OBUSIRAAMU DDIINI Y'ABABAKA BA ALLAH. Obusiraamu kwe kwewaayo eri Allah, Omutonzi era Omulabirizi w’ebitonde byonna, n'okumugondera mu kumwagala n'okumussaamu ekitiibwa, era omusingi gw'obusiramu kwe kukkiriza Allah, era nti ye mutonzi; ate buli kitali yye kitonde, era nti yasaanidde okusinzibwa yekka nga tewali kimwegattako, tewali kisinzibwa mu butuufu [bwa kusinzibwa] okuggyako yye, alina amannya amalungi, n'ebitendo ebyawaggulu, era ye mutuukirivu awatali bukendeevu, tazaala era teyazaalibwa, era talina kimwenkana yadde ekimufaanana, era talabikira mu kintu kyonna mu bitonde bye. Era…
Obusiraamu kwe kwewaayo eri Allah, Omutonzi era Omulabirizi w’ebitonde byonna,
n'okumugondera mu kumwagala n'okumussaamu ekitiibwa, era omusingi gw'obusiramu kwe kukkiriza Allah, era nti ye mutonzi; ate buli kitali yye kitonde, era nti yasaanidde okusinzibwa yekka nga tewali kimwegattako, tewali kisinzibwa mu butuufu [bwa kusinzibwa] okuggyako yye, alina amannya amalungi, n'ebitendo ebyawaggulu, era ye mutuukirivu awatali bukendeevu, tazaala era teyazaalibwa, era talina kimwenkana yadde ekimufaanana, era talabikira mu kintu kyonna mu bitonde bye.
Era obusiraamu y'eddiini ya Allah owa waggulu, era teriiyo ddiini yonna gyakkiriza mu bantu okuggyako yyo, era y'eddiini ba nabbi bonna -emirembe gibeere ku bbo- gyebajya nayo.
Era mu misingi gy’Obusiraamu mulimu okukkiriza ababaka bonna, era nti Allah yatuma ababaka okutuusa ebiragiro bye eri abaddu be era nabassiza ebitabo, era eyasembayo mu bbo yali Muhammad emirembe gibeere ku yye. Allah yamutuma ne ssemateeka ow'obwakatonda ow'enkomerero nga asangulawo amateeka g’ababaka abaakulembera. Allah yamuwagira n’ebyamagero ebinene, nga n'ekisinga obukulu ye Qur’an ey'ekitiibwa, [era nga yyo] bigambo bya mulezi wa bitonde, ky'ekitabo ekisinga obukulu ekimanyiddwa abantu, kyamagero mu bikirimu, ne mu bigambo byakyo, n’enteekateeka yaakyo, kirimu obuluŋŋamu eri amazima agakutuusa eri okwesiima ku nsi n’enkomerero. Kikuumiddwa n’okutuusa leero mu lulimi Oluwarabu mwe kyakkira, temwakyusibwamu era temwawaanyisibwamu yadde ennyukuta neemu.
Era mu misingi gy’Obusiraamu mulimu okukkiririza mu ba malayika, n’okukkiririza mu lunaku lw’enkomerero; era [nga] mu lwo Allah mw’alizuukiriza abantu okuva mu ntaana zaabwe okubabala emirimu gy'abwe, yenna aliba yakola ebirungi ng’ate mukkiriza ajja kufuna ebyengera eby’olubeerera mu Jjana, era oyo yenna eyagyeema n’akola ebikolwa ebibi ajja kuba n’ekibonerezo ekinene mu muliro. Era mu misingi gy’Obusiraamu mulimu okukkiriza ebyo Allah byeyagera ebirungi oba ebibi.
Era abasiraamu bakkiriza nti Isa (yesu) muddu wa Allah era mubaka we, era nti ssi mwana wa Allah; kuba nga Allah waakitiibwa, tasobola kubeera na mukyala yadde omwana, kuba nga yye Allah yatugamba mu Qur’an nti Isa (yesu) yali nabbi Allah gweyawa ebyamagero ebingi, era nti Allah yamutuma okukowoola abantu be badde eri okusinza Allah yekka, nga tewali kimwegattako, era yatutegeeza nti Isa (yesu) teyasaba bantu kumusinza, wabula naye yali asinza Mutonzi we.
Era Obusiraamu ddiini ekwatagana n'obubumbwa n’endowooza entuufu, era ekkirizibwa emyoyo emiramu, Omutonzi yagiteerawo ebitonde bye, era nga yyo ddiini ya bulungi n'okwesiima eri abantu bonna, teyawula mu bika, yadde langi, era abantu mu yyo benkanankana, omuntu mu busiraamu tasukkuluma ku munne okuggyako okusinziira ku mirimu gye emirungi.
Era kikata ku buli muntu ategeera okukkiriza Allah nga Omulezi [we], n'obusiraamu nga eddiini, ne Muhammad nga Omubaka, era ensong'eno ssi ya kyeyagalire (wabula yatteeka) ku muntu; kubanga Allah ajja kumubuuza ku lunaku lw’amazuukira ku kiki kyeyayanukula ababaka. Bw’aliba nga yali mukkiriza, olwo ajja kubeera n’obuwanguzi n’okwesiima okunene, ate bw’aliba nga yali takkiriza, olwo aliba n'okufaafaagana okweyolefu.
Era yenna ayagala okuyingira Obusiraamu alina okugamba nti: (Ash-hadu Allaa ilaaha illa Allahu wa ash-hadu anna muhammada rasuulullah), ng’amanyi amakulu gaabyo era nga abikkiririzaamu; era mu ngeri eyo afuuka Omusiraamu. Oluvannyuma asoma amateeka amalala ag’obusiraamu mpolampola; asobole Okuyimirizaawo ebyo Allah byeyamulaalikako.
Buli kintu kyonna kiraga okubeerawo kw'Omutonzi Ani eyatonda eggulu n'ensi n'ebitonde ebinene ebibirimu byotasobola kumanya n'omalayo? Ani eyakola enteekateeka eno enzijuvu era nga ntukirivu mu ggulu ne ku nsi? Ani eyatonda omuntu era namuwa okuwulira n'okulaba n'amagezi era n'amufuula asobola okufuna okumanya n'okutegeera ensonga? Onnyonnyola otya enkola eno entuufu munkola yomubiri gwo era n'enkola yemibiri gy'ebitonde ebiramu ? Era ani yagitandikawo? Butegekeddwa butya era bunywevu butya obutonde buno obunene n'amateeka gaabwo agabulung'amya ddala okumala emyaka n'emyaka ?
Kitabo kifunze ekikwatagana ku busiraamu nga bwebwajja mu Kkulaani ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi (okusaasira n’emirembe bibeere ku yye)
71 languages
Kitabo kifunze ekikwatagana ku busiraamu nga bwebwajja mu Kkulaani ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi (okusaasira n’emirembe bibeere ku yye)
Obusiraamu Kitabo kikulu kirimu okunnyonyola okufunze ku busiraamu, kiraga ebikolo byabwo ebikulu n’ensomesa zabwo n’ebirungi byabwo, nga bigyibwa mu nsibuko zabwo ez’ekikolo, era nga nazo ye Kkulaani ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi, era ekitabo kino kyabantu bonna abakulu mu basiraamu n’abatali basiraamu mu nnimi zaabwe mu kiseera kyonna era mu buli kifo kyonna mu buli ngeri n’embeera ez’enjawulo. (Kkopi erimu obujulizi okuva mu Kkulaani ey'ekitiibwa n'Enjigiriza za Nnabbi) 1- Obusiraamu bweebubaka bwa Allah eri abantu bonna, era bwe bubaka bw'obwakatonda obwolubeerera obufundikira obubaka…
Katabo akafunze akakwatagana ku busiraamu nga bwebwajja mu Qur'an ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi (okusaasira n’emirembe bibeere ku yye)
59 languages
Katabo akafunze akakwatagana ku busiraamu nga bwebwajja mu Qur'an ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi (okusaasira n’emirembe bibeere ku yye)
Kulw'erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow'ekisa ekingi OBUSIRAAMU (Kkopi nga temuli bujulizi)[1] [1] Waliwo Kkopi y’akatabo kano eteereddwamu obujulizi okuva mu Qur'an ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi ku buli nsonga erimu, okukafuna genda ku ‘linki’: https://islamhouse.com/lg/books/2830071 Katabo kakulu kalimu okunnyonyola okufunze ku busiraamu, kalaga ebikolo byabwo ebikulu n’ensomesa zabwo n’ebirungi byabwo, nga biggyibwa mu nsibuko zabwo ez’ekikolo, era nga nazo ye Qur'an ey’ekitiibwa n’Enkola ya Nnabbi, era akatabo kano k'abantu bonna abakulu mu basiraamu n’abatali basiraamu mu nnimi…