Omukyala yagwa ku kabenje [nakosebwa], ate yali yaakufuna olubuto, olubuto neluvaamu oluvannyuma lw'okuvaamu omusaayi omungi, abaffe akkirizibwa okusiibululuka, oba agenda mumaaso n'okusiiba? era bw'asiibulukuka abaffe afuna omusango?
السؤال
q1:
Omukyala yagwa ku kabenje [nakosebwa], ate yali yaakufuna olubuto, olubuto neluvaamu oluvannyuma lw'okuvaamu omusaayi omungi, abaffe akkirizibwa okusiibululuka, oba agenda mumaaso n'okusiiba? era bw'asiibulukuka abaffe afuna omusango?
س28: امرأةٌ أصيبت في حادثةٍ، وكانت في بداية الحمل، فأسقطت الجنين إثر نزيفٍ حادٍّ، فهل يجوز لها أن تفطر، أو تواصل الصّيام؟ وإذا أفطرت فهل عليها إثمٌ؟
الجواب
A1:
Tugamba: nti omukyala ow'olubuto tagenda mu nsonga, nga bweyagamba imaam Ahmad: mazima abakyala kwebamanyira nti bafunye olubuto kuba butagenda mu nsonga. N'omusayi gwa 'haidhu' -nga abamanyi bwebaagamba- Allah omuyitirivu w'emikisa era owa waggulu yagutonda olw'ekigendererwa ky'okulya ky'omwana nga ali mu lubuto lwa maama we, omukyala bwafuna olubuto 'haidhu' akutukawo.
Naye abakyala abamu ayinza okugenda mumaaso nga agenda mu nsonga nga bwabadde nga tannafuna lubuto, oyo alamulwa nti 'haidhu' we oyo 'haidhu' mutuufu; kubanga agenze mumaaso n'okugenda mu nsonga, era takyuseemu olw'olubuto, n'abeera nga 'haidhu' oyo aziyiza ebyo byonna ebiyizibwa 'haidhu' w'atali lubuto, era n'akakasa ebyo byonna byakakasa, era naggyawo ebyo byonna byaggyawo.
Ekiri mw'ebyo: Mazima omusaayi ogufuluma mu w'olubuto gwa bika bibiri:
- ekika ekiramulwako nti 'haidhu', era gwegwo ogusigala nga gumuvaamu nga bwekyali nga tannafuna lubuto, ekyo kitegeeza: nti olubuto teluyina kyelukyusizza kugwo, nabeera nga [asigala] 'haidhu'.
ate ekika ekyokubiri: gwe musaayi oguguddewo obugwi ku lubuto, nga olw'okugwa ku kabenje, oba okusitula ekintu [ekizito], oba okugwa okuva ku kintu, n'ebiringa ebyo, oyo omusaayi gwe taba 'haidhu', wabula guba musaayi okuva mumisuwa,
n'olwekyo tekimugaana kusaala, wadde okusiiba, wabula abeera alamulwa mubatukuvu.
Naye ate ssinga akabengye kaviirako kuvaayo kw'omwana oba olubuto lwabadde nalwo mazima aba kw'ekyo abamanyi kyebaagamba: nti ssinga omwana afuluma nga amaze okutonda, mazima omusaayi gwe oluvannyuma lw'okufuluma gubalibwa nti 'nnifaasi', alekayo mu kiseera kyagwo okusaala n'okusiiba, ne bbaawe teyeegatta naye mpaka nga atukudde.
Ate omwana bwafuluma nga tannatonda, mazima [omusaayi ogwo] tegubalibwa nti musaayi gwa 'nnifaasi', wabula guba musaayi omufu, tegumugaana kusaala, wadde okusiiba, wadde ebitali ebyo byombi.
Abamanyi baagamba: ebbanga erisiinga obutono okutonda [kw'omwana] mwekweyolekera: ennaku kinaanamulumu; kubanga omwana aba mu lubuto lwa maama we.
Nga bweyagamba AbduLlahi ibn mas'uud Allah amusiime: omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yatunyumiza era nga yewaamazima [mubyayogera] era ow'amazima [mukutuusa obubaka], n'agaamba: «mazima okutondebwa kw'omu kummwe mu lubuto lwa maama we kw'ekuŋŋaanya mu nnaku makumi aana, oluvannyuma nekifuuka ekisaayisaayi bwekityo, oluvannyuma nekifuuka ekinyamanyama bwekityo, oluvannyuma etumibwa gyali malayika, n'elagirwa [okuwandiika] ebigambo bina, n'ewandiika 'riziki' ye, n'obuwangaazi bwe, n'emirimu gye, n'okuba nti: anaabeera mwonoonefu oba mulongoofu»,
era tekisoboka kutondebwa nga ennaku ezo tezinnaba, era ebiseera ebisinga okutonda tekweyoleka nga ennaku kyenda tezinnaba, nga abamanyi abamu bwebaagamba.
ﺟ28: نقول: إن الحامل لا تحيض، كما قال الإمام أحمد:
"إنما تعرف النّساء الحمل بانقطاع الحيض".
والحيض -كما قال أهل العلم- خلقه الله تبارك وتعالى لحكمة غذاء الجنين في بطن أمّه، فإذا نشأ الحمل انقطع الحيض.
لكن بعض النّساء قد يستمرّ بها الحيض على عادته كما كان قبل الحمل، فهذه يحكم بأن حيضها حيضٌ صحيحٌ؛ لأنه استمر بها الحيض، ولم يتأثر بالحمل، فيكون هذا الحيض مانعًا لكلّ ما يمنعه حيض غير الحامل، وموجبًا لـما يوجبه، ومسقطًا لـما يسقطه.
والحاصل: أن الدم الّذي يخرج من الحامل على نوعين:
نوعٌ يحكم بأنه حيضٌ، وهو الّذي استمر بها كما كان قبل الحمل، فمعنى ذلك: أن الحمل لم يؤثّر عليه، فيكون حيضًا.
والنوع الثاني: دمٌ طرأ على الحمل طروءًا، إما بسببٍ حادثٍ، أو حمل شيءٍ، أو سقوطٍ من شيءٍ ونحوه، فهذه دمها ليس بحيضٍ، وإنما هو دم عرقٍ،
وعلى هذا فلا يمنعها من الصلاة، ولا من الصوم، بل هي في حكم الطاهرات.
ولكن إذا لزم من الحادث أن ينزل الولد أو الحمل الذي في بطنها فإنها على ما قال أهل العلم: إن خرج وقد تبين فيه خلق إنسانٍ فإن دمها بعد خروجه يعدّ نفاسًا، تترك فيه الصلاة والصوم، ويتجنبها زوجها حتى تطهر.
وإن خرج الجنين وهو غير مخلّقٍ فإنه لا يعتبر دم نفاسٍ، بل هو دم فسادٍ، لا يمنعها من الصلاة، ولا من الصّيام، ولا من غيرهما.
قال أهل العلم: وأقلّ زمنٍ يتبين فيه التخليق: واحدٌ وثمانون يومًا؛ لأن الجنين في بطن أمّه، كما قال عبد الله بن مسعودٍ رضي الله عنه: حدثنا رسول الله ﷺ وهو الصادق المصدوق، فقال:
«إِنَّ أَحَدَكُمْ يُجْمَعُ فِي بَطْنِ أُمِّهِ أَرْبَعِينَ يَوْمًا، ثُمَّ يَكُونُ عَلَقَةً مِثْلَ ذَلِكَ، ثُمَّ يَكُونُ مُضْغَةً مِثْلَ ذَلِكَ، ثُمَّ يُبْعَثُ إِلَيْهِ الْمَلَكُ، وَيُؤْمَرُ بِأَرْبَعِ كَلِمَاتٍ، فَيُكْتَبُ رِزْقُهُ، وَأَجَلُهُ، وَعَمَلُهُ، وَشَقِيٌّ أَوْ سَعِيدٌ» [1]،
ولا يمكن أن يخلق قبل ذلك، والغالب أن التخليق لا يتبين قبل تسعين يومًا، كما قال بعض أهل العلم.
[10] رواه البخاري، كتاب أحاديث الأنبياء، باب خلق آدم وذريته (3333)، ومسلم، كتاب القدر، باب كيفية خلق الآدمي في بطن أمه (1) (2643).