusaasira n'emirembe bibeere kumudduwe era omubaka we Muhammad; omutume nga kyakusaasira eri ebitonde byonna, neku bantu be ne ba swahaaba be abo abeetikka ekitabo ky'omulezi waabwe eyayawukana, ne sunnah (hadiith) za Nabbi waabwe -okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- okubituusa kw'abo abajja oluvannyuma lwabwe, n'obwesigwa obwekika ekyawaggulu, n'obukugu,…
[Ekitabo] ekifunze ekigasa omusiraamu omupya32 languages[Ekitabo] ekifunze ekigasa omusiraamu omupya
Kitegekeddwa Muhammad Al-Shihriy 1441 - 2020 Kulw'erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow'ekisa ekingi Ennyanjula