Abaffe ekifo webaddukira swafaa ne maruwa (mas'aa) kiri mu [muzikiti gwa] haram? Era ali mu 'nsonga' akigendamu? Era abaffe kikakata ku muntu ayingidde mu muzikiti nga ava mu 'mas`aa' okusaala 'tahiyyatul-masjid' (eraaka ebbiri ez'okuyingira mu muzikiti)?
السؤال
q1:
Abaffe ekifo webaddukira swafaa ne maruwa (mas'aa) kiri mu [muzikiti gwa] haram? Era ali mu 'nsonga' akigendamu? Era abaffe kikakata ku muntu ayingidde mu muzikiti nga ava mu 'mas`aa' okusaala 'tahiyyatul-masjid' (eraaka ebbiri ez'okuyingira mu muzikiti)?
س56: هل المسعى من الحرم؟ وهل تقربه الحائض؟ وهل يجب على من دخل الحرم من المسعى أن يصلّي تحية المسجد؟
الجواب
A1:
Ekinneeyolekera: nti 'mas`aa' teri mu muzikiti, kyekyo lwaki baateekawo ekisenge ekyawula wakati wa byombiriri, lwakuba kisenge kimpi, era tewali kubuusabuusa nti ekyo kirungi eri abantu; kubanga ssinga kyayingizibwa mu muzikiti nekibeera nga kiri mu muzikiti, kyandibadde nti omukyala bwagenda mu 'nsonga' wakati w'okuva mu kwetooloola kaaba n'okudduka swafaa ne maruwa; nti takkirirzibwa kudduka swafaa na maruwa.
Ate nga 'fatuwa' yange kw'ekyo eri: nti ssinga agenda mu 'nsonga' nga amaze okwetooloola kaaba [naye] ate nga tannaba kudduka swafaa ne maruwa, awo adduka swafaa ne maruwa; kubanga awaddukirwa swafaa ne maruwa tewabalwa mu muzikiti.
Naye ate 'tahiyyatul-masjid' kiyinza okugambibwa: nti omuntu ssinga adduka wakati wa swafaa ne maruwa nga amaze okwetooloola kaaba, oluvannyuma naddayo mu muzikiti, ekyaddala agisaala, naye nebwaleka 'tahiyyatul-masjid' tavunaanwa,
n'ekisiinga obulungi kwekukozesa omukisa, n'asaala eraaka bbiri; olw'obulungi obuli mu kusaalira mu kif'ekyo.
ﺟ56: الّذي يظهر أن المسعى ليس من المسجد، ولذلك جعلوا جدارًا فاصلًا بينهما، لكنه جدارٌ قصيرٌ، ولا شك أن هذا خيرٌ للناس؛ لأنه لو أدخل في المسجد وجعل منه، لكانت المرأة إذا حاضت بين الطواف والسعي امتنع عليها أن تسعى.
والّذي أفتي به: أنها إذا حاضت بعد الطواف وقبل السعي فإنها تسعى؛ لأن المسعى لا يعتبر من المسجد.
وأما تحية المسجد فقد يقال: إن الإنسان إذا سعى بعد الطواف، ثم عاد إلى المسجد، فإنه يصلّيها، ولو ترك تحية المسجد فلا شيء عليه،
والأفضل أن ينتهز الفرصة، ويصلّي ركعتين؛ لـما في الصلاة في هذا المكان من الفضل.