Skip to content

Ekibuuzo: Sunna za wuzu ze ziriwa era zoogere?

الباب / الفصل
قسم الفقه

السؤال

س6: ما هي سنن الوضوء، وعددها؟

Ekibuuzo: Sunna za wuzu ze ziriwa era zoogere?

الجواب

ج:سنن الوضوء: وهي التي لو فعلها المتوضئ؛ له مزيد من الأجر والثواب، ولو تركها؛ فلا إثم عليه، ووضوؤه صحيح.

  1. التسمية: بسم الله.

لحديث:

«لا وضوء لمن لم يذكر اسم الله عليه»

رواه أبو داود.

  1. السواك.

«لولا أن أشق على أمتي لأمرتهم بالسواك مع كل وضوء»

رواه أحمد.

  1. غسل الكفين.
  2. تخليل الأصابع.

«أسبغ الوضوء، وخلل بين الأصابع، وبالغ في الاستنشاق، إلا أن تكون صائمًا»

رواه أهل السنن.

  1. الغسلة الثانية والثالثة للأعضاء.
  2. البدء باليمين.

لحديث: أم المؤمنين عائشة رضي الله عنها قالت:

«كان النبي صلى الله عليه وسلم يعجبه التيمن في تنعله، وترجله، وطهوره وفي شأنه كله»

متفق عليه.

  1. الذكر بعد الوضوء:

«أشهد أن لا إله إلا الله، وحده لا شريك له، وأشهد أن محمدًا عبده ورسوله».

رواه مسلم.

  1. الصلاة ركعتين بعده.

«من توضأ نحو وضوئي هذا ثم صلى ركعتين لا يحِّدث فيهما نفسه، غفر له ما تقدم من ذنبه»

رواه البخاري ومسلم.

Sunna za wudhu: by'ebintu nga omuntu bw'abikola nga afuna wuzu, afunamu empeera, ate bwaba abirese tafuna musango, era wuzu ye ebeera ntuufu.

  1. Okugamba nti Bismillah.

Olwa hadiith:

«Teri wuzu nzijuvu eri oyo aba tayogedde ku linnya lya Allah»

Esangibwa mu kitabo kya Abu daud.

  1. Okusenya.

«Singa tekwali kukalubiriza bantu ba kibiina kyange, nandibalagidde nebasenya buli ku kufuna wudhu.»

Yayogerwa Ahmada

  1. okunaaba ebibatu byombi
  2. Okusosola engalo.

«Jjuza wuzu( amakulu nti buli kiyungo kinaazibwe nga bwekitekeddwa), era sosola wakati w'engalo zo wamu n'ebigere, era feesafeesa amazzi gatuuke ewala mu nnyindo, okujjako nga wasiibye»

Yayogerwa ba nannyini sunani.

  1. Olunaaba olw'okubiri, n'olwokusatu ku buli kiyungo.
  2. Okutandika ne ddyo

Olwa hadiith ya mama wa bakkiriza Aisha- Allah amusiime yagamba:

«Nabbi yayagalanga nnyo okutandika n'oludda olwa ddyo, mukwambala engatto ze, nemukusaaniriza enviiri ze ne mukwetukuza, nemunsonga ze zonna»

Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.

  1. Okusoma edduwa oluvannyuma lwa wuzu:

«Ashihadu an Laa Ilaaha illa Allah Wahdahu laa shariika lahu, wa ashihadu anna Muhammadan Abduhu wa Rasuuluhu».

Esangibwa mu kitabo kya Muslimu .

8: Okusaalayo eraka bbiri oluvannyuma lwa wuzu.

«Yenna afuna wuzu nga eyange eno, oluvannyuma n'asaalayo eraaka bbiri natazirowoolezaamu nnyo biri bweru wa swala, Asonyiyibwa amazambi ge geyakulembeza okukola»

Yayogerwa Bukhari ne muslim