Skip to content

Nali mu mikolo gya hijja, 'embeera' y'omwezi nenzijira, nensonyiwala okubuulira omuntu yenna, nennyingira omuzikiti ogw'emizizo, nensaala, nenneetooloola kaaba, n'enzilrka ne swafaa ne maruwa, kki kyennina okukola, era nga ['embeera' y'omwezi] yajja nga nnaakava mu 'nnifaasi'?

السؤال

q1:

Nali mu mikolo gya hijja, 'embeera' y'omwezi nenzijira, nensonyiwala okubuulira omuntu yenna, nennyingira omuzikiti ogw'emizizo, nensaala, nenneetooloola kaaba, n'enzilrka ne swafaa ne maruwa, kki kyennina okukola, era nga ['embeera' y'omwezi] yajja nga nnaakava mu 'nnifaasi'?

س57: حججت، وجاءتني الدورة الشهرية، فاستحييت أن أخبر أحدًا، ودخلت الحرم، فصليت، وطفت، وسعيت، فماذا علي، علمًا بأنها جاءت بعد النّفاس؟

الجواب

A1:

Omukyala ali mu nsonga z'ekikyala oba akyalina omusaayi gw'okuzaala takkirizibwa kusaala, kaabe ng'ali mu makka oba mu nsiiye oba mu kifo kyonna;

kulw'ekigambo kya nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, ku mukyala: «tekiri nti omukyala bw'agenda mu 'nsonga' tasaala, era tasiiba?»,

era abasiraamu (abamanyi) baakyegattako nti omukyala ali mu 'nsonga' takkirizibwa kusiiba, era takkirizibwa kusaala.

Era kikata ku mukyala oyo eyakoze ekyo, kimukakatako okwenenya eri Allah, n'okusaba okusonyiyibwa ekyo kyeyagwamu.

Ate okwetooloola kwe nga ali mu 'nsonga' kyo ssi kutuufu, wabula kwo okudduka kwe wakati wa swafaa ne maruwa kutuufu; kubanga ekigambo ekisinga obutuufu: [kiri nti] kikkirizibwa mu hijja okusooka odduka swafaa ne maruwa nga tonneetooloola kaaba, era n'olwekyo kimukakatako okuddamu okwetooloola kaaba; kubanga okwetooloola kaaba okwa 'ifaadha' mpagi mu mpagi za hijja, era okuva mu mizizo okwokubiri tekujjula okuggyako nakwo.

Era okusinzira kw'ekyo, mazima omukyala oyo bbaawe teyeegatta naye -bwabeera mufumbo- okutuusa nga yeetoolodde kaaba, era tawoowebwa -ssinga taba mufumbo- okutuusa nga yetoolodde kaaba, Allah owa waggulu yasinga okumanya.

ﺟ57: لا يحلّ للمرأة إذا كانت حائضًا أو نفساء أن تصلّي، سواء في مكة أو في بلدها أو في أيّ مكانٍ؛ لقول النبيّ ﷺ في المرأة:

«أَلَيْسَ إِذَا حَاضَتْ لَمْ تُصَلِّ، وَلَمْ تَصُمْ؟» [1]،

وقد أجمع المسلمون على أنه لا يحلّ لحائضٍ أن تصوم، ولا يحلّ لها أن تصلّي.

[28] تقدم تخريجه.

وعلى هذه المرأة التي فعلت ذلك، عليها أن تتوب إلى الله، وأن تستغفر ممّا وقع منها.

وأما طوافها حال الحيض فهو غير صحيحٍ، وأما سعيها فصحيحٌ؛ لأن القول الراجح جواز تقديم السعي على الطواف في الحجّ، وعلى هذا فيجب عليها أن تعيد الطواف؛ لأن طواف الإفاضة ركنٌ من أركان الحجّ، ولا يتمّ التحلّل الثاني إلا به.

وبناءً عليه فإن هذه المرأة لا يباشرها زوجها -إن كانت متزوّجةً- حتى تطوف، ولا يعقد عليها النّكاح -إن كانت غير متزوّجةٍ- حتى تطوف، والله تعالى أعلم.