Skip to content

Ssinga omukyala nga embeera ye alwala ennaku munaana oba musanvu, oluvannyuma nezeeyongerako okusingawo omulundi gumu oba ebiri, kiramulwa kitya?

السؤال

q1:

Ssinga omukyala nga embeera ye alwala ennaku munaana oba musanvu, oluvannyuma nezeeyongerako okusingawo omulundi gumu oba ebiri, kiramulwa kitya?

س4: إذا كانت المرأة عادتها الشهرية ثمانية أيامٍ أو سبعة أيامٍ، ثم استمرت معها مرةً أو مرتين أكثر من ذلك، فما الحكم؟

الجواب

A1:

singa embeera y'ono omukyala [ya kulwala] nnaku mukaaga oba musanvu, oluvannyuma ebbanga neryeyongeramu nezigenda mu nnaku munaana oba mwenda oba kkumi oba kkumi nalumu, mazima yye asigala nga tasaala okutuusa nga atukudde,

Kulw'ensonga nti nnabbi Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye; teyateeka kkomo lyassalira ku bbanga ly'ensonga z'ekikyala eza buli mwezi,

Ate nga Allah owa waggulu yagamba: { Era bakubuuza (Ggwe Muhammadi) ku mukyala nga ali mu nnaku zaabwe (nga bali mu Heezi. Bagambe nti: Gwo (omusaayi), kyenyinyalwa} [Al- baqara:222],

Ebbanga lyegumala nga omusaayi weeguli; mazima omukyala asigala ku mbeera ye okutuuka nga atukudde, n'anaaba, oluvannyuma n'asaala, [omusaayi] bwegujja mu mwezi ogwokubiri [ennaku nezikeendeerako]; eky'amazima anaaba ssinga aba atukudde nebwaaba tatuusizza muwendo [gwa nnaku ze] ogwayise.

Ekikulu nti omukyala ebbanga ly'amala nga ali mu nsonga ze, tasaala; kabeere nga ebbanga ly'amala mu nsonga ze likwataganye nery'omulundi oguyise oba nga ly'eyongeddeko, oba nga likeendeddeko, bwatukula asaala.

ﺟ4: إذا كانت عادة هذه المرأة ستة أيامٍ أو سبعةً، ثم طالت هذه المدة، وصارت ثمانيةً أو تسعةً أو عشرةً أو أحد عشر يومًا فإنها تبقى لا تصلّي حتى تطهر،

وذلك لأن النبي ﷺ لم يحد حدًّا معيّنًا في الحيض، وقد قال الله تعالى:

﴿وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡمَحِيضِۖ قُلۡ هُوَ أَذٗى...﴾

[البقرة:222]،

فمتى كان هذا الدم باقيًا فإن المرأة على حالها حتى تطهر، وتغتسل، ثم تصلّي، فإذا جاءها في الشهر الثاني ناقصًا عن ذلك فإنها تغتسل إذا طهرت وإن لم يكن على المدة السابقة.

والمهمّ أن المرأة متى كان الحيض معها موجودًا فإنها لا تصلّي، سواءٌ كان الحيض موافقًا للعادة السابقة، أو زائدًا عنها، أو ناقصًا، وإذا طهرت تصلّي.