Kiramulwa kitya omukyala bwagenda mu nsonga oluvannyuma lw'ekiseera ky'esswala okutuuka? era kimukakatako okugiriwa bwaba atukudde? Nabwekityo bwatukula nga ekiseera ky'esswala tekinnayita?
السؤال
q1:
Kiramulwa kitya omukyala bwagenda mu nsonga oluvannyuma lw'ekiseera ky'esswala okutuuka? era kimukakatako okugiriwa bwaba atukudde? Nabwekityo bwatukula nga ekiseera ky'esswala tekinnayita?
س31: ما الحكم إذا حاضت المرأة بعد دخول وقت الصلاة؟ وهل يجب عليها أن تقضيها إذا طهرت؟ وكذلك إذا طهرت قبل خروج وقت الصلاة؟
الجواب
A1:
Ekisooka: omukyala bwagenda mu nsonga oluvannyuma lw'ekiseera okutuuka- amakulu: oluvannyuma lw'ekiseera ky'esswala okutuuka- mazima kimukakatako bwaba atukudde okuliwa esswala eyo eyali mu kiseera kyeyalwaliramu, ssinga aba teyagisaala nga 'haidhu' tannamujjira,
olw'ekigambo ky'omubaka [wa Allah] okusaasira n'emirembe bibeere kuyye:
«omuntu bw'asaanga eraaka [emu] ku sswala aba asaanze esswala».
ssinga omukyala asanga ku kiseera ky'eswala ekigero ky' [akabanga akasobola okusalirwaamu] eraaka, oluvannyuma n'agenda mu nsonga nga tannasaala, mazima yye bw'atukula kimukakatako okuliwa.
ُُEkyokubiri: bwatukula okuva mu 'haidhu' nga ekiseera ky'esswala tekinnayita, mazima yye akakatibwako okuliwa esswala eyo, ssinga atukula nga enjuba tennavaayo ekigero ekisaalirwamu eraaka emu kimukakatako okuliwa esswala ya fajri,
era ssinga atukula nga enjuba tennagwa ekigero ekisobola okusaalirwamu eraaka emu, kiba kimukakatako okuliwa esswala ya aswir,
era ssinga atukula nga ekiro tekinnatuuka mu makkati [kakibe] nga wabulayo ekigero ekisobola okusalirwaaamu eraaka emu kiba kimukakatako okuliwa esswala ya isha,
ate bwatukula oluvannyuma lw'amakkati g'ekiro esswala ya isha eba temukakatako, aba akakatibwaako okusaala sswala ya fajri ekiseera kyayo nga kituuse,
Allah eyayawukana era owa waggulu yagamba: {ate bwe muba mu mirembe musaale esswala mu ngeri eyaabulijjo. Mazima esswala yalaalikibwa ku bakkiriza nga esaalibwa mu biseera ebigere} [Al-nnisaa: 103],
kitegeeza: zaalaalikibwa mu biseera ebigereke, omuntu takkirizibwa kufulumya sswala ku kiseera kyayo, wadde okugitandika nga ekiseera kyayo tekkinatuuka.
ﺟ31: أولًا: المرأة إذا حاضت بعد دخول الوقت -أي: بعد دخول وقت الصلاة- فإنه يجب عليها إذا طهرت أن تقضي تلك الصلاة الّتي حاضت في وقتها، إذا لم تصلّها قبل أن يأتيها الحيض،
وذلك لقول الرسول ﷺ:
«مَنْ أَدْرَكَ رَكْعَةً مِنَ الصَّلَاةِ فَقَدْ أَدْرَكَ الصَّلَاةَ» [1]،
فإذا أدركت المرأة من وقت الصلاة مقدار ركعةٍ، ثم حاضت قبل أن تصلّي، فإنها إذا طهرت يلزمها القضاء.
[11] تقدم تخريجه.
ثانيًا: إذا طهرت من الحيض قبل خروج وقت الصلاة فإنه يجب عليها قضاء تلك الصلاة، فلو طهرت قبل أن تطلع الشمس بمقدار ركعةٍ وجب عليها قضاء صلاة الفجر،
ولو طهرت قبل غروب الشمس بمقدار ركعةٍ وجبت عليها صلاة العصر،
ولو طهرت قبل منتصف الليل بمقدار ركعةٍ وجب عليها قضاء صلاة العشاء،
فإن طهرت بعد منتصف الليل لم يجب عليها صلاة العشاء، وعليها أن تصلّي الفجر إذا جاء وقتها، قال الله سبحانه وتعالى:
﴿...فَإِذَا ٱطۡمَأۡنَنتُمۡ فَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَۚ إِنَّ ٱلصَّلَوٰةَ كَانَتۡ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ كِتَٰبٗا مَّوۡقُوتٗا﴾
[النساء:103]،
أي: فرضًا مؤقتًا بوقتٍ محدودٍ، لا يجوز للإنسان أن يخرج الصلاة عن وقتها، ولا أن يبدأ بها قبل وقتها.