Skip to content

Ssinga omukyala atukula nga emmambya yaakasala, abaffe yeziyizaako era n'asiiba olunaku olwo, n'abalibwa olunaku lwe [nti alusiibye], oba ayina okuliwa olunaku olwo?

السؤال

q1:

Ssinga omukyala atukula nga emmambya yaakasala, abaffe yeziyizaako era n'asiiba olunaku olwo, n'abalibwa olunaku lwe [nti alusiibye], oba ayina okuliwa olunaku olwo?

س1: إذا طهرت الـمرأة بعد الفجر مباشرةً فهل تمسك وتصوم هذا اليوم، ويكون يومها لها، أو عليها قضاء ذلك اليوم؟

الجواب

A1:

omukyala bw'atukula nga emmambya emaze okusala, abamanyi mu kusiiba kwe olunaku olwo bayinamu ebigambo bibiri:

Ekigambo ekisooka: nti ddala akakatibwaako okusiiba ekisigadddeyo ku lunaku olwo, naye ate olunaku olwo telumubalibwaako, era akakatibwaako okululiwa, era ekyo kyekyayatiikirila mu mazhabu ga imaam Ahmad Allah amusaasire.

Ate ekigambo ekyokubiri: nti ddala takakatibwaako kusiiba kisigaddeyo ku lunaku olwo; kubanga ddwo lunaku olutatuuka bwaba alusiibye; olw'ensonga nti lutandise ali mu nsonga nga takakatibwaako kusiiba, ate nga bwekuba nga tekutuuka[okusiiba kwe] tewabaawo mugaso gwa kusiiba, era ekiseera ekyo kiseera ssi kyamizizo ku yye; kubanga yalagirwa obutalusiiba ku ntandikwa y'olunaku, sso ate era nga yaziyizibwa okulusiiba [okuva] ku ntandikwa y'olunaku,

n'okusiiba okwomumateeka: kwe kweziyizaako byonna ebisiibulula kulwokusinza Allah ow'ekitiibwa era omusukkulumu okuva emmambya bw'esala okutuuka enjuba bwegwa.

n'ekyo ekigambo -nga bwokiraba- kyekisiinga obutuufu okusinga ekigambo [ekigamba nti] kyatteeka okusiiba, era ssi-nsonga; ku bigambo byombi [omukyala asigala] akakatibwaako okuliwa olunaku olwo.

ﺟ1: إذا طهرت المرأة بعد طلوع الفجر فللعلماء في إمساكها ذلك اليوم قولان:

القول الأول: أنه يلزمها الإمساك بقية ذلك اليوم، ولكنه لا يحسب لها، بل يجب عليها القضاء، وهذا هو المشهور من مذهب الإمام أحمد رحمه الله.

والقول الثاني: أنه لا يلزمها أن تمسك بقية ذلك اليوم؛ لأنه يومٌ لا يصحّ صومها فيه؛ لكونها في أوله حائضًا ليست من أهل الصّيام، وإذا لم يصح لم يبق للإمساك فائدةٌ، وهذا الزمن زمنٌ غير محترمٍ بالنّسبة لها؛ لأنها مأمورةٌ بفطره في أول النهار، بل محرمٌ عليها صومه في أول النهار،

والصوم الشرعيّ: هو الإمساك عن المفطّرات تعبّدًا لله عز وجل من طلوع الفجر إلى غروب الشمس.

وهذا القول -كما تراه- أرجح من القول بلزوم الإمساك، وعلى كلا القولين يلزمها قضاء هذا اليوم.