وهذهِ رِسالَةٌ مُوجَزَةٌ لَكَ يا مَن فَقَدتَ قَرِيبًا أو عَزِيزًا، أو حَبِيبًا، نَسألُ اللَّهَ عزَّ وجلَّ أن ينفعنا وإياكَ بِها، وهي بِعنوان: (أحكامُ الجَنائِز).
Buli kintu kyonna kiraga okubeerawo kw'Omutonzi Ani eyatonda eggulu n'ensi n'ebitonde ebinene ebibirimu byotasobola kumanya n'omalayo? Ani eyakola enteekateeka eno enzijuvu era nga ntukirivu mu ggulu ne ku nsi? Ani eyatonda omuntu era namuwa okuwulira n'okulaba n'amagezi era n'amufuula asobola okufuna okumanya n'okutegeera ensonga? Onnyonnyola otya enkola eno entuufu munkola yomubiri gwo era n'enkola yemibiri gy'ebitonde ebiramu ? Era ani yagitandikawo? Butegekeddwa butya era bunywevu butya obutonde buno obunene n'amateeka gaabwo agabulung'amya ddala okumala emyaka n'emyaka ?
Obw'etteeka bw'okukolera ku nkola y'omubaka okusaasira n'emirembe bibeera ku yye, n'okukaafuwala kw'oyo akiwakanya.
23 languages
Obw'etteeka bw'okukolera ku nkola y'omubaka okusaasira n'emirembe bibeera ku yye, n'okukaafuwala kw'oyo akiwakanya.
kyawandiikibwa: Abdul-Aziizi Ibun Abdullah Ibun Baazi Allah amusaasire Nsoose n'erinnya lya Allah omusaasizi ennyo ow'ekisa ekingi Ennyanjula Amatendo amajjuvu ga Allah omulezi w'ebitonde byonna, n'obuddiro obulungi bw'abo abatya Allah, okusaasira n'emirembe bibeere kumudduwe era omubaka we Muhammad; omutume nga kyakusaasira eri ebitonde byonna, neku bantu be ne ba swahaaba be abo abeetikka ekitabo ky'omulezi waabwe eyayawukana, ne sunnah (hadiith) za Nabbi waabwe -okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- okubituusa kw'abo abajja oluvannyuma lwabwe, n'obwesigwa obwekika ekyawaggulu, n'obukugu,…
Obusiraamu kwe kwewaayo eri Allah, Omutonzi era Omulabirizi w’ebitonde byonna, n'okumugondera mu kumwagala n'okumussaamu ekitiibwa, era omusingi gw'obusiramu kwe kukkiriza Allah, era nti ye mutonzi; ate buli kitali yye kitonde, era nti yasaanidde okusinzibwa yekka nga tewali kimwegattako, tewali kisinzibwa mu butuufu [bwa kusinzibwa] okuggyako yye, alina amannya amalungi, n'ebitendo ebyawaggulu, era ye mutuukirivu awatali bukendeevu, tazaala era teyazaalibwa, era talina kimwenkana yadde ekimufaanana, era talabikira mu kintu kyonna mu bitonde bye. Era obusiraamu y'eddiini ya Allah owa waggulu,…
Bwoba oyagala okusiramuka, olina okwogera shahaada eno mu ddoboozi elya waggulu n'okumanya amakulu ga yo n'okugikkiriza: Ash-hadu an laa ilaaha illa Allah (Ebigambo bino bitegeeza nti teriiyo n'omu asaanidde kusiinzibwa okuggyako Allah yekka). Wa ash-hadu anna Muhammada rasuulu Allah, wa anna Isa ibn Mariam huwa abdullahi warasuuluhu.( amakulu nti era nenkakasa nti ne Muhammad mubaka wa Allah era mazima ddala Isa-yesu- mutabani wa Mariam muddu wa Allah era mubakawe) .