السؤال
س11: ما آداب النوم؟
Ekibuuzo 11: ze ziriwa empisa z'okwebaka?
الجواب
ج:1. أنام مبكرًا.
لحديث:
«عن أبي برزة رضي الله عنه أن رسول الله صلى الله عليه وسلم كان يكره النوم قبل العشاء، والحديث بعدها»
رواه البخاري.
- أنام على طهارة.
- لا أنام على بطني.
- أنام على جنبي الأيمن، وأضع يدي اليمنى تحت خدي الأيمن.
- أنفض فراشي.
- في الحديث:
عن البراء بن عازب رضي الله عنه قال: قال النبي صلى الله عليه وسلم:
«إذا أتيت مضجعك فتوضأ وضوءك للصلاة ثم اضطجع على شقك الأيمن»
- وعن أبي هريرة رضي الله عنه قال: رأى رسول الله صلى الله عليه وسلم رجلا مضطجعا على بطنه فقال:
«إن هذه ضجعة لا يحبها الله»
رواه الترمذي وأحمد.
- وقال النبي صلى الله عليه وسلم:
«إذا أوى أحدكم إلى فراشه، فلينفض فراشه بداخلة إزاره؛ فإنه لا يدري ما خلفه عليه»
- أتلو أذكار النوم، من آية الكرسي، وسورة الإخلاص، والمعوذتين ثلاث مرات. وأقول:
«باسمك اللهم أموت وأحيا».
- أستيقظ لصلاة الفجر.
- وأقول بعد الاستيقاظ من النوم:
«الحمد لله الذي أحيانا بعدما أماتنا وإليه النشور».
Neebaka nga bukyaali
Olwa hadiith:
«Nga eva ku Abu Barzah nti Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yatamwanga okwebaka nga esswala ya isha tennatuuka, n'okunyumya oluvannyuma lwa yo»
Yayogerwa Bukhaari.
- Neebaka ndi mutukuvu.
- Sseebaka nga neevuunise ku lubuto lwange.
- Nneebakira ku ludda lwange olwa ddyo, era omukono gwange ogwa ddyo nengussa wansi w'oluba lwange olwa ddyo.
- Nkunkumula obuliri bwange.
Mu hadiith:
nga eva ku Barbara ibun Aazib-Allah amusiime- yagamba: yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibere ku yye:
«Bw'obanga ogenda okwebaka, funa wudhu yo nga ey'esswala, oluvannyuma weebakire ku ludda lwo olwa ddyo»
-Hadiithi nga eva ku Abu Hurairah Allah amusiime yagamba: Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bieere ku yye yalaba omusajja nga yeebase yeevuunise n'agamba:
«Mazima ddala eno enneebaka, Allah tagyagala».
Esangibwa mu kitabo kya Tirmidhi ne Ahmad.
-Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba:
«Omu mu mmwe bwabanga agenda okwebaka, akunkumule obuliri bwe nga akozesa munda we nkutu ye; kubanga mazima ddala yye tamanyi kiki kyazzeemu oluvanyuma lwe»
- Nsoma adhikaari z'okwebaka, gamba nga Aayatul-kursiyy, Suurat Al-ikhlaas, suurat alfalaq ne Suurat An-naas emirundi esatu esatu, oluvannyuma nengamba nti:
«Bi-ismika Allahumma Amuutu wa ahyaa». Amakulu nti: ku erinya lyo Ayi Allah kwenfiira era kwempangalira.
- Ngolokoka okusaala swala ya fajir.
- Era nengamba oluvannyuma lw'okugolokoka mu tulo:
«Alhamdulillahi Alladhii ahyaanaa ba-ada maa amaatanaa wa ilaihi-nnushuur»