Skip to content

Abaffe amazzi agava mu mukyala -ameeru oba aga kyenvu- matukuvu oba makyaafu? Era abaffe kikakata ku lwaago okufuna wuzu, awamu n'okuba nga gakulukuta olugenderezi? Era kiramulwa kitya ssinga gaba gajira negasirikamu, naddala nti abakyala abasiinga obungi -ate naddala abayivu- bakitwala nti okwo kutoba kwa butonde, tekukakasaawo kufuna wuzu?

السؤال

q1:

Abaffe amazzi agava mu mukyala -ameeru oba aga kyenvu- matukuvu oba makyaafu? Era abaffe kikakata ku lwaago okufuna wuzu, awamu n'okuba nga gakulukuta olugenderezi? Era kiramulwa kitya ssinga gaba gajira negasirikamu, naddala nti abakyala abasiinga obungi -ate naddala abayivu- bakitwala nti okwo kutoba kwa butonde, tekukakasaawo kufuna wuzu?

س35: هل السائل الّذي ينزل من المرأة -أبيض كان أم أصفر- طاهرٌ أو نجسٌ؟ وهل يجب فيه الوضوء، مع العلم بأنه ينزل مستمرًّا؟ وما الحكم إذا كان متقطّعًا، خاصةً أن غالب النّساء -لا سيما المتعلّمات- يعتبرن ذلك رطوبةً طبيعيةً، لا يلزم منه الوضوء؟

الجواب

A1:

Ekyeyoleka gyendi oluvannyuma lw'okunoonyereza: kiri nti amazzi agafuluma mu mukyala bwegaba tegava mu kawago, wabula nga gava mu nnabaana, gaba matukuvu, lwakuba gamalako wuzu newankubadde nga matukuvu; kubanga ssi kya tteeka nti ekimalako wuzu kiyina kuba najisi (nga kicaafu), nga omukka ogufuluma emabega, guba tegulabwaako, naye ate gumalako wuzu.

n'olwekyo, ssinga gava mu mukyala nga ayina wuzu, wuzu eba emuweddeko, era aba ayina okufuna empya.

bwe gaba gamuvaamu lugenderezi [nga tegakutukawo] gaba tegamumalaako wuzu, lwakuba afuna wuzu mu kiseera ky'esswala bwe kiba kituuse, era n'asaala mu kiseera ekyo kyaba afuniddemu wuzu esswala endaalike n'ezaakyeyagalire, n'asoma Qur'an, era n'akola kyonna kyaba ayagadde mu bimukkirizibwa,

nga bannannyini kumanya bwe baagamba kyekimu ku muntu [afaanaganako n'oyo] atasobola kusiba musulo, eyo y'ennamula amazzi agava mu mukyala ku ludda lw'okwetukuza, gaba matukuvu, ate ku ludda lw'okumalako wuzu, gamalako wuzu okuggyako nga gaalugenderezi tegakutukawo, bwebaga tegakutukawo gaba tegamumalaako wuzu, naye omukyala aba tayina kufuna wuzu okuggyako nga ekiseera ky'esswala kimaze okutuuka, era neyeefundikira.

ate bwegaba gakutukawo, era nga mbeeraaye okukutukawo mu kiseera ky'esswala, mazima yye akeereya esswala okutuusa mu kiseera kyegakutukiramu, ebbanga lyamala nga tatya kiseera kya sswala kuyita, bwatya ekiseera okuyita; mazima afuna wuzu, neyeefuundikira -neyeesiba bulungi- nasaala.

era tewali njawulo wakati w'amatono n'amangi; kubanga gonna gayita mu kkubo lyelimu, negaba nga amatono n'amangi gamalako wuzu, okwawukanako n'ebyo ebifulumira mu bitundu by'omubiri ebisigadde nga omusaayi n'ebisesemye, bbyo tebimalaako wuzu, kabibe bingi oba bitono.

wabula endowooza y'abamu ku bakyala nti tegamalaako wuzu , ekyo sikimanyiko nsibuko, okuleka ekigambo kya ibn hazm Allah amusaasire, agamba nti: mazima ekyo tekimalaako wuzu. Naye ate teyaleeta bujulizi ku nsonga eyo, singa yayina obujulizi bwonna okuva mu kitabo [Qur'an] n'ebigambo by'omubaka oba mu bigambo bya ba swahaaba kyandibadde kyesembesebwa.

n'olweekyo omukyala ayina okutya Allah, era nafaayo okwetukuza; kuba mazima esswala tetuuka awatali kwetukuza n'ebwaba asadde emirundi kikumi, wabula ate abamanyi abamu bagamba nti: oyo asaala nga ssi mutukuvu [tafunye wuzu] aba avudde mubusiraamu; kubanga okwo kuba kuzannyisa mateeka ga Allah eyayawukana era owa waggulu.

ﺟ35: الظاهر لي بعد البحث: أن السائل الخارج من المرأة إذا كان لا يخرج من المثانة، وإنما يخرج من الرحم، أنّه طاهرٌ، ولكنه ينقض الوضوء وإن كان طاهرًا؛ لأنه لا يشترط للناقض للوضوء أن يكون نجسًا، فها هي الرّيح تخرج من الدّبر، وليس لها جرمٌ، ومع ذلك تنقض الوضوء.

وعلى هذا، إذا خرج من المرأة وهي على وضوءٍ فإنه ينقض الوضوء، وعليها تجديده.

فإن كان مستمرًّا فإنه لا ينقض الوضوء، ولكن تتوضأ للصلاة إذا دخل وقتها، وتصلّي في هذا الوقت الّذي تتوضأ فيه فروضًا ونوافل، وتقرأ القرآن، وتفعل ما شاءت ممّا يباح لها،

كما قال أهل العلم نحو هذا فيمن به سلس البول، هذا هو حكم السائل من جهة الطهارة، فهو طاهرٌ، ومن جهة نقضه للوضوء، فهو ناقضٌ للوضوء إلا أن يكون مستمرًّا عليها، فإن كان مستمرًّا فإنه لا ينقض الوضوء، لكن على المرأة ألا تتوضأ للصلاة إلا بعد دخول الوقت، وأن تتحفظ.

أما إن كان منقطعًا، وكان من عادته أن ينقطع في أوقات الصلاة، فإنها تؤخّر الصلاة إلى الوقت الّذي ينقطع فيه، ما لم تخش خروج الوقت، فإن خشيت خروج الوقت فإنها تتوضأ، وتتلجم -تتحفظ- وتصلّي.

ولا فرق بين القليل والكثير؛ لأنه كله خارجٌ من السبيل، فيكون ناقضًا قليله وكثيره، بخلاف الذي يخرج من بقية البدن كالدم والقيء، فإنه لا ينقض الوضوء، لا قليله ولا كثيره.

وأما اعتقاد بعض النّساء أنه لا ينقض الوضوء فهذا لا أعلم له أصلًا، إلا قولًا لابن حزمٍ رحمه الله، فإنه يقول: إن هذا لا ينقض الوضوء، ولكنه لم يذكر لهذا دليلًا، ولو كان له دليلٌ من الكتاب والسّنة أو أقوال الصحابة لكان حجةً.

وعلى المرأة أن تتقي الله، وتحرص على طهارتها؛ فإن الصلاة لا تقبل بغير طهارةٍ ولو صلت مئة مرةٍ، بل إن بعض العلماء يقول: إن الذي يصلّي بلا طهارةٍ يكفر؛ لأن هذا من باب الاستهزاء بآيات الله سبحانه وتعالى.