Omukyala oluvannyuma lw'emyezi ebiri egya 'nnifaasi', era oluvannyuma lw'okutukula, yatandika okufuna amatondo g'omusaayi amatono, abaffe asiibulukuka, era n'atasaala? oba akola atya?
السؤال
q1:
Omukyala oluvannyuma lw'emyezi ebiri egya 'nnifaasi', era oluvannyuma lw'okutukula, yatandika okufuna amatondo g'omusaayi amatono, abaffe asiibulukuka, era n'atasaala? oba akola atya?
س24: امرأةٌ بعد شهرين من النّفاس، وبعد أن طهرت بدأت تجد بعض النّقاط الصغيرة من الدم، فهل تفطر، ولا تصلّي؟ أو ماذا تفعل؟
الجواب
A1:
Ebizibu by'abakyala ku nsonga ya 'haidhu' ne 'nnifaasi' nnyanja etayina lubalama, n'ezimu kunsonga zaabyo: kwekukozesa empeke ezo eziziyiza okufuna olubuto n'eziziyiza okugenda mu nsonga, era abantu baali tebamanyi bizibu bwebityo ebiyitirivu [nga tezinnajja],
kituufu nti obuzibu bwaliwo okuviira ddala nga nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye atumiddwa, gamba n'okuviira ddala ku kubeerawo kw'abakyala, naye ate obungi bwabwo okutuuka ku ngeri eyo efuula omuntu nga tamanyi kyakukola ku kubigoonjoola, mbeera ekwasa ennaku.
Naye etteeka eribuna: [liri nti] mazima omukyala bwatukula, nalaba okutukula okukakafu [okuva] mu 'haidhu' ne mu 'nnifaasi' -era kyentegeeza n'okutukula [okuva] mu 'haidhu': kwekuvaamu amazzi ameeru, era nga nago mazzi ameeru agamanyiddwa abakyala- kyonna ekijja oluvannyuma olw'okutukula nga 'kudra' (oluzzizzi oluba olwa kitaka), oba 'sufra' (oluzzizzi olwa kyenvu) oba ettondo, oba okutoba, ebyo byonna taba 'haidhu', tebigaana kusaala, era tebigaana kusiiba, era tekigaana musajja kwegatta na mukyala we; kubanga mazima taba 'haidhu',
yagamba ummu atwiyya : twali nga tetutwala mazzi gaakyeenvu oba agaakitaka nga ekintu kyonna. yayogerwa Al-bukhariy, Abu daawuda yayongerako: oluvannyuma lw'okutukula. Ate olujegere lwa hadith lutuufu.
Nabwekityo tugamba: buli kijja oluvannnyuma lw'okutula okukakafu mu bintu ebyo, mazima tebikosa mukyala, era tebimugaana kusaala kwe na kusiiba kwe na bbaawe kwegatta naye, naye kyatteeka obutanguyiriza okutuusa nga alabye okutukula;
olw'ensonga nti mazima abakyala abamu omusaayi bwegukala ayanguyiriza, n'anaaba nga tannalaba kutukula,
era y'ensonga lwaki bakyala baaba swahaaba basindika nga 'kursuf', ekitegeeza: ppamba alimu omusaayi, eri maama w'abakkiriza Aisha Allah amusiime, n'abagamba nti: temwanguyiriza okutuusa nga mulabye amazzi ameeru.
ﺟ24: مشاكل النّساء في الحيض والنّفاس بحرٌ لا ساحل له، ومن أسبابه: استعمال هذه الحبوب المانعة للحمل والمانعة للحيض، وما كان الناس يعرفون مثل هذه الإشكالات الكثيرة،
صحيحٌ أن الإشكال ما زال موجودًا من بعثة الرسول ﷺ، بل منذ وجد النّساء، ولكن كثرته على هذا الوجه الذي يقف الإنسان حيران في حلّ مشاكله أمرٌ يؤسف له.
ولكن القاعدة العامة: أن المرأة إذا طهرت، ورأت الطّهر المتيقن في الحيض وفي النّفاس -وأعني بالطّهر في الحيض: خروج القصة البيضاء، وهو ماءٌ أبيض تعرفه النّساء- فما بعد الطّهر من كدرةٍ، أو صفرةٍ، أو نقطةٍ، أو رطوبةٍ، فهذا كلّه ليس بحيضٍ، فلا يمنع من الصلاة، ولا يمنع من الصّيام، ولا يمنع من جماع الرجل لزوجته؛ لأنه ليس بحيضٍ، قالت أمّ عطية:
«كُنَّا لَا نَعُدُّ الصُّفْرَةَ وَالْكُدْرَةَ شَيْئًا»
أخرجه البخاريّ[1]، وزاد أبو داود [2]:
«بَعْدَ الطُّهْرِ»
وسنده صحيحٌ.
[6] كتاب الحيض، باب الصفرة والكدرة في غير أيام الحيض (326).
[7] كتب الطهارة، باب في المرأة ترى الصفرة والكدرة بعد الطهر (307).
وعلى هذا نقول: كلّ ما حدث بعد الطّهر المتيقن من هذه الأشياء فإنها لا تضرّ المرأة، ولا تمنعها من صلاتها وصيامها ومباشرة زوجها إياها، ولكن يجب ألّا تتعجل حتى ترى الطّهر؛
لأن بعض النّساء إذا جف الدم عنها بادرت، واغتسلت قبل أن ترى الطّهر،
ولهذا كان نساء الصحابة يبعثن إلى أمّ المؤمنين عائشة رضي الله عنها بالكرسف، يعني: القطن فيه الدم، فتقول لهن:
«لَا تَعْجَلْنَ حَتَّى تَرَيْنَ القَصَّةَ البَيْضَاءَ»[3].
[8] أخرجه البخاري معلقًا، كتاب الحيض، باب إقبال الحيض وإدباره.