ستون سؤالا في أحكام الحيض والنفاس
*
These files are generated automatically from the book's text; their layout may differ from the printed edition.
*
*
q1:
A1:
Q2:
A2:
Q3:
A3:
Q4:
A4:
Q5:
A5:
Q6:
A6:
Q7:
A7:
Q8:
A8:
Q9:
A9:
Q10:
A10:
Q11:
A11:
Q12:
A12:
Q13:
A13:
Q14:
A14:
Q15:
A15:
Q16:
A16:
Q17:
A17:
Q18:
A18:
Q19:
A19:
Q20:
A20:
Q21:
A21:
Q22:
A22:
Q23:
A23:
Q24:
A24:
Q25:
A25:
Q26:
A26:
Q27:
A27:
Q28:
A28:
Q29:
A29:
Q30:
A30:
Q31:
A31:
Q32:
A32:
Q33:
A33:
Q34:
A34:
Q35:
A35:
Q36:
A36:
Q37:
A37:
Q38:
A38:
Q39:
A39:
Q40:
A40:
Q41:
A41:
Q42:
A42:
Q43:
A43:
Q44:
A44:
Q45:
A45:
Q46:
A46:
Q47:
A47:
Kubanga nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yalagira asma bint umaisi mukyala wa Abubakar Allah abasiime bweyazaala nga bali e zul-hulaifa (ekifo abayitidde e madina webaleetera enniya eyingira mu mizizo), yamulagira anaabe yeefuundikira, yeesibe n'ekigoye, anuyirire okuyingira mu mizizo, nabwekityo naali mu nsonga z'ekikyala [bwakola], era asigala mu mizizo okutuusa bwatukula, neyetooloola ennyumba (kaaba), oluvannyuma n'adduka wakati wa swafaa ne maruwa.
Q48:
A48:
Q49:
A49:
Q50:
A50:
Q51:
A51:
Q52:
A52:
Q53:
A53:
Q54:
A54:
Q55:
A55:
Q56:
A56:
Q57:
A57:
Q58:
A58:
Q59:
A59:
Q60:
A60:
kubanga nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagaana ali mu nsonga z'ekikyaala okwetooloola kaaba, nabwekityo omukyala alina omusaayi gw'okuzaala afaanagana n'owa 'haidhu' kw'ekyo.
[1] 'alkhamratu': gwe musaalo omusaaze gw'avunnamako, gwatuumibwa khamra; kubaanga gubikka ekyenyi.
Ebibuuzo nkaaga ebikwatagana ku misaayi gy'ekikyaala 'haidhu'[kasanvu] ne 'nnifaasi'[ensaanke]
*
Kulw'erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow'ekisa ekingi
Ennyanjula
Amatendo ga Allah, okusaasira n'emirembe bibeere ku mubaka wa Allah Muhammad mutabani wa Abdallah, neku bantu be ne ba ‘swahaaba’ be, n'abo abatambulira ku kkubo lye okutuuka ku lunaku lw'okusasula, oluvannyuma lw'ebyo byonna:
Mwannyinaze omusiraaamu!
Okusinziira ku bungi bw'ebibuuzo ebyolekezebwa eri abamanyi ku nsonga y'amateeka agakwatagana ku musaayi gw'ekikyaala mu kusiinza, twasazeewo okukunŋŋaanya ebibuuzo ebiddiŋŋanwa olubeerera era ebibeerawo ennyo, nga tetulandazze, kulw'okwagala okufunza.
Mwannyinaze omusiraaamu!
Twafuddeyo okubikuŋŋaanya; bibeere mu mikono gyo ebbanga lyonna, ekyonno; ku lw'obukulu bw'okutegeera amateeka ga Allah, era osiinze Allah nga osinziira ku kutegeera na kumanya.
Okulabula: kiyinza okulowoozebwa asoma ekitabo kino omulundi ogusooka nti ebibuuzo ebimu byaddiriŋŋanwa, naye oluvannyuma lw'okwetegereza ajja kukisanga nti waliwo okumanya okweyongerako mu nyanukula y'ekibuuzo okusinga ku kirala, netusalawo [ebibuuzo ebyo] obutabisuula muguluka.
nebyo; tusaba okusaasira n'emirembe bibeere ku nnabbi Muhammad n'abantu b'ennyumba ye ne ba Sswahaaba be bonna.
Agamu ku mateeka agakwatagana ku musaayi gwa 'haidhu' mu swala n'okusiiba
Ssinga omukyala atukula nga emmambya yaakasala, abaffe yeziyizaako era n'asiiba olunaku olwo, n'abalibwa olunaku lwe [nti alusiibye], oba ayina okuliwa olunaku olwo?
omukyala bw'atukula nga emmambya emaze okusala, abamanyi mu kusiiba kwe olunaku olwo bayinamu ebigambo bibiri:
Ekigambo ekisooka: nti ddala akakatibwaako okusiiba ekisigadddeyo ku lunaku olwo, naye ate olunaku olwo telumubalibwaako, era akakatibwaako okululiwa, era ekyo kyekyayatiikirila mu mazhabu ga imaam Ahmad Allah amusaasire.
Ate ekigambo ekyokubiri: nti ddala takakatibwaako kusiiba kisigaddeyo ku lunaku olwo; kubanga ddwo lunaku olutatuuka bwaba alusiibye; olw'ensonga nti lutandise ali mu nsonga nga takakatibwaako kusiiba, ate nga bwekuba nga tekutuuka[okusiiba kwe] tewabaawo mugaso gwa kusiiba, era ekiseera ekyo kiseera ssi kyamizizo ku yye; kubanga yalagirwa obutalusiiba ku ntandikwa y'olunaku, sso ate era nga yaziyizibwa okulusiiba [okuva] ku ntandikwa y'olunaku, n'okusiiba okwomumateeka: kwe kweziyizaako byonna ebisiibulula kulwokusinza Allah ow'ekitiibwa era omusukkulumu okuva emmambya bw'esala okutuuka enjuba bwegwa.
n'ekyo ekigambo -nga bwokiraba- kyekisiinga obutuufu okusinga ekigambo [ekigamba nti] kyatteeka okusiiba, era ssi-nsonga; ku bigambo byombi [omukyala asigala] akakatibwaako okuliwa olunaku olwo.
Ssinga [omukyala] atukula okuva mu 'haidhu', era n'anaaba oluvannyuma lw'esswala ya fajiri, era nasaala, najjuza n'okusiiba olunaku lwe [olwo], abaffe kimukakatako okululiwa?
singa omukyala abadde mu ‘nsonga’ atukula nga emmambya tennasala nebwewaba nga wabula eddakika emu, naye n'akakasa nti atukudde, singa ebeera lamanzaani; mazima aba akakatibwaako okusiiba, era okusiiba kwe olunaku olwo kuba kutuufu, era takakatibwaako kululiwa; kubanga aba asiibye nga mutukuvu, nebwaaba tanaabye okujjako nga emmambya emaze okusala tewali mutawaana, nga era singa omusajja abeera ne janaba olw'okwegatta oba okwelooterera, n'alya ddaaku, n'abukeesa nga tanaabye mpaka emmambya nga esaze, okusiiba kwe kuba kutuufu.
era wano njagala okulabula ku nsonga endala ku bakyala, [nti:] singa agenda mu nsonga nga asiibye olunaku olwo, abamu ku bakyala balowooza nti bwaba agenze mu nsonga z'ekikyala oluvannyuma lw'okusiibulukuka nga tannaba kusaala swala ya isha; nti okusiiba kwe kuba kufudde olunaku olwo, ekyo tekiriiko njigiriza, ssinakindi ssinga agenda mu nsonga z'ekikyala oluvannyuma lw'enjuba okugwa nebwekiba nga wayise akaseera katono, okusiba kwe kuba kujjuvu era kuba kutuufu.
Abaffe kikakata ku mukyala azadde okusiiba n'okusaala ssinga atukula nga ennaku makumi ana tegannaggwaako?
Iyye, bw'atukula nga ennaku makumi ana tegannaggwaako akakatibwaako okusiiba ssinga ebeera lamanzaani, era kimukakatako okusaala, era bbaawe akkirizibwa okwegatta naye; kubanga aba atukudde nga taliiko kimuziyiza kusiiba, wadde ekiggyawo obukakafu bw'esswala n'okukkirizibwa okwegatta.
Ssinga omukyala nga embeera ye alwala ennaku munaana oba musanvu, oluvannyuma nezeeyongerako okusingawo omulundi gumu oba ebiri, kiramulwa kitya?
singa embeera y'ono omukyala [ya kulwala] nnaku mukaaga oba musanvu, oluvannyuma ebbanga neryeyongeramu nezigenda mu nnaku munaana oba mwenda oba kkumi oba kkumi nalumu, mazima yye asigala nga tasaala okutuusa nga atukudde, Kulw'ensonga nti nnabbi Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye; teyateeka kkomo lyassalira ku bbanga ly'ensonga z'ekikyala eza buli mwezi, Ate nga Allah owa waggulu yagamba: { Era bakubuuza (Ggwe Muhammadi) ku mukyala nga ali mu nnaku zaabwe (nga bali mu Heezi. Bagambe nti: Gwo (omusaayi), kyenyinyalwa} [Al- baqara:222], Ebbanga lyegumala nga omusaayi weeguli; mazima omukyala asigala ku mbeera ye okutuuka nga atukudde, n'anaaba, oluvannyuma n'asaala, [omusaayi] bwegujja mu mwezi ogwokubiri [ennaku nezikeendeerako]; eky'amazima anaaba ssinga aba atukudde nebwaaba tatuusizza muwendo [gwa nnaku ze] ogwayise.
Ekikulu nti omukyala ebbanga ly'amala nga ali mu nsonga ze, tasaala; kabeere nga ebbanga ly'amala mu nsonga ze likwataganye nery'omulundi oguyise oba nga ly'eyongeddeko, oba nga likeendeddeko, bwatukula asaala.
omukyala azadde; abaffe, atuula ennaku makumi ana nga tasaala era nga tasiiba oba ekikulu musaayi kulekeraawo, nti bwegulekeraawo okujja yetukuza era n'asaala? era bbanga ki erisembayo obutono omukyala ly'amala okutukula?
Omukyala azadde tayina budde bugere, wabula ebbanga omusaayi lyegumala nga guggya atuula, era tasaala, era tasiiba ne bbaawe teyeegatta naye.
era ssinga atukula- newankubadde ennaku ana tezinnaggwaako, nebwaaba tatudde okujjako ennaku kkumi oba ttaano- eky'amazima asaala, era n'asiiba, era bbaawe yeegatta naye, era tewaba musango kw'ekyo.
ekikulu nti omusaayi gw'obwannakawere gulabwaako, ,amateeka gakwatagana nakubaawo kwagwo oba obutabaawo, ebbanga lyegumala nga weeguli amateeka gaagwo gakakata, era omukyala bwatukula naavaamu afuluma mu mateeka ago.
naye ate bwezisukka ennaku nkaaga kiba kifuuse kyalaalo, atuula [ekiseera] ekyo ekikwatagana n'ebbanga ly'atera okulwaala kyokka, oluvannyuma anaaba, n'asaala.
Ssinga omukyala avaamu amatondo g'omusaayi amatono mu lamanzaani emisana, omusaayi ogwo negumuvaamu lamanzaani yonna naye nga asiiba, abange okusiiba kwe kuba kutuufu ?
Iyye okusiiba kwe kuba kutuufu, ate ggo amatondo tegalina nsonga; wabula gaba gava mumisuwa, era waliwo ekigambo ekiva ku Ali mutabani wa Abi twaalibi Allah yasiima ku yye nti yagamba: mazima amatondo ago agabeera nga omusaayi gw'okwerumika (oguva munnyindo) ssi ‘'haidhu'’. Bwekityo bwekyogerwa okuva kuyye, Allah amusiime.
Omukyala abadde mu nsonga oba azadde bw'atukula nga emmambya tennasala, n'atanaaba okutuuka nga bukedde, abange okusiiba kwe kuba kutuufu oba nedda?
iyye, kukkirizibwa okusiiba kw'omukazi abadde mu nsonga singa atukula nga emmambya tennasala, era n'atanaaba okujjako nga emmambya esaze, nabwekityo omukyala azadde; kubanga ekiseera ekyo aba ali mu bantu abasiiba, era yeefaanaanyiriza n'oyo alina janaba, singa emmambya esala nga ayina janaba okusiiba kwe kukkirizibwa; kulw'ekigambo kya Allah: {kaakati mulabagane nabo. Kale (mwegatte nabo) munoonye ekyo Allah kye yabagerera, mulye era munywe okutuusa lw'eneebeeyolekera ewuzi enjeru (ekitangaala) nga eva ku ewuzi enzirugavu (ekizikiza) okutuusa ku kusala kw'emmambya} [Suratul baqara: 187], Era Allah owa waggulu bwaba akkirizza okwegatta [wakati w'abafumbo] mpaka nga emmambya yeyolese kiba kikakase okunaaba obutabaawo okujjako nga emmamabya emaze okusala, era olwa hadith ya Aisha Allah yasiima ku yye, nti mazima nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yali nga abukeesa nga ayina janaba olw'okwegatta ne bakyala be [nabukeesa] nga asiibye. Amakulu: nti yye [nnabbi] okusaasira n'emirembe bibeere ku yye teyanaaba nga janaba okujjako nga amakya gamaze okweyoleka.
ssinga omukyala awulira omusaayi [nti gugenda kujja nga asiibye], negutajja nga enjuba tennagwa, oba n'awulira obulumi bw'okusuuluumba, abange okusiiba kwe kuba kutuufu, oba akakatibwaako okuliwa olunaku olwo?
omukyala omutukuvu bwawulira okujja kwa [omusaayi gwa] ''haidhu'' nga asiibye, naye negutafuluma okutuusa nga enjuba emaze okugwa, oba n'awulira obulumi bw'okusuuluumba, naye negutafuluma okutuusa enjuba nga egudde, mazima okusiiba kwe olunaku olwo kuba kutuufu, era talina kululiwa singa luba lwa tteeka, era empeera ye tesazibwaamu ssinga luba lwa sunna.
ssinga omukyala alaba omusaayi, naye naatakakasa nti musaayi gwa haidu, okusiiba kwe olunaku olwo kulamulwa kutya?
Okusiiba kwe olunaku olwo kuba kutuufu, kubanga ekikolo [ku mukyala] butaba mu nsonga okutuusa nga akakasizza nti ddala agenze mu nsonga.
Ebiseera ebimu omukyala alaba obuufu obutono obw'omusaayi, oba amatondo amatono ennyo nga gesuulidde amabanga mu ssawa z'olunaku, olumu agulaba mu kiseera ky'okugenda mu nsonga naye nga tannagendamu, olumu n'agulaba mu kiseera nga tali mu kiseera kya kugeenda mu nsonga, okusiiba kwe kulamulwa kutya mu mbeera zino zombi?
Ekibuuzo ekifaanana n'ekyo kyanukuddwa emabegako katono, naye wasigaddeyo; nti ssinga amatondo [gajja] mu nnaku z'okugenda mu nsonga, yye omukyala bwagatwala nga agoomu [musaayi gwa] ''haidhu'' gw'amanyi; eky'amazima gabalibwa nti 'haidhu'.
Omukyali ali mu nsonga z'ekikyaala naali mu ''nnifaasi'', abaffe balya era ne banywa emisana mu lamanzaani?
iyye, balya era ne banywa emisana mu lamanzaani , naye ekisiinga obulunji kulya mu kyaama ssinga wabaawo abaana abato mu nnyumba; kuba ekyo kireetawo okusumbuyibwa gyebali.
Ssinga omukyala ali mu 'haidhu' oba 'nnifaasi' atukula mu kiseera kya aswir, abaffe akakatibwaako [okusaala] esswala ya dhuhuri wamu ne aswir, oba takakatibwaako okuggyako aswir yokka?
Ekigambo ekisiinga obutuufu ku nsonga eno: nti takakatibwaako okujjako aswir yokka; kubanga tewali bujulizi bukakasa [kuye] swala ya dhuhuri, ate nga ekikolo muntu kuba mwejjeerevu, ate era nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «omuntu bwasaanga eraaka emu ku swala ya aswir nga enjuba tennagwa aba asanze [obudde bwa] aswir», era teyagamba nti aba asanze dhuhuri, ssinga dhuhuri yali emukakatako yaali kinnyonnyodde nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, era lwansonga nti omukyala ssinga alwaala nga ekiseera kya dhuhuri kiyingidde takakatibwako kuliwa okuleka esswala ya dhuhuri so ssi n'eswala ya aswir, sso ng'ate dhuhuri egattibwa ne aswir, era tewaliiwo njawulo wakati waayo(dhuhuri) ne wakati w'ekifaananyi ekibuuzo kyekijjiddeko. .
era n'olwekyo ekigambo ekisiinga obutuufu kiri nti takakatibwaako okuggyako esswala ya aswir yokka; olwekitegeerwa okuva mu bujulizi n'okugeraageranya kubwo, nabwekityo kyekimu kumukyala atukula nga ekiseera kya isha tekinnaggwaako, yye aba takakatibwako okujjako esswala ya isha era takakatibwako sswala ya magharibi.
Abakyala abamu abavaamu embuto babeeramu embeera bbiri: esooka; kwekuba nga omwana tannatonda, oba olubuto okuvaamu nga amaze okutonda nga n'obutonde bwe bweyolese, abaffe kulamulwa kutya okusiiba kwe olunaku olwo lw'avuddemu olubuto, n'okusiiba ennaku ezo zalabiramu omusaayi?
Ssinga omwana aba tannatonda, omusaayi ogwo teguba gwa ''nnifaasi'', n'olweekyo asiiba era n'asaala, era okusiiba kwe kuba kutuufu.
ate ssinga omwana aba atonze; mazima omusaayi ogwo guba gwa ''nnifaasi'', takkirizibwa kusaala mu kiseera kyagwo, wadde okusiiba.
era etteeka ku nsonga eyo oba akawayiro kali nti: singa omwana aba atoonze omusaayi ogwo guba musaayi gwa ''nnifaasi'', era ssinga aba tannatonda omusaayi teguba gwa ''nnifaasi'', era ssinga omusaayi guba musaayi gwa ''nnifaasi''; mazima ddala aziyizibwako ebiziyizibwa kuba ''nnifaasi'', era ssinga teguba musaayi gwa ''nnifaasi'' mazima ddala yye ebyo tebimuziyizibwaako.
Omukyala ow'olubuto okuvaamu omusaayi emisana mu lamanzaani; abaffe kiyina kyekikyusa kukusiiba kwe?
Ssinga omusaayi gwa 'haidhu' gufuluma ng'omukyala asiibye, mazima okusiiba kwe kuba kwonoonese; kulw'ekigambo kya nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «abaffe tekiri nti omukyala bw'alwala tasaala era tasiiba?» n'olwekyo tukibalira mu bisiibulula, ne 'nnifaasi' kyekimu, era nga okuggya kw'omusaayi gwa 'haidhu' ne 'nnifaasi' by'onoona okusiiba.
n'okufuluma kw'omusaayi mu mukyala ali olubuto emisana gya lamanzaani singa guba gwa 'haidhu' guba nga ogwa 'haidhu' ogw'atali lubuto, ekitegeeza: nti kikosa okusiiba kwe, naye ate bwaba nga ssi 'haidhu' tekikosa [kusiiba kwe].
era 'haidhu' oyo ayinza okuva mu mukyala ow'olubuto y'oyo agenderera nga takutuseewo okuva lw'eyafuna olubuto, era nga gujjira mu budde bwagwo bw'amanyidde, oyo aba 'haidhu' okusinziira kukigambo ekisiinga obutuufu, gukakasibwaako[omusaayi ogwo] amateeka ga 'haidhu'.
wabula ssinga omusaayi gukutukawo, oluvannyuma n'atandika okulaba omusaayi ogutali ogwo gwamanyidde, ogwo tegukosa kusiiba kwe; kuba taba 'haidhu'.
Ssinga omukyala alaba omusaayi mu kiseera kyalwaliramu olunaku lumu, ate oluddako naatalaba musaayi emisana lwonna, kiki kyalina okukola?
Ekyeyolefu kiri nti; okutukula okwo oba okukala [omukyala] kwaba yafuna mu nnaku ze ez'okulwaliramu ['haidhu'] kugoberera 'haidhu', tekubalibwa nga kutukula, n'olweekyo asigala aziyizibwako ebyo ebiziyizibwa ku ali mu 'haidhu'.
Era bagamba abamu kubamanyi: omukyala alaba omusaayi olunaku, ate olunaku oluddako naatukula, awo omusaayi guba 'haidhu', ate obutalaba musaayi buba butukuvu okutuusa nga atuuse mu nnaku kkuminattaano, bwezituuka mu nnaku kkuminattaano ogujjya oluvannyuma guba musaayi gwa kyalaalo. Era ekyo kyekyayatiikirira mu 'mazhabu' ga imaam Ahmada ibn hambali Allah asiime ku yye.
Mu nnaku eziseembayo [omukyala ave] mu nsonga era [mukaseera] nga tannatukula, omukyala talaba buufu bwonna bwa musaayi, abaffe asiiba olunaku olwo nga tannalaba mazzi meeru (agalaga okutukula), oba akola atya?
Bwabeera nga mu mbeeraaze talaba mazzi (gaa kutukula) ameeru -nga bwekisangibwa mu bakyala abamu- mazima omukyala oyo asiiba, ate bwabeera nga mumbeera ze nga alaba amazzi [g'okutukula] ameeru, tasiiba okutuusa nga alabye amazzi ameeru.
kiramulwa kitya omukyala ali mu nsonga z'ekikyaala ne 'nnifaasi' okusoma Qur'an nga alabako oba nga talabako mu mbeera ey'obuwaze, okugeza nga muyizi oba nga musomesa?
tewali buzibu ku mukyala ali mu nsonga oba ali mu 'nnifaasi' kusoma Qur'an ssinga wabaawo obwetaavu, nga omukyala omusomesa, oba omusomi oyo asoma ekigero kye ekiro oba emisana.
naye ate okusoma -ntegeeza: okusoma Qur'an olw'okunoonya okusasulwa n'empeera z'okusoma- ekisiinga obulungi butasoma; kulw'ensonga nti abasinga obungi mu bamanyi oba bangi mu bbo balaba nti tekikkirizibwa ku yye kusoma Qur'an.
Abaffe kikata ku mukyala [abadde mu nsonga] okukyuusa ebyambalo bye oluvannyuma lw'okutukula, nga ate [engoye] tezigenzeemu musaayi wadde obukyaafu?
Tekimukakatako ekyo; kulwensonga nti 'haidhu' takyafuwaza mubiri, naye omusaayi gwa 'haidhu' gukyafuwaza weguba gugudde wokka, kyekyo lwaki nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yalagira abakyala; [nti] ssinga engoye zaabwe zigendamu omusaayi gwa 'haidhu', bagwoze, basaalire mu ngoye zaabwe.
Omukyala alidde mu lamanzaani ennaku musaanvu nga ali mu 'nnifaasi' (oluvannyuma lw'okuzaala), nataziriwa mpaka ku lamanzaani ey'okubiri, era n'atambula ku lamanzaani eyokubiri ennaku musanvu nga ayonsa,naataliwa; olwensonga y'obulwadde, kiki ekimukakatako nga ate esemberedde okuyingira lamanzaani ey'okusatu? mutugase [tusaba] Allah abawe empeera.
Omukyala bw'abeera nga bwagambye -nti mulwadde, nga tasobola kuliwa- awo mazima waafunira obusozi waazisiibira; kubanga alina ekisonyiyisa, nebweba lamanzaani ey'okubiri etuuse.
naye ate bwaba nga talina kisonyiyisa, wabula nga yeekwasa bwekwasa na kwegayaaza, mazima tekikkirizibwa ku yye kukeereya kuliwa lamanzaani okutuuka ku lamanzaani eyookubiri, yagamba Aisha Allah amusiime: nali nga nina [ebbanja ly'] okusiiba, nessisobola kuliriwa okujjako mu shabaan.
n'olwekyo, kiri eri mukyala oyo okwetunulamu, bwaba talina kisonyiyisa afuna omusango, era alina okwenenya eri Allah, era ayanguyirize okujja mu nsingo ye ebbanja ly'okusiiba, naye ate bwaba nga alina ekisonyiyisa aba talina musango, nebwaba akeereye mwaka oba myaka ebiri.
Abakyala abamulamanzaani eyookubiri ebasanga nga tebannasiiba nnaku [ezibabanjibwa] mu lamanzaani eyise, kiki ekibakakatako?
Ekibakakatako: kwekwenenya eri Allah olw'ekikolwa ekyo; kubanga tekikkirizibwa kwoyo alina okuliwa lamanzaani okukukeereya okutuuka ku lamanzaani eyookubiri nga tewali kisonyiyisa; kulwekigambo kya Aisha Allah amusiime: nali nga nina [ebbanja ly'] okusiiba okuva mu lamanzaani, nessisobola kuliwa okujjako mu shabaan.
era ekyo kiraga nti tekisoboka kukeereya [kuliwa] kutuuka ku lamanzaani yaakubiri, alina okwenenya eri Allah omugulumivu era omusukkulumu olw'ekyo ky'akoze, era naaliwa ennaku ezo zeyalekayo oluvannyuma lwa lamanzaani eyookubiri.
Ssinga omukyala agenda mu nsonga z'ekikyala essawa musanvu ogw'emisana katugeze, nga tannasaala swala ya dhuhuri, abaffe akakatibwaako okuliwa esswala eyo oluvannyuma lw'okutukula?
Waliwo enjawukana wakati w'abamanyi kw'ekyo, mu bbo mulimu abagamba: nti takakatibwaako kuliwa sswala eyo; kubanga teyagayadde, era tafuna musango; kubanga akkirizibwa okukeereya esswala okutuuka ku kiseera kyayo ekiseembayo.
era nemu bbo mulimu abagamba: nti kimukakatako okuliwa, amakulu: okuliwa esswala eyo; olw'okubuna kw'ekigambo kya nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «omuntu bw'asaanga eraaka [emu] ku sswala aba asaanze esswala».
era ekyokweriinda gyali: kwe kuliwa; kubanga sswala emu, tekaluubiriza kujiriwa.
Ow'olubuto bwalaba omusaayi nga wabula olunaku lumu oba bbiri azaale, abaffe alekayo okusiiba n'okusaala olw'ekyo, oba?
Ow'olubuto bwalaba omusaayi nga wabula olunaku lumu oba bbiri azaale, ng'era ayina ebisa, mazima oyo aba 'nnifaasi', alekayo okusaala n'okusiiba olwekyo, ate bwataba na bisa mazima gwo guba musaayi 'omufu' ogutayina nsonga, era tegumuziyiza kusiiba wadde okusaala.
Olaba otya ku ky'okukozesa empeke eziziyiza okugenda mu nsonga z'omwezi; olw'okusobola okusiiba wamu n'abantu?
Nze ekyo nkyewaza, kubanga amekerenda ago galina obulabe bw'amaanyi, ekyo nakikakasa nga mpita mu basawo, era omukyala agambibwa [nti]: ekyo Allah yakiwandiika ku bawala ba Adam, tebenkera n'ekyo Allah ow'ekitiibwa era omusukkulumu kyeyakuwandiikako, era osiibe bwewaba tewali kiziyiza, bwe wagwaawo ekiziyiza siibulukuka, nga osiima ekyo Allah owekitiibwa era omusukkulumu kyeyakugerera.
Omukyala oluvannyuma lw'emyezi ebiri egya 'nnifaasi', era oluvannyuma lw'okutukula, yatandika okufuna amatondo g'omusaayi amatono, abaffe asiibulukuka, era n'atasaala? oba akola atya?
Ebizibu by'abakyala ku nsonga ya 'haidhu' ne 'nnifaasi' nnyanja etayina lubalama, n'ezimu kunsonga zaabyo: kwekukozesa empeke ezo eziziyiza okufuna olubuto n'eziziyiza okugenda mu nsonga, era abantu baali tebamanyi bizibu bwebityo ebiyitirivu [nga tezinnajja], kituufu nti obuzibu bwaliwo okuviira ddala nga nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye atumiddwa, gamba n'okuviira ddala ku kubeerawo kw'abakyala, naye ate obungi bwabwo okutuuka ku ngeri eyo efuula omuntu nga tamanyi kyakukola ku kubigoonjoola, mbeera ekwasa ennaku.
Naye etteeka eribuna: [liri nti] mazima omukyala bwatukula, nalaba okutukula okukakafu [okuva] mu 'haidhu' ne mu 'nnifaasi' -era kyentegeeza n'okutukula [okuva] mu 'haidhu': kwekuvaamu amazzi ameeru, era nga nago mazzi ameeru agamanyiddwa abakyala- kyonna ekijja oluvannyuma olw'okutukula nga 'kudra' (oluzzizzi oluba olwa kitaka), oba 'sufra' (oluzzizzi olwa kyenvu) oba ettondo, oba okutoba, ebyo byonna taba 'haidhu', tebigaana kusaala, era tebigaana kusiiba, era tekigaana musajja kwegatta na mukyala we; kubanga mazima taba 'haidhu', yagamba ummu atwiyya : twali nga tetutwala mazzi gaakyeenvu oba agaakitaka nga ekintu kyonna. yayogerwa Al-bukhariy, Abu daawuda yayongerako: oluvannyuma lw'okutukula. Ate olujegere lwa hadith lutuufu.
Nabwekityo tugamba: buli kijja oluvannnyuma lw'okutula okukakafu mu bintu ebyo, mazima tebikosa mukyala, era tebimugaana kusaala kwe na kusiiba kwe na bbaawe kwegatta naye, naye kyatteeka obutanguyiriza okutuusa nga alabye okutukula; olw'ensonga nti mazima abakyala abamu omusaayi bwegukala ayanguyiriza, n'anaaba nga tannalaba kutukula, era y'ensonga lwaki bakyala baaba swahaaba basindika nga 'kursuf', ekitegeeza: ppamba alimu omusaayi, eri maama w'abakkiriza Aisha Allah amusiime, n'abagamba nti: temwanguyiriza okutuusa nga mulabye amazzi ameeru.
Abakyala abamu basigala bavaamu omusaayi, ate olumu negulekeraawo olunaku lumu oba bbiri, oluvannyuma negukomawo, kulamula ki okuli ku mbeera bwetyo ku nsonga y'okusiiba n'okusaala n'ensiinza ezisigadde?
Ekimanyiddwa eri abamanyi abangi: nti mazima omukyala ssinga aba ali mu nsonga, nazivaamu, mazima yye anaaba, era nasaala, era nasiiba, era kyalaba oluvannyuma lw'ennaku bbiri oba ssatu taba 'haidhu'; kubanga okutukula okusiinga obutono eri abamanyi abo ziba ennaku kkuminassatu.
Era abamanyi abamu baagamba: mazima yye waalabira omusaayi oyo aba 'haidhu', ate bwatukula aba mutukuvu, nebwewaba tewayissewo nnaku kuminassatu wakati w'endwaala ebbiri.
Kiki ekisiinga obulungi eri omukyala: kusaalira mu nnyumba ye mu biro ebya lamanzaani, oba mu muzikiti, okusingira ddala singa wabaayo okubuulirira n'okujjukiza? era kiki ky'okubiriza abakyala abasaalira mu mizikiti?
Ekisiinga obulungi eri omukyala kwekusaalira mu nnyumba ye; kulw'okubuna kw'ekigambo kya nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «n'ennyumba zaabwe zeezisinga obulungi gyebali», n'olwensonga nti okufuluma kw'omukyaala tekubulamu kikemo mu mbeera ezisiinga obungi, eky'omukyala okusigala mu nnyumba ye kirungi gyali okusinga okugenda okusaalira mu muzikiti, n'okubuulirira n'emisomo asobola okugifuna ku 'teepu'.
era kyenkubiriza abakyala abasaalira mu mizikiti: nti bafulume nga mu mayumba gaabwe nga tebeewuunze, wadde okwekuba akowoowo.
Kiramulwa kitya okuloza ku mmere (nga okuloza omunnyo) emisana mu lamanzaani , ng'omukyala asiibye?
Okulamula: tekiyina buzibu; kulw'okubaawo kw'obwetaavu, naye ayina okuwanda kyalozezzaako.
Omukyala yagwa ku kabenje [nakosebwa], ate yali yaakufuna olubuto, olubuto neluvaamu oluvannyuma lw'okuvaamu omusaayi omungi, abaffe akkirizibwa okusiibululuka, oba agenda mumaaso n'okusiiba? era bw'asiibulukuka abaffe afuna omusango?
Tugamba: nti omukyala ow'olubuto tagenda mu nsonga, nga bweyagamba imaam Ahmad: mazima abakyala kwebamanyira nti bafunye olubuto kuba butagenda mu nsonga. N'omusayi gwa 'haidhu' -nga abamanyi bwebaagamba- Allah omuyitirivu w'emikisa era owa waggulu yagutonda olw'ekigendererwa ky'okulya ky'omwana nga ali mu lubuto lwa maama we, omukyala bwafuna olubuto 'haidhu' akutukawo.
Naye abakyala abamu ayinza okugenda mumaaso nga agenda mu nsonga nga bwabadde nga tannafuna lubuto, oyo alamulwa nti 'haidhu' we oyo 'haidhu' mutuufu; kubanga agenze mumaaso n'okugenda mu nsonga, era takyuseemu olw'olubuto, n'abeera nga 'haidhu' oyo aziyiza ebyo byonna ebiyizibwa 'haidhu' w'atali lubuto, era n'akakasa ebyo byonna byakakasa, era naggyawo ebyo byonna byaggyawo.
Ekiri mw'ebyo: Mazima omusaayi ogufuluma mu w'olubuto gwa bika bibiri:
- ekika ekiramulwako nti 'haidhu', era gwegwo ogusigala nga gumuvaamu nga bwekyali nga tannafuna lubuto, ekyo kitegeeza: nti olubuto teluyina kyelukyusizza kugwo, nabeera nga [asigala] 'haidhu'.
ate ekika ekyokubiri: gwe musaayi oguguddewo obugwi ku lubuto, nga olw'okugwa ku kabenje, oba okusitula ekintu [ekizito], oba okugwa okuva ku kintu, n'ebiringa ebyo, oyo omusaayi gwe taba 'haidhu', wabula guba musaayi okuva mumisuwa, n'olwekyo tekimugaana kusaala, wadde okusiiba, wabula abeera alamulwa mubatukuvu.
Naye ate ssinga akabengye kaviirako kuvaayo kw'omwana oba olubuto lwabadde nalwo mazima aba kw'ekyo abamanyi kyebaagamba: nti ssinga omwana afuluma nga amaze okutonda, mazima omusaayi gwe oluvannyuma lw'okufuluma gubalibwa nti 'nnifaasi', alekayo mu kiseera kyagwo okusaala n'okusiiba, ne bbaawe teyeegatta naye mpaka nga atukudde.
Ate omwana bwafuluma nga tannatonda, mazima [omusaayi ogwo] tegubalibwa nti musaayi gwa 'nnifaasi', wabula guba musaayi omufu, tegumugaana kusaala, wadde okusiiba, wadde ebitali ebyo byombi.
Abamanyi baagamba: ebbanga erisiinga obutono okutonda [kw'omwana] mwekweyolekera: ennaku kinaanamulumu; kubanga omwana aba mu lubuto lwa maama we. Nga bweyagamba AbduLlahi ibn mas'uud Allah amusiime: omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yatunyumiza era nga yewaamazima [mubyayogera] era ow'amazima [mukutuusa obubaka], n'agaamba: «mazima okutondebwa kw'omu kummwe mu lubuto lwa maama we kw'ekuŋŋaanya mu nnaku makumi aana, oluvannyuma nekifuuka ekisaayisaayi bwekityo, oluvannyuma nekifuuka ekinyamanyama bwekityo, oluvannyuma etumibwa gyali malayika, n'elagirwa [okuwandiika] ebigambo bina, n'ewandiika 'riziki' ye, n'obuwangaazi bwe, n'emirimu gye, n'okuba nti: anaabeera mwonoonefu oba mulongoofu», era tekisoboka kutondebwa nga ennaku ezo tezinnaba, era ebiseera ebisinga okutonda tekweyoleka nga ennaku kyenda tezinnaba, nga abamanyi abamu bwebaagamba.
Ndi mukyala, wayiseewo omwaka bukyanga nvaamu olubuto nga lwa myeezi esatu, era ssaasaala okutuuka nga ntukudde,era nagambibwa: nti kyali kikukakatako okusaala. Nkole ntya, nga ssimanyi muwendo gwa nnaku zennyini?
Ekimanyikiddwa eri abamanyi: nti omukyala bwamavaamu olubuto olw'emyeezi esatu mazima yye tasaala; kubanga omukyala bwavaamu olubuto nga lutoonze mazima omusaayi ogumuvaamu guba musaayi gwa 'nnifaasi' tasaala nagwo.
Abamannyi baagamba: kisoboka omwana okutonda ssinga olubuto luweza ennaku kinaana mulumu. era [ennaku] ezo teziweza myezi esatu, kale ssinga akakasa nti olubuto luvuddemu ku myeezi esatu, mazima ogwo ogumuvaamu guba musaayi gwa 'nnifaasi', alekaayo okusaala kulwaagwo.
Omukyala abuuzizza ayina okujjukira mu mutima gwe, ssinga olubuto luba lwavaamu nga ennaku kinaana tezinnawera mazima yye aliwa esswala, era bwaba tamanyi mmeka zeyaleka? mazima yye ageraageranya, era naanoonyereza, era naaliwa nga asinziira kw'ezo zasuubira ennyo nti teyazisaala.
Omukyala abuuza: nti bukyanga akakatibwaako kusiiba era nga asiiba lamanzaani , lwakuba nti taliwa nnaku ezo zaalya olw'okugenda mu nsonga z'ekikyala, n'olwobutamanya muwendo gwa nnaku zeyalya, naye asaba kuluŋŋamizibwa eri ekyo kyalina okukola kati.
Kitukwasa ennaku ekyo okutuukawo mu bakyala b'abakkiriza, mazima okuleka okwo -ntegeeza: okulekayo okuliwa ekyo ekimukakatako mu kusiiba- kibaawo lw'abutamanya, oba olw'obugayaavu, era byombi mitawaana; kubanga eddagala ly'obutamanya [kunoonya] kumanya na kubuuza [bamanyi], ate bbwo obugayaavu mazima eddagala lyabwo kutya Allah ow'amaanyi era ow'ekitiibwa, n'okumulondoola, n'okutya ebibonerezo bye, n'okwanguyira ebyo byasiima.
Kikakata kumukyala oyo okwenenya eri Allah olw'ekyo kyeyakola, era asabe okumusonyiwa, era ageraageranye ennaku zeyalekayo nga bwasobola aziriwe, bwakola ekyo aba yeggyeeredde, era tusuubira nti Allah ajja kukkiriza okwenenya kwe.
Kiramulwa kitya omukyala bwagenda mu nsonga oluvannyuma lw'ekiseera ky'esswala okutuuka? era kimukakatako okugiriwa bwaba atukudde? Nabwekityo bwatukula nga ekiseera ky'esswala tekinnayita?
Ekisooka: omukyala bwagenda mu nsonga oluvannyuma lw'ekiseera okutuuka- amakulu: oluvannyuma lw'ekiseera ky'esswala okutuuka- mazima kimukakatako bwaba atukudde okuliwa esswala eyo eyali mu kiseera kyeyalwaliramu, ssinga aba teyagisaala nga 'haidhu' tannamujjira, olw'ekigambo ky'omubaka [wa Allah] okusaasira n'emirembe bibeere kuyye: «omuntu bw'asaanga eraaka [emu] mu sswala, abeera asaanze esswala», ssinga omukyala asanga ku kiseera ky'eswala ekigero ky' [akabanga akasobola okusalirwaamu] eraaka, oluvannyuma n'agenda mu nsonga nga tannasaala, mazima yye bw'atukula kimukakatako okuliwa.
ُُEkyokubiri: bwatukula okuva mu 'haidhu' nga ekiseera ky'esswala tekinnayita, mazima yye akakatibwako okuliwa esswala eyo, ssinga atukula nga enjuba tennavaayo ekigero ekisaalirwamu eraaka emu kimukakatako okuliwa esswala ya fajri, era ssinga atukula nga enjuba tennagwa ekigero ekisobola okusaalirwamu eraaka emu, kiba kimukakatako okuliwa esswala ya aswir, era ssinga atukula nga ekiro tekinnatuuka mu makkati [kakibe] nga wabulayo ekigero ekisobola okusalirwaaamu eraaka emu kiba kimukakatako okuliwa esswala ya isha, ate bwatukula oluvannyuma lw'amakkati g'ekiro esswala ya isha eba temukakatako, aba akakatibwaako okusaala sswala ya fajri ekiseera kyayo nga kituuse, Allah eyayawukana era owa waggulu yagamba: {ate bwe muba mu mirembe musaale esswala mu ngeri eyaabulijjo. Mazima esswala yalaalikibwa ku bakkiriza nga esaalibwa mu biseera ebigere} [Al-nnisaa: 103], kitegeeza: zaalaalikibwa mu biseera ebigereke, omuntu takkirizibwa kufulumya sswala ku kiseera kyayo, wadde okugitandika nga ekiseera kyayo tekkinatuuka.
Nayingira mu nsonga nga ndi mu kusaala, kiki kyennina okukola? era abaffe ndiwa esswala ezaali mukiseera kye nnali mu 'haidhu' ?
Ssinga omukyala agenda mu nsonga oluvannyuma lw'ekiseera ky'esswala okutuuka -tugeze ssinga alwala oluvannyuma lw'ekitundu ky'essawa nga enjuba emaze okukyuuka- mazima yye oluvannyuma lw'okutukula okuva mu 'haidhu' aliwa esswala ezo ezaatuuka ekiseera kyazo nga mutukuvu; kulw'ekigambo kya Allah owa waggulu: {Mazima esswala yalaalikibwa ku bakkiriza nga esaalibwa mu biseera ebigere} [Al-nnisaa: 103].
Era taliwa sswala zaamu kiseera kya 'haidhu'; kulw'ekigambo kye [nnabbi muhammad] okusaasira n'emirembe bibeere ku yye mu hadith empaavu: «abaffe tekiri nti omukyaala bw'alwaala tasaala era tasiiba?», era bannanyini kumanya beegatta nti omukyala taliwa sswala ezo ezaamuyitako mu kiseera kya 'haidhu'.
Naye ate bwatukula, nga wasigadde ku kiseera ky'esswala [akaseera] akasobola okusalirwamu eraaka emu oba okusingawo, mazima yye asaala [mu] kaseera ako kaaba atukuliddemu, kulw'ekigambo kye [nnabbi muhammad] okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Yenna asaanga eraaka emu ku [sswala ya] aswir nga enjuba tennagwa aba asanze aswir», era ssinga atukula mu kiseera kya aswir, oba nga enjuba tennavaayo, era nga wabula ku kugwa kw'enjuba oba okuvaayo kwayo akaseera akenkana [ewasobola okusaalirwa] eraaka emu, mazima yye asaala aswir mu mbeera esoose, ne fajri mu mbeera eyookubiri.
Nina maama wange aweza emyaka nkaaga mw'etaano, era wayise emyaka kkumi namwenda bukya akoma kuzaala, naye kati avaamu omusaayi, gumaze emyaka esatu, era bwo bulwadde -kirabika- bwamujjidde mukiseera ekyo, ate era ayolekedde ekisiibo, kiki kyemumukubiriza? era akola atya afaanana nga yye?
Omukyala afaanana ng'oyo avaamu omusaayi, ennamula ye eri nti: alekayo okusaala n'okusiiba ebbanga lye elyakulembera [lyeyali alwaliramu] nga kino ekyamutuukako tekinnabaawo, katugeze ssinga yali agenda mu nsonga ku ntandikwa ya buli mwezi okumala ennaku mukaaga, mazima yye atuula kuntandikwa ya buli mwezi ennaku mukaaga nga tasaala era nga tasiiba, bweziggwaako anaaba n'asaala era n'asiiba.
Era engeri y'okusaala kwe n'abamufaanana: kuli nti anaaba obwereere bwe okunaaba okujjuvu, neyeefuundikira, era n'afuna ewuzu, era ekyo akikola luvannyuma lwa kiseera kya sswala ey'etteeka okutuuka, era bwatyo bwakola bwaba ayagadde okusaala esswala eya kyeyagalire mu kiseera ekitali kya sswala ez'etteeka.
Era mu mbeera efaanana bwetyo -n'olwobukalubo bwalimu- akkirizibwa okugatta esswala ya dhuhuri ne aswir, n'esswala ya maghrib ne isha; kibeere nti omulimu ogwo agukola omulundi gumu ku sswala bbiri: sswala ya dhuhuri, ne aswir. Era gumu ku sswala bbiri: sswala ya maghrib ne isha, era gumu ku sswala ya fajiri, mukifo ky'okugukola emirundi etaano, agukola emirundi esatu.
Era nkiddamu ogw'okubiri, neŋŋamba nti: bwaba ayagadde okwetukuza anaaba obwereere bwe, neyeefuundikira n'ekiwero oba ekikifaanana, ebifuluma(omusaaayi) bikendeere, oluvannyuma afune wuzu, asaale dhuhuri eraaka nnya, ne aswir nnya, ne maghrib ssatu, ne isha nnya, ne fajri eraaka bbiri, kitegeeza: nti tasala ku swala, nga abantu baabulijjo abamu bwebawubwa, naye ate akkirizibwa okugatta wakati w'esswala ebbiri, dhuhuri ne aswir, ne maghrib ne isha, dhuhuri naagikeereya naagisaala mu kiseera kya aswir, oba okusika aswiri naagisaalira mu kiseera kya dhuhuri, nabwekityo maghrib ne isha, naasika [isha naagisaalira mukiseera kya maghrib], oba okukeereya [maghribi naagisaalira mukiseera kya isha], era bwaba ayagadde okusaala ssunna ne wuzu ye eyo, taba na buzibu.
Kiramulwa kitya omukyala okubeera mu muzikiti ogw'emizizo (ogwe makka) nga ali mu nsonga z'ekikyala; ng'awulirizi ebigambo by'omubaka n'okubuulirira(kutuba)?
Omukyala ali mu nsonga z'ekikyala takkirizibwa kubeera mu muzikiti [gwe makka] ogw'emizizo oba omuzikiti omulala gwonna, naye ate akkirizibwa okuyita mu muzikiti, n'okutoolamu ekyo kyaba yeetaazeemu n'ebiriinga ebyo; nga nnabbi [Muhammad] okusaasira n’emirembe bibeere kuyye bweyagamba; bweyalagira Aisha okumuleetera 'alkhamratu'[1] (omukeeka), n'amugamba nti: 'mazima gwo guli mu muzikiti, ate nze ndi mu nsonga za kikyala.' n'agamba: «mazima 'haidhu' wo tali mu ngalo zo», n'olwekyo ssinga omukyala ali mu nsonga ayita mu muzikiti, nga yeesiga nti omusaayi tegujja kutonnya mu muzikiti, taba na buzibu.
naye ate ssinga aba ayagadde kuyingira atuule ekyo tekikkirizibwa.
N'obujulizi kw'ekyo: nti nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yalagira abakyala ku sswala ya yidi; bafulume [basembere] awasaalirwa yidi (abawala abavubuse, n'abawala emberera, n'abakyala abali mu 'haidhu') okuggyako nti yalagira abali mu 'haidhu' okwesamba awasaalira, ekyo nekitegeeza nti omukyala ali mu 'haidhu' takkirizibwa kubeera mu muzikiti olw'okuwuliriza kutuba, oba okuwuliriza omusomo oba ebigambo bya nnabbi.
*
Agamu ku mateeka g'okwetukuza ku swala
Abaffe amazzi agava mu mukyala -ameeru oba aga kyenvu- matukuvu oba makyaafu? Era abaffe kikakata ku lwaago okufuna wuzu, awamu n'okuba nga gakulukuta olugenderezi? Era kiramulwa kitya ssinga gaba gajira negasirikamu, naddala nti abakyala abasiinga obungi -ate naddala abayivu- bakitwala nti okwo kutoba kwa butonde, tekukakasaawo kufuna wuzu?
Ekyeyoleka gyendi oluvannyuma lw'okunoonyereza: kiri nti amazzi agafuluma mu mukyala bwegaba tegava mu kawago, wabula nga gava mu nnabaana, gaba matukuvu, lwakuba gamalako wuzu newankubadde nga matukuvu; kubanga ssi kya tteeka nti ekimalako wuzu kiyina kuba najisi (nga kicaafu), nga omukka ogufuluma emabega, guba tegulabwaako, naye ate gumalako wuzu.
n'olwekyo, ssinga gava mu mukyala nga ayina wuzu, wuzu eba emuweddeko, era aba ayina okufuna empya.
bwe gaba gamuvaamu lugenderezi [nga tegakutukawo] gaba tegamumalaako wuzu, lwakuba afuna wuzu mu kiseera ky'esswala bwe kiba kituuse, era n'asaala mu kiseera ekyo kyaba afuniddemu wuzu esswala endaalike n'ezaakyeyagalire, n'asoma Qur'an, era n'akola kyonna kyaba ayagadde mu bimukkirizibwa, nga bannannyini kumanya bwe baagamba kyekimu ku muntu [afaanaganako n'oyo] atasobola kusiba musulo, eyo y'ennamula amazzi agava mu mukyala ku ludda lw'okwetukuza, gaba matukuvu, ate ku ludda lw'okumalako wuzu, gamalako wuzu okuggyako nga gaalugenderezi tegakutukawo, bwebaga tegakutukawo gaba tegamumalaako wuzu, naye omukyala aba tayina kufuna wuzu okuggyako nga ekiseera ky'esswala kimaze okutuuka, era neyeefundikira.
ate bwegaba gakutukawo, era nga mbeeraaye okukutukawo mu kiseera ky'esswala, mazima yye akeereya esswala okutuusa mu kiseera kyegakutukiramu, ebbanga lyamala nga tatya kiseera kya sswala kuyita, bwatya ekiseera okuyita; mazima afuna wuzu, neyeefuundikira -neyeesiba bulungi- nasaala.
era tewali njawulo wakati w'amatono n'amangi; kubanga gonna gayita mu kkubo lyelimu, negaba nga amatono n'amangi gamalako wuzu, okwawukanako n'ebyo ebifulumira mu bitundu by'omubiri ebisigadde nga omusaayi n'ebisesemye, bbyo tebimalaako wuzu, kabibe bingi oba bitono.
wabula endowooza y'abamu ku bakyala nti tegamalaako wuzu , ekyo sikimanyiko nsibuko, okuleka ekigambo kya ibn hazm Allah amusaasire, agamba nti: mazima ekyo tekimalaako wuzu. Naye ate teyaleeta bujulizi ku nsonga eyo, singa yayina obujulizi bwonna okuva mu kitabo [Qur'an] n'ebigambo by'omubaka oba mu bigambo bya ba swahaaba kyandibadde kyesembesebwa.
n'olweekyo omukyala ayina okutya Allah, era nafaayo okwetukuza; kuba mazima esswala tetuuka awatali kwetukuza n'ebwaba asadde emirundi kikumi, wabula ate abamanyi abamu bagamba nti: oyo asaala nga ssi mutukuvu [tafunye wuzu] aba avudde mubusiraamu; kubanga okwo kuba kuzannyisa mateeka ga Allah eyayawukana era owa waggulu.
Omukyala avaamu amazzi ag'akagenderere ssinga afuna wuzu okusaala esswala ey'etteeka, abaffe akkirizibwa okusaala z'aba ayagadde mu sswala eza kyeyagalire oba okusoma Qur'an ne wuzu ye eyo okutuuka ku sswala enaddako ey'etteeka?
Omukyala bwafuna wuzu okusaala esswala ey'etteeka mu budde obusooka [obw'eswala], aba akkkirizibwa okusaala zonna z'aba ayagadde mu sswala ez'etteeka n'eza kyeyagalire n'okusoma Qur'an okutuuka nga obudde bw'esswala endala butuuse.
Abaffe omukyala oyo [avaamu amazzi ago] akkirizibwa okusaala esswala ya dhuha ne wuzu [gyeyasazisizza esswala] ya fajiri?
Nedda takkirizibwa; kubanga esswala ya dhuha erina ekiseera ekigereke, kiba kikata okujifunira wuzu nga ekiseera kyayo kimaze okutuuka; lwansonga omukyala oyo aba nga ow'ekyalaalo, ate nga nnabbi okusaasira n'emireembe bibeere ku yye yalagira ow'ekyalaalo okufuna wuzu ku buli sswala.
N'ekiseera kya dhuhuri: okuva enjuba lw'ekyuuka okutuuka ku budde bwa aswir.
N'ekiseera kya aswir: okuva ekiseera kya dhuhuri bwekiggwaako okutuuka enjuba bw'efuuka eya kyenvu, era [ekiseera] eky'obuwaze okutuusa enjuba lwegwa.
N'ekiseera kya maghribi: okuva enjuba lwegwa okutuusa ekire ekimyufu lwekiggwaayo.
N'ekiseera kya isha: okuva ekire ekimyuufu nga kiweddeyo okutuuka mu makkati g'ekiro.
Abaffe kikkirizibwa omukyala oyo okusaala swalaatu llayili ne wuzu ya isha ssinga obudde busukka amakkati g'ekiro?
Nedda, ssinga obudde busukka amakkati g'ekiro kiba kimukakatako okufuna wuzu empya, era kyagambibwa nti: tekimukakatako kufuna wuzu mpya. Era nga kyekituufu.
Ekiseera kya isha kiggwaako ddi? Era nyinza ntya okukimanya?
Ekiseera kya Isha kiggwaako mumakkati g'ekiro, era kimanyikwa nga ogabanyizzaamu wakati obudde okuva enjuba lwegwa n'okutuusa emmambya lwesala, ekitundu ekisooka esswala ya isha weggwerako, newasigalawo ekitundu ekirala ekitali kiseera, wabula ekyawula wakati wa isha ne fajiri.
Omukyala oyo avaamu amazzi naye nga ssi gaakagenderere, ssinga afuna wuzu naye bwamaliriza okufuna wuzu nga tannasaala ate negamuvaamu omulundi omulala, kki kyayina okukola?
Bwegaba gakutukawo ayina okulinda mpaka ekiseera wegakutukirawo, naye ate ssinga embeera ye eba temanyikiddwa, olumu gajja, olulala tegatajja, awo afuna wuzu nga ekiseera ky'esswala kimaze okutuuka, nasaala, era aba tayina musango.
Kki ekiteekeddwa okukolebwa ssinga omubiri oba olugoye lutonnyamu amazzi ago?
Ssinga gaba matukuvu, awo aba takakatiibwako kintu kyonna, naye ate bwegaba nga macaafu (nagisi) -era nga geegava mu kawago- awo aba akakatibwaako okuganaaza.
Ku nsonga y'okufuna wuzu olw'ago amazzi, abaffe kimala okunaaza ebiyungo bya wuzu byokka?
iyye, kimala ssinga gaba matukuvu, era nga geego agava mu nnabaana, nga tegava mu kawago.
Lwaki teli hadith eva ku nnabbi okusaasira ne'mirembe bibeera ku yye nga eraga nti amazzi ago gamalako wuzu, nga ate ba swahabiyyaati [abakyala] bafaangayo okubuuza ebikwata ku ddini yabwe?
Kubanga amazzi tegava mu buli mukyala.
Omukyala abadde tafuna wuzu; olw'obutamanya kulamula 'kwago', kiki kyateekeddwa okukola?
Aba ayina okwenenya eri Allah ow'amaanyi era ow'ekitiibwa, era n'abuuza abamanyi kw'ekyo.
Waliwo abagamba nti wagamba nti amazzi ago tegamalaako wuzu?
Oyo anteekako ekigambo ekyo ssi mutuufu, kirabika yategera mu kigambo kyange: nti matukuvu. [n'ategeeramu] nti tegamalaako wuzu.
Alamulwa atya 'kudra' [omusaayi ogwa kitaka] oguva mu mukyala nga wabula olunaku lumu oba okusingawo ageende mu nsonga z'ekikikyala, era nga gasobola okuba nga agamuvaamu galinga oluwuzi olutono oluddugavu oba olwa kitaka oba ekiri nga ekyo? Era kiramulwa kitya ssinga gajja oluvannyuma lw'okuva mu nsonga?
Ekyo bwekibeera nga kiggula lujji ekikulembera okugenda mu nsonga; oyo abeera 'haidhu', era ekyo kimanyikibwa na [kuwulira] bulumi, n'okunyoolwa mu lubuto okutera okubaawo ku mukyala agenda mu nsonga.
Wabula yye 'kudra' (amazzi agakitaka) ajja oluvannyuma lw'ensonga, aba ayina okulinda ppaka bwegalekeraawo; kubanga 'kudra' agoberera okubeera kw'omukyala mu nsonga aba 'haidhu'; kulw'ekigambo kya Aisha Allah amusiime: toyanguyiriza okutuusa nga olabye amazzi ameeru (ag'okutukula). Era Allah y'asiinga okumanya.
*
Agamu ku mateeka agakwatagana ku musaayi gwa 'haidhu' mu hijja ne umra
Ali mu nsonga z'ekikyaala asaala atya eraaka ebbiri ez'okuyingira mu mizizo [gya hijja oba umra] ? Era kikkirizibwa ku mukyala ali mu nsonga okuddiriŋŋana aya za Qur'an mu kyama, oba nedda?
Ekisooka: kisaanidde tumanye nti okuyingira mu mizizo tekuyina swala [ntongole esaalibwawo]; kubanga teri bujulizi bwonna kuva ku nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nti yasomesa ekibiina kye okusaala okw'okuyingira mu mizizo si mu bigambo nti [yakilagira], wadde ekikolwa [nti yagisaalako], wadde okulaba agisadde naatamugaana.
Eky'okubiri: Omukyala eyagenze mu nsonga nga tannaba kuyingira mu mizizo gya hijja oba umra asobola okuyingira mu mizizo nga ali mu nsonga;
Ate kyeyagambye nga abuuza: akkirizibwa okusoma Qur'an? iyye, ali mu nsonga asobola okusoma Qur'an nga waliwo obwetaavu oba ekigendererwa(ekyenjawulo), naye bwewatabawo bwetaavu yadde ekigendererwa(ekyenjawulo), nga ayagala [bwagazi] kusoma kufuna mpeera na kusembera eri Allah, ekisiinga obulungi aleme kujisoma.
Omukyala yali mu lugendo lwa hijja, mu nnaku ttano nga ali mu lugendo yagenda mu mbeeraaze ez'omwezi, nga atuuse ku miiqaati [ekifo webaletera enniya eyingira mu mizizo gya hijja ne umra] yanaaba era naleeta enniya y'okuyingira mu mizizo nga naye tannatukula kuva mu nsonga, bweyamala okutuuka mu makka ow'ekitiibwa yasigala wabweru wa haram(makka), era teyakola kintu kyonna mu bikolwa bya hijja oba umra, era nabeera e mina okumala ennaku bbiri, oluvannyuma n'atukula, n'anaaba, n'akola emikolo gyonna egya umra nga mutukuvu, oluvannyuma omusaayi negukomawo nga ali mu kwetoloola okwa 'ifaadha' (okw'etteeka okutera okubaawo mu lunaku olw'ekkumi mu dhul hajj), naye ate ensonyi zaamukwata, n'amaliriza emikolo gya hijja, era teyagamba 'waliyyu' we (amuyinako obuvunaanyizibwa) okutuusa bweyamala okutuuka mu nsi ye, ekyo kilamulwa kitya?
Okulamula kw'ekyo: omusaayi ogwo ogwamujjidde ng'ali mukwetoloola okwa 'ifadha', ssinga guba musaayi gwa 'haidhu' ogwo yye gwamanyi mu butonde bwagwo n'obulumi [bwafuna mugwo], mazima okwetooloola kwe okwa 'ifaadha' tekuba kutuufu, era kimukakatako okuddayo e makka; yeetooloole okwetoloola okwa 'ifaadha', aleete e'nniya' ya umra ku 'miiqaati', akole umra n'okwetooloola kaaba n'okudduka wakati wa swafaa ne maruwa, akendeeze ku nviiri, oluvannyuma yeetooloole olw'etooloola olwa ifaadha.
Naye ate bweguba nga omusaayi ogwo ssi musaayi gwa 'haidhu', [nga] musaayi ogwa bulijjo ogumanyikiddwa, nga gwava ku buungi bw'abantu, oba okutya, oba ebifaananako n'ebyo, mazima okwetooloola kwe kuba kutuufu eri abo abatafuula butukuvu kakwakkulizo mu kwetooloola.
Naye ate bwaba tasobola kukomawo; mu mbeera eyasoose, olwokuba ensi ye eri wala [ne makka], hijja ye eba ntuufu; lwansonga aba tasobola kukola kisingako awo.
Omukyala yaggya okukola umra, naye bweyatuuka e makka nagenda mu nsonga z'ekikyala, ate 'mahramu' we (amuyinako obuvunaanyizibwa) yalina obwetaavu obw'okugenda okuva e makka mu bwangu, ate nga [omukyala] tayina muntu yenna mu makka, alamulwa atya?
[Omukyala] Agenda naye [okuva mu makka], [naye] n'asigala mu mizizo, oluvannyuma n'akomawo nga amaze okutukula, ekyo ssinga aba ali saudi; kubanga okukomawo kwangu, era tekiriimu kukoowa, wadde okwetaagisa 'paasipooti' n'ebiringa ebyo.
Naye ate bwaba mugwira (nga yavudde wabweru wa saudi), nga akaluubirizibwa okudda, mazima yye yeefuundikira, neyeetooloola [kaaba], n'adduka swafaa ne maruwa, n'akendeeza ku nviiri, n'amaliriza umra ye mu lugendo olwo lwennyini; kubanga okwetooloola kwe kuba kufuuse kwa buwaze, nga ate obuwaze bukkirizisa ekyaziyizibwa.
Omukyala omusiraamu agenze mu 'nsonga' mu nnaku za hijja ye alamulwa atya, afuna empeera za hijja eyo?
Ekyo tekisoboka kwanukulwa okutuusa nga kitegeerekese ddi lweyagenda mu 'nsonga'? kubanga ebimu ku bikolwa mu hijja tebigaanibwa kubikola olwa 'haidhu', ate ebimu bigaanibwa olwa 'haidhu', kati okwetoloola kaaba tasobola kukukola okujjako nga mutukuvu, naye ate ebisigadde mu mikolo gya hijja asobola okubikola nebwaba ali mu 'nsonga'.
Natuukiriza empagi ya hijja omwaka oguwedde, era nenkola emikola gya hijja gyonna okuggyako okwetoloola kaaba okwa 'ifaadha' n'okwokusiibula (widaa`a), kubanga nnalemesebwa ekisonyiyisa mu busiraamu, nenzirayo ewange e madiina, nga nsuubira okudda olunaku lwonna; neetooloole olwetoloola olwa 'ifadha', nolwa 'widaa-a', olwokuba simanyi nnyo bikwata ku ddiini, nava mu mizizo gyonna, nenkola buli kimu ekiziyizibwa mu kiseera ky'emizizo, oluvannyuma nembuuza ku kuddayo kwange okwetooloola kaaba, neŋŋambibwa nti: ssi kituufu ggwe kwetoloola [kaaba], kuba wajonoonye, era oyina kuddamu -amakulu: kuddamu hijja mulundi mulala- omwaka ogujja, era osale n'ente oba eŋŋamiya, ekyo kituufu? Era waliyo ekiyinza okukolebwa ekirala? Era kyekiriwa? Era hijja yange yafa? Era nnina okugiddamu? Mumbuulire ekinkakatako okukola, Allah abawe emikisa.
Ekyo era kimu ku bizibu ebiva mu kulamula awatali kumanya, era gwe mumbeera eyo, ekikukakatako kwe kudda e makka, weetoloole okwetoloola okwa 'ifadha' kwokka.
Wabula okwetooloola okw'okusiibula, tokakatibwako kwetooloola kwa kusiibula ebbanga ly'omala nga wali mu nsonga za kikyala mu kiseera ky'okufuluma mu makka, lwansonga nti ali mu 'nsonga' takakatibwaako kwetooloola kwa kusiibula; olwa hadith eva ku Abdallah bun Abbaas Allah abasiime bombiriri: yalagira Abantu okuba nti omulimu gwebasembyayo okukola [mu hijja] kwetooloola kaaba, okuggyako nti kwasonyiyibwa omukyala ali mu 'nsonga'. Ne mu njogera endala eya Abi dawuud: kyebasembyayo mu mikolo kubeere kwetooloola kaaba. Era lwansonga nti nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye bweyagambimbwa nti swafiyya yeetoolodde olwetooloola olwa 'ifaadha', yagamba: «agende», ekyo nekitegeeza nti mazima okwetooloola okw'okusiibula kusonyiyibwa ali mu 'nsonga'.
Naye ate okwetooloola okwa 'ifadha' oteekeddwa okukukola, engeri gyoli nti wava mu mizizo nga tomanyi, mazima ekyo tekikukosa; kubanga atamanyi bwakola ekintu kyonna mu byaziyizibwa ku muntu ali mu mizizo, tavunaanibwa; kulw'ekigambo kya Allah owa waggulu: { Ayi Mukama omulabirizi waffe totuvunaana byetukoze mukwerabira oba mu butanwa} [Al-baqara;286], Allah owa waggulu yagamba: «nkikoze», n'ekigambo kya Allah: {era temulina kibi [kibavunaanwa] mw'ekyo kyemukola mu butanwa, naye [ekibavunaanwa] kyekyo emitima gyammwe kyegigenderedde} [Al-ahzaab:5], kale ebintu byonna Allah owa waggulu byeyaziyiza ku [muntu] ali mu mizizo, ssinga abikola nga tamanyi oba nga yeerabidde oba nga akakiddwa, tavunaanwa, wabula ekisonyiyisa bwekivaawo, aba akakatibwaako okuva kw'ekyo [ekikyamu] kyabaddeko.
Omukyala azadde, ssinga omusaayi gw'ekizadde gutandika okumuvaamu ku lunaku olwomunana [mu dhulhajj], n'amaliriza empagi za hijja zonna okuggyako okwetooloola kaaba n'okudduka swafaa ne maruwa, okuleka nti: yalaba ng'atukudde [okutukula] okusooka oluvannyuma lw'ennaku kkumi, abaffe yeetukuza, n'anaaba, era n'akola empagi esigaddeyo era nga kwekwetooloola kaaba okwa hijja (ok'wobuwaze)?
Takkirizibwa kunaaba yeetooloole kaaba okutuusa nga akakasizza nti atukudde, era ekitegeerekeka mu kibuuzo bweyagambye nti: (okusooka), nti mazima yye teyalaba kutukula kujjuvu, ateekeddwa okulaba okutukula okujjuvu, waatukulira, anaaba, neyeetooloola kaaba, era nadduka swafaa ne maruwa.
Nebwaba asoose kudduka wakati wa swafaa ne maruwa nga tannaba kwetooloola kaaba tekiyina buzibu; kubanga nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yabuuzibwa mu hijja ku muntu adduse swafaa ne maruwa nga tanneetooloola kaaba, n'agamba:«tekiyina buzibu».
Omukyala yaleeta e'nniya' emuyingiza mu mizizo gya hijja mu kifo abantu abava e najidi webaleetera e'nniya' y'emizizo (sayilu) ng'ali mu nsonga z'ekikyala, bweyatuuka e makka n'agenda e jidda; olw'obwetaavu bwe, n'atukula nga ali jidda, n'anaaba, n'asanirira enviiri ze, oluvannyuma n'amaliriza hijja ye, abaffe hijja ye ntuufu? Era waliwo ekimukakatako kyonna?
Hijja ye ntuufu, era tayina kyavunaanibwa kyonna.
Nze ŋenda kukola umra, mpise ku 'miiqaati' (ewaleterwa e'nniya') nga ndi mu nsonga z'ekikyala, nessireeta 'nniya' yaakuyingira mizizo, nensigala e makka okutuusa bwennatukudde, nendeetera e'nniya' mu makka, abaffe ekyo kikkirizibwa? Oba nkole ntya? Era kki ekinkakatako okukola?
Ekyo ekikolwa tekikkirizibwa, era omukyala yenna ayagala okukola umra takkirizibwa kusukka 'miiqaati' nga taleese 'nniya' ya mizizo nebwaba ali mu 'nsonga', aleeta e'nniya' nga ali mu 'nsonga', era e'nniya' ye etuuka, era n'ekkirizibwa, n'obujulizi kw'ekyo buli: nti asma bint umaisi mukyala wa Abubakar Allah abasiime bombi yazaala, nga nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye ali e zul- hulaifa (ekifo abayitidde e madina webaleetera e'nniya' eyingira mu mizizo) nga agenda okukola hijja ye ey'okusiibula, yatumira nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye [nga abuuza]: nkole ntya? n'agamba: «naaba, weefuundikire n'ekigoye, onuyirire okuyingira mu mizizo», era omusaayi gwa 'haidhu' guli nga omusaayi gwa 'nnifaasi'.
Nabwekityo tugamba omukyala ali mu 'nsonga', bw'ayita ku 'miiqati' (ewaleeterwa e'nniya' y'emizizo), ng'agenda kukola umra oba hijja, tumugamba nti: naaba, weesibe n'ekigoye, oleete e'nniya' ekuyingiza mu mizizo, n'okwesiba kitegeeza: nti asiba obwereere bwe n'ekiwero, neyeefundikira, oluvannyuma n'aleeta e'nniya' emuyingiza mu mizizo, eya hijja oba umra, naye bwamala okuyingira mu mizizo n'atuuka e makka tagenda ku kaaba, era tagyetooloola okutuusa nga atukudde, kyekyo lwaki nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba Aisha bweyagenda mu 'nsonga' nga ali mu umra, nti: «kola buli kyonna haji kyakola okuggyako okwetooloola ennyumba ppaka nga omaze okutukula», eyo njogera ya Al-bukhari ne Muslim, era mu [kitabo kya] «swahiih Al-bukhari», Aisha yagamba nti bweyatukula yeetooloola kaaba, era n'adduka wakati wa swafaa ne maruwa, ekyo nekitegeeza nti omukyala bwayingira mu mizizo gya hijja oba umra nga ali mu 'nsonga', oba n'agenda mu 'nsonga' nga tannaba kwetooloola kaaba, mazima yye teyeetoloola kaaba era tadduka wakati wa swafaa ne maruwa okutuuka nga amaze okutukula era n'anaaba.
Naye ssinga yeetooloola kaaba nga mutukuvu, omusaayi gwa 'haidhu' negujja nga amaze okwetooloola, awo agenda mumaaso, n'adduka wakati wa swafaa ne maruwa nebwaba ali mu 'nsonga', era n'akendeeza ku nviiri ze, era n'amaliriza umra ye, kubanga obutukuvu ssi kalombolombo mu kudduka wakati wa swafaa ne maruwa.
Nava mu kibuga yambu`u nze n'abantu bange nga tugenda kukola umra, naye ate bwennatuuka e jidda mukyala wange n'agenda mu 'haidhu', naye nze nagenda mu maaso nemmaliriza umra nzekka nga ssiri na mukyala wange, okulamula kuli kutya ku mukyala wange?
Okulamula kukya mukyala wo: asigala okutuuka lwatukula oluvannyuma n'amaliriza umra ye; kubanga swafiyya Allah amusiime bweyagenda mu nsonga, nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «yaatusibye yye?» nebagamba nti: ekyaddala yakoze okwetooloola okwa 'ifaadha'. n'agamba: «awo agende», era ekigambo kya nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye:«yaatusibye yye?» bujulizi obulaga nti omukyala ateekeddwa okusigala -ssinga agenda mu 'haidhu' nga tannakola kwetooloola kwa 'ifaadha'- ppaka nga atukudde, oluvannyuma nalyooka yeetooloola.
Nabwekityo okwetooloola kwa umra kyekimu n'okwa 'ifaadha'; kubanga mpagi ya umra, omukyala agenze okukola umra bw'agenda mu 'nsonga' nga tannaba kwetooloola kaaba, alindako ppaka bwatukula, oluvannyuma neyeetooloola.
Abaffe ekifo webaddukira swafaa ne maruwa (mas'aa) kiri mu [muzikiti gwa] haram? Era ali mu 'nsonga' akigendamu? Era abaffe kikakata ku muntu ayingidde mu muzikiti nga ava mu 'mas`aa' okusaala 'tahiyyatul-masjid' (eraaka ebbiri ez'okuyingira mu muzikiti)?
Ekinneeyolekera: nti 'mas`aa' teri mu muzikiti, kyekyo lwaki baateekawo ekisenge ekyawula wakati wa byombiriri, lwakuba kisenge kimpi, era tewali kubuusabuusa nti ekyo kirungi eri abantu; kubanga ssinga kyayingizibwa mu muzikiti nekibeera nga kiri mu muzikiti, kyandibadde nti omukyala bwagenda mu 'nsonga' wakati w'okuva mu kwetooloola kaaba n'okudduka swafaa ne maruwa; nti takkirirzibwa kudduka swafaa na maruwa.
Ate nga 'fatuwa' yange kw'ekyo eri: nti ssinga agenda mu 'nsonga' nga amaze okwetooloola kaaba [naye] ate nga tannaba kudduka swafaa ne maruwa, awo adduka swafaa ne maruwa; kubanga awaddukirwa swafaa ne maruwa tewabalwa mu muzikiti.
Naye ate 'tahiyyatul-masjid' kiyinza okugambibwa: nti omuntu ssinga adduka wakati wa swafaa ne maruwa nga amaze okwetooloola kaaba, oluvannyuma naddayo mu muzikiti, ekyaddala agisaala, naye nebwaleka 'tahiyyatul-masjid' tavunaanwa, n'ekisiinga obulungi kwekukozesa omukisa, n'asaala eraaka bbiri; olw'obulungi obuli mu kusaalira mu kif'ekyo.
Nali mu mikolo gya hijja, 'embeera' y'omwezi nenzijira, nensonyiwala okubuulira omuntu yenna, nennyingira omuzikiti ogw'emizizo, nensaala, nenneetooloola kaaba, n'enzilrka ne swafaa ne maruwa, kki kyennina okukola, era nga ['embeera' y'omwezi] yajja nga nnaakava mu 'nnifaasi'?
Omukyala ali mu nsonga z'ekikyala oba akyalina omusaayi gw'okuzaala takkirizibwa kusaala, kaabe ng'ali mu makka oba mu nsiiye oba mu kifo kyonna; kulw'ekigambo kya nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, ku mukyala: «tekiri nti omukyala bw'agenda mu 'nsonga' tasaala, era tasiiba?», era abasiraamu (abamanyi) baakyegattako nti omukyala ali mu 'nsonga' takkirizibwa kusiiba, era takkirizibwa kusaala.
Era kikata ku mukyala oyo eyakoze ekyo, kimukakatako okwenenya eri Allah, n'okusaba okusonyiyibwa ekyo kyeyagwamu.
Ate okwetooloola kwe nga ali mu 'nsonga' kyo ssi kutuufu, wabula kwo okudduka kwe wakati wa swafaa ne maruwa kutuufu; kubanga ekigambo ekisinga obutuufu: [kiri nti] kikkirizibwa mu hijja okusooka odduka swafaa ne maruwa nga tonneetooloola kaaba, era n'olwekyo kimukakatako okuddamu okwetooloola kaaba; kubanga okwetooloola kaaba okwa 'ifaadha' mpagi mu mpagi za hijja, era okuva mu mizizo okwokubiri tekujjula okuggyako nakwo.
Era okusinzira kw'ekyo, mazima omukyala oyo bbaawe teyeegatta naye -bwabeera mufumbo- okutuusa nga yeetoolodde kaaba, era tawoowebwa -ssinga taba mufumbo- okutuusa nga yetoolodde kaaba, Allah owa waggulu yasinga okumanya.
Ssinga omukyala agenda mu nsonga ku lunaku lwa 'Arafa' akola atya?
Omukyala bwagenda mu 'haidhu' ku lunaku lwa Arafa, agenda mumaaso ne hijja, era naakola abantu byebakola, wabula teyeetoloola kaaba mpaka nga atukudde.
Omukyala bwagenda nu nsonga oluvannyuma lw'okukuba ekiwagi ekya 'Aqaba', ate nga tannaba kwetooloola lwetooloola lwa 'ifadha', ate nga yye ne bbaawe balina kuba wamu n'abantu abalala, kiki ekimukakatako okukola, nga ate kiri nti tasobola kudda nga amaze okuddayo mu nsiiye?
Bwaba tasobola kudda, yeefuundikira bulungi, oluvannyuma neyeetooloola olw'obuwaze, era tayina musango, era naamaliriza emikolo gya hijja egisigadde.
Ssinga ali mu 'nnifaasi' atukula nga ennaku aana tezinnawera, abaffe hijja ye ekkirizibwa? era bwaba talabye kutukula, kiki kyakola, nga ate amaze okunuyirira okukola hijja?
Omukyala abadde n'omusaayi gw'okuzaala bwatukula nga ennaku aana tezinnawera, mazima yye anaaba, n'asaala, era akkirizibwa okukola buli kikolebwa abo abatukuvu kakube kwetoloola kaaba; kubanga ebbanga erisinga obutono erya 'nnifaasi' teriyina kkomo.
Wabula ssinga talaba kutukula era hijja ye esigala ntuufu, lwakuba teyeetooloola nnyumba (kaaba) okutuusa nga atukudde;
*
Related books
All books
Ani eyantonda ? Era lwaki ?75 languagesAni eyantonda ? Era lwaki ?
Buli kintu kyonna kiraga okubeerawo kw'Omutonzi Ani eyatonda eggulu n'ensi n'ebitonde ebinene ebibirimu byotasobola kumanya n'omalayo? Ani eyakola enteekateeka eno enzijuvu era nga ntukirivu mu ggulu ne ku nsi? Ani eyatonda omuntu era namuwa okuwulira n'okulaba n'amagezi era n'amufuula asobola okufuna okumanya n'okutegeera ensonga? Onnyonnyola otya enkola eno entuufu munkola yomubiri gwo era n'enkola yemibiri gy'ebitonde ebiramu ? Era ani yagitandikawo? Butegekeddwa butya era bunywevu butya obutonde buno obunene n'amateeka gaabwo agabulung'amya ddala okumala emyaka n'emyaka ?
Obw'etteeka bw'okukolera ku nkola y'omubaka okusaasira n'emirembe bibeera ku yye, n'okukaafuwala kw'oyo akiwakanya.23 languagesObw'etteeka bw'okukolera ku nkola y'omubaka okusaasira n'emirembe bibeera ku yye, n'okukaafuwala kw'oyo akiwakanya.
kyawandiikibwa: Abdul-Aziizi Ibun Abdullah Ibun Baazi Allah amusaasire Nsoose n'erinnya lya Allah omusaasizi ennyo ow'ekisa ekingi Ennyanjula Amatendo amajjuvu ga Allah omulezi w'ebitonde byonna, n'obuddiro obulungi bw'abo abatya Allah, okusaasira n'emirembe bibeere kumudduwe era omubaka we Muhammad; omutume nga kyakusaasira eri ebitonde byonna, neku bantu be ne ba swahaaba be abo abeetikka ekitabo ky'omulezi waabwe eyayawukana, ne sunnah (hadiith) za Nabbi waabwe -okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- okubituusa kw'abo abajja oluvannyuma lwabwe, n'obwesigwa obwekika ekyawaggulu, n'obukugu,…
Obusiraamu89 languagesObusiraamu
Ku lw'erinnya lya Allah omusaasizi ennyo ow'ekisa ekingi Wali webuuzizzako: Ani yatonda eggulu n'ensi n'ebiri mubyombiriri mu bitonde ebinene? Era ani eyakola enteekateeka eno ennungamu entereevu mu yyo?
Ensaala y’esswala (mu katambi akafunze)85 languagesEnsaala y’esswala (mu katambi akafunze)
Okulaga mu bikolwa mu bumpiimpi engeri y'okusaala, tusinze Allah n'obutegeevu, era esswala yaffe etuukirize empagi n'obulombolombo bwayo. Engeri y'okusaalamu Bwe twagala okusaala kitukakatako okwetukuza okuva mu ekizuusi ekitono n'ekizuusi e kinene. Era ne tusaalira mu ngoye entukuvu nga zibisse obwereere bwaffe. N'omubiri gwaffe n'ekifo mwetusaalira nga bitukuvu mu okuva eri obucaafu. Twolekera e kibula Era kikubirizibwa okusaala nga twolekedde ekiziyiza