Skip to content

Omukyala ow'olubuto okuvaamu omusaayi emisana mu lamanzaani; abaffe kiyina kyekikyusa kukusiiba kwe?

السؤال

q1:

Omukyala ow'olubuto okuvaamu omusaayi emisana mu lamanzaani; abaffe kiyina kyekikyusa kukusiiba kwe?

س14: نزول الدم من الحامل في نهار رمضان، هل يؤثّر على صومها؟

الجواب

A1:

Ssinga omusaayi gwa 'haidhu' gufuluma ng'omukyala asiibye, mazima okusiiba kwe kuba kwonoonese; kulw'ekigambo kya nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye:

«abaffe tekiri nti omukyala bw'alwala tasaala era tasiiba?»

n'olwekyo tukibalira mu bisiibulula, ne 'nnifaasi' kyekimu, era nga okuggya kw'omusaayi gwa 'haidhu' ne 'nnifaasi' by'onoona okusiiba.

n'okufuluma kw'omusaayi mu mukyala ali olubuto emisana gya lamanzaani singa guba gwa 'haidhu' guba nga ogwa 'haidhu' ogw'atali lubuto, ekitegeeza: nti kikosa okusiiba kwe, naye ate bwaba nga ssi 'haidhu' tekikosa [kusiiba kwe].

era 'haidhu' oyo ayinza okuva mu mukyala ow'olubuto y'oyo agenderera nga takutuseewo okuva lw'eyafuna olubuto, era nga gujjira mu budde bwagwo bw'amanyidde, oyo aba 'haidhu' okusinziira kukigambo ekisiinga obutuufu, gukakasibwaako[omusaayi ogwo] amateeka ga 'haidhu'.

wabula ssinga omusaayi gukutukawo, oluvannyuma n'atandika okulaba omusaayi ogutali ogwo gwamanyidde, ogwo tegukosa kusiiba kwe; kuba taba 'haidhu'.

ﺟ14: إذا خرج دم الحيض والأنثى صائمةٌ فإن صومها يفسد؛ لقول النبيّ ﷺ:

«أَلَيْسَ إِذَا حَاضَتْ لَمْ تُصَلِّ، وَلَمْ تَصُمْ؟» [1]

ولهذا نعدّه من المفطّرات، والنّفاس مثله، وخروج دم الحيض والنّفاس مفسدٌ للصوم.

[3] البخاري، كتاب الصوم، باب الحائض تترك الصوم والصلاة (1951).

ونزول الدم من الحامل في نهار رمضان إذا كان حيضًا فإنه كحيض غير الحامل، أي: يؤثّر على صومها، وإن لم يكن حيضًا فإنه لا يؤثّر.

والحيض الّذي يمكن أن يقع من الحامل هو أن يكون حيضًا مطردًا لم ينقطع عنها منذ حملت، بل كان يأتيها في أوقاتها المعتادة، فهذا حيضٌ على القول الراجح، يثبت له أحكام الحيض.

أما إذا انقطع الدم عنها، ثم صارت بعد ذلك ترى دمًا ليس هو الدم المعتاد، فإن هذا لا يؤثّر على صيامها؛ لأنه ليس بحيضٍ.